ملة الإسلام

السورة 3 · 200 آية · Fareeq Musa

سورة آل عمران باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة آل عمران (1,417 قارئاً)
مدنيةسورة آل عمران٢٠٠ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

الٓمٓ ١Alif Laamu Mimu ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡحَيُّ ٱلۡقَيُّومُ ٢Katonda yooyo tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, omulamu, (atendebwa n'obulamu obujjuvu obwolubeerera) eyeeyimirizaawo yekka era ayimirizaawo buli kintu kyonna نَزَّلَ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّ مُصَدِّقًا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيۡهِ وَأَنزَلَ ٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَ ٣Yassa gyoli ggwe (Nabbi Muhammad) ekitabo (Kur’ani) nga kijulira amazima geebyo e byakikulembera era ye yassa Taurat ne enjili مِن قَبۡلُ هُدًى لِّلنَّاسِ وَأَنزَلَ ٱلۡفُرۡقَانَۗ إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ لَهُمۡ عَذَابٌ شَدِيدٌۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٌ ذُو ٱنتِقَامٍ ٤Oluberyeberye lwa Kur’ani nga kyakulungamya eri abantu, era yassa ebyawula wakati wa mazima n'obulimba, mazima abo abawakanya ebigambo bya Katonda byeyassa balina ebibonerezo ebiyitirivu, Katonda ye nnantakubwa ku mukono, nannyini kwesasuza إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَخۡفَىٰ عَلَيۡهِ شَيۡءٌ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِي ٱلسَّمَآءِ ٥Katonda tewali kintu kyonna kimwekweka mu nsi ne mu ggulu هُوَ ٱلَّذِي يُصَوِّرُكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡحَامِ كَيۡفَ يَشَآءُۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ٦Katonda yooyo abatondera ku bifaananyi byammwe mu nnabaana nga bwaba ayagadde. tewali kisinzibwa kyonna mu mazima, okugyako yye. nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ مِنۡهُ ءَايَٰتٌ مُّحۡكَمَٰتٌ هُنَّ أُمُّ ٱلۡكِتَٰبِ وَأُخَرُ مُتَشَٰبِهَٰتٌۖ فَأَمَّا ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِمۡ زَيۡغٌ فَيَتَّبِعُونَ مَا تَشَٰبَهَ مِنۡهُ ٱبۡتِغَآءَ ٱلۡفِتۡنَةِ وَٱبۡتِغَآءَ تَأۡوِيلِهِۦۖ وَمَا يَعۡلَمُ تَأۡوِيلَهُۥٓ إِلَّا ٱللَّهُۗ وَٱلرَّٰسِخُونَ فِي ٱلۡعِلۡمِ يَقُولُونَ ءَامَنَّا بِهِۦ كُلٌّ مِّنۡ عِندِ رَبِّنَاۗ وَمَا يَذَّكَّرُ إِلَّآ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ٧Yye, yooyo eyassa ku ggwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) mulimu mu kyo ebitundu nga aya zaamu nyinyonnyofu ebyo ngagwemusingi gwekitabo (Kur’ani). Era mulimu ebitundu ebirala nga Aya zaamu ziwa amakulu agafaanagana (nga okuzitegeera kwesigamye ku bitundu bya Aya ezo'musingi gwa Kur’ani) Naye abalina obubuze mu mitima gyabwe (olwebigendererwa byabwe ebibi bo) balondamu Aya eziwa amakulu agafaanagana nga tebeesigamye ku Aya zinannyini musingi gwa Kur’ani, nga ekigendererwa kyabwe kubuza bantu n'olwokwagala okuziggya ku makulu gaazo amatuufu, so nga tewali amanyi makulu gaazo amatuufu okugyako Katonda, nga abakenkufu mu kumanya bagamba nti tukkiriza Kur’ani, byonna ebigirimu byava wa Mukama omulabirizi waffe era nga tewali ategeera bigirimu okugyako ba nannyini magezi amasukkulumu رَبَّنَا لَا تُزِغۡ قُلُوبَنَا بَعۡدَ إِذۡ هَدَيۡتَنَا وَهَبۡ لَنَا مِن لَّدُنكَ رَحۡمَةًۚ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡوَهَّابُ ٨(Era bagamba nti) Ayi Mukama omulabirizi waffe toggya mitima gyaffe ku bulungamu oluvanyuma lwokuba nti wabutuwa, anti mazima, ggwe mugabi wa byonna رَبَّنَآ إِنَّكَ جَامِعُ ٱلنَّاسِ لِيَوۡمٍ لَّا رَيۡبَ فِيهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُخۡلِفُ ٱلۡمِيعَادَ ٩Ayi Mukama omulabirizi waffe tukkiriza era nga tukakasa nti ggwe ojja kukunganya abantu ku lunaku olutaliiko kubuusabuusa, anti mazima Katonda tayawukana kundagaano gye yalagaanyisa إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَن تُغۡنِيَ عَنۡهُمۡ أَمۡوَٰلُهُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُهُم مِّنَ ٱللَّهِ شَيۡـًٔاۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمۡ وَقُودُ ٱلنَّارِ ١٠Mazima abo abaakaafuwala emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebigenda kubagasa naakamu oba okubataasa ku bibonerezo bya Katonda era abo bennyini zeeziriba enku z'omuliro (ku lunaku olwo) كَدَأۡبِ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ وَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُ بِذُنُوبِهِمۡۗ وَٱللَّهُ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ١١Embeera yaabwe mukulimbisa ebigambo bya Katonda efaanana ey’abantu ba farawo n'abaakulembera, Abantu ba Firawo abaalimbisa ebigambo bya Katonda, Katonda naababonererezaawo olwebyonoono byabwe, anti Katonda muyitirivu wa kubonereza قُل لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ سَتُغۡلَبُونَ وَتُحۡشَرُونَ إِلَىٰ جَهَنَّمَۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ١٢Ggwe Nabbi, gamba abo abaakaafuwala nti mujja kuwangulwa era mukunganyizibwe mu muliro Jahannama, nabwo bwe buddo obubi ennyo قَدۡ كَانَ لَكُمۡ ءَايَةٌ فِي فِئَتَيۡنِ ٱلۡتَقَتَاۖ فِئَةٌ تُقَٰتِلُ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَأُخۡرَىٰ كَافِرَةٌ يَرَوۡنَهُم مِّثۡلَيۡهِمۡ رَأۡيَ ٱلۡعَيۡنِۚ وَٱللَّهُ يُؤَيِّدُ بِنَصۡرِهِۦ مَن يَشَآءُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَعِبۡرَةً لِّأُوْلِي ٱلۡأَبۡصَٰرِ ١٣Mwalina ekyokulabirako ekyenkukunala ku bibinja ebibiri ebyasisinkana (ku lutalo lwe Badri) ekibinja ekimu (ekya Nabbi () ne banne) nga balwana kutaasa ddiini ya Katonda, nga n'ekibinja ekirala kya baakaafiiri. Abakafiiri baalaba abakkiriza mu muwendo nga babakubisaamu emirundi ebiri, anti Katonda awagira n'okutaasa kwe oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu ekyokuyiga eri ba nannyini kulaba okutuufu زُيِّنَ لِلنَّاسِ حُبُّ ٱلشَّهَوَٰتِ مِنَ ٱلنِّسَآءِ وَٱلۡبَنِينَ وَٱلۡقَنَٰطِيرِ ٱلۡمُقَنطَرَةِ مِنَ ٱلذَّهَبِ وَٱلۡفِضَّةِ وَٱلۡخَيۡلِ ٱلۡمُسَوَّمَةِ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ وَٱلۡحَرۡثِۗ ذَٰلِكَ مَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱللَّهُ عِندَهُۥ حُسۡنُ ٱلۡمَـَٔابِ ١٤Abantu baateekebwamu okwagala ennyo ebyegombebwa nga Abakyala n'abaana ne ntuumu za zzaabu ne ffeeza ne mbalaasi e zinyirira n'ebisolo ebyawaka n'amasamba ebyo byonna bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga ewa Katonda yeeri obuddo obusinga obulungi ۞ قُلۡ أَؤُنَبِّئُكُم بِخَيۡرٍ مِّن ذَٰلِكُمۡۖ لِلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ عِندَ رَبِّهِمۡ جَنَّٰتٌ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَا وَأَزۡوَٰجٌ مُّطَهَّرَةٌ وَرِضۡوَٰنٌ مِّنَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ بَصِيرُۢ بِٱلۡعِبَادِ ١٥Bagambe nti mbategeeze ekirungi okusinga ebyo. Abatya Katonda bategekerwa ewa Katonda waabwe e jjana nga emigga gikulukutira mu yo, ba kugibeeramu obugenderevu era baweebwe nabakyala abatukuvu era baakufuna okusiima kwa Katonda, bulijjo Katonda alaba abaddu be ٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَآ إِنَّنَآ ءَامَنَّا فَٱغۡفِرۡ لَنَا ذُنُوبَنَا وَقِنَا عَذَابَ ٱلنَّارِ ١٦(Abaddu aboogerwako) beebo abagamba nti; Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tukkirizza n'olwekyo tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe otwesambise ebibonerezo by’omuliro ٱلصَّٰبِرِينَ وَٱلصَّٰدِقِينَ وَٱلۡقَٰنِتِينَ وَٱلۡمُنفِقِينَ وَٱلۡمُسۡتَغۡفِرِينَ بِٱلۡأَسۡحَارِ ١٧(Era beebo) abagumiikiriza ne babeera abakkiriza abaamazima era abagonvu era abasaddaaka era nga beegayirira Katonda amatumbi budde شَهِدَ ٱللَّهُ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ وَٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ وَأُوْلُواْ ٱلۡعِلۡمِ قَآئِمَۢا بِٱلۡقِسۡطِۚ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ١٨Katonda yakakasa nti ddala tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye neba malayika ne bannyini kumanya nabo bakakasa ekyo, era nga bulijjo Katonda aliwo kutuukiriza bwenkanya, tewali kisinzibwa okugyako yye nantakubwa ku mukono mugobansonga إِنَّ ٱلدِّينَ عِندَ ٱللَّهِ ٱلۡإِسۡلَٰمُۗ وَمَا ٱخۡتَلَفَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَهُمُ ٱلۡعِلۡمُ بَغۡيَۢا بَيۡنَهُمۡۗ وَمَن يَكۡفُرۡ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ فَإِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ١٩Mazima obusiraamu ye ddiini entuufu ewa Katonda era abaaweebwa e kitabo (Taurat ne njili) tebayawukana okugyako luvannyuma lwakufuna okumanyisibwa okuva eri Katonda kulwokwekolera ensalwa bokka nabokka n'omuntu yenna olwokwekolera eyewaggula ku bigambo bya Katonda mazima Katonda takaluubirirwa kubala فَإِنۡ حَآجُّوكَ فَقُلۡ أَسۡلَمۡتُ وَجۡهِيَ لِلَّهِ وَمَنِ ٱتَّبَعَنِۗ وَقُل لِّلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡأُمِّيِّـۧنَ ءَأَسۡلَمۡتُمۡۚ فَإِنۡ أَسۡلَمُواْ فَقَدِ ٱهۡتَدَواْۖ وَّإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّمَا عَلَيۡكَ ٱلۡبَلَٰغُۗ وَٱللَّهُ بَصِيرُۢ بِٱلۡعِبَادِ ٢٠Bwebaba bakuwakanyizza, ggwe gamba nti neewaddeyo nzenna ewa Katonda nabuli, yenna angoberera ekyo kyakola, era ogambe abo abaaweebwa ekitabo naabo abatalina kitabo (ba mushirikiina) nti nammwe mwewaddeyo bwe beelangirira nti basiramuse olwonno baba balungamye, bwebatakola batyo, anti ggwe kyoteekwa okukola kubatusaako bubaka era bulijjo Katonda alaba abaddu be (nebyebakola) إِنَّ ٱلَّذِينَ يَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَيَقۡتُلُونَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ بِغَيۡرِ حَقٍّ وَيَقۡتُلُونَ ٱلَّذِينَ يَأۡمُرُونَ بِٱلۡقِسۡطِ مِنَ ٱلنَّاسِ فَبَشِّرۡهُم بِعَذَابٍ أَلِيمٍ ٢١Mazima abeewaggula kubigambo bya Katonda era ne batta ba Nabbi mubukyamu era ne batta abo abalagira abantu okukola obwenkanya, basanyuse (mu kubakiina) nti bagenda kufuna ebibonerezo ebiruma أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ حَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَمَا لَهُم مِّن نَّٰصِرِينَ ٢٢Abo beebo emirimu gyabwe gyafaafaagana ku nsi ne ku nkomerero era tebagenda kufuna wa kubataasa أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ أُوتُواْ نَصِيبًا مِّنَ ٱلۡكِتَٰبِ يُدۡعَوۡنَ إِلَىٰ كِتَٰبِ ٱللَّهِ لِيَحۡكُمَ بَيۡنَهُمۡ ثُمَّ يَتَوَلَّىٰ فَرِيقٌ مِّنۡهُمۡ وَهُم مُّعۡرِضُونَ ٢٣Tolaba abo abaaweebwa omukisa nebafuna ekitabo nga bayitibwa okudda eri ekitabo kya Katonda abalamule, ate ekitundu ku bo, nebatakikola. Mukukola ekyo nebaba nga bavudde ku mazima gebamanyi ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُواْ لَن تَمَسَّنَا ٱلنَّارُ إِلَّآ أَيَّامًا مَّعۡدُودَٰتٍۖ وَغَرَّهُمۡ فِي دِينِهِم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ٢٤Ekyo nno lwakuba nti bagamba nti omuliro tegugenda kutwokya okugyako nnaku mbale bubazi, ebigambo byebeyiyiza nebibagayaaza mu ddiini yaabwe فَكَيۡفَ إِذَا جَمَعۡنَٰهُمۡ لِيَوۡمٍ لَّا رَيۡبَ فِيهِ وَوُفِّيَتۡ كُلُّ نَفۡسٍ مَّا كَسَبَتۡ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ٢٥Guliba gutya bwetulibakunganya ku lunaku olutaliimu kubuusabuusa! buli muntu n’asasulwa kyeyakola era tebagenda kuyisibwa bubi قُلِ ٱللَّهُمَّ مَٰلِكَ ٱلۡمُلۡكِ تُؤۡتِي ٱلۡمُلۡكَ مَن تَشَآءُ وَتَنزِعُ ٱلۡمُلۡكَ مِمَّن تَشَآءُ وَتُعِزُّ مَن تَشَآءُ وَتُذِلُّ مَن تَشَآءُۖ بِيَدِكَ ٱلۡخَيۡرُۖ إِنَّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ قَدِيرٌ ٢٦(Nabbi Muhammad) gamba nti; Ayi mukama Katonda, omufuzi w'obufuzi bwonna, owa obufuzi oyo gw’oba oyagadde era n’obugya kw’oyo gw’oba oyagadde, ositula oyo gw’oba oyagadde n’okakkanya oyo gwoba oyagadde. Obulungi bwonna buli mu mukono gwo anti ggwe muyinza ku buli kintu تُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَتُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِۖ وَتُخۡرِجُ ٱلۡحَيَّ مِنَ ٱلۡمَيِّتِ وَتُخۡرِجُ ٱلۡمَيِّتَ مِنَ ٱلۡحَيِّۖ وَتَرۡزُقُ مَن تَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٍ ٢٧Oyingiza ekiro mu musana, nga bwoyingiza omusana mu kiro. Era ogya ekiramu mu kifu, nga bwogya ekifu mu kiramu era owa riziki oyo yenna gwoba oyagadde awatali kubalirira لَّا يَتَّخِذِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلۡكَٰفِرِينَ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۖ وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ فَلَيۡسَ مِنَ ٱللَّهِ فِي شَيۡءٍ إِلَّآ أَن تَتَّقُواْ مِنۡهُمۡ تُقَىٰةًۗ وَيُحَذِّرُكُمُ ٱللَّهُ نَفۡسَهُۥۗ وَإِلَى ٱللَّهِ ٱلۡمَصِيرُ ٢٨Abakkiriza tebafuulanga Abakafiiri ab'emikwano nebalekawo abakkiriza. Omuntu akola bwatyo talina kintu kyonna ewa Katonda, okugyako nga mubeekengedde nti bayinza okubatusaako akabi (olwo nno musobola okukolagana ku ngulu) Katonda abalabula mmwe abakkiriza mumwegendereze, anti ewa Katonda yeeri obuddo قُلۡ إِن تُخۡفُواْ مَا فِي صُدُورِكُمۡ أَوۡ تُبۡدُوهُ يَعۡلَمۡهُ ٱللَّهُۗ وَيَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ قَدِيرٌ ٢٩Gamba ggwe (Nabbi Muhammad () nti nebwemukweka oba obutakweka ebiri mu bifuba byammwe, Katonda abimanya era amanyi ebiri mu ggulu n’ebiri mu nsi. Bulijjo Katonda mumanyi wa buli kintu يَوۡمَ تَجِدُ كُلُّ نَفۡسٍ مَّا عَمِلَتۡ مِنۡ خَيۡرٍ مُّحۡضَرًا وَمَا عَمِلَتۡ مِن سُوٓءٍ تَوَدُّ لَوۡ أَنَّ بَيۡنَهَا وَبَيۡنَهُۥٓ أَمَدَۢا بَعِيدًاۗ وَيُحَذِّرُكُمُ ٱللَّهُ نَفۡسَهُۥۗ وَٱللَّهُ رَءُوفُۢ بِٱلۡعِبَادِ ٣٠(Lowooza) ku lunaku buli muntu lwalisanga buli kyonna kyeyakola mu birungi nga kiteekeddwa awo, era nabuli kibi kyonna kyeyakola nga kiteekeddwa awo, nga yeegomba nti singa wakati we n’ekibi ekyo waliwo ebbanga ddene, Katonda abalabula mmwe abakkiriza okumwegendereza, era Katonda musaasizi eri abamusinza قُلۡ إِن كُنتُمۡ تُحِبُّونَ ٱللَّهَ فَٱتَّبِعُونِي يُحۡبِبۡكُمُ ٱللَّهُ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡ ذُنُوبَكُمۡۚ وَٱللَّهُ غَفُورٌ رَّحِيمٌ ٣١Gamba abantu (ggwe Muhammad () nti bwe muba mwagala Katonda, kale nno mungoberere Katonda ajja kubaagala era abasonyiwe ebyonoono byammwe, bulijjo Katonda musonyoyi musaasizi قُلۡ أَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَٱلرَّسُولَۖ فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡكَٰفِرِينَ ٣٢Gamba nti mugondere Katonda n'omubaka wabula bwemutakikola mazima Katonda tayagala bakaafiiri ۞ إِنَّ ٱللَّهَ ٱصۡطَفَىٰٓ ءَادَمَ وَنُوحًا وَءَالَ إِبۡرَٰهِيمَ وَءَالَ عِمۡرَٰنَ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ٣٣Mazima Katonda yawa Adam ne Nuhu n’abo mu nyumba ya Ibrahim n’abo mu nyumba ya Imran enkizo ku bantu abalala ذُرِّيَّةَۢ بَعۡضُهَا مِنۢ بَعۡضٍۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ ٣٤Nga bazukkulu, abamu bava mu bannabwe, bulijjo Katonda awulira mumanyi nnyo إِذۡ قَالَتِ ٱمۡرَأَتُ عِمۡرَٰنَ رَبِّ إِنِّي نَذَرۡتُ لَكَ مَا فِي بَطۡنِي مُحَرَّرًا فَتَقَبَّلۡ مِنِّيٓۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ٣٥Jjukira mukyala wa Imran bweyagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nneeyamye ku lulwo ekiri mu lubuto lwange kibe ekiwebwayo gyoli era nkusaba okkirize ekiwebwayo kyange, anti mazima ddala ggwe ggwe awulira omumanyi ennyo فَلَمَّا وَضَعَتۡهَا قَالَتۡ رَبِّ إِنِّي وَضَعۡتُهَآ أُنثَىٰ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا وَضَعَتۡ وَلَيۡسَ ٱلذَّكَرُ كَٱلۡأُنثَىٰۖ وَإِنِّي سَمَّيۡتُهَا مَرۡيَمَ وَإِنِّيٓ أُعِيذُهَا بِكَ وَذُرِّيَّتَهَا مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ ٱلرَّجِيمِ ٣٦(Maama wa Mariam) bweyazaala omwana oyo yagamba nti ayi mukama omulabirizi wange muzadde nga muwala, wabula Katonda ye yali asinga okutegeera kyeyali azadde, omusajja talinga mukazi era mazima nze mutuumye erinnya Mariam era mazima nze mukwasa ggwe ne zzadde lye omwesambise obubi bwa Sitane eyagobwa mu kusaasira kwo فَتَقَبَّلَهَا رَبُّهَا بِقَبُولٍ حَسَنٍ وَأَنۢبَتَهَا نَبَاتًا حَسَنًا وَكَفَّلَهَا زَكَرِيَّاۖ كُلَّمَا دَخَلَ عَلَيۡهَا زَكَرِيَّا ٱلۡمِحۡرَابَ وَجَدَ عِندَهَا رِزۡقًاۖ قَالَ يَٰمَرۡيَمُ أَنَّىٰ لَكِ هَٰذَاۖ قَالَتۡ هُوَ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ إِنَّ ٱللَّهَ يَرۡزُقُ مَن يَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٍ ٣٧Mukama omulabirizi we yamwanukula olwanukula olwa namaddala era naamukuza enkuza ennungi era naamukwasa Zakaria abe omukuza, buli Zakaria lweyayingiranga mu kifo Mariam weyatuulanga olwokusinza ng’amusanga alina ebyokulya. Naagamba nti owange Mariam bino obifuna kuva wa, naamuddamu nti byo biva wa Katonda, mazima Katonda agabirira oyo gwayagadde awatali kubalirira هُنَالِكَ دَعَا زَكَرِيَّا