ملة الإسلام

السورة 96 · 19 آية · Fareeq Musa

سورة العلق باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة العلق (1,283 قارئاً)
مكيةسورة العلق١٩ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

ٱقۡرَأۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلَّذِي خَلَقَ ١Soma ng'otandika ne linnya lya mukamawo oyo eyatonda (buli kintu) خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِنۡ عَلَقٍ ٢Yatonda omuntu nga amuggya mu kisaayisaayi ٱقۡرَأۡ وَرَبُّكَ ٱلۡأَكۡرَمُ ٣Soma, kuba Omulezi wo (Katonda) ye mugabi asinga ٱلَّذِي عَلَّمَ بِٱلۡقَلَمِ ٤Oyo eyayigiriza omuntu okuwandiika n'ekkalaamu عَلَّمَ ٱلۡإِنسَٰنَ مَا لَمۡ يَعۡلَمۡ ٥Yayigiriza omuntu ebyo (omuntu) bye yali tamanyi كـَلَّآ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَيَطۡغَىٰٓ ٦Nedda, mazima omuntu agenda neyewaggula أَن رَّءَاهُ ٱسۡتَغۡنَىٰٓ ٧Olw’okweraba nti yeemalirira (olw’ebyo by’aba alina) إِنَّ إِلَىٰ رَبِّكَ ٱلرُّجۡعَىٰٓ ٨Ng’ate Mazima ddala eri Omuleziwo (Katonda) y’eri obuddo أَرَءَيۡتَ ٱلَّذِي يَنۡهَىٰ ٩Olabye omuntu agaana عَبۡدًا إِذَا صَلَّىٰٓ ١٠(Agaana) omuddu wa Katonda bw’aba ng'asaala أَرَءَيۡتَ إِن كَانَ عَلَى ٱلۡهُدَىٰٓ ١١Tolaba nti gwebagaana ky'akola kya bulungamu أَوۡ أَمَرَ بِٱلتَّقۡوَىٰٓ ١٢Oba bwaba alagidde abantu okutya Katonda أَرَءَيۡتَ إِن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰٓ ١٣Olaba oyo (agaana asaala) bw'alimbisa n'akyuka okuva ku mazima أَلَمۡ يَعۡلَم بِأَنَّ ٱللَّهَ يَرَىٰ ١٤Abaffe tamanyi (oyo alimbisa) nti Mazima Katonda alaba ebyo (by’akola) كـَلَّا لَئِن لَّمۡ يَنتَهِ لَنَسۡفَعَۢا بِٱلنَّاصِيَةِ ١٥Nedda bw’anaaba teyeekomyeko (ku bikolwa ebyo) tujja kumuwalula nga tumukutte ku kawompo نَاصِيَةٍ كَٰذِبَةٍ خَاطِئَةٍ ١٦Akawompo ako akajjudde obulimba n’obusobya فَلۡيَدۡعُ نَادِيَهُۥ ١٧Kale ayitanga abali mu kinywi kye (eky’obujeemu bamutaase) سَنَدۡعُ ٱلزَّبَانِيَةَ ١٨Naffe tujja kukoowoola ba Malayika abakambwe abakuumi b’omuliro (abatuusa ebibonerezo ku bajeemu) كـَلَّا لَا تُطِعۡهُ وَٱسۡجُدۡۤ وَٱقۡتَرِب ۩ ١٩Nedda (Owange Nabbi Muhammad) togonderanga omuntu ng’oyo. Vunnama (ng'osinza) Katonda era weeyongere okusembera gy'ali

الترجمة: Fareeq Musa.