بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
كٓهيعٓصٓ ١Kaaf Haa Yaa Ain Swad ذِكۡرُ رَحۡمَتِ رَبِّكَ عَبۡدَهُۥ زَكَرِيَّآ ٢Okwogera ku kusaasira kwa Mukama Omulabiriziwo kwe yawa omudduwe Zakaria إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥ نِدَآءً خَفِيًّا ٣Mu kiseera bwe yasaba Mukama Omulabiriziwe okusaba okw'ekyama قَالَ رَبِّ إِنِّي وَهَنَ ٱلۡعَظۡمُ مِنِّي وَٱشۡتَعَلَ ٱلرَّأۡسُ شَيۡبًا وَلَمۡ أَكُنۢ بِدُعَآئِكَ رَبِّ شَقِيًّا ٤Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima nze amagumba gannyenjebuse, n'omutwe gubunye envi, ate nga ssirekererwangako ayi Mukama Omulabirizi wange buli lwe nkusaba وَإِنِّي خِفۡتُ ٱلۡمَوَٰلِيَ مِن وَرَآءِي وَكَانَتِ ٱمۡرَأَتِي عَاقِرًا فَهَبۡ لِي مِن لَّدُنكَ وَلِيًّا ٥Era mazima nze, nneekengedde ab'omusaayi gwange (bayinza okweyisa obubi) oluvanyuma lwange, ate nga ne Mukyala wange mugumba awo nno nkusaba ompe okuva gyoli omwana يَرِثُنِي وَيَرِثُ مِنۡ ءَالِ يَعۡقُوبَۖ وَٱجۡعَلۡهُ رَبِّ رَضِيًّا ٦Anaansikira, era asikire ab'olulyo lwa Yakubu, era omufuule asiimibwa ayi Mukama Omulabirizi wange يَٰزَكَرِيَّآ إِنَّا نُبَشِّرُكَ بِغُلَٰمٍ ٱسۡمُهُۥ يَحۡيَىٰ لَمۡ نَجۡعَل لَّهُۥ مِن قَبۡلُ سَمِيًّا ٧(Naayanukulwa nti) owange Zakaria mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu nti ogenda kufuna omwana omulenzi, nga erinya lye ye Yahaya (erinnya) lye tutassangawo oluberyeberye aliyitibwa قَالَ رَبِّ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي غُلَٰمٌ وَكَانَتِ ٱمۡرَأَتِي عَاقِرًا وَقَدۡ بَلَغۡتُ مِنَ ٱلۡكِبَرِ عِتِيًّا ٨(Zakaria) naagamba nti omwana omulenzi (oyo) nnaamufuna ntya, nga Mukyala wange mugumba nga n’olwo bukadde nfuuse mugogge قَالَ كَذَٰلِكَ قَالَ رَبُّكَ هُوَ عَلَيَّ هَيِّنٌ وَقَدۡ خَلَقۡتُكَ مِن قَبۡلُ وَلَمۡ تَكُ شَيۡـًٔا ٩(Malayika) naagamba nti (bwe kityo bwe kirina okuba), Mukama Omulabiriziwo agambye nti: ekyo ku nze kyangu era mazima nakutonda nga mu kusooka tewali kintu kyonna قَالَ رَبِّ ٱجۡعَل لِّيٓ ءَايَةًۖ قَالَ ءَايَتُكَ أَلَّا تُكَلِّمَ ٱلنَّاسَ ثَلَٰثَ لَيَالٍ سَوِيًّا ١٠(Zakaria) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange nteeraawo akabonero (akanaalaga nti omukyala ali lubuto) naamugamba nti bwe butayogera na bantu okumala ebiro bisatu ebijjudde (awamu n'okuba nga oli mulamu) فَخَرَجَ عَلَىٰ قَوۡمِهِۦ مِنَ ٱلۡمِحۡرَابِ فَأَوۡحَىٰٓ إِلَيۡهِمۡ أَن سَبِّحُواْ بُكۡرَةً وَعَشِيًّا ١١Awo nno yafuluma, naasisinkana abantu be nga ava mu ssinzizo naabalagira (nga tayogera, wabula nga akozesa bubonero) nti muteendereze, (Katonda) enkya n'olweggulo يَٰيَحۡيَىٰ خُذِ ٱلۡكِتَٰبَ بِقُوَّةٍۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ ٱلۡحُكۡمَ صَبِيًّا ١٢(Yahaya naalagirwa nti) owange Yahaya ekitabo (Tawurat) kikwate na maanyi, era twamuwa okumanya ensonga nga akyali muto وَحَنَانًا مِّن