رَبَّهُۥۖ قَالَ رَبِّ هَبۡ لِي مِن لَّدُنكَ ذُرِّيَّةً طَيِّبَةًۖ إِنَّكَ سَمِيعُ ٱلدُّعَآءِ ٣٨Awo nno Zakaria yasaba Mukama omulabirizi we nga agamba nti Ayi mukama omulabirizi wange ngabira okuva gyoli ezzadde eddungi anti mazima ggwe owulira edduwa y’omusabi فَنَادَتۡهُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ وَهُوَ قَآئِمٌ يُصَلِّي فِي ٱلۡمِحۡرَابِ أَنَّ ٱللَّهَ يُبَشِّرُكَ بِيَحۡيَىٰ مُصَدِّقَۢا بِكَلِمَةٍ مِّنَ ٱللَّهِ وَسَيِّدًا وَحَصُورًا وَنَبِيًّا مِّنَ ٱلصَّٰلِحِينَ ٣٩Malayika naamukowoola bweyali ng’ayimiridde mu ssinzizo ngasaba n’amugamba nti mazima Katonda akuwa amawulire amalungi (ag'omwana) Yahaya, anajja ng’akakasa amazima g’ekigambo okuva eri Katonda era nga wa kitiibwa owensa era Nabbi ali mu luse lwa balongoofu قَالَ رَبِّ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي غُلَٰمٌ وَقَدۡ بَلَغَنِيَ ٱلۡكِبَرُ وَٱمۡرَأَتِي عَاقِرٌۖ قَالَ كَذَٰلِكَ ٱللَّهُ يَفۡعَلُ مَا يَشَآءُ ٤٠Zakaria naagamba nti; Mukama wange nnaafuna ntya omwana nga nkaddiye bwenti, era nga ne mukyala wange mugumba! (Malayika) naagamba nti bwatyo Katonda akola kyaba ayagadde قَالَ رَبِّ ٱجۡعَل لِّيٓ ءَايَةًۖ قَالَ ءَايَتُكَ أَلَّا تُكَلِّمَ ٱلنَّاسَ ثَلَٰثَةَ أَيَّامٍ إِلَّا رَمۡزًاۗ وَٱذۡكُر رَّبَّكَ كَثِيرًا وَسَبِّحۡ بِٱلۡعَشِيِّ وَٱلۡإِبۡكَٰرِ ٤١Naagamba nti Ayi Mukama omulabirizi wange mpa akabonero. (Malayika) naagamba akabonero ko kwekuba nti tojja kwogera n’abantu okumala ennaku ssatu okugyako ng’okozesa kulaza. Era jjukira Katonda wo era otendereze akawungeezi nenkya وَإِذۡ قَالَتِ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ يَٰمَرۡيَمُ إِنَّ ٱللَّهَ ٱصۡطَفَىٰكِ وَطَهَّرَكِ وَٱصۡطَفَىٰكِ عَلَىٰ نِسَآءِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٤٢Era jjukira Malayika bweyagamba Mariam nti mazima Katonda akulonze naakutukuza naakwawula ku Bakyala abalala bonna يَٰمَرۡيَمُ ٱقۡنُتِي لِرَبِّكِ وَٱسۡجُدِي وَٱرۡكَعِي مَعَ ٱلرَّٰكِعِينَ ٤٣Owange Mariam weeweyo eri Mukama omulabirizi wo ovunname era okutame ku maviivi nga abalala bwebakutama ذَٰلِكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ ٱلۡغَيۡبِ نُوحِيهِ إِلَيۡكَۚ وَمَا كُنتَ لَدَيۡهِمۡ إِذۡ يُلۡقُونَ أَقۡلَٰمَهُمۡ أَيُّهُمۡ يَكۡفُلُ مَرۡيَمَ وَمَا كُنتَ لَدَيۡهِمۡ إِذۡ يَخۡتَصِمُونَ ٤٤Ebyo by’ebimu ku bigambo ebyekusifu byetukutegeeza (Ggwe Muhammad) mu bubaka era tewali nabo web’akasukira e kalamu zaabwe ku mazzi ngabanoonya okumanya nti ani ku bo anaakuza Mariam, era tewali nabo bwe baali bakaayagana (ku nsonga eyo) إِذۡ قَالَتِ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ يَٰمَرۡيَمُ إِنَّ ٱللَّهَ يُبَشِّرُكِ بِكَلِمَةٍ مِّنۡهُ ٱسۡمُهُ ٱلۡمَسِيحُ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَ وَجِيهًا فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَمِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ ٤٥Era jjukira ekiseera Malayika bweyagamba Mariam nti; mazima Katonda akuwa amawulire agessanyu ag’ekigambo ekiva gyali (ekyokuzaala omwana) ngerinya lye ye Masiihi Isa mutabani wa Mariam aliba ow'ekitiibwa ku nsi ne ku nkomerero era nga w’amwabo abasembezebwa ewa Katonda وَيُكَلِّمُ ٱلنَّاسَ فِي ٱلۡمَهۡدِ وَكَهۡلًا وَمِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ ٤٦Era agenda kwogera n'abantu nga ali mu