Millat al-Islam

Chapter 44 · 59 verses · Fareeq Musa

Surah Ad-Dukhan' in Ganda

Arabic with tafsir Listen to Surah Ad-Dukhan' (1216 reciters)
Meccanسورة الدخان59 verses

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

حمٓ ١Ha Miim وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ ٢Ndayidde ekitabo (Kur’ani) ekinnyonnyofu إِنَّآ أَنزَلۡنَٰهُ فِي لَيۡلَةٍ مُّبَٰرَكَةٍۚ إِنَّا كُنَّا مُنذِرِينَ ٣Mazima ffe twakissa mu kiro ekyomukisa (anti) mazima ffe twali tulina okutiisa (abantu) فِيهَا يُفۡرَقُ كُلُّ أَمۡرٍ حَكِيمٍ ٤Mu kyo (ekiro) mwekigerekerwa buli kigambo ekiba kisaliddwawo أَمۡرًا مِّنۡ عِندِنَآۚ إِنَّا كُنَّا مُرۡسِلِينَ ٥Nga kwo kusalawo okuva gye tuli (anti) mazima ffe twali tuteekwa okutuma ababaka رَحۡمَةً مِّن رَّبِّكَۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ٦(Ekyokutuma ababaka) kusaasira okuva ewa Mukama omulabirizi wo (anti) mazima yye yawulira ennyo amanyi ennyo رَبِّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَآۖ إِن كُنتُم مُّوقِنِينَ ٧(Yye Katonda) ye Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi, bwe muba muli bakkiriza abannamaddala لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۖ رَبُّكُمۡ وَرَبُّ ءَابَآئِكُمُ ٱلۡأَوَّلِينَ ٨Tewali kirina kusinzibwa okugyako yye, awa obulamu era yabujjawo. Mukama omulabirizi wa mmwe era omulabirizi wa bakadde ba mmwe abasooka بَلۡ هُمۡ فِي شَكٍّ يَلۡعَبُونَ ٩Wabula bo (abatakkiriza) bali mu kubuusabuusa, bazannya فَٱرۡتَقِبۡ يَوۡمَ تَأۡتِي ٱلسَّمَآءُ بِدُخَانٍ مُّبِينٍ ١٠Kale lindirira olunaku eggulu lweririreeta omukka omweyolefu (ogulabwa buli omu) يَغۡشَى ٱلنَّاسَۖ هَٰذَا عَذَابٌ أَلِيمٌ ١١Gugenda kubikka abantu ekyo kiriba kibonerezo ekiruma ennyo رَّبَّنَا ٱكۡشِفۡ عَنَّا ٱلۡعَذَابَ إِنَّا مُؤۡمِنُونَ ١٢(Baligamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tugyeko ekibonerezo, mazima ffe tukkirizza أَنَّىٰ لَهُمُ ٱلذِّكۡرَىٰ وَقَدۡ جَآءَهُمۡ رَسُولٌ مُّبِينٌ ١٣Naye wwa gye baliggya okujjukira (batuuke okwebuulirira) ate nga mazima omubaka annyonnyola obulungi yabajjira ثُمَّ تَوَلَّوۡاْ عَنۡهُ وَقَالُواْ مُعَلَّمٌ مَّجۡنُونٌ ١٤Oluvannnyuma ate ne bamuvaako, era nebagamba nti (Muhmmad) ayigirizibwa buyigirizibwa era mulalu إِنَّا كَاشِفُواْ ٱلۡعَذَابِ قَلِيلًاۚ إِنَّكُمۡ عَآئِدُونَ ١٥Mazima ffe tujja kuggyawo ekibonerezo katono (wabula) mazima mmwe mujja kuddayo (mu butakkiriza bwa mmwe) يَوۡمَ نَبۡطِشُ ٱلۡبَطۡشَةَ ٱلۡكُبۡرَىٰٓ إِنَّا مُنتَقِمُونَ ١٦(Wabula bajjukize) olunaku lwe tulikwata olukwata olwamaanyi (anti) mazima ffe tuli ba kubonereza ۞ وَلَقَدۡ فَتَنَّا قَبۡلَهُمۡ قَوۡمَ فِرۡعَوۡنَ وَجَآءَهُمۡ رَسُولٌ كَرِيمٌ ١٧Era mazima twageseza oluberyeberye lwabwe abantu ba Firawo, era nga yabajjira omubaka owekitiibwa أَنۡ أَدُّوٓاْ إِلَيَّ عِبَادَ ٱللَّهِۖ إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٌ ١٨(Naagamba nti) munzirize abaddu ba Katonda (anti) mazima nze ndi mubaka