لَّدُنَّا وَزَكَوٰةًۖ وَكَانَ تَقِيًّا ١٣Era twamussaawo nga kulumirwa (bantu) okuva gye tuli era nga butukuvu, era yali mutya Katonda وَبَرَّۢا بِوَٰلِدَيۡهِ وَلَمۡ يَكُن جَبَّارًا عَصِيًّا ١٤Era nga yayisa bulungi bakaddebe bombi era tabangako mwekuluntaze omujeemu وَسَلَٰمٌ عَلَيۡهِ يَوۡمَ وُلِدَ وَيَوۡمَ يَمُوتُ وَيَوۡمَ يُبۡعَثُ حَيًّا ١٥Era emirembe gibeere ku ye olunaku lwe yazaalibwa, n'olunaku lwalifa, n'olunaku lwalizuukizibwa nga mulamu وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مَرۡيَمَ إِذِ ٱنتَبَذَتۡ مِنۡ أَهۡلِهَا مَكَانًا شَرۡقِيًّا ١٦Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani ebikwata ku) Mariam bwe yeesamba abantube nadda ku ludda olw'ebuvanjuba فَٱتَّخَذَتۡ مِن دُونِهِمۡ حِجَابًا فَأَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡهَا رُوحَنَا فَتَمَثَّلَ لَهَا بَشَرًا سَوِيًّا ١٧Naateekawo olutimbe baleme kumulaba awo nno twamutumira mwoyo waffe (Jiburilu) naamweyoleka nga muntu ddala قَالَتۡ إِنِّيٓ أَعُوذُ بِٱلرَّحۡمَٰنِ مِنكَ إِن كُنتَ تَقِيًّا ١٨(Mariam) naagamba nti nsaba Mukama Katonda Omusaasizi akuntaaseeko bwoba nga otya Katonda (ndeka tonsemberera) قَالَ إِنَّمَآ أَنَا۠ رَسُولُ رَبِّكِ لِأَهَبَ لَكِ غُلَٰمًا زَكِيًّا ١٩(Malayika) naamugamba nti mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Omulabiriziwo nkuleetedde omwana omulenzi omutukuvu قَالَتۡ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي غُلَٰمٌ وَلَمۡ يَمۡسَسۡنِي بَشَرٌ وَلَمۡ أَكُ بَغِيًّا ٢٠Mariam naagamba nti nyinza ntya okufuna omwana nga tewali muntu yankutteko, ate nga sibangako malaaya قَالَ كَذَٰلِكِ قَالَ رَبُّكِ هُوَ عَلَيَّ هَيِّنٌۖ وَلِنَجۡعَلَهُۥٓ ءَايَةً لِّلنَّاسِ وَرَحۡمَةً مِّنَّاۚ وَكَانَ أَمۡرًا مَّقۡضِيًّا ٢١(Malayika naagamba nti) bwe kityo bwe kirina okuba, Mukama Omulabiriziwo agambye nti kyo ku nze kyangu. Era tube nga tumufuula akabonero eri abantu (akalaga obuyinza bwa Katonda), era nga kusaasira okuva gye tuli, era kyali ekigambo ekyasalibwawo (edda) ۞ فَحَمَلَتۡهُ فَٱنتَبَذَتۡ بِهِۦ مَكَانًا قَصِيًّا ٢٢(Mariam) n'aba olubuto lwa Issa, neyeesamba nalwo okuva mu bantu okulaga eri ekifo ekyesudde فَأَجَآءَهَا ٱلۡمَخَاضُ إِلَىٰ جِذۡعِ ٱلنَّخۡلَةِ قَالَتۡ يَٰلَيۡتَنِي مِتُّ قَبۡلَ هَٰذَا وَكُنتُ نَسۡيًا مَّنسِيًّا ٢٣Awo nno ebisa nebimusindiikiriza naasibira wansi w'omutende, naagamba nti, ndabye nze singa nnafa nga kino tekinnabaawo nemba ekyerabiddwa ekitakyafiibwako فَنَادَىٰهَا مِن تَحۡتِهَآ أَلَّا تَحۡزَنِي قَدۡ جَعَلَ رَبُّكِ تَحۡتَكِ سَرِيًّا ٢٤(Malayika) naamukoowoola nga asinziira wansi we nti tonakuwala, mazima Mukama omulabiriziwo atadde wansi wo omwaala وَهُزِّيٓ إِلَيۡكِ بِجِذۡعِ ٱلنَّخۡلَةِ تُسَٰقِطۡ عَلَيۡكِ رُطَبًا جَنِيًّا ٢٥Weenyenyeze omutende gujja kukusuulira entende embisi, ezituuse okunoga فَكُلِي وَٱشۡرَبِي وَقَرِّي عَيۡنًاۖ فَإِمَّا تَرَيِنَّ مِنَ ٱلۡبَشَرِ أَحَدًا فَقُولِيٓ إِنِّي نَذَرۡتُ لِلرَّحۡمَٰنِ صَوۡمًا فَلَنۡ أُكَلِّمَ ٱلۡيَوۡمَ إِنسِيًّا ٢٦Olwo nno, lya ku (ntende) era onywe ku (mwaala) otebenkere amaaso (obeere bulungi), wonna woolabira omuntu yenna, ggwe mugambe nti neeyamye ku lwa Katonda Omusaasizi okusirika, ssigenda kwogera na muntu yenna olwa leero فَأَتَتۡ بِهِۦ قَوۡمَهَا تَحۡمِلُهُۥۖ قَالُواْ يَٰمَرۡيَمُ لَقَدۡ جِئۡتِ شَيۡـًٔا فَرِيًّا ٢٧Naamuleeta eri abantube nga amusitudde nebagamba nti owange Mariam mazima okoze ekintu ekisasamaza يَٰٓأُخۡتَ هَٰرُونَ مَا كَانَ أَبُوكِ ٱمۡرَأَ سَوۡءٍ وَمَا كَانَتۡ أُمُّكِ بَغِيًّا ٢٨Owange mwannyina wa Haruna, Kitaawo tabangako muntu mukozi wa kibi, era ne Maamawo tabangako Malaaya فَأَشَارَتۡ إِلَيۡهِۖ قَالُواْ كَيۡفَ نُكَلِّمُ مَن كَانَ فِي ٱلۡمَهۡدِ صَبِيًّا ٢٩(Mariam) naasonga ku mwana, (bali) nebagamba tuyinza tutya okwogera n'omwana ali ku kaali omuwere قَالَ إِنِّي عَبۡدُ ٱللَّهِ ءَاتَىٰنِيَ ٱلۡكِتَٰبَ وَجَعَلَنِي نَبِيًّا ٣٠(Omwana) naagamba nti mazima nze ndi muddu wa Katonda, ampadde ekitabo (enjiri) era nanfuula Nabbi وَجَعَلَنِي مُبَارَكًا أَيۡنَ مَا كُنتُ وَأَوۡصَٰنِي بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ مَا دُمۡتُ حَيًّا ٣١Era nanfuula ow'omukisa wonna wennabanga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zakka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu وَبَرَّۢا بِوَٰلِدَتِي وَلَمۡ يَجۡعَلۡنِي جَبَّارًا شَقِيًّا ٣٢Era (ankuutidde) okuyisa obulungi Maama wange, era tanfudde eyeekuza, omwonoonefu وَٱلسَّلَٰمُ عَلَيَّ يَوۡمَ وُلِدتُّ وَيَوۡمَ أَمُوتُ وَيَوۡمَ أُبۡعَثُ حَيًّا ٣٣Era emirembe gibeere ku nze olunaku lwe nnazaalibwa, n'olunaku lwe ndifa, n'olunaku lwe ndizuukizibwa nemba omulamu ذَٰلِكَ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَۖ قَوۡلَ ٱلۡحَقِّ ٱلَّذِي فِيهِ يَمۡتَرُونَ ٣٤Oyo ye Issa Mutabani wa Mariam, ekigambo eky'amazima ekyo (abeeyita abagoberezibe) kye babuusabuusa مَا كَانَ لِلَّهِ أَن يَتَّخِذَ مِن وَلَدٍۖ سُبۡحَٰنَهُۥٓۚ إِذَا قَضَىٰٓ أَمۡرًا فَإِنَّمَا يَقُولُ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ ٣٥Katonda tekimusaanira kweteerawo mwana. Anti yye musukkulumu (ku buli kintu), bwasalawo ekintu mazima akigamba nti ba, nekiba وَإِنَّ ٱللَّهَ رَبِّي وَرَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُوهُۚ هَٰذَا صِرَٰطٌ مُّسۡتَقِيمٌ ٣٦Era mazima ddala Katonda ye Mukama omulabirizi wange, era Omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze, eryo ly'ekkubo eggolokofu فَٱخۡتَلَفَ ٱلۡأَحۡزَابُ مِنۢ بَيۡنِهِمۡۖ فَوَيۡلٌ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن مَّشۡهَدِ يَوۡمٍ عَظِيمٍ ٣٧Wabula ebibiina bya bantu byayawukana (ku nsonga ya Issa), n'olwekyo okubonaabona kugenda kubeera ku abo abaakaafuwala (nebabikka amazima agakwata ku Issa) ku lunaku olunene abantu