Millat al-Islam

Chapter 29 · 69 verses · Fareeq Musa

Surah Al-Ankabut in Ganda

Arabic with tafsir Listen to Surah Al-Ankabut (1201 reciters)

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

الٓمٓ ١Alif Laam Miim أَحَسِبَ ٱلنَّاسُ أَن يُتۡرَكُوٓاْ أَن يَقُولُوٓاْ ءَامَنَّا وَهُمۡ لَا يُفۡتَنُونَ ٢Abaffe abantu basuubira okulekebwa babe nga bagamba nti tukkirizza nga nabo tebagezesebwa وَلَقَدۡ فَتَنَّا ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۖ فَلَيَعۡلَمَنَّ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ صَدَقُواْ وَلَيَعۡلَمَنَّ ٱلۡكَٰذِبِينَ ٣Mazima twagezesa abo abaabakulembera, Katonda ajja kumanyira ddala abo ab'esimbu (mu bukkiriza bwa bwe) era ajja kumanyira ddala abalimba أَمۡ حَسِبَ ٱلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلسَّيِّـَٔاتِ أَن يَسۡبِقُونَاۚ سَآءَ مَا يَحۡكُمُونَ ٤Oba abo abakola ebibi basuubira nti bayinza okutulemesa (ne tutababonereza), balamula bubi مَن كَانَ يَرۡجُواْ لِقَآءَ ٱللَّهِ فَإِنَّ أَجَلَ ٱللَّهِ لَأٓتٍۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ٥Oyo yenna asuubira okusisinkana Katonda mazima e kiseera kya Katonda (okumusisinkana) kijja, era yye ye muwulizi ennyo omumanyi ennyo وَمَن جَٰهَدَ فَإِنَّمَا يُجَٰهِدُ لِنَفۡسِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَغَنِيٌّ عَنِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٦Oyo yenna alafuubana (okuweereza Katonda) mazima yeelafuubanira ku lulwe mazima Katonda talina kye yeetaaga ku bitonde وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَنُكَفِّرَنَّ عَنۡهُمۡ سَيِّـَٔاتِهِمۡ وَلَنَجۡزِيَنَّهُمۡ أَحۡسَنَ ٱلَّذِي كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ٧Ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu ddala tugenda kubasangulako ebibi bya bwe, era tujja kubasasulira ddala ebirungi ebisinga bye baali bakola وَوَصَّيۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ بِوَٰلِدَيۡهِ حُسۡنًاۖ وَإِن جَٰهَدَاكَ لِتُشۡرِكَ بِي مَا لَيۡسَ لَكَ بِهِۦ عِلۡمٌ فَلَا تُطِعۡهُمَآۚ إِلَيَّ مَرۡجِعُكُمۡ فَأُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ٨Era twalaamira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, naye bwe bakuwaliriza obe nga ongattako ekyo kyotalinaako kumanya kwonna tobagonderanga, gyendi y'eri obuddo bwa mmwe olwo nno mbategeeze ebyo bye mwakolanga وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَنُدۡخِلَنَّهُمۡ فِي ٱلصَّٰلِحِينَ ٩Era abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi tujja kubayingiririza ddala mu balongoofu وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَقُولُ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ فَإِذَآ أُوذِيَ فِي ٱللَّهِ جَعَلَ فِتۡنَةَ ٱلنَّاسِ كَعَذَابِ ٱللَّهِۖ وَلَئِن جَآءَ نَصۡرٌ مِّن رَّبِّكَ لَيَقُولُنَّ إِنَّا كُنَّا مَعَكُمۡۚ أَوَلَيۡسَ ٱللَّهُ بِأَعۡلَمَ بِمَا فِي صُدُورِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ١٠Mu bantu mulimu agamba nti nzikirizza Katonda naye bwayisibwa obubi ku lwa Katonda afuula