بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
وَيۡلٌ لِّلۡمُطَفِّفِينَ ١Okuzikirira kuli ku abo abakendeeza ebipimo ٱلَّذِينَ إِذَا ٱكۡتَالُواْ عَلَى ٱلنَّاسِ يَسۡتَوۡفُونَ ٢Abo bwe baba nga beebapimirwa, basaba ebipimo byabwe bijjuzibwe وَإِذَا كَالُوهُمۡ أَو وَّزَنُوهُمۡ يُخۡسِرُونَ ٣So nga bwe baba nga be balengera abalala, oba be bapima, bakendeeza (ebipimo) أَلَا يَظُنُّ أُوْلَٰٓئِكَ أَنَّهُم مَّبۡعُوثُونَ ٤Abaffe tebakakasa nti mazima ddala baakuzuukizibwa لِيَوۡمٍ عَظِيمٍ ٥Ku lunaku oluzito (olw'enkomerero) يَوۡمَ يَقُومُ ٱلنَّاسُ لِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٦Olunaku abantu lwe baliyimirira mu maaso g'omulezi w’ebitonde كـَلَّآ إِنَّ كِتَٰبَ ٱلۡفُجَّارِ لَفِي سِجِّينٍ ٧Mazima ddala ebiwandiiko by’emirimu gy’aboonoonyi biri mu Sijjiin وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا سِجِّينٌ ٨Naye omanyi Sijjiin kye ki كِتَٰبٌ مَّرۡقُومٌ ٩Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebibi by’omuntu وَيۡلٌ يَوۡمَئِذٍ لِّلۡمُكَذِّبِينَ ١٠Okuzikirira ku lunaku olwo, kulibeera ku abo abalimbisa ٱلَّذِينَ يُكَذِّبُونَ بِيَوۡمِ ٱلدِّينِ ١١Abo abalimbisa olunaku lw’okusasulwa (olw’enkomerero) وَمَا يُكَذِّبُ بِهِۦٓ إِلَّا كُلُّ مُعۡتَدٍ أَثِيمٍ ١٢Tewali alimbisa lunaku olwo okugyako oyo asukka ensalo z’amateeka ga Katonda era omwonoonyi إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ءَايَٰتُنَا قَالَ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ١٣Bw’aba asomeddwa ebigambo byaffe (Kur'ani) agamba nti ebyo nfumo z’abaasooka كـَلَّاۖ بَلۡۜ رَانَ عَلَىٰ قُلُوبِهِم مَّا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ١٤Nedda, ssi bwekiri; wabula bye baali bakola byetuuma ku mitima gyabwe كـَلَّآ إِنَّهُمۡ عَن رَّبِّهِمۡ يَوۡمَئِذٍ لَّمَحۡجُوبُونَ ١٥Mazima ddala abatakkiriza ku lunaku olwo baakuziyizibwa okulaba Omulezi waabwe (Katonda) ثُمَّ إِنَّهُمۡ لَصَالُواْ ٱلۡجَحِيمِ ١٦Mazima ddala baakuyingira omuliro Jahiimu ثُمَّ يُقَالُ هَٰذَا ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ ١٧Oluvanyuma bagenda kugambibwa nti ekyo kye mwalimbisanga كـَلَّآ إِنَّ كِتَٰبَ ٱلۡأَبۡرَارِ لَفِي عِلِّيِّينَ ١٨Mazima ddala ebiwandiiko by’abakozi b’obulungi biri mu Illiyyiina وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا عِلِّيُّونَ ١٩Naye omanyi Illiyyiina kye ki كِتَٰبٌ مَّرۡقُومٌ ٢٠Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebirungi by’omuntu يَشۡهَدُهُ ٱلۡمُقَرَّبُونَ ٢١Bakisemberera Ba malayika abali okumpi ne Katonda إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ لَفِي نَعِيمٍ ٢٢Mazima abakozi b’obulungi bagenda kubeera mu byengera عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِ يَنظُرُونَ ٢٣Nga bali ku bitanda ebiwunde nga batunuulira ebintu ebibeetoolodde تَعۡرِفُ فِي وُجُوهِهِمۡ نَضۡرَةَ ٱلنَّعِيمِ ٢٤Essanyu eriribeera ku maaso gaabwe ligenda ku kulaga okwesiima kwe balibaamu يُسۡقَوۡنَ مِن رَّحِيقٍ مَّخۡتُومٍ ٢٥Baligabulwanga omubisi (ogw’omu jjana) omusaanikire obulungi خِتَٰمُهُۥ مِسۡكٌۚ وَفِي ذَٰلِكَ فَلۡيَتَنَافَسِ ٱلۡمُتَنَٰفِسُونَ ٢٦(Olunaagunywangako) ng'owulira akawoowo ka misk. Ne mu kyo, abaagala okuvuganya mu kukola emirimu emirungi bavuganye وَمِزَاجُهُۥ مِن تَسۡنِيمٍ ٢٧Omubisi ogwo gugenda kutabulwa mu Tasnim عَيۡنًا يَشۡرَبُ بِهَا ٱلۡمُقَرَّبُونَ ٢٨Tasnim nsulo erinywebwangako abalibeera okumpi ne Katonda إِنَّ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْ كَانُواْ مِنَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ يَضۡحَكُونَ ٢٩Mazima abantu abo abaali abajeemu baalinga ku nsi nga basekerera abakkiriza وَإِذَا مَرُّواْ بِهِمۡ يَتَغَامَزُونَ ٣٠Bwe baabayitangako nga babageyesa amaaso وَإِذَا ٱنقَلَبُوٓاْ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِمُ ٱنقَلَبُواْ فَكِهِينَ ٣١Ate nga bwe baddanga mu bantu baabwe nga beewaana وَإِذَا رَأَوۡهُمۡ قَالُوٓاْ إِنَّ هَٰٓؤُلَآءِ لَضَآلُّونَ ٣٢Bwe baabalabangako nga bagamba nti mazima abo baabulira ddala وَمَآ أُرۡسِلُواْ عَلَيۡهِمۡ حَٰفِظِينَ ٣٣Naye tebatumwanga kubeera nga bebalondoola emirimu gya bali فَٱلۡيَوۡمَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنَ ٱلۡكُفَّارِ يَضۡحَكُونَ ٣٤Wabula olwaleero (olunaku lw'enkomerero) abo abakkiriza bajja kubeera nga basekerera abatakkiriza عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِ يَنظُرُونَ ٣٥(Abakkiriza) nga bali ku bitanda ebiwunde nga babakeneka هَلۡ ثُوِّبَ ٱلۡكُفَّارُ مَا كَانُواْ يَفۡعَلُونَ ٣٦(Nga bwe bagamba nti) abaffe abatakkiriza basasuddwa bye baalinga bakola