bonna lwe balibaako أَسۡمِعۡ بِهِمۡ وَأَبۡصِرۡ يَوۡمَ يَأۡتُونَنَا لَٰكِنِ ٱلظَّٰلِمُونَ ٱلۡيَوۡمَ فِي ضَلَٰلٍ مُّبِينٍ ٣٨Bagenda kuba nga bawulira nnyo era nga balaba nnyo, olunaku lwe balitujjira naye abeeyisa obubi olwa leero (kuno ku nsi) bali mu bubuze obw'olwatu وَأَنذِرۡهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡحَسۡرَةِ إِذۡ قُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ وَهُمۡ فِي غَفۡلَةٍ وَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ٣٩Batiise (Ggwe Muhammad) olunaku lw'okwejjusa mu kiseera ekigambo lwe kirisalibwawo, (abalongoofu bayingire e jjana aboonoonyi bayingire omuliro), wabula bo olwa leero bali mu bugayaavu era bbo tebakkiriza إِنَّا نَحۡنُ نَرِثُ ٱلۡأَرۡضَ وَمَنۡ عَلَيۡهَا وَإِلَيۡنَا يُرۡجَعُونَ ٤٠Mazima ffe, ffe tulisikira ensi n'abagiriko era gye tuli gye balizzibwa وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ إِبۡرَٰهِيمَۚ إِنَّهُۥ كَانَ صِدِّيقًا نَّبِيًّا ٤١Era yogera nga ojja mu kitabo (kino Kur’ani) ebikwata ku Ibrahim, mazima yye yali mukkiriza ow'amazima era nga Nabbi إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ يَٰٓأَبَتِ لِمَ تَعۡبُدُ مَا لَا يَسۡمَعُ وَلَا يُبۡصِرُ وَلَا يُغۡنِي عَنكَ شَيۡـًٔا ٤٢Mujjukire (Ibrahim) bwe yagamba Kitaawe nti owange Taata lwaki osinza ebitawulira, era ebitalaba, era ebitayinza kukugasa mu kintu kyonna يَٰٓأَبَتِ إِنِّي قَدۡ جَآءَنِي مِنَ ٱلۡعِلۡمِ مَا لَمۡ يَأۡتِكَ فَٱتَّبِعۡنِيٓ أَهۡدِكَ صِرَٰطًا سَوِيًّا ٤٣Owange Taata mazima nze nzigyiddwa okumanya okutaakujjira, n'olwekyo ngoberera, nja kukulungamya ku kkubo eggolokofu يَٰٓأَبَتِ لَا تَعۡبُدِ ٱلشَّيۡطَٰنَۖ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ كَانَ لِلرَّحۡمَٰنِ عَصِيًّا ٤٤Owange Taata tosinzanga Sitane, mazima Sitane yajeemera Katonda omusaasizi يَٰٓأَبَتِ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يَمَسَّكَ عَذَابٌ مِّنَ ٱلرَّحۡمَٰنِ فَتَكُونَ لِلشَّيۡطَٰنِ وَلِيًّا ٤٥Owange Taata mazima nze ntya ebibonerezo okuva ewa Katonda omusaasizi okukutuukako, olwo n'oba mukwano gwa Sitane قَالَ أَرَاغِبٌ أَنتَ عَنۡ ءَالِهَتِي يَٰٓإِبۡرَٰهِيمُۖ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ لَأَرۡجُمَنَّكَۖ وَٱهۡجُرۡنِي مَلِيًّا ٤٦(Kitaawe) naagamba nti owange Ibrahim oyagala kuva ku ba Katonda bange, bwotookikomye nja kukukuba amayinja, nviira mangu ssaagala kukulaba قَالَ سَلَٰمٌ عَلَيۡكَۖ سَأَسۡتَغۡفِرُ لَكَ رَبِّيٓۖ إِنَّهُۥ كَانَ بِي حَفِيًّا ٤٧Ibrahim naagamba nti emirembe gibe ku ggwe, nja kwegayirira Mukama Omulabirizi wange akusonyiwe, mazima yye bulijjo annumirwa وَأَعۡتَزِلُكُمۡ وَمَا تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَأَدۡعُواْ رَبِّي عَسَىٰٓ أَلَّآ أَكُونَ بِدُعَآءِ رَبِّي شَقِيًّا ٤٨Nja kubaviira (mbaleke) n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda era nja kusaba Mukama