okunyigiriza kwa bantu nga e bibonerezo bya Katonda, wabula singa okutaasa kwa Mukama omulabiriziwo kuba kuzze olwo nno bagambira ddala nti tubadde wamu nammwe, abaffe Katonda si y'asinga okumanya ebyo ebiri mu bifuba bye bitonde وَلَيَعۡلَمَنَّ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَلَيَعۡلَمَنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ ١١Katonda ajja kumanyira ddala abo abakkiriza era nga bwajja okumanyira ddala abannanfusi وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّبِعُواْ سَبِيلَنَا وَلۡنَحۡمِلۡ خَطَٰيَٰكُمۡ وَمَا هُم بِحَٰمِلِينَ مِنۡ خَطَٰيَٰهُم مِّن شَيۡءٍۖ إِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ ١٢Era abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza nti mugondere enkola yaffe olwo nno naffe twetikke ebibi bya mmwe so nga tebali bo ba kwetikka kintu kyonna mu bibi bya bwe, mazima bbo balimba وَلَيَحۡمِلُنَّ أَثۡقَالَهُمۡ وَأَثۡقَالًا مَّعَ أَثۡقَالِهِمۡۖ وَلَيُسۡـَٔلُنَّ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عَمَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ١٣Bagenda kwetikka emigugu gyabwe n'emigugu (emirala) awamu n'emigugu gyabwe, era ddala bagenda kubuuzibwa ku lunaku lw'enkomerero ku ebyo bye baatemereranga وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ فَلَبِثَ فِيهِمۡ أَلۡفَ سَنَةٍ إِلَّا خَمۡسِينَ عَامًا فَأَخَذَهُمُ ٱلطُّوفَانُ وَهُمۡ ظَٰلِمُونَ ١٤Mazima twatuma Nuuhu eri abantube naamala mu bo emyaka lukumi okugyako emyaka ataano, olwo nno amataba negabakwata nga nabo bali mu kweyisa bubi فَأَنجَيۡنَٰهُ وَأَصۡحَٰبَ ٱلسَّفِينَةِ وَجَعَلۡنَٰهَآ ءَايَةً لِّلۡعَٰلَمِينَ ١٥Netumuwonya n'abantu abaali mu lyato ne tukifuula kya kuyiga eri abantu وَإِبۡرَٰهِيمَ إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱتَّقُوهُۖ ذَٰلِكُمۡ خَيۡرٌ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ١٦Era (babuulire) ekyafaayo kya Ibrahim bwe yagamba abantube nti musinze Katonda era mumutye ekyo kye kirungi gye muli bwe muba nga mumanyi إِنَّمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡثَٰنًا وَتَخۡلُقُونَ إِفۡكًاۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَا يَمۡلِكُونَ لَكُمۡ رِزۡقًا فَٱبۡتَغُواْ عِندَ ٱللَّهِ ٱلرِّزۡقَ وَٱعۡبُدُوهُ وَٱشۡكُرُواْ لَهُۥٓۖ إِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ١٧Mazima musinza amasanamu ne muleka Katonda ne mussaawo obulimba, mazima abo be musinza ne muleka Katonda tebafuga riziki yammwe n'olwekyo ewa Katonda gye muba munoonya riziki, mumusinze era mumwebaze gyali gye mulizzibwa وَإِن تُكَذِّبُواْ فَقَدۡ كَذَّبَ أُمَمٌ مِّن قَبۡلِكُمۡۖ وَمَا عَلَى ٱلرَّسُولِ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ ١٨Bwe munaalimbisa, mazima ebibiina bingi byalimbisa oluberyeberye lwa mmwe, ate omubaka tavunaanyizibwa okugyako okutuusa (obubaka) okweyolefu أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ كَيۡفَ يُبۡدِئُ ٱللَّهُ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥٓۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٌ ١٩Abaffe tebalaba engeri Katonda gy'atandikamu ebitonde (ne bivaawo) oluvanyuma n'abizzaawo mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda قُلۡ سِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ بَدَأَ ٱلۡخَلۡقَۚ ثُمَّ ٱللَّهُ يُنشِئُ ٱلنَّشۡأَةَ ٱلۡأٓخِرَةَۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ قَدِيرٌ ٢٠Bagambe (ggwe Muhammad) nti mutambule mu nsi mulabe engeri gye yatandika ebitonde ate Katonda agenda kusibula olusibula olw'enkomerero, mazima Katonda muyinza ku buli kintu يُعَذِّبُ مَن يَشَآءُ وَيَرۡحَمُ مَن يَشَآءُۖ وَإِلَيۡهِ تُقۡلَبُونَ ٢١Abonereza oyo gwaba ayagadde era n'asaasira oyo gwaba ayagadde era gyali gye mulikyusibwa okudda وَمَآ أَنتُم بِمُعۡجِزِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِي ٱلسَّمَآءِۖ وَمَا لَكُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ مِن وَلِيٍّ وَلَا نَصِيرٍ ٢٢Ate mmwe ku nsi ne mu ggulu temusobola kulemesa (Katonda) ate nga oggyeeko Katonda temusobola kufuna mukuumi wadde omutaasa وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَلِقَآئِهِۦٓ أُوْلَٰٓئِكَ يَئِسُواْ مِن رَّحۡمَتِي وَأُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ ٢٣Abo abawakanya ebigambo bya Katonda n'okumusisinkana abo baakutuka n'okusuubira okusaasira kwange era abo balina ebibonerezo e biruma ennyo فَمَا كَانَ جَوَابَ قَوۡمِهِۦٓ إِلَّآ أَن قَالُواْ ٱقۡتُلُوهُ أَوۡ حَرِّقُوهُ فَأَنجَىٰهُ ٱللَّهُ مِنَ ٱلنَّارِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٍ لِّقَوۡمٍ يُؤۡمِنُونَ ٢٤Okwanukula kwa bantube tekwali okugyako okugamba nti: mumutte oba mumwokye awo nno Katonda naamuwonya omuliro, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda eri abantu abakkiriza وَقَالَ إِنَّمَا ٱتَّخَذۡتُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡثَٰنًا مَّوَدَّةَ بَيۡنِكُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ ثُمَّ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يَكۡفُرُ بَعۡضُكُم بِبَعۡضٍ وَيَلۡعَنُ بَعۡضُكُم بَعۡضًا وَمَأۡوَىٰكُمُ ٱلنَّارُ وَمَا لَكُم مِّن نَّٰصِرِينَ ٢٥(Ibrahim) naabagamba nti mulese Katonda ne mweteerawo ebifaananyi olw'enkolagana eri wakati wa mmwe mu bulamu bw'ensi, oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero abamu bagenda kwegaana bannaabwe era abamu bakolimire bannaabwe, nga n'obuddo bwa mmwe muliro, temuliba na bataasa (babadduukirira) ۞ فَـَٔامَنَ لَهُۥ لُوطٌۘ وَقَالَ إِنِّي مُهَاجِرٌ إِلَىٰ رَبِّيٓۖ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ٢٦Olwo nno Luutu naamukkiriza era naagamba nti mazima nze ngenda kusenguka nzire ewa Mukama omulabirizi wange, mazima yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ وَجَعَلۡنَا فِي ذُرِّيَّتِهِ ٱلنُّبُوَّةَ وَٱلۡكِتَٰبَ وَءَاتَيۡنَٰهُ أَجۡرَهُۥ فِي ٱلدُّنۡيَاۖ وَإِنَّهُۥ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ لَمِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ ٢٧Era (Ibrahim) ne tumugabira Ishaaka ne Yakub era netussa mu zzadderye obwa Nabbi