ملة الإسلام

السورة 98 · 8 آية · Fareeq Musa

سورة البينة باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة البينة (1,284 قارئاً)
مدنيةسورة البينة٨ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

لَمۡ يَكُنِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ وَٱلۡمُشۡرِكِينَ مُنفَكِّينَ حَتَّىٰ تَأۡتِيَهُمُ ٱلۡبَيِّنَةُ ١Abajeemu mu bantu abaweebwa e kitabo, n'abo abagatta ebintu ebirala ku Katonda, tebaali baakuva ku nzikiriza yaabwe enkyamu okutuusa nga obunnyonnyofu bubajjidde رَسُولٌ مِّنَ ٱللَّهِ يَتۡلُواْ صُحُفًا مُّطَهَّرَةً ٢Nga, ye Mubaka (Nabbi Muhammad) eyatumwa okuva ewa Katonda, nga asoma ekitabo ekitukuvu (Kur'ani) فِيهَا كُتُبٌ قَيِّمَةٌ ٣Ekirimu amateeka amalambulukufu وَمَا تَفَرَّقَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَةُ ٤Era abantu abo abaweebwa e kitabo tebayawukanayawukana okutuusa nga obunnyonnyofu bumaze okubajjira وَمَآ أُمِرُوٓاْ إِلَّا لِيَعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ حُنَفَآءَ وَيُقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُواْ ٱلزَّكَوٰةَۚ وَذَٰلِكَ دِينُ ٱلۡقَيِّمَةِ ٥So nga ate tebaalagirwa okugyako okusinza Katonda yekka nga buli kyebakola bakikola ku lulwe yekka, awatali ku mugattirizaako kantu konna. Era nga bateekwa okuyimirizaawo e sswala n’okutoola Zzaka. Era nga eyo nno y'eddiini ennambulukufu إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ وَٱلۡمُشۡرِكِينَ فِي نَارِ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَآۚ أُوْلَٰٓئِكَ هُمۡ شَرُّ ٱلۡبَرِيَّةِ ٦Mazima abo abaajeema mu bantu abaaweebwa e kitabo n’abo abagatta ku Katonda e bintu ebirala bakuyingira omuliro Jahannama mwe bagenda okubeera olubeerera. Abo nno be babi okusinga ebitonde ebirala byonna إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ أُوْلَٰٓئِكَ هُمۡ خَيۡرُ ٱلۡبَرِيَّةِ ٧Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi be balungi okusinga ebitonde byonna جَزَآؤُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ جَنَّٰتُ عَدۡنٍ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدًاۖ رَّضِيَ ٱللَّهُ عَنۡهُمۡ وَرَضُواْ عَنۡهُۚ ذَٰلِكَ لِمَنۡ خَشِيَ رَبَّهُۥ ٨E mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe kubayingiza jjana eyitibwa Aden, nga emigga gikulukutira mu yo. Baakugibeeramu olubeerera. Katonda yabasiima nabo ne bamusiima. Ebyo nno bigenda kufunwa oyo eyatya omuleziwe (Katonda)

الترجمة: Fareeq Musa.