ملة الإسلام

السورة 15 · 99 آية · Fareeq Musa

سورة الحجر باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة الحجر (1,272 قارئاً)
مكيةسورة الحجر٩٩ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

الٓرۚ تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ وَقُرۡءَانٍ مُّبِينٍ ١Alif Laam Raa, zino ze zimu ku Aya z'ekitabo, era nga ye Kur’ani ennyinyonnyofu رُّبَمَا يَوَدُّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوۡ كَانُواْ مُسۡلِمِينَ ٢Lumu, abo abaakaafuwala balyegomba okuba nti singa baali basiraamu ذَرۡهُمۡ يَأۡكُلُواْ وَيَتَمَتَّعُواْ وَيُلۡهِهِمُ ٱلۡأَمَلُۖ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ ٣Baleke balye, era beeyagale era essuubi (mu kuwangaala) libalabankanye, kyaddaaki balimanya وَمَآ أَهۡلَكۡنَا مِن قَرۡيَةٍ إِلَّا وَلَهَا كِتَابٌ مَّعۡلُومٌ ٤Tetwazikiriza kitundu kyonna okugyako nga kyalina ekiseera ekimanyiddwa مَّا تَسۡبِقُ مِنۡ أُمَّةٍ أَجَلَهَا وَمَا يَسۡتَـٔۡخِرُونَ ٥Tewali bantu bakulembera ntuuko yaabwe era tebayinza kusaba kwongerwayo (okusaba kwa bwe ne kuyitamu) وَقَالُواْ يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِي نُزِّلَ عَلَيۡهِ ٱلذِّكۡرُ إِنَّكَ لَمَجۡنُونٌ ٦Nebagamba (abakaafiiri) nti owange ggwe eyassibwako ekijjukiza (Kur’ani) mazima ddala ggwe oli mulalu لَّوۡمَا تَأۡتِينَا بِٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ ٧Waakiri singa otuleetera ba Malayika bwoba nga oli mu boogera amazima مَا نُنَزِّلُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةَ إِلَّا بِٱلۡحَقِّ وَمَا كَانُوٓاْ إِذًا مُّنظَرِينَ ٨(Katonda naagamba) nti: tetussa ba Malayika okugyako lwa nsonga n'olwekyo (singa twabaweereza ba Malayika) tebandibadde balindirizibwa إِنَّا نَحۡنُ نَزَّلۡنَا ٱلذِّكۡرَ وَإِنَّا لَهُۥ لَحَٰفِظُونَ ٩Mazima ffe, ffe twassa ekijjukiza (Kur’ani) era mazima ffe tujja kugikuuma وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ فِي شِيَعِ ٱلۡأَوَّلِينَ ١٠Mazima nga tonnajja twatumira ebibiina ebyakulembera وَمَا يَأۡتِيهِم مِّن رَّسُولٍ إِلَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ١١Era tewali mubaka yenna eyabajjira okugyako baamujeejanga كَذَٰلِكَ نَسۡلُكُهُۥ فِي قُلُوبِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ١٢(Nga bwe twayingiza obukaafiiri mu mitima gya bakaafiiri abaakulembera) bwe tutyo bwe tubuyingiza mu mitima gy'aboonoonyi (abo mu bantubo) لَا يُؤۡمِنُونَ بِهِۦ وَقَدۡ خَلَتۡ سُنَّةُ ٱلۡأَوَّلِينَ ١٣(Obubaka bwo) tebabukkiriza ate nga ekyatuuka ku baabakulembera kimanyiddwa وَلَوۡ فَتَحۡنَا عَلَيۡهِم بَابًا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ فَظَلُّواْ فِيهِ يَعۡرُجُونَ ١٤Era singa twabaggulirawo omulyango mu ggulu nebaba nga balinnyira mu gwo (nga bwe bakka) لَقَالُوٓاْ إِنَّمَا سُكِّرَتۡ أَبۡصَٰرُنَا بَلۡ نَحۡنُ قَوۡمٌ مَّسۡحُورُونَ ١٥Baaligambye nti mazima amaaso gaffe gatamiiziddwa si nakindi ffe tuli bantu abaloge وَلَقَدۡ جَعَلۡنَا فِي ٱلسَّمَآءِ بُرُوجًا وَزَيَّنَّٰهَا لِلنَّٰظِرِينَ ١٦Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi وَحَفِظۡنَٰهَا مِن كُلِّ شَيۡطَٰنٍ رَّجِيمٍ ١٧Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda إِلَّا مَنِ ٱسۡتَرَقَ ٱلسَّمۡعَ فَأَتۡبَعَهُۥ شِهَابٌ مُّبِينٌ ١٨Wabula oyo Sitane aba awulirizza mu bubba olwo nno ekitawuliro ekyeyolefu nekimufubutula emisinde وَٱلۡأَرۡضَ مَدَدۡنَٰهَا وَأَلۡقَيۡنَا فِيهَا رَوَٰسِيَ وَأَنۢبَتۡنَا فِيهَا مِن كُلِّ شَيۡءٍ مَّوۡزُونٍ ١٩N’ensi twagigaziya, netugisimbamu enkondo (ensozi), netumeza mu yo buli kintu nga kya kigero وَجَعَلۡنَا لَكُمۡ فِيهَا مَعَٰيِشَ وَمَن لَّسۡتُمۡ لَهُۥ بِرَٰزِقِينَ ٢٠Netubateera (mmwe) mu yo ebiyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'ebiyimirizaawo obulamu bw'ebyo bye mutaliisa وَإِن مِّن شَيۡءٍ إِلَّا عِندَنَا خَزَآئِنُهُۥ وَمَا نُنَزِّلُهُۥٓ إِلَّا بِقَدَرٍ مَّعۡلُومٍ ٢١Tewali kintu kyonna okugyako nga ffe tulina amawanika g'akyo ate tetubissa okugyako nga kigero ekisaliddwawo وَأَرۡسَلۡنَا ٱلرِّيَٰحَ لَوَٰقِحَ فَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءً فَأَسۡقَيۡنَٰكُمُوهُ وَمَآ أَنتُمۡ لَهُۥ بِخَٰزِنِينَ ٢٢Era tusindika empewo eyamba ebire okubaamu amazzi, olwo nno netussa enkuba okuva waggulu, netubanywekereza nayo mmwe, so nga si mmwe muba mugaterese وَإِنَّا لَنَحۡنُ نُحۡيِۦ وَنُمِيتُ وَنَحۡنُ ٱلۡوَٰرِثُونَ ٢٣Era mazima ffe tuwa obulamu, era netutta era ffe tugenda okusigalawo وَلَقَدۡ عَلِمۡنَا ٱلۡمُسۡتَقۡدِمِينَ مِنكُمۡ وَلَقَدۡ عَلِمۡنَا ٱلۡمُسۡتَـٔۡخِرِينَ ٢٤Era mazima ddala twamanya abalisooka mu mmwe (okufa) era mazima twamanya abalisembayo وَإِنَّ رَبَّكَ هُوَ يَحۡشُرُهُمۡۚ إِنَّهُۥ حَكِيمٌ عَلِيمٌ ٢٥Era mazima Mukama omulabiriziwo yaali bakunganya (ku lunaku lw'enkomerero) anti mazima yye mugoba nsonga, muyitirivu wa kumanya وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِن صَلۡصَٰلٍ مِّنۡ حَمَإٍ مَّسۡنُونٍ ٢٦Mazima twakola omuntu (Adam) mu bbumba ettabule nga liddugavu وَٱلۡجَآنَّ خَلَقۡنَٰهُ مِن قَبۡلُ مِن نَّارِ ٱلسَّمُومِ ٢٧N'amajjini twagatonda oluberyeberye mu muliro omuyitirivu ogwokya ennyo وَإِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ إِنِّي خَٰلِقُۢ بَشَرًا مِّن صَلۡصَٰلٍ مِّنۡ حَمَإٍ مَّسۡنُونٍ ٢٨Jjukira ggwe (Nabbi Muhammad) Mukama omulabiriziwo bwe yagamba ba Malayika nti: mazima nja kutonda omuntu nga muggya mu bbumba ekkaze فَإِذَا سَوَّيۡتُهُۥ وَنَفَخۡتُ فِيهِ مِن رُّوحِي فَقَعُواْ لَهُۥ سَٰجِدِينَ ٢٩Olwo nno bwe nnamala