Millat al-Islam

Chapter 79 · 46 verses · Fareeq Musa

Surah An-Naziat in Ganda

Arabic with tafsir Listen to Surah An-Naziat (1339 reciters)

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

وَٱلنَّٰزِعَٰتِ غَرۡقًا ١Ndayira Malayika ezisikambula emyoyo gy’abajeemu mu bukambwe وَٱلنَّٰشِطَٰتِ نَشۡطًا ٢Era ndayira Malayika ezisowola emyoyo gy’abakkiriza obusowozi وَٱلسَّٰبِحَٰتِ سَبۡحًا ٣Era ndayira Malayika eziwugira mu bbanga oluwuga فَٱلسَّٰبِقَٰتِ سَبۡقًا ٤Era ndayira Malayika ezivuganya oluvuganya nga zitwala emyoyo gy’abakkiriza mu jjana فَٱلۡمُدَبِّرَٰتِ أَمۡرًا ٥Ne ndayira ne Malayika ezissa mu nkola ebiragiro (Byange) يَوۡمَ تَرۡجُفُ ٱلرَّاجِفَةُ ٦(Mukimanye nti ebitonde byonna bigenda kuzikirira) ku lunaku buli kintu kyonna lwe kirikankana nga engombe efuuyiddwa تَتۡبَعُهَا ٱلرَّادِفَةُ ٧Luligobererwa olufuuwa olw'okubiri (olw'okuzuukira) قُلُوبٌ يَوۡمَئِذٍ وَاجِفَةٌ ٨E mitima gy’abatakkiriza ku lunaku olwo giribeera mu kutya أَبۡصَٰرُهَا خَٰشِعَةٌ ٩Amaaso gaabwe nga makkakkamu يَقُولُونَ أَءِنَّا لَمَرۡدُودُونَ فِي ٱلۡحَافِرَةِ ١٠Bagamba (nga bajerega), nti "Mazima ddala tulizzibwawo mu bulamu nga bwetulimu kati أَءِذَا كُنَّا عِظَٰمًا نَّخِرَةً ١١Bwe tuliba tumaze okufuuka amagumba amamerengufu قَالُواْ تِلۡكَ إِذًا كَرَّةٌ خَاسِرَةٌ ١٢Bongerako ne bagamba nti (okwonno bwekiriba bwekityo) kuliba kudda kwa kufaafaaganirwa فَإِنَّمَا هِيَ زَجۡرَةٌ وَٰحِدَةٌ ١٣Mazima okuzuukira lugenda kubeera olukanga lumu lwokka فَإِذَا هُم بِٱلسَّاهِرَةِ ١٤Baligenda okulaba nga bali ku ngulu ku nsi هَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ مُوسَىٰٓ ١٥Abaffe wamanya ku kyafaayo kya Nabbi Musa إِذۡ نَادَىٰهُ رَبُّهُۥ بِٱلۡوَادِ ٱلۡمُقَدَّسِ طُوًى ١٦Awo Katonda we yakoowoolera Musa nga (Musa) ali mu lusenyi olutukuvu 'Tuwa ٱذۡهَبۡ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ إِنَّهُۥ طَغَىٰ ١٧N'amugamba nti genda eri Firaawo kubanga ye asusse mu bujeemu ne mu buwakanyi فَقُلۡ هَل لَّكَ إِلَىٰٓ أَن تَزَكَّىٰ ١٨Omugambe nti, Abaffe waalyetaaze okwetukuza (n'okkiriza mukama Katonda wo) وَأَهۡدِيَكَ إِلَىٰ رَبِّكَ فَتَخۡشَىٰ ١٩Ndyoke mbe nga nkulungamya eri Katonda wo obeere nga omutya فَأَرَىٰهُ ٱلۡأٓيَةَ ٱلۡكُبۡرَىٰ ٢٠(Nabbi Musa) n’alaga Firaawo obujulizi obwenkukunala فَكَذَّبَ وَعَصَىٰ ٢١(Firaawo) naalimbisa era n’ajeema ثُمَّ أَدۡبَرَ يَسۡعَىٰ ٢٢Bwe yamala n'abikuba amabega era n’akola kaweefube w'okubirwanyisa فَحَشَرَ فَنَادَىٰ ٢٣N’akungaanya (amagye ge, abakungu