Omulabirizi wange, nkakasa siyinza kuba mwonoonefu olw'okusinza Mukama Omulabirizi wange فَلَمَّا ٱعۡتَزَلَهُمۡ وَمَا يَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَۖ وَكُلًّا جَعَلۡنَا نَبِيًّا ٤٩Bwe yabaviira naabaleka n'ebyo bye basinza nebalekawo Katonda, twamugabira Ishak, ne Yakubu buli omu ku bombi twamufuula Nabbi وَوَهَبۡنَا لَهُم مِّن رَّحۡمَتِنَا وَجَعَلۡنَا لَهُمۡ لِسَانَ صِدۡقٍ عَلِيًّا ٥٠Era twabagabira okuva mu kusaasira kwaffe, netubateerawo okwogerwako okw'amazima okubafuula ab'awaggulu وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مُوسَىٰٓۚ إِنَّهُۥ كَانَ مُخۡلَصًا وَكَانَ رَسُولًا نَّبِيًّا ٥١Yogera mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Musa, mazima yye yali mulondemu, era yali mubaka era Nabbi وَنَٰدَيۡنَٰهُ مِن جَانِبِ ٱلطُّورِ ٱلۡأَيۡمَنِ وَقَرَّبۡنَٰهُ نَجِيًّا ٥٢Twamukoowoola ku ludda olwa ddyo olw'olusozi (Sinai), netumusembeza nga twogera naye وَوَهَبۡنَا لَهُۥ مِن رَّحۡمَتِنَآ أَخَاهُ هَٰرُونَ نَبِيًّا ٥٣Era netumuwa okuva mu kusasira kwaffe Mugandawe Haruna nga (naye) Nabbi وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ إِسۡمَٰعِيلَۚ إِنَّهُۥ كَانَ صَادِقَ ٱلۡوَعۡدِ وَكَانَ رَسُولًا نَّبِيًّا ٥٤Era yogera nga ojja mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Ismail, mazima yye yali mutuukiriza wa ndagaano, era yali Mubaka nga Nabbi وَكَانَ يَأۡمُرُ أَهۡلَهُۥ بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ وَكَانَ عِندَ رَبِّهِۦ مَرۡضِيًّا ٥٥Yalinga alagira abantu be okusaala n'okutoola Zakka. Era bulijjo nga asiimwa ewa Mukama Omulabiriziwe وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ إِدۡرِيسَۚ إِنَّهُۥ كَانَ صِدِّيقًا نَّبِيًّا ٥٦Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Idrisa, mazima yye yali musuffu mu mazima nga Nabbi وَرَفَعۡنَٰهُ مَكَانًا عَلِيًّا ٥٧Era twamusitula netumuwa ekifo ekya waggulu أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ أَنۡعَمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ مِن ذُرِّيَّةِ ءَادَمَ وَمِمَّنۡ حَمَلۡنَا مَعَ نُوحٍ وَمِن ذُرِّيَّةِ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡرَٰٓءِيلَ وَمِمَّنۡ هَدَيۡنَا وَٱجۡتَبَيۡنَآۚ إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُ ٱلرَّحۡمَٰنِ خَرُّواْۤ سُجَّدًاۤ وَبُكِيًّا ۩ ٥٨Abo beebo Katonda beyagabira ebyengera mu ba Nabbi nga bava mu bazzukulu ba Adam, ne mu abo betwatwala ne Nuhu mu lyato, ne mu bazzukulu ba Ibrahim, ne Israil ne mu abo betwalungamya, era netubaawula. Ebigambo bya Katonda omusaasizi buli lwe byabasomerwanga bakkanga wansi nga bavunnama era nga bakaaba ۞ فَخَلَفَ مِنۢ بَعۡدِهِمۡ خَلۡفٌ أَضَاعُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَٱتَّبَعُواْ ٱلشَّهَوَٰتِۖ فَسَوۡفَ يَلۡقَوۡنَ غَيًّا ٥٩Olwo nno oluvanyuma lwabwe wajjayo abaabaddira mu bigere, abataafa ku sswala, era nebagoberera eby'obwagazi, luliba lumu bagenda kusisinkana okufaafaaganirwa n'okuzikirira إِلَّا مَن تَابَ وَءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحًا فَأُوْلَٰٓئِكَ يَدۡخُلُونَ ٱلۡجَنَّةَ وَلَا يُظۡلَمُونَ شَيۡـًٔا ٦٠Okugyako oyo eyeenenya, era nakkiriza era naakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuyingira e jjana era tebagenda kulyazaamaanyizibwa kintu kyonna جَنَّٰتِ عَدۡنٍ ٱلَّتِي وَعَدَ ٱلرَّحۡمَٰنُ عِبَادَهُۥ بِٱلۡغَيۡبِۚ إِنَّهُۥ كَانَ وَعۡدُهُۥ مَأۡتِيًّا ٦١(Baliyingira) e jjana ez'olubeerera, ezo Katonda omusaasizi ze yalagaanyisa abaddube nga tebazirabyeko, mazima endagaano ye erina kutuukirira لَّا يَسۡمَعُونَ فِيهَا لَغۡوًا إِلَّا سَلَٰمًاۖ وَلَهُمۡ رِزۡقُهُمۡ فِيهَا بُكۡرَةً وَعَشِيًّا ٦٢Tebagenda kuwulira mu yo (e jjana) luyoogaano wabula (baliwulira) bigambo bya mirembe byereere baliweebwa riziki yaabwe mu yo enkya n'olweggulo تِلۡكَ ٱلۡجَنَّةُ ٱلَّتِي نُورِثُ مِنۡ عِبَادِنَا مَن كَانَ تَقِيًّا ٦٣Eyo ye jjana, eyo gye tulisikiza, abamu ku baddu baffe, oyo eyali atya Katonda وَمَا نَتَنَزَّلُ إِلَّا بِأَمۡرِ رَبِّكَۖ لَهُۥ مَا بَيۡنَ أَيۡدِينَا وَمَا خَلۡفَنَا وَمَا بَيۡنَ ذَٰلِكَۚ وَمَا كَانَ رَبُّكَ نَسِيًّا ٦٤Era ffe (ba Malayika) tetukka okugyako lwa kiragiro kya Mukama Omulabiriziwo, bibye byonna ebiri mu maaso gaffe n'ebiri emabega waffe, n’ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabiriziwo tabeerangako eyeerabira رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا فَٱعۡبُدۡهُ وَٱصۡطَبِرۡ لِعِبَٰدَتِهِۦۚ هَلۡ تَعۡلَمُ لَهُۥ سَمِيًّا ٦٥(Katonda) ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi kale nno musinze ogumiikirize ku kumusinza (bwotokola ekyo) abaffe omanyiiyo amufaanana وَيَقُولُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَءِذَا مَا مِتُّ لَسَوۡفَ أُخۡرَجُ حَيًّا ٦٦Omuntu agamba nti bwendiba nfudde ate ndiggyibwa (mu ntaana) nga ndi mulamu أَوَلَا يَذۡكُرُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَنَّا خَلَقۡنَٰهُ مِن قَبۡلُ وَلَمۡ يَكُ شَيۡـًٔا ٦٧Abaffe omuntu tajjukira nti mazima ffe twamutonda omulundi ogwasooka nga yali tabangako kintu kyonna فَوَرَبِّكَ لَنَحۡشُرَنَّهُمۡ وَٱلشَّيَٰطِينَ ثُمَّ لَنُحۡضِرَنَّهُمۡ حَوۡلَ جَهَنَّمَ جِثِيًّا ٦٨N'olwekyo ndayidde Mukama omulabiriziwo, ddala tugenda kubazuukiza ne (Sitane) nazo tuzizuukize, oluvanyuma tugenda kubaleetera ddala awali omuliro Jahannama nga bakutaamiridde ثُمَّ لَنَنزِعَنَّ مِن كُلِّ شِيعَةٍ أَيُّهُمۡ أَشَدُّ عَلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ عِتِيًّا ٦٩Oluvanyuma ddala tugenda kuggya mu buli kibiina buli yenna eyali asinga okwewaggula ku Katonda ow'ekisa ekingi ثُمَّ لَنَحۡنُ أَعۡلَمُ بِٱلَّذِينَ هُمۡ أَوۡلَىٰ بِهَا صِلِيًّا ٧٠Oluvanyuma ffe tuliba tumanyi nnyo abo abasinga okusaanira okugwesogga وَإِن مِّنكُمۡ إِلَّا