n'ebitabo (Taurat, Zaburi, Injiiri, Kur’ani) era twamuwa empeeraye ku nsi era mazima yye ku nkomerero wa mu bakozi ba bulungi وَلُوطًا إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِۦٓ إِنَّكُمۡ لَتَأۡتُونَ ٱلۡفَٰحِشَةَ مَا سَبَقَكُم بِهَا مِنۡ أَحَدٍ مِّنَ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٢٨Era (bajjukize) Luutu bwe yagamba abantube nti mazima mmwe mukola ekivve awatabanga muntu n'omu yakibasookako أَئِنَّكُمۡ لَتَأۡتُونَ ٱلرِّجَالَ وَتَقۡطَعُونَ ٱلسَّبِيلَ وَتَأۡتُونَ فِي نَادِيكُمُ ٱلۡمُنكَرَۖ فَمَا كَانَ جَوَابَ قَوۡمِهِۦٓ إِلَّآ أَن قَالُواْ ٱئۡتِنَا بِعَذَابِ ٱللَّهِ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ ٢٩Mazima mmwe mudda ku basajja mu kifo ky'abakyala (ne mulya ebisiyaga) ne mukutula amakubo (ku bantu nga mubateega), ne mukola e bitasaana mu bifo bya mmwe wemukunganira. Okwanukula kw'abantube tekwali okugyako okugamba nti tuleetere ebibonerezo bya Katonda bwoba nga oli mu boogera amazima قَالَ رَبِّ ٱنصُرۡنِي عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡمُفۡسِدِينَ ٣٠(Luutu) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku bantu abOonoonyi وَلَمَّا جَآءَتۡ رُسُلُنَآ إِبۡرَٰهِيمَ بِٱلۡبُشۡرَىٰ قَالُوٓاْ إِنَّا مُهۡلِكُوٓاْ أَهۡلِ هَٰذِهِ ٱلۡقَرۡيَةِۖ إِنَّ أَهۡلَهَا كَانُواْ ظَٰلِمِينَ ٣١Ababaka baffe (ba Malayika) bwe bajja ewa Ibrahim nga bamuleetedde amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala omwana Ishaka) baagamba nti mazima ffe (bwe tuva wano) tugenda kuzikiriza abantu b'omu kitundu kiri mazima abantu baamu babadde beeyisa bubi قَالَ إِنَّ فِيهَا لُوطًاۚ قَالُواْ نَحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَن فِيهَاۖ لَنُنَجِّيَنَّهُۥ وَأَهۡلَهُۥٓ إِلَّا ٱمۡرَأَتَهُۥ كَانَتۡ مِنَ ٱلۡغَٰبِرِينَ ٣٢(Ibrahim) naagamba nti mazima mu kyo Luutu mwabeera, ne bagamba nti ffe tusinga okumanya abaliyo, ddala tujja kumuwonya n'abantube okugyako mukyalawe ali mu abo ab'okusigala وَلَمَّآ أَن جَآءَتۡ رُسُلُنَا لُوطًا سِيٓءَ بِهِمۡ وَضَاقَ بِهِمۡ ذَرۡعًاۖ وَقَالُواْ لَا تَخَفۡ وَلَا تَحۡزَنۡ إِنَّا مُنَجُّوكَ وَأَهۡلَكَ إِلَّا ٱمۡرَأَتَكَ كَانَتۡ مِنَ ٱلۡغَٰبِرِينَ ٣٣Ababaka baffe bwe batuuka ewa Luutu yanakuwala ku lwab bwe, era naawulira nga talina maanyi ga kubataasa, ne bamugamba nti totya era tonakuwala, mazima ffe tujja kukuwonya n'abantubo okugyako mukyalawo yye wa mu abo abookusigala إِنَّا مُنزِلُونَ عَلَىٰٓ أَهۡلِ هَٰذِهِ ٱلۡقَرۡيَةِ رِجۡزًا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ بِمَا كَانُواْ يَفۡسُقُونَ ٣٤Mazima ffe tugenda kussa ku bantu b'ekitundu kino e bibonerezo okuva mu ggulu olw'ebyo bye baali boonoona وَلَقَد تَّرَكۡنَا مِنۡهَآ ءَايَةَۢ بَيِّنَةً لِّقَوۡمٍ يَعۡقِلُونَ ٣٥Era mazima olw'ekikolwa ekyo twaleka a kabonero ak'enkukunala eri abantu abategeera وَإِلَىٰ مَدۡيَنَ أَخَاهُمۡ شُعَيۡبًا فَقَالَ يَٰقَوۡمِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱرۡجُواْ ٱلۡيَوۡمَ ٱلۡأٓخِرَ وَلَا تَعۡثَوۡاْ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُفۡسِدِينَ ٣٦Era (jjukira) bwe twatumira abantu be Madiyana Muganda waabwe Swaibu naagamba nti abange abantu bange musinze Katonda, era mususubire (okusasulwa ku) lunaku lw'enkomerero, temukola ebikyamu mu nsi ne muba aboonoonyi فَكَذَّبُوهُ فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلرَّجۡفَةُ فَأَصۡبَحُواْ فِي دَارِهِمۡ جَٰثِمِينَ ٣٧Baamulimbisa olwo nno olubwatuka olw'amanyi ne lubatuukako ne bafuuka emirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe وَعَادًا وَثَمُودَاْ وَقَد تَّبَيَّنَ لَكُم مِّن مَّسَٰكِنِهِمۡۖ وَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَعۡمَٰلَهُمۡ فَصَدَّهُمۡ عَنِ ٱلسَّبِيلِ وَكَانُواْ مُسۡتَبۡصِرِينَ ٣٨Era (Jjukira) ebyatuuka ku bantu b'ekika kya A’di ne Thamud, mazima ebibakwatako bimanyiddwa gye muli okusinziira ku mayumba gaabwe nga bwe galabika kati, era Sitane yabanyiririza emirimu gya bwe emibi, olwo nno neebaggya ku kkubo so nga ate baali balaba (olwa ba Nabbi be baali bafunye) وَقَٰرُونَ وَفِرۡعَوۡنَ وَهَٰمَٰنَۖ وَلَقَدۡ جَآءَهُم مُّوسَىٰ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَٱسۡتَكۡبَرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا كَانُواْ سَٰبِقِينَ ٣٩Era jjukira Karuna ne Firaawo ne Haamaan, mazima Musa yabajjira n'obunnyonnyofu naye ne beekuluntaliza mu nsi era tebaali ba kusimattuka فَكُلًّا أَخَذۡنَا بِذَنۢبِهِۦۖ فَمِنۡهُم مَّنۡ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِ حَاصِبًا وَمِنۡهُم مَّنۡ أَخَذَتۡهُ ٱلصَّيۡحَةُ وَمِنۡهُم مَّنۡ خَسَفۡنَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ وَمِنۡهُم مَّنۡ أَغۡرَقۡنَاۚ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيَظۡلِمَهُمۡ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ ٤٠Buli omu twamuvunaana olw'ekibikye, mu bo mulimu betwasindikira empewo eya mayinja, ate mu bo mulimu abaatuukwako okubwatuka, era mu bo mulimu betwamiza ettaka era mu bo mulimu be twazikiriza mu mazzi naye Katonda tabangako waakubalyazaamaanya wabula bennyini be beeyisa obubi مَثَلُ ٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡلِيَآءَ كَمَثَلِ ٱلۡعَنكَبُوتِ ٱتَّخَذَتۡ بَيۡتًاۖ وَإِنَّ أَوۡهَنَ ٱلۡبُيُوتِ لَبَيۡتُ ٱلۡعَنكَبُوتِۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ٤١Ekifaananyi ky'abo abeeteerawo abataasa ne baleka Katonda, balinga nabbubi eyeezimbira e nyumba ate ng'enyumba esinga obunafu y’enyumba ya nabbubi singa baali bamanyi إِنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ مِن شَيۡءٍۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ٤٢Mazima Katonda amanyi nti bye basaba ne bamulekawo tebiriimu kantu, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga وَتِلۡكَ ٱلۡأَمۡثَٰلُ نَضۡرِبُهَا لِلنَّاسِۖ وَمَا يَعۡقِلُهَآ إِلَّا ٱلۡعَٰلِمُونَ ٤٣Era ebyo ebifaananyi tubikubira abantu naye tebabitegeera okugyako abamanyi خَلَقَ ٱللَّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةً لِّلۡمُؤۡمِنِينَ ٤٤Katonda yatonda eggulu omusanvu, n'ensi mu ngeri entuufu, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga eri abakkiriza ٱتۡلُ مَآ أُوحِيَ إِلَيۡكَ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَۖ إِنَّ ٱلصَّلَوٰةَ تَنۡهَىٰ عَنِ ٱلۡفَحۡشَآءِ وَٱلۡمُنكَرِۗ وَلَذِكۡرُ ٱللَّهِ أَكۡبَرُۗ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تَصۡنَعُونَ ٤٥Soma ebyo ebitumiddwa gyoli ebiri mu kitabo (Kur’ani) era yimirizaawo e sswala, mazima e sswala erobera okukola eby'obuwemu n'empisa embi, era okutendereza Katonda kye kisinga obukulu, era Katonda amanyi bye mukola

Juz 21

۞ وَلَا تُجَٰدِلُوٓاْ أَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ إِلَّا بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ إِلَّا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنۡهُمۡۖ وَقُولُوٓاْ ءَامَنَّا بِٱلَّذِيٓ أُنزِلَ إِلَيۡنَا وَأُنزِلَ إِلَيۡكُمۡ وَإِلَٰهُنَا وَإِلَٰهُكُمۡ وَٰحِدٌ وَنَحۡنُ لَهُۥ مُسۡلِمُونَ ٤٦Era temuwakananga ne ba nannyini Kitabo okugyako nga mukozesa amakubo agasinga obulungi, okugyako ku abo abeeyisa obubi mu bo era mugambe nti (ffe) tukkirizza ekyo ekyassibwa gye tuli ne kyassibwa gye muli, nga Katonda waffe era Katonda wa mmwe ali omu, nga naffe fenna yye yekka gwe tweewa وَكَذَٰلِكَ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَۚ فَٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يُؤۡمِنُونَ بِهِۦۖ وَمِنۡ هَٰٓؤُلَآءِ مَن يُؤۡمِنُ بِهِۦۚ وَمَا يَجۡحَدُ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَّا ٱلۡكَٰفِرُونَ ٤٧Era bwe tutyo twassa gyoli ekitabo (Kur’ani) abo betwawa ekitabo (nga tetunnakuwa Kur’ani) bagikkiriza ne mu abo (Abawarabu be Makkah), mulimu abo abagikkiriza era tewali awakanya bigambo byeffe (ebiri mu Kur’ani) okugyako abakafiiri وَمَا كُنتَ تَتۡلُواْ مِن قَبۡلِهِۦ مِن كِتَٰبٍ وَلَا تَخُطُّهُۥ بِيَمِينِكَۖ إِذًا لَّٱرۡتَابَ ٱلۡمُبۡطِلُونَ ٤٨(Ebimu ku bya magerobyo) kwe kuba nti ggwe tosomangako kitabo kyonna oluberyeberye nga Kur’ani tennakuweebwa wadde okuwandiika n'omukonogwo ogwaddyo, singa si bwe kyali ddala aboonoonyi baali buusizzabuusizza بَلۡ هُوَ ءَايَٰتُۢ بَيِّنَٰتٌ فِي صُدُورِ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَۚ وَمَا يَجۡحَدُ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَّا ٱلظَّٰلِمُونَ ٤٩Wabula (ekituufu kiri nti) Kur’ani bigambo bya (Katonda) ebinnyonnyofu, eri mu bifuba byaabo abaaweebwa okumanya tewali awakanya bigambo byaffe (ebiri mu Kur’ani) okugyako abeeyisa obubi وَقَالُواْ لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡهِ ءَايَٰتٌ مِّن رَّبِّهِۦۚ قُلۡ إِنَّمَا ٱلۡأٓيَٰتُ عِندَ ٱللَّهِ وَإِنَّمَآ أَنَا۠ نَذِيرٌ مُّبِينٌ ٥٠(Abagatta ku Katonda e bintu e birala) bagamba nti singa (Muhammad) aweereddwa obubonero okuva ewa Mukama omulabiriziwe, bagambe nti mazima obubonero bwa Katonda, naye mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu أَوَلَمۡ يَكۡفِهِمۡ أَنَّآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ يُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَرَحۡمَةً وَذِكۡرَىٰ لِقَوۡمٍ يُؤۡمِنُونَ ٥١Abaffe tekibamala okuba nti twakuwa