omwesigwa وَأَن لَّا تَعۡلُواْ عَلَى ٱللَّهِۖ إِنِّيٓ ءَاتِيكُم بِسُلۡطَٰنٍ مُّبِينٍ ١٩Era (ekyokubiri) mu be nga temwekuluntaza ku Katonda, mazima nze mbaleetedde obujulizi obwolwatu وَإِنِّي عُذۡتُ بِرَبِّي وَرَبِّكُمۡ أَن تَرۡجُمُونِ ٢٠Era mazima nze nsaba obukuumi ewa Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe muleme kunkuba mayinja وَإِن لَّمۡ تُؤۡمِنُواْ لِي فَٱعۡتَزِلُونِ ٢١Bwe munaaba temukkiriza byengamba kale mundeke (temuntusaako kabi) فَدَعَا رَبَّهُۥٓ أَنَّ هَٰٓؤُلَآءِ قَوۡمٌ مُّجۡرِمُونَ ٢٢(Wabula bamukijjanya) olwo nno nakowoola Mukama omulabirizi we nti mazima abo bantu bonoonyi فَأَسۡرِ بِعِبَادِي لَيۡلًا إِنَّكُم مُّتَّبَعُونَ ٢٣(Katonda naamulagira nti) tambula ekiro na baddu bange anti mazima mmwe mujja kuwonderwa وَٱتۡرُكِ ٱلۡبَحۡرَ رَهۡوًاۖ إِنَّهُمۡ جُندٌ مُّغۡرَقُونَ ٢٤(Bwomala okusomoka ggwe ne booli nabo) ennyanja gireke ng’erimu ekkubo (anti) mazima bbo, ggye lyakuzikirizibwa كَمۡ تَرَكُواْ مِن جَنَّٰتٍ وَعُيُونٍ ٢٥Amalimiro ne nsulo z’amazzi bimeka bye baaleka وَزُرُوعٍ وَمَقَامٍ كَرِيمٍ ٢٦N’ebimera, n’ebifo ebye bitiibwa وَنَعۡمَةٍ كَانُواْ فِيهَا فَٰكِهِينَ ٢٧Nebyengera ebirala bingi bye baali beyagaliramu كَذَٰلِكَۖ وَأَوۡرَثۡنَٰهَا قَوۡمًا ءَاخَرِينَ ٢٨Bwekityo (bwekyali nebaggwawo) netubisikiza abantu abalala فَمَا بَكَتۡ عَلَيۡهِمُ ٱلسَّمَآءُ وَٱلۡأَرۡضُ وَمَا كَانُواْ مُنظَرِينَ ٢٩Eggulu ne nsi tebyabakaabira era tebaali ba kulindirizibwa (nti baweebwe akaseera beenenye) وَلَقَدۡ نَجَّيۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ مِنَ ٱلۡعَذَابِ ٱلۡمُهِينِ ٣٠Era ddala twawonya abaana ba Israil ebibonyoobonyo ebinyoomesa مِن فِرۡعَوۡنَۚ إِنَّهُۥ كَانَ عَالِيًا مِّنَ ٱلۡمُسۡرِفِينَ ٣١(Bwe twabawonya) Firawo anti mazima yye yali mwekuza era nga wa mu bonoonyi ennyo وَلَقَدِ ٱخۡتَرۡنَٰهُمۡ عَلَىٰ عِلۡمٍ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ٣٢Okusinziira ku kumanya (kwaffe) twabasukkulumya (abaana ba Israil) ku bitonde ebirala وَءَاتَيۡنَٰهُم مِّنَ ٱلۡأٓيَٰتِ مَا فِيهِ بَلَٰٓؤٌاْ مُّبِينٌ ٣٣Era netubawa ebya magero ebyo ebyalimu okugesezebwa okwolwatu إِنَّ هَٰٓؤُلَآءِ لَيَقُولُونَ ٣٤Mazima abo (abakafiiri bo mu Makkah) ddala bagamba nti إِنۡ هِيَ إِلَّا مَوۡتَتُنَا ٱلۡأُولَىٰ وَمَا نَحۡنُ بِمُنشَرِينَ ٣٥Tewali kiriwo okugyako okufa kwaffe okusooka, era tetuli ba kuzuukizibwa فَأۡتُواْ بِـَٔابَآئِنَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ٣٦(Okuzuukira bwekuba nga gye kuli) kale muleete bakadde baffe bwe muba nga mwogera mazima أَهُمۡ خَيۡرٌ أَمۡ قَوۡمُ تُبَّعٍ وَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ أَهۡلَكۡنَٰهُمۡۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ مُجۡرِمِينَ ٣٧Abaffe bo be basinga obulungi oba abantu ba Tubbai (bantu be Saba-a abafuzi be Yamani) n'abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe (bonna) twabazikiriza (anti) mazima bo baali bonoonyi وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا لَٰعِبِينَ ٣٨Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi nga tuzannya مَا خَلَقۡنَٰهُمَآ إِلَّا بِٱلۡحَقِّ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ٣٩Era tetwabitonda byombi wabula ku lwa nsonga, naye ddala abasinga obungi ku bo tebamanyi إِنَّ يَوۡمَ ٱلۡفَصۡلِ مِيقَٰتُهُمۡ أَجۡمَعِينَ ٤٠Mazima olunaku lwokusalawo bonna kye kiseera kyabwe ekya balaganyisibwa يَوۡمَ لَا يُغۡنِي مَوۡلًى عَن مَّوۡلًى شَيۡـًٔا وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ ٤١Olunaku owomukwano lwa taligasa wa mukwano kintu kyonna, era bo tebagenda kudduukirirwa إِلَّا مَن رَّحِمَ ٱللَّهُۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ٤٢Okugyako oyo Katonda gwalisaasira anti mazima yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo إِنَّ شَجَرَتَ ٱلزَّقُّومِ ٤٣Mazima omuti (oguyitibwa) Zakkuumi طَعَامُ ٱلۡأَثِيمِ ٤٤Ye mmere ya bonoonyi كَٱلۡمُهۡلِ يَغۡلِي فِي ٱلۡبُطُونِ ٤٥(Obubi bwagwo ng’omuntu agulidde) guli nga ekyuma ekisaanuuse, gulyeserera mu mbuto (z’abaligulya) كَغَلۡيِ ٱلۡحَمِيمِ ٤٦Nga okwesera kwa mazzi agakyamuse خُذُوهُ فَٱعۡتِلُوهُ إِلَىٰ سَوَآءِ ٱلۡجَحِيمِ ٤٧(Olwo nno Katonda aliragira ba Malayika nti) mumukwate (omwonoonyi) olwo nno mu muwalule mu mukasuke mu makkati g’omuliro Jahiimu ثُمَّ صُبُّواْ فَوۡقَ رَأۡسِهِۦ مِنۡ عَذَابِ ٱلۡحَمِيمِ ٤٨Oluvanyuma mufukirire waggulu ku mutwegwe ekibonerezo eky’amazzi ageeseze (agogeddwako) ذُقۡ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡكَرِيمُ ٤٩(Bali mugamba) loza (ku kibonerezo anti) mazima ddala gwe gwe wamanyi owekitiibwa (nga bamukudaalira) إِنَّ هَٰذَا مَا كُنتُم بِهِۦ تَمۡتَرُونَ ٥٠Mazima kino kyekyo kye mwali mutankana إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي مَقَامٍ أَمِينٍ ٥١Mazima abatya (Katonda) baliba mu kifo ekyeddembe فِي جَنَّٰتٍ وَعُيُونٍ ٥٢Baliba mu malimiro n’amazzi ag'ensulo يَلۡبَسُونَ مِن سُندُسٍ وَإِسۡتَبۡرَقٍ مُّتَقَٰبِلِينَ ٥٣Baliyambala engoye ezaliiri omuwewufu n’omuzito, nga batudde batunuuliganye كَذَٰلِكَ وَزَوَّجۡنَٰهُم بِحُورٍ عِينٍ ٥٤Bwekityo (bwe kiriba) era tuli bafumbiza ababeezi ab’amaaso amanene يَدۡعُونَ فِيهَا بِكُلِّ فَٰكِهَةٍ ءَامِنِينَ ٥٥Balisaba nga bali mu yo buli kibala nga bali mirembe لَا يَذُوقُونَ فِيهَا ٱلۡمَوۡتَ إِلَّا ٱلۡمَوۡتَةَ ٱلۡأُولَىٰۖ وَوَقَىٰهُمۡ عَذَابَ ٱلۡجَحِيمِ ٥٦Nga bali mu yo tebalikomba ku kufa nga ogyeko okufa okwasooka, era ali bawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu فَضۡلًا مِّن رَّبِّكَۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ ٥٧(Byonna) nga bigabwa ebiva ewa Mukama omulabirizi wo, okwo kwe kwesiima okusuffu فَإِنَّمَا يَسَّرۡنَٰهُ بِلِسَانِكَ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ ٥٨Era ddala twagyanguya (Kur’ani) ku lulimi lwo babe nga bebuulira (nayo) فَٱرۡتَقِبۡ إِنَّهُم مُّرۡتَقِبُونَ ٥٩Kale lindirira mazima ddala bo balindiridde

Translation: Fareeq Musa.