be, n’abalogo) n’alangirira فَقَالَ أَنَا۠ رَبُّكُمُ ٱلۡأَعۡلَىٰ ٢٤Ng’agamba nti nze Katonda wa mmwe owa waggulu فَأَخَذَهُ ٱللَّهُ نَكَالَ ٱلۡأٓخِرَةِ وَٱلۡأُولَىٰٓ ٢٥Katonda n’amubonereza n’okumuzikiriza olw’ekisobyo ekyasembayo n’ekyasooka إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَعِبۡرَةً لِّمَن يَخۡشَىٰٓ ٢٦Mazima mu ekyo (eky’okuzikiriza Firaawo) mulimu eky’okulabirako eri oyo atya Katonda ءَأَنتُمۡ أَشَدُّ خَلۡقًا أَمِ ٱلسَّمَآءُۚ بَنَىٰهَا ٢٧Abaffe, mmwe be mweraba mwe musinga obuzibu okutonda okusinga e ggulu? Yalitonda nno رَفَعَ سَمۡكَهَا فَسَوَّىٰهَا ٢٨(Awamu n'obugevvu bwalyo) yaliwanika n'alitereeza وَأَغۡطَشَ لَيۡلَهَا وَأَخۡرَجَ ضُحَىٰهَا ٢٩Aleeta enzikiza yaalyo n’aggyayo ekitangaala kyalyo وَٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ ذَٰلِكَ دَحَىٰهَآ ٣٠N’ensi oluvanyuma lwebyo yagyaliira أَخۡرَجَ مِنۡهَا مَآءَهَا وَمَرۡعَىٰهَا ٣١Muyo mwennyini mweyajja amazzi gaayo namalundiro gaayo وَٱلۡجِبَالَ أَرۡسَىٰهَا ٣٢N’ensozi yazisimba n'azinyweeza مَتَٰعًا لَّكُمۡ وَلِأَنۡعَٰمِكُمۡ ٣٣(Ebyo yabikola) lwa kugasa mmwe n'ensolo za mmwe فَإِذَا جَآءَتِ ٱلطَّآمَّةُ ٱلۡكُبۡرَىٰ ٣٤Akabenje akanene bwe kalijja (olwo lwe luliba olunaku lw'enkomerero) يَوۡمَ يَتَذَكَّرُ ٱلۡإِنسَٰنُ مَا سَعَىٰ ٣٥Olunaku lw’alijjukira omuntu ebyo byonna bye yakola وَبُرِّزَتِ ٱلۡجَحِيمُ لِمَن يَرَىٰ ٣٦Omuliro Jahiimu negulagibwa eri yenna alaba فَأَمَّا مَن طَغَىٰ ٣٧Oyo yenna eyasukka mu kujeema وَءَاثَرَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا ٣٨N’asukkulumya obulamu bw’ensi (ku bw'enkomerero) فَإِنَّ ٱلۡجَحِيمَ هِيَ ٱلۡمَأۡوَىٰ ٣٩Mazima omuliro Jahiimu bwe buddo bwe وَأَمَّا مَنۡ خَافَ مَقَامَ رَبِّهِۦ وَنَهَى ٱلنَّفۡسَ عَنِ ٱلۡهَوَىٰ ٤٠Oyo aliba nga yatya okuyimirira mu maaso ga Mukama we (Katonda). N’aziyiza omwoyo gwe ku by’obwagazi فَإِنَّ ٱلۡجَنَّةَ هِيَ ٱلۡمَأۡوَىٰ ٤١Mazima e jjana, bwe buddo bwe يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلسَّاعَةِ أَيَّانَ مُرۡسَىٰهَا ٤٢Bakubuuza gwe (Nabbi Muhammad) ebikwata ku lunaku lw’enkomerero, nti lulibaawo ddi فِيمَ أَنتَ مِن ذِكۡرَىٰهَآ ٤٣Wa gy'onoggya okulwogerako إِلَىٰ رَبِّكَ مُنتَهَىٰهَآ ٤٤Omulezi wo Katonda yekka ya manyi ebirukwatako إِنَّمَآ أَنتَ مُنذِرُ مَن يَخۡشَىٰهَا ٤٥Mazima ggwe oli mutiisa eri oyo alutya كَأَنَّهُمۡ يَوۡمَ يَرَوۡنَهَا لَمۡ يَلۡبَثُوٓاْ إِلَّا عَشِيَّةً أَوۡ ضُحَىٰهَا ٤٦Mazima bwe baliraba olunaku olwo balibanga abataatuula ku nsi okugyako ekiseera ky'olweggulo oba e kye nkya

Translation: Fareeq Musa.