ekitabo ekibasomerwa, nga mulimu okusaasira n'okubuulirira eri abantu abakkiriza قُلۡ كَفَىٰ بِٱللَّهِ بَيۡنِي وَبَيۡنَكُمۡ شَهِيدًاۖ يَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱلۡبَٰطِلِ وَكَفَرُواْ بِٱللَّهِ أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ ٥٢Bagambe nti kimala wakati wange na mmwe okubeera nga Katonda ye mujulizi (akakasa nti ndi mubakawe), Katonda y'amanyi ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, naye abo abakkiriza ebitali bituufu ne bawakanya Katonda abo nno be b'okufaafaaganirwa وَيَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلۡعَذَابِ وَلَوۡلَآ أَجَلٌ مُّسَمًّى لَّجَآءَهُمُ ٱلۡعَذَابُۚ وَلَيَأۡتِيَنَّهُم بَغۡتَةً وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ ٥٣Bakusaba (mu ngeri y'olujereegerero) obanguyize ebibonerezo, singa tewaaliwo kiseera kigere bibonerezo byandibajjidde (awo we baalibadde babisabidde) era ddala e bibonerezo bya kubajjira kibwatukira nga nabo tebategedde يَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلۡعَذَابِ وَإِنَّ جَهَنَّمَ لَمُحِيطَةُۢ بِٱلۡكَٰفِرِينَ ٥٤Bakusaba obanguyirize e bibonerezo (naye mazima tebamanyi) nti mazima omuliro Jahannama ddala gulitaayiza abakaafiiri يَوۡمَ يَغۡشَىٰهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِن فَوۡقِهِمۡ وَمِن تَحۡتِ أَرۡجُلِهِمۡ وَيَقُولُ ذُوقُواْ مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ٥٥Ku lunaku e bibonerezo lwe biribatuukako nga biva waggulu ne wansi w'ebigere bya bwe, era Katonda abagambe nti mukombe ku bukaawu bw'ebyo bye mwali mukola يَٰعِبَادِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِنَّ أَرۡضِي وَٰسِعَةٌ فَإِيَّٰيَ فَٱعۡبُدُونِ ٥٦Abange mmwe abaddu bange abakkiriza (bwe muba nga muli mu kunyigirizibwa) mazima ensi yange ngazi (musenguke munsinzize awalala), era nze nzekka nze gwe muba musinza كُلُّ نَفۡسٍ ذَآئِقَةُ ٱلۡمَوۡتِۖ ثُمَّ إِلَيۡنَا تُرۡجَعُونَ ٥٧Buli mwoyo gwonna gwa gukomba ku kufa, oluvanyuma gye tuli gye mujja okuzzibwa وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَنُبَوِّئَنَّهُم مِّنَ ٱلۡجَنَّةِ غُرَفًا تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ نِعۡمَ أَجۡرُ ٱلۡعَٰمِلِينَ ٥٨Era abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu tujja kubawa ebisenge eby'awaggulu mu jjana nga emigga gikulukutira wansi waabyo, baakubeera mu byo olubeerera (ebyo) birungi nnyo okuba nga y'empeera ya bakola obulungi ٱلَّذِينَ صَبَرُواْ وَعَلَىٰ رَبِّهِمۡ يَتَوَكَّلُونَ ٥٩Abo abagumiikiriza era nga beesiga Katonda waabwe وَكَأَيِّن مِّن دَآبَّةٍ لَّا تَحۡمِلُ رِزۡقَهَا ٱللَّهُ يَرۡزُقُهَا وَإِيَّاكُمۡۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ٦٠Bimeka ebiramu ebitambula nga tebisobola kwetikka riziki yaabyo nga Katonda yekka y'abigabirira nammwe (abantu y'abgabirira) era nga yye (Katonda) ye muwulizi omumanyi ennyo وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۖ فَأَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ ٦١Abakaafiiri bwoba nga obabuuzizza nti ani eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'agonza e njuba n'omwezi? bajja kukugambira ddala nti Katonda, ate olwo bakyusibwa batya okuva ku mazima ٱللَّهُ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ وَيَقۡدِرُ لَهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٌ ٦٢Katonda agaziya ebyenfuna eri omuntu gwaba ayagadde mu baddube ate naafundiza oyo gwaba (ayagadde), mazima Katonda ku buli kintu mumanyi nnyo وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّن نَّزَّلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءً فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ مِنۢ بَعۡدِ مَوۡتِهَا لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۚ قُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡقِلُونَ ٦٣Era bwobabuuza nti ani assa amazzi okuva waggulu n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okufa kwayo? ddala bajja kugamba nti Katonda, gamba nti okutenderezebwa kwa Katonda wabula abasinga obungi mu bo tebategeera وَمَا هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَآ إِلَّا لَهۡوٌ وَلَعِبٌۚ وَإِنَّ ٱلدَّارَ ٱلۡأٓخِرَةَ لَهِيَ ٱلۡحَيَوَانُۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ٦٤Obulamu buno obw'ensi tebuli okugyako okuba eby'amasanyu era eby'omuzannyo era mazima e nyumba ey'enkomerero yo bwe bulamu obwa nnamaddala singa baali bamanyi فَإِذَا رَكِبُواْ فِي ٱلۡفُلۡكِ دَعَوُاْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ فَلَمَّا نَجَّىٰهُمۡ إِلَى ٱلۡبَرِّ إِذَا هُمۡ يُشۡرِكُونَ ٦٥Bwe baba basaabalidde mu maato basaba Katonda, ng'ekyo bakikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya naabatuusa ku lukalu, olwo ate ne bamugattako ebintu ebirala لِيَكۡفُرُواْ بِمَآ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ وَلِيَتَمَتَّعُواْۚ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ ٦٦Kale baleke beewakane bye twabawa era beeyagale, lumu balimanya أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا جَعَلۡنَا حَرَمًا ءَامِنًا وَيُتَخَطَّفُ ٱلنَّاسُ مِنۡ حَوۡلِهِمۡۚ أَفَبِٱلۡبَٰطِلِ يُؤۡمِنُونَ وَبِنِعۡمَةِ ٱللَّهِ يَكۡفُرُونَ ٦٧Abaffe tebalaba nti mazima ffe twafuula e kibuga (Makkah) eky'emizizo, e kitundu e ky'emirembe, naye ng'abantu basikulwa mu bifo ebibeetoolodde. Abaffe ebikyamu bye bakkiriza ate ne bawakanya ebyengera bya Katonda وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَوۡ كَذَّبَ بِٱلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُۥٓۚ أَلَيۡسَ فِي جَهَنَّمَ مَثۡوًى لِّلۡكَٰفِرِينَ ٦٨Era ani mubi okusinga oyo atemerera obulimba ku Katonda oba naalimbisa amazima bwe gaba gamujjidde abaffe mu jahannama temuli kifo kya bakaafiiri وَٱلَّذِينَ جَٰهَدُواْ فِينَا لَنَهۡدِيَنَّهُمۡ سُبُلَنَاۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَمَعَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ٦٩N'abo abalafuubana mu kutuweereza, ddala tujja kubalungamya ku makubo gaffe, era mazima Katonda ali wamu n'abalongoosa

Translation: Fareeq Musa.