Millat al-Islam

Chapter 81 · 29 verses · Fareeq Musa

Surah At-Takwir in Ganda

Arabic with tafsir Listen to Surah At-Takwir (1302 reciters)

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

إِذَا ٱلشَّمۡسُ كُوِّرَتۡ ١Enjuba bw'erizingwako وَإِذَا ٱلنُّجُومُ ٱنكَدَرَتۡ ٢Nga n’emunyeenye zikunkumuse وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ سُيِّرَتۡ ٣Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zigibbwawo) وَإِذَا ٱلۡعِشَارُ عُطِّلَتۡ ٤Nga n’ebisolo ebyo mu maka nga tebikyafiibwako (newakubadde nga biriba mawako) وَإِذَا ٱلۡوُحُوشُ حُشِرَتۡ ٥N’ebisolo by’omu nsiko nabyo nga bikungaanyiziddwa وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ سُجِّرَتۡ ٦Nga n’ennyanja zikuumiddwako omuliro (ne zibumbujja) وَإِذَا ٱلنُّفُوسُ زُوِّجَتۡ ٧Nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga giri wamu (Emirungi nga giri n’emirungi, e mibi nga giri n’emibi) وَإِذَا ٱلۡمَوۡءُۥدَةُ سُئِلَتۡ ٨Era omwana omuwala eyaziikibwa nga mulamu bw'aliba abuuziddwa بِأَيِّ ذَنۢبٍ قُتِلَتۡ ٩Kibi ki ekyamussa وَإِذَا ٱلصُّحُفُ نُشِرَتۡ ١٠Ebiwandiiko bwe biribeera nga bisasaanyiziddwa (nga buli kiwandiiko kituuka ku nnannyini kyo, omuli ebyo bye yakola ku nsi) وَإِذَا ٱلسَّمَآءُ كُشِطَتۡ ١١E ggulu bwe liriba liggyiddwawo وَإِذَا ٱلۡجَحِيمُ سُعِّرَتۡ ١٢Nga n’omuliro gukoleezeddwa وَإِذَا ٱلۡجَنَّةُ أُزۡلِفَتۡ ١٣Nga n’ejjana esembezeddwa عَلِمَتۡ نَفۡسٌ مَّآ أَحۡضَرَتۡ ١٤Olwo omuntu alimanya ekyo kye yakola (kibe kirungi oba kibi) فَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلۡخُنَّسِ ١٥Ndayira e munyeenye ezibulawo ٱلۡجَوَارِ ٱلۡكُنَّسِ ١٦Ezibula emisana ne zirabika ekiro وَٱلَّيۡلِ إِذَا عَسۡعَسَ ١٧Era ndayira ekiro bwe kiba nga kyolekedde okuggwaawo وَٱلصُّبۡحِ إِذَا تَنَفَّسَ ١٨Era ndayira n’amakya g’obudde nga busaasaana إِنَّهُۥ لَقَوۡلُ رَسُولٍ كَرِيمٍ ١٩Mazima yyo (Kur'ani) kigambo kya mubaka (Jiburilu) ow'ekitiibwa (ky’aggya eri Katonda n’akireetera Nabbi Muhammad) ذِي قُوَّةٍ عِندَ ذِي ٱلۡعَرۡشِ مَكِينٍ ٢٠Oyo (Jiburilu) owaamaanyi era ow'ekitiibwa eri nnannyini Arishi مُّطَاعٍ ثَمَّ أَمِينٍ ٢١Agonderwa (ba Malayika banne) eyo (mu ggulu) ng'ate mwesigwa وَمَا صَاحِبُكُم بِمَجۡنُونٍ ٢٢Era munnammwe (Nabbi Muhammad) si mulalu وَلَقَدۡ رَءَاهُ بِٱلۡأُفُقِ ٱلۡمُبِينِ ٢٣Mazima ddala ye (Muhammad) yamulaba (Jiburilu) mu bweyolefu nga ajjudde obwengula وَمَا هُوَ عَلَى ٱلۡغَيۡبِ بِضَنِينٍ ٢٤Era tali (Nabbi Muhammad) ku bigambo ebyekwese (ebikwata ku bubaka obuva eri Katonda n'ebigambo by'omu ggulu) ayinza obutatuukiriza وَمَا هُوَ بِقَوۡلِ شَيۡطَٰنٍ رَّجِيمٍ ٢٥(Ebigambo bya Kur'ani Muhammad byayogera) si bigambo bya sitaani omukolimire فَأَيۡنَ تَذۡهَبُونَ ٢٦Naye ddala mulaga wa إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٌ لِّلۡعَٰلَمِينَ ٢٧Wabula Yo (Kur'ani) kyakubuulirira eri ebitonde byonna لِمَن شَآءَ مِنكُمۡ أَن يَسۡتَقِيمَ ٢٨Eri oyo mu mmwe aba ayagadde okulungama وَمَا تَشَآءُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٢٩Naye ate temujja kwagala okugyako nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde

Translation: Fareeq Musa.