kibaya ne mukusajjakula era wa mu luse lwabalongofu قَالَتۡ رَبِّ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي وَلَدٌ وَلَمۡ يَمۡسَسۡنِي بَشَرٌۖ قَالَ كَذَٰلِكِ ٱللَّهُ يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُۚ إِذَا قَضَىٰٓ أَمۡرًا فَإِنَّمَا يَقُولُ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ ٤٧(Mariam) naagamba nti Mukama wange naafuna ntya omwana nga tewali muntu yali ankutteko (Malayika) naagamba nti bwekityo (bwekijja akuba) Katonda atonda nga bwaba ayagadde bwasalawo ekintu mazima akigamba bugambi nti ba ne kiba وَيُعَلِّمُهُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَ ٤٨Era (Katonda) ajja kumuyigiriza amateeka n’okugoba ensonga ne Taurat ne njili وَرَسُولًا إِلَىٰ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ أَنِّي قَدۡ جِئۡتُكُم بِـَٔايَةٍ مِّن رَّبِّكُمۡ أَنِّيٓ أَخۡلُقُ لَكُم مِّنَ ٱلطِّينِ كَهَيۡـَٔةِ ٱلطَّيۡرِ فَأَنفُخُ فِيهِ فَيَكُونُ طَيۡرَۢا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۖ وَأُبۡرِئُ ٱلۡأَكۡمَهَ وَٱلۡأَبۡرَصَ وَأُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ بِإِذۡنِ ٱللَّهِۖ وَأُنَبِّئُكُم بِمَا تَأۡكُلُونَ وَمَا تَدَّخِرُونَ فِي بُيُوتِكُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةً لَّكُمۡ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ٤٩Era agenda kubeera mubaka eri abaana ba Israel (ng’abagamba nti) mazima nze mbajjidde n’akabonero okuva eri Mukama Katonda wa mmwe nja kubakolera ekintu ekifaanana nga ekinyonyi okuva mu ttaka, nja kukifuuwamu omukka kibeere ekinyonyi ku lwobuyinza bwa Katonda, era njakuwonya abempoma n’abebigenge, nzuukize naabafu (byonna) kulwobuyinza bwa Katonda, era nja kubategeeza bwemulina okulya nebyemuteekwa okutereka mu mayumba gammwe, mazima ddala mw’ebyo (ebimenyeddwa) mulimu akabonero gyemuli bwe muba nga muli bakkiriza وَمُصَدِّقًا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيَّ مِنَ ٱلتَّوۡرَىٰةِ وَلِأُحِلَّ لَكُم بَعۡضَ ٱلَّذِي حُرِّمَ عَلَيۡكُمۡۚ وَجِئۡتُكُم بِـَٔايَةٍ مِّن رَّبِّكُمۡ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ٥٠Era mbajjidde nga nkakasa amazima g’ebyo ebyakulembera ebyajjira mu Taurat. Era mbakkirize ebimu kw’ebyo ebyali byabagaanibwa, era mbajjidde n’akabonero okuva eri mukama Katonda wa mmwe nolw’ekyo mutye Katonda era mungondere إِنَّ ٱللَّهَ رَبِّي وَرَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُوهُۚ هَٰذَا صِرَٰطٌ مُّسۡتَقِيمٌ ٥١Mazima Katonda ye Mukama wange era Mukama wa mmwe kale mumusinze. Okukola ekyo lyekkubo eggolokofu ۞ فَلَمَّآ أَحَسَّ عِيسَىٰ مِنۡهُمُ ٱلۡكُفۡرَ قَالَ مَنۡ أَنصَارِيٓ إِلَى ٱللَّهِۖ قَالَ ٱلۡحَوَارِيُّونَ نَحۡنُ أَنصَارُ ٱللَّهِ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَٱشۡهَدۡ بِأَنَّا مُسۡلِمُونَ ٥٢Naye Isa bweyamala okulaba obukaafiiri bwabwe naagamba nti; baani abanannyamba ku mulimu gwa Katonda, Abayigirizwa nebagamba nti ffe bataasa ba Katonda, tukkiriza Katonda. Naawe julira nti mazima ffe twewaddeyo ewa Katonda رَبَّنَآ ءَامَنَّا بِمَآ أَنزَلۡتَ وَٱتَّبَعۡنَا ٱلرَّسُولَ فَٱكۡتُبۡنَا مَعَ ٱلشَّٰهِدِينَ ٥٣Ayi Mukama Katonda waffe tukkiriza ebyo byewassa era netugoberera omubaka, kale tuwandiike mu bajulizi وَمَكَرُواْ وَمَكَرَ ٱللَّهُۖ وَٱللَّهُ خَيۡرُ ٱلۡمَٰكِرِينَ ٥٤(Abayudaaya) baasala