وَارِدُهَاۚ كَانَ عَلَىٰ رَبِّكَ حَتۡمًا مَّقۡضِيًّا ٧١Tewali n'omu yenna ku mmwe okugyako w'a kuguyitako, ekyo ku Mukama omulabiriziwo kikakafu ekyaggwa edda ثُمَّ نُنَجِّي ٱلَّذِينَ ٱتَّقَواْ وَّنَذَرُ ٱلظَّٰلِمِينَ فِيهَا جِثِيًّا ٧٢Oluvanyuma tuliwonya abo abatya Katonda, olwo nno tuleke mu gwo abeeyisa obubi nga bagangalamye وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٍ قَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَيُّ ٱلۡفَرِيقَيۡنِ خَيۡرٌ مَّقَامًا وَأَحۡسَنُ نَدِيًّا ٧٣Bwe bisomebwa ku bo ebigambo byaffe nga binnyonnyofu, abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza, nti ku bibiina ebibiri kiriwa ekirina ekifo ekirungi? era abalina enkungaana ezisinga obulungi وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّن قَرۡنٍ هُمۡ أَحۡسَنُ أَثَٰثًا وَرِءۡيًا ٧٤Mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe, nga abo be baali basinza ebintu ebirungi nendabika ennungi قُلۡ مَن كَانَ فِي ٱلضَّلَٰلَةِ فَلۡيَمۡدُدۡ لَهُ ٱلرَّحۡمَٰنُ مَدًّاۚ حَتَّىٰٓ إِذَا رَأَوۡاْ مَا يُوعَدُونَ إِمَّا ٱلۡعَذَابَ وَإِمَّا ٱلسَّاعَةَ فَسَيَعۡلَمُونَ مَنۡ هُوَ شَرٌّ مَّكَانًا وَأَضۡعَفُ جُندًا ٧٥Bagambe nti oyo yenna abeera mu bubuze, Katonda omusaasizi amulindiriza olulindiriza, okutuusa nga balabye bye baalagaanyisibwa, kabibe bibonerezo oba essaawa ey'enkomerero olwo nno bagenda kumanya ani alina ekifo ekibi era ani alina eggye erinafu وَيَزِيدُ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ٱهۡتَدَوۡاْ هُدًىۗ وَٱلۡبَٰقِيَٰتُ ٱلصَّٰلِحَٰتُ خَيۡرٌ عِندَ رَبِّكَ ثَوَابًا وَخَيۡرٌ مَّرَدًّا ٧٦Ate abo abaalungama Katonda abongera bulungamu, byo ebisigalawo ebirungi y'empeera esinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, eyo nga mpeera era nga bwe buddo obusinga obulungi أَفَرَءَيۡتَ ٱلَّذِي كَفَرَ بِـَٔايَٰتِنَا وَقَالَ لَأُوتَيَنَّ مَالًا وَوَلَدًا ٧٧Abaffe olabye oyo alimbisa ebigambo byaffe, era naagamba nti (ne ku nkomerero) ngenda kuweebwa emmaali n'abaana أَطَّلَعَ ٱلۡغَيۡبَ أَمِ ٱتَّخَذَ عِندَ ٱلرَّحۡمَٰنِ عَهۡدًا ٧٨Abaffe yasobola okulaba ebyekusifu, oba yafuna ewa Katonda omusaasizi endagaano, (atuuke okugamba nti aliba ne mmaali n'abaana ku nkomerero) كـَلَّاۚ سَنَكۡتُبُ مَا يَقُولُ وَنَمُدُّ لَهُۥ مِنَ ٱلۡعَذَابِ مَدًّا ٧٩Si bwe guli, tujja kuwandiika buli kyayogera tumulindirize ku bibonerezo olulindiriza وَنَرِثُهُۥ مَا يَقُولُ وَيَأۡتِينَا فَرۡدًا ٨٠Olwo nno tweddize ebyo bye yagamba, ate nga agenda kutujjira nga ali yekka nga talina kyalina وَٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ ءَالِهَةً لِّيَكُونُواْ لَهُمۡ عِزًّا ٨١Era beeteerawo bye basinza nebaleka Katonda omu, mbu olwo balyoke babeere eri bano abataddewo abawi b'obuwagizi كـَلَّاۚ سَيَكۡفُرُونَ بِعِبَادَتِهِمۡ وَيَكُونُونَ عَلَيۡهِمۡ ضِدًّا ٨٢Ssi bwe guli, bajja kuwakanya