okumwenkanyankanya, nenfuuwa mu ye omwoyo oguva gyendi kale nno mugwe wansi nga mumuvunnamira فَسَجَدَ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ كُلُّهُمۡ أَجۡمَعُونَ ٣٠Olwo ba Malayika bonna nebavunnama إِلَّآ إِبۡلِيسَ أَبَىٰٓ أَن يَكُونَ مَعَ ٱلسَّٰجِدِينَ ٣١Okugyako Ibuliisu yagaana okubeera mu bavunnama قَالَ يَٰٓإِبۡلِيسُ مَا لَكَ أَلَّا تَكُونَ مَعَ ٱلسَّٰجِدِينَ ٣٢(Katonda) kwe kugamba nti: owange ggwe Ibuliisu ki ekikugaanye okuvunnama n'abavunnami قَالَ لَمۡ أَكُن لِّأَسۡجُدَ لِبَشَرٍ خَلَقۡتَهُۥ مِن صَلۡصَٰلٍ مِّنۡ حَمَإٍ مَّسۡنُونٍ ٣٣(Ibuliisu) nti: sandibadde avunnamira omuntu, gwotonze nga omuggya mu bbumba ekkaze eriddugavu قَالَ فَٱخۡرُجۡ مِنۡهَا فَإِنَّكَ رَجِيمٌ ٣٤(Katonda) kwe kumugamba nti gifulume (e jjana) anti ggwe ogobeddwa okuva mu kusaasira kwa Katonda وَإِنَّ عَلَيۡكَ ٱللَّعۡنَةَ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلدِّينِ ٣٥Era mazima ekikolimo kibeere ku ggwe okutuusiza ddala olunaku lw'okubalibwa قَالَ رَبِّ فَأَنظِرۡنِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ ٣٦(Ibuliisu) naagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi wange, nnindiriza okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa قَالَ فَإِنَّكَ مِنَ ٱلۡمُنظَرِينَ ٣٧(Katonda) naagamba nti kale oli mubalindiriziddwa إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡوَقۡتِ ٱلۡمَعۡلُومِ ٣٨Okutuusa ku lunaku lw'ekiseera ekimanyiddwa (ebitonde byonna lwe birizikirira) قَالَ رَبِّ بِمَآ أَغۡوَيۡتَنِي لَأُزَيِّنَنَّ لَهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَأُغۡوِيَنَّهُمۡ أَجۡمَعِينَ ٣٩(Ibuliisu) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nga bwombuzizza, mazima nja kubawundira kuno ku nsi (obujeemu n'ebibi bibe nga by'ebirungi mu maaso gaabwe) era nja kubabuliza ddala bonna إِلَّا عِبَادَكَ مِنۡهُمُ ٱلۡمُخۡلَصِينَ ٤٠Okugyako abaddubo mu bo abalondobemu قَالَ هَٰذَا صِرَٰطٌ عَلَيَّ مُسۡتَقِيمٌ ٤١(Katonda) naagamba nti lino kkubo ggolokofu إِنَّ عِبَادِي لَيۡسَ لَكَ عَلَيۡهِمۡ سُلۡطَٰنٌ إِلَّا مَنِ ٱتَّبَعَكَ مِنَ ٱلۡغَاوِينَ ٤٢Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza, mpozzi abo abakugoberera mu babuze وَإِنَّ جَهَنَّمَ لَمَوۡعِدُهُمۡ أَجۡمَعِينَ ٤٣Era mazima omuliro Jahannama gwabalagaanyisibwa bonna لَهَا سَبۡعَةُ أَبۡوَٰبٍ لِّكُلِّ بَابٍ مِّنۡهُمۡ جُزۡءٌ مَّقۡسُومٌ ٤٤Gulina emiryango musanvu, buli mulyango gulina mu bo omuteeko ogwagugerekerwa إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي جَنَّٰتٍ وَعُيُونٍ ٤٥Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n'ensulo nga zikulukuta ٱدۡخُلُوهَا بِسَلَٰمٍ ءَامِنِينَ ٤٦(Baligambibwa) nti mugiyingire nga muli mirembe nga temulina kutya