enkwe ne Katonda n’asalawo okulemesa enkwe zaabwe anti bulijjo Katonda mulungi okusinga abo abasala enkwe إِذۡ قَالَ ٱللَّهُ يَٰعِيسَىٰٓ إِنِّي مُتَوَفِّيكَ وَرَافِعُكَ إِلَيَّ وَمُطَهِّرُكَ مِنَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَجَاعِلُ ٱلَّذِينَ ٱتَّبَعُوكَ فَوۡقَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِۖ ثُمَّ إِلَيَّ مَرۡجِعُكُمۡ فَأَحۡكُمُ بَيۡنَكُمۡ فِيمَا كُنتُمۡ فِيهِ تَخۡتَلِفُونَ ٥٥Jjukira ekiseera Katonda bweyagamba nti; Owange ggwe Isa nze ngenda kukutuukiririza ekyo kyenakuwandiikako, era ngenda kusitula nkuleete gyendi era nkutukuze kwabo abaakaafuwala, abo abakugoberera ngenda kubassa waggulu waabo abakafuwala okutuusa ku lunaku lw’enkomerero oluvanyuma gyendi mwenna gyemugenda okudda, olwo ndyoke mbalamule mwebyo byemwayawukanangamu فَأَمَّا ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَأُعَذِّبُهُمۡ عَذَابًا شَدِيدًا فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ وَمَا لَهُم مِّن نَّٰصِرِينَ ٥٦Bbo Abaakaafuwala ngenda kubabonereza n’ebibonerezo ebikakali ku nsi ne ku nkomerero, era tebagenda kufuna baakubataasa وَأَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ فَيُوَفِّيهِمۡ أُجُورَهُمۡۗ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ ٱلظَّٰلِمِينَ ٥٧Naye bbo, abo Abakkiriza nebakola emirimu emirungi (Katonda) agenda kubajjuliza empeera zaabwe, anti bulijjo Katonda tayagala bakozi ba bibi ذَٰلِكَ نَتۡلُوهُ عَلَيۡكَ مِنَ ٱلۡأٓيَٰتِ وَٱلذِّكۡرِ ٱلۡحَكِيمِ ٥٨Ebyo tubikusomera Ggwe (Nabbi Muhammad) nga byamububonero n’okubuulirira okwamagezi إِنَّ مَثَلَ عِيسَىٰ عِندَ ٱللَّهِ كَمَثَلِ ءَادَمَۖ خَلَقَهُۥ مِن تُرَابٍ ثُمَّ قَالَ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ ٥٩Mazima entondebwa ya Isa ewa Katonda efaanana nentondebwa ya Adam, yamutonda nga amugya mu ttaka oluvanyuma naamugamba nti beera n’aba omuntu ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَلَا تَكُن مِّنَ ٱلۡمُمۡتَرِينَ ٦٠Ago nno geemazima agava eri Mukama Katondawo, kale tobeeranga mu babuusabuusa فَمَنۡ حَآجَّكَ فِيهِ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَكَ مِنَ ٱلۡعِلۡمِ فَقُلۡ تَعَالَوۡاْ نَدۡعُ أَبۡنَآءَنَا وَأَبۡنَآءَكُمۡ وَنِسَآءَنَا وَنِسَآءَكُمۡ وَأَنفُسَنَا وَأَنفُسَكُمۡ ثُمَّ نَبۡتَهِلۡ فَنَجۡعَل لَّعۡنَتَ ٱللَّهِ عَلَى ٱلۡكَٰذِبِينَ ٦١Singa omuntu yenna akuwakanya kukino, oluvanyuma lwa mazima agakujjidde ggwe gamba nti mujje tuyite abaana baffe n'abaana ba mmwe, bakyala baffe ne bakyala ba mmwe, naffe fennyini nammwe olwo nno tusabe ekikolimo kya Katonda kituuke ku balimba إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ ٱلۡقَصَصُ ٱلۡحَقُّۚ وَمَا مِنۡ إِلَٰهٍ إِلَّا ٱللَّهُۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ٦٢Mazima bino (ebyogeddwa) g’emazima (ku bikwata ku nsonga y’okuzaalibwa kwa Isa), tewali kisinzibwa kyonna (mu mazima) okugyako Katonda omu Allah, era bulijjo Katonda ye nnantakubwa ku mukono mugoba nsonga فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِٱلۡمُفۡسِدِينَ ٦٣Bwebava ku mazima gano mazima Katonda amanyi byonna ebifa ku bonoonyi قُلۡ يَٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ تَعَالَوۡاْ إِلَىٰ كَلِمَةٍ سَوَآءِۭ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَكُمۡ أَلَّا نَعