بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمُدَّثِّرُ ١Owange ggwe eyeebikiridde (olwokutya Malayika Jiburilu lwe yakuleetera obubaka okuva eri Katonda) قُمۡ فَأَنذِرۡ ٢Golokoka otiise abantu ebibonerezo bya Katonda وَرَبَّكَ فَكَبِّرۡ ٣Ne Mukama Katondawo yekka gwoba ogulumiza وَثِيَابَكَ فَطَهِّرۡ ٤N'engoyezo zitukuze وَٱلرُّجۡزَ فَٱهۡجُرۡ ٥Amasanamu geewalire ddala وَلَا تَمۡنُن تَسۡتَكۡثِرُ ٦Tokoleranga abantu obulungi ng'ogenderera kufunamu bulungi kuno ku nsi وَلِرَبِّكَ فَٱصۡبِرۡ ٧Beeranga mugumikiriza osobole okufuna okusiima kwa Mukama Katondawo فَإِذَا نُقِرَ فِي ٱلنَّاقُورِ ٨Engombe bwerifuuyibwa (kulwokuzuukira) فَذَٰلِكَ يَوۡمَئِذٍ يَوۡمٌ عَسِيرٌ ٩Olunaku olwo lugenda kuba lunaku luzito عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ غَيۡرُ يَسِيرٍ ١٠Terugenda kuba lwangu eri abakafiiri ذَرۡنِي وَمَنۡ خَلَقۡتُ وَحِيدًا ١١(Owange ggwe Nabbi Muhammad) ndeka nooyo gwe nnetondera وَجَعَلۡتُ لَهُۥ مَالًا مَّمۡدُودًا ١٢Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu وَبَنِينَ شُهُودًا ١٣Nemuwa nabaana abatutumufu وَمَهَّدتُّ لَهُۥ تَمۡهِيدًا ١٤Ne mugaziyiriza olugaziya (e byenfuna obukulembeze n'ekitiibwa) ثُمَّ يَطۡمَعُ أَنۡ أَزِيدَ ١٥Oluvanyuma alulunkanira okumwongera okusingako awo كـَلَّآۖ إِنَّهُۥ كَانَ لِأٓيَٰتِنَا عَنِيدًا ١٦Nedda sijja kumwongera kuba yawakanya ebigambo byaffe (Kur'ani) سَأُرۡهِقُهُۥ صَعُودًا ١٧Nja kumussaako e bibonerezo e bizito إِنَّهُۥ فَكَّرَ وَقَدَّرَ ١٨Anti mazima yye (Al Walid bin Mugiira) yalowooza era naasalawo okuvvoola Kur'ani فَقُتِلَ كَيۡفَ قَدَّرَ ١٩Nakolimirwa okusinziira ku ngeri gyeyasalawo ثُمَّ قُتِلَ كَيۡفَ قَدَّرَ ٢٠Era ddala yakolimirwa ku ngeri gyeyasalawo ثُمَّ نَظَرَ ٢١Oluvanyuma yakirowozaako ثُمَّ عَبَسَ وَبَسَرَ ٢٢Olwo nno ne yeekaba najja emitaafu ثُمَّ أَدۡبَرَ وَٱسۡتَكۡبَرَ ٢٣Ne kyaddirira ebituufu yabivaako neyekuluntaza فَقَالَ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٌ يُؤۡثَرُ ٢٤Olwo nno n'alangirira nti e bigambo bya Muhammad temuli wabula ddogo erijjibwa ku balogo abasooka إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا قَوۡلُ ٱلۡبَشَرِ ٢٥Era byayogera tebisukka ku kuba bigambo bya muntu سَأُصۡلِيهِ سَقَرَ ٢٦(Katonda naagamba nti:) nja kumuyingiza omuliro Sakara وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا سَقَرُ ٢٧Naye omanyi Sakara kyeki لَا تُبۡقِي وَلَا تَذَرُ ٢٨Gwo muliro ogutagenda kulekawo kintu wadde okukitaliza لَوَّاحَةٌ لِّلۡبَشَرِ ٢٩Gwokera ddala negusiriiza eddiba lyomuntu عَلَيۡهَا تِسۡعَةَ عَشَرَ ٣٠Gukuumibwa ba Malayika kkumi na mwenda وَمَا جَعَلۡنَآ أَصۡحَٰبَ ٱلنَّارِ إِلَّا مَلَٰٓئِكَةًۖ وَمَا جَعَلۡنَا عِدَّتَهُمۡ إِلَّا فِتۡنَةً لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ لِيَسۡتَيۡقِنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَيَزۡدَادَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِيمَٰنًا وَلَا يَرۡتَابَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَلِيَقُولَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٌ وَٱلۡكَٰفِرُونَ مَاذَآ أَرَادَ ٱللَّهُ بِهَٰذَا مَثَلًاۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ ٱللَّهُ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَمَا يَعۡلَمُ جُنُودَ رَبِّكَ إِلَّا هُوَۚ وَمَا هِيَ إِلَّا ذِكۡرَىٰ لِلۡبَشَرِ ٣١Ate omulimu gwokukuuma omuliro tetwaguwa okugyako ba Malayika, era omuwendo gwabwe tetwaguteekawo okugyako nga kikemo eri abatakkiriza Katonda, so nga abo abaweebwa ekitabo ekyo kibongera kukakasa (ebyo bye baalina), ate bo abakkiriza (abagoberezi ba Nabbi Muhammad) kyongera kunyweza bukkiriza bwabwe, era abaweebwa ekitabo n'abakkiriza babe nga tebasigalamu kakunkuna, wabula nga (abanafunsi) abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abatakkiriza bagamba nti Katonda kiki kyagenderera mu kifananyi kino, bwatyo nno Katonda abuza nalungamya oyo gwaba ayagadde, ate tewali amanyi ggye lya Mukama Katondawo okugyako yye, ebyo byonna ebyogeddwa tewali kibigendererwamu okugyako okubuulirira omuntu كـَلَّا وَٱلۡقَمَرِ ٣٢Nedda (tekiri ng'abantu abamu bwe balowooza), mazima ndayidde omwezi وَٱلَّيۡلِ إِذۡ أَدۡبَرَ ٣٣Ne ndayira n'ekiro mu kiseera we kiggwerako وَٱلصُّبۡحِ إِذَآ أَسۡفَرَ ٣٤Ne ndayira n'amakya ngabusasaana إِنَّهَا لَإِحۡدَى ٱلۡكُبَرِ ٣٥Mazima ggwo (omuliro Sakara) kye kimu ku binene نَذِيرًا لِّلۡبَشَرِ ٣٦Ebyandibadde bibuulirira omuntu لِمَن شَآءَ مِنكُمۡ أَن يَتَقَدَّمَ أَوۡ يَتَأَخَّرَ ٣٧Eri oyo aba ayagadde mu mmwe okudda eri Katondawe oba okumwesamba كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا كَسَبَتۡ رَهِينَةٌ ٣٨Buli muntu agenda kubeera musingo gwa mirimugye إِلَّآ أَصۡحَٰبَ ٱلۡيَمِينِ ٣٩Okugyako abo abalibeera ku mukono ogwaddyo فِي جَنَّٰتٍ يَتَسَآءَلُونَ ٤٠Bagenda kubeera mu jjana nga babuuza ebifa عَنِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ٤١Ku bonoonyi مَا سَلَكَكُمۡ فِي سَقَرَ ٤٢Nga babagamba nti ki ekibayingizza omuliro قَالُواْ لَمۡ نَكُ مِنَ ٱلۡمُصَلِّينَ ٤٣Baligamba nti tetubangako mu basaaze وَلَمۡ نَكُ نُطۡعِمُ ٱلۡمِسۡكِينَ ٤٤Era tetwaliisanga banaku وَكُنَّا نَخُوضُ مَعَ ٱلۡخَآئِضِينَ ٤٥Twabeeranga nabakubi bambekuulo وَكُنَّا نُكَذِّبُ بِيَوۡمِ ٱلدِّينِ ٤٦Era twali tulimbisa olunaku lw'enkomerero حَتَّىٰٓ أَتَىٰنَا ٱلۡيَقِينُ ٤٧Okutuusa okufa lw'ekwatutuukako فَمَا تَنفَعُهُمۡ شَفَٰعَةُ ٱلشَّٰفِعِينَ ٤٨Kale tebagenda kuganyulwa mu kuwolereza kwa bawolereza فَمَا لَهُمۡ عَنِ ٱلتَّذۡكِرَةِ مُعۡرِضِينَ ٤٩Kakano kiki ekibaddusa okuva ku kubuulirira kwa (Kur'ani kuno) كَأَنَّهُمۡ حُمُرٌ مُّسۡتَنفِرَةٌ ٥٠Nga balinga entulege ezigobeddwa فَرَّتۡ مِن قَسۡوَرَةِۭ ٥١Ezidduka e mpologoma بَلۡ يُرِيدُ كُلُّ ٱمۡرِيٍٕ مِّنۡهُمۡ أَن يُؤۡتَىٰ صُحُفًا مُّنَشَّرَةً ٥٢Wabula buli omu mubo ayagala aweebwe ebiwandiiko ebibikuddwa كـَلَّاۖ بَل لَّا يَخَافُونَ ٱلۡأٓخِرَةَ ٥٣Nedda ekituufu kiri nti bbo tebakkiriza nkomerero كـَلَّآ إِنَّهُۥ تَذۡكِرَةٌ ٥٤Mazima ddala yo (Kur'ani) kyakubuulirira فَمَن شَآءَ ذَكَرَهُۥ ٥٥Oyo aba ayagadde yeebulirira nayo وَمَا يَذۡكُرُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ هُوَ أَهۡلُ ٱلتَّقۡوَىٰ وَأَهۡلُ ٱلۡمَغۡفِرَةِ ٥٦Wabula tebayinza kwebuulirira okugyako nga Katonda ayagadde, yye ye nanyini kutiibwa era ye nanyini kusonyiwa