kwonna وَنَزَعۡنَا مَا فِي صُدُورِهِم مِّنۡ غِلٍّ إِخۡوَٰنًا عَلَىٰ سُرُرٍ مُّتَقَٰبِلِينَ ٤٧Netujjawo buli kakuku akali mu bifuba bya bwe nebaba ab'oluganda. Olwo nno nga bali ku bitanda nga batunuuliganye (banyumya) لَا يَمَسُّهُمۡ فِيهَا نَصَبٌ وَمَا هُم مِّنۡهَا بِمُخۡرَجِينَ ٤٨Tebagenda kutuukibwako kukoowa era nga bwe batagenda kufulumizibwamu ۞ نَبِّئۡ عِبَادِيٓ أَنِّيٓ أَنَا ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ ٤٩Tegeeza abaddu bange nti nze musonyiyi ennyo omusaasizi ۞ وَأَنَّ عَذَابِي هُوَ ٱلۡعَذَابُ ٱلۡأَلِيمُ ٥٠Era nti mazima ebibonerezo byange by'ebibonerezo ebiruma ennyo وَنَبِّئۡهُمۡ عَن ضَيۡفِ إِبۡرَٰهِيمَ ٥١Era bategeeze ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim إِذۡ دَخَلُواْ عَلَيۡهِ فَقَالُواْ سَلَٰمًا قَالَ إِنَّا مِنكُمۡ وَجِلُونَ ٥٢Mu kiseera bwe baayingira we yali nebagamba nti mirembe (Salaamu) naagamba (Ibrahim) mazima ffe tubatidde قَالُواْ لَا تَوۡجَلۡ إِنَّا نُبَشِّرُكَ بِغُلَٰمٍ عَلِيمٍ ٥٣Nebagamba nti totya, mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala) omwana omulenzi omumanyi ennyo قَالَ أَبَشَّرۡتُمُونِي عَلَىٰٓ أَن مَّسَّنِيَ ٱلۡكِبَرُ فَبِمَ تُبَشِّرُونَ ٥٤(Ibrahim) naagamba nti: mumpa amawulire ag'essanyu nga n'obukadde bumaze okunzingiza olwo mawulire ga ssanyu nnabaki قَالُواْ بَشَّرۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ فَلَا تَكُن مِّنَ ٱلۡقَٰنِطِينَ ٥٥Nebagamba nti, tukuwadde amawulire ag'essanyu mu bwesimbu, tobeeranga mu bakutuka n'okusuubira قَالَ وَمَن يَقۡنَطُ مِن رَّحۡمَةِ رَبِّهِۦٓ إِلَّا ٱلضَّآلُّونَ ٥٦Naagamba nti nga ani akutuka n'okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe mpozzi ababuze قَالَ فَمَا خَطۡبُكُمۡ أَيُّهَا ٱلۡمُرۡسَلُونَ ٥٧Naagamba nti kiki ekibaleese abange mmwe abatumiddwa قَالُوٓاْ إِنَّآ أُرۡسِلۡنَآ إِلَىٰ قَوۡمٍ مُّجۡرِمِينَ ٥٨Nebagamba nti: mazima ffe tusindikiddwa eri abantu aboonoonyi إِلَّآ ءَالَ لُوطٍ إِنَّا لَمُنَجُّوهُمۡ أَجۡمَعِينَ ٥٩Ng'oggyeko abenju ya Luutu mazima ddala ffe bonna tujja kubawonya إِلَّا ٱمۡرَأَتَهُۥ قَدَّرۡنَآ إِنَّهَا لَمِنَ ٱلۡغَٰبِرِينَ ٦٠Okugyako mukyalawe, twakisalawo nti mazima yye waakubeera mu abo abataligenda (naye) فَلَمَّا جَآءَ ءَالَ لُوطٍ ٱلۡمُرۡسَلُونَ ٦١Ababaka bwe baatuuka awali abantu ba (Nabbi) Luutu قَالَ إِنَّكُمۡ قَوۡمٌ مُّنكَرُونَ ٦٢(Luutu) naagamba nti mazima mmwe muli abantu abatamanyidddwa قَالُواْ بَلۡ جِئۡنَٰكَ بِمَا كَانُواْ فِيهِ يَمۡتَرُونَ ٦٣Nebagamba nti: ssi ekyo kyokka wabula tukujjidde n'ekyo kye baali babuusabuusa وَأَتَيۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ وَإِنَّا لَصَٰدِقُونَ ٦٤Era tukuleetedde amazima, era ddala ffe bye twogera bituufu فَأَسۡرِ بِأَهۡلِكَ بِقِطۡعٍ مِّنَ ٱلَّيۡلِ وَٱتَّبِعۡ أَدۡبَٰرَهُمۡ وَلَا يَلۡتَفِتۡ مِنكُمۡ أَحَدٌ وَٱمۡضُواْ حَيۡثُ تُؤۡمَرُونَ ٦٥Kale tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro era (ggwe) baveeko emabega tewaba omu ku mmwe akyuka, era mugende eyo gye mulagiddwa وَقَضَيۡنَآ إِلَيۡهِ ذَٰلِكَ ٱلۡأَمۡرَ أَنَّ دَابِرَ هَٰٓؤُلَآءِ مَقۡطُوعٌ مُّصۡبِحِينَ ٦٦Netumuwa ekiragiro nti abasembayo ku bo baakuggwawo nga busaasaana وَجَآءَ أَهۡلُ ٱلۡمَدِينَةِ يَسۡتَبۡشِرُونَ ٦٧Abantu bo mu kibuga nebajja (ewa Luutu) nga bafa essanyu (olw'abagenyi abavubuka abaali bakyaddeyo) قَالَ إِنَّ هَٰٓؤُلَآءِ ضَيۡفِي فَلَا تَفۡضَحُونِ ٦٨(Luutu) naagamba nti mazima abo bemulaba bagenyi bange temunsonyiwaza وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَلَا تُخۡزُونِ ٦٩Era mutye Katonda temunswaza قَالُوٓاْ أَوَلَمۡ نَنۡهَكَ عَنِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٧٠Nebagamba nti: abaffe tetwakugaana (okuleeta wano) abantu قَالَ هَٰٓؤُلَآءِ بَنَاتِيٓ إِن كُنتُمۡ فَٰعِلِينَ ٧١Naabagamba nti bawala bange baabo bwe muba nga mulina kukikola لَعَمۡرُكَ إِنَّهُمۡ لَفِي سَكۡرَتِهِمۡ يَعۡمَهُونَ ٧٢(Katonda agamba nti) ndayidde obulamu bwo (ggwe Muhammad) mazima bo mu kukola ebyo byonna, baali babuyaanira mu butamiivu bwabwe فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّيۡحَةُ مُشۡرِقِينَ ٧٣Okubwatuka (okwamaanyi) nekubatuukako nga enjuba evaayo فَجَعَلۡنَا عَٰلِيَهَا سَافِلَهَا وَأَمۡطَرۡنَا عَلَيۡهِمۡ حِجَارَةً مِّن سِجِّيلٍ ٧٤(Netuvuunika ebyalo byabwe) netuzza waggulu waabyo wansi, netubafukirira amayinja ag'o mu bbumba eryokye إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٍ لِّلۡمُتَوَسِّمِينَ ٧٥Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abo abalondoozi b'obubonero وَإِنَّهَا لَبِسَبِيلٍ مُّقِيمٍ ٧٦Era mazima ebyalo ebyo (ebyazikirizibwa) biri ku kkubo erikyaliwo (agendayo asobola okubiraba) إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةً لِّلۡمُؤۡمِنِينَ ٧٧Mazima mu ebyo mulimu akabonero (akalaga obusobozi bwa Katonda) eri abakkiriza وَإِن كَانَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡأَيۡكَةِ لَظَٰلِمِينَ ٧٨Era mazima n'abantu b'omukibira baali beeyisa bubi فَٱنتَقَمۡنَا مِنۡهُمۡ وَإِنَّهُمَا لَبِإِمَامٍ مُّبِينٍ ٧٩Netubazikiriza era mazima abantu ab'emirundi ebiri (aba Luutu ne Swaibu) baali ku kkubo erimanyiddwa (buli ayitawo alabawo) وَلَقَدۡ كَذَّبَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡحِجۡرِ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ٨٠Mazima abantu be Hijiri baalimbisa ababaka (bwe baalimbisa Nabbi Swaleh) وَءَاتَيۡنَٰهُمۡ ءَايَٰتِنَا فَكَانُواْ عَنۡهَا مُعۡرِضِينَ ٨١Era netubaleetera obubonero bwaffe naye