eky'okubasinza bafuuke ekyennyume kyabwe أَلَمۡ تَرَ أَنَّآ أَرۡسَلۡنَا ٱلشَّيَٰطِينَ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ تَؤُزُّهُمۡ أَزًّا ٨٣Tolaba nti mazima ffe tusindika Sitane eri abakaafiiri nga zibawagira oluwagira فَلَا تَعۡجَلۡ عَلَيۡهِمۡۖ إِنَّمَا نَعُدُّ لَهُمۡ عَدًّا ٨٤Toyanguya kubasabira kuzikirira, mazima ennaku zaabwe tuzibabalira bubalizi يَوۡمَ نَحۡشُرُ ٱلۡمُتَّقِينَ إِلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ وَفۡدًا ٨٥(Bategeeze) olunaku lwe tulikunganya abatya Katonda, netubatwala ewa Katonda omusaasizi nga bagenyi وَنَسُوقُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ إِلَىٰ جَهَنَّمَ وِرۡدًا ٨٦Ate tusindiikirize aboonoonyi, nga tubatwala ku muliro Jahannama nga balinga ensolo ezigenda okunywa amazzi لَّا يَمۡلِكُونَ ٱلشَّفَٰعَةَ إِلَّا مَنِ ٱتَّخَذَ عِندَ ٱلرَّحۡمَٰنِ عَهۡدًا ٨٧Tebaliba na buyinza bwa kuwolereza, wabula oyo eyafuna endagaano ewa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi وَقَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَلَدًا ٨٨(Abatakkiriza) bagamba nti Katonda omusaasizi yeeteerawo omwana لَّقَدۡ جِئۡتُمۡ شَيۡـًٔا إِدًّا ٨٩Mazima mu kwogera ekyo muleese ekintu ekibi ennyo تَكَادُ ٱلسَّمَٰوَٰتُ يَتَفَطَّرۡنَ مِنۡهُ وَتَنشَقُّ ٱلۡأَرۡضُ وَتَخِرُّ ٱلۡجِبَالُ هَدًّا ٩٠Eggulu omusanvu kumpi okweyuza olw'ekyo, n'ensi ebula okwatikayatika n'ensozi kumpi kugwa nga zimogosemogose أَن دَعَوۡاْ لِلرَّحۡمَٰنِ وَلَدًا ٩١Olw'okugamba nti Mukama Katonda Omusaasizi alina omwana وَمَا يَنۢبَغِي لِلرَّحۡمَٰنِ أَن يَتَّخِذَ وَلَدًا ٩٢Ate nga tekigwana ku Katonda omusaasizi kweteerawo mwana إِن كُلُّ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ إِلَّآ ءَاتِي ٱلرَّحۡمَٰنِ عَبۡدًا ٩٣Tewali kitonde kiri mu ggulu musanvu n'ensi okugyako nga kigenda kujja ewa Katonda omusaasizi nga kiri mu ngeri ya buddu لَّقَدۡ أَحۡصَىٰهُمۡ وَعَدَّهُمۡ عَدًّا ٩٤Mazima yabakomekkereza, era naababala olubala وَكُلُّهُمۡ ءَاتِيهِ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فَرۡدًا ٩٥Era bonna bagenda kumujjira olunaku lw'enkomerero kinnoomu إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ سَيَجۡعَلُ لَهُمُ ٱلرَّحۡمَٰنُ وُدًّا ٩٦Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, Katonda ajja kubateerawo okwagalwa فَإِنَّمَا يَسَّرۡنَٰهُ بِلِسَانِكَ لِتُبَشِّرَ بِهِ ٱلۡمُتَّقِينَ وَتُنذِرَ بِهِۦ قَوۡمًا لُّدًّا ٩٧Mazima (Kur’ani) twagifuula nnyangu ku lulimilwo, obe nga osanyusa nayo abo abatya Katonda, ate obe nga otiisa nayo abo abayitirivu b'okugiwakanya وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّن قَرۡنٍ هَلۡ تُحِسُّ مِنۡهُم مِّنۡ أَحَدٍ أَوۡ تَسۡمَعُ لَهُمۡ رِكۡزَۢا ٩٨(Abantu ba) mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe (bano abalimbisa Kur’ani), abaffe olina gwolabako mu bo, oba gwowulizaako olukwakwayo