nebabwawukanako وَكَانُواْ يَنۡحِتُونَ مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتًا ءَامِنِينَ ٨٢Baasimanga ensozi, nebakolamu amayumba mwe baawangaaliranga mu ddembe فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّيۡحَةُ مُصۡبِحِينَ ٨٣Okubwatuka nekubakwata nga bukya فَمَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ٨٤Ebyo bye baakolanga tebyabayamba وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَآ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۗ وَإِنَّ ٱلسَّاعَةَ لَأٓتِيَةٌۖ فَٱصۡفَحِ ٱلصَّفۡحَ ٱلۡجَمِيلَ ٨٥Era tetwatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi okugyako ku lwakigendererwa, era nti mazima essaawa esembayo ejja kutuuka, kale nno lekera olulekera olulungi إِنَّ رَبَّكَ هُوَ ٱلۡخَلَّٰقُ ٱلۡعَلِيمُ ٨٦Mazima Mukama omulabiriziwo yye ye mutonzi amanyi ennyo وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَٰكَ سَبۡعًا مِّنَ ٱلۡمَثَانِي وَٱلۡقُرۡءَانَ ٱلۡعَظِيمَ ٨٧Era mazima twakuwa ayaa omusanvu eziddinganwa (Surat Al Fatiha) ne Kur’ani ey'ekitiibwa (yonna) لَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجًا مِّنۡهُمۡ وَلَا تَحۡزَنۡ عَلَيۡهِمۡ وَٱخۡفِضۡ جَنَاحَكَ لِلۡمُؤۡمِنِينَ ٨٨Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza وَقُلۡ إِنِّيٓ أَنَا ٱلنَّذِيرُ ٱلۡمُبِينُ ٨٩Era bagambe nti mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu كَمَآ أَنزَلۡنَا عَلَى ٱلۡمُقۡتَسِمِينَ ٩٠Nga bwe twassa ku abo abagabanya (mu bubaka bwa Katonda) ٱلَّذِينَ جَعَلُواْ ٱلۡقُرۡءَانَ عِضِينَ ٩١Abo abafuula Kur’ani ebiwayi فَوَرَبِّكَ لَنَسۡـَٔلَنَّهُمۡ أَجۡمَعِينَ ٩٢Ndayira Mukama omulabiriziwo nti mazima bonna tugenda kubabuuliza ddala عَمَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ٩٣Ku ebyo bye baakolanga فَٱصۡدَعۡ بِمَا تُؤۡمَرُ وَأَعۡرِضۡ عَنِ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ٩٤Kale yogera mu lwatu ekyo ekikulagirwa, era oyawukane ku bagatta ku Katonda ebintu ebirala إِنَّا كَفَيۡنَٰكَ ٱلۡمُسۡتَهۡزِءِينَ ٩٥Mazima ffe twakumalira abajeeja ٱلَّذِينَ يَجۡعَلُونَ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَۚ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ ٩٦Abo abassa ku Katonda ba katonda abalala, nebwebuliba ddi balimanya وَلَقَدۡ نَعۡلَمُ أَنَّكَ يَضِيقُ صَدۡرُكَ بِمَا يَقُولُونَ ٩٧Tumanyidde ddala nti mazima ggwe ekifuba kyo kifunda olw'ebyo bye boogera فَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ وَكُن مِّنَ ٱلسَّٰجِدِينَ ٩٨(Ggwe kyoba okola) tendereza ebitendo bya Mukama omulabiriziwo era obeere mu bavunnama وَٱعۡبُدۡ رَبَّكَ حَتَّىٰ يَأۡتِيَكَ ٱلۡيَقِينُ ٩٩Era sinza Mukama omulabiriziwo okutuusa obukakafu (okufa) lwe bulikujjira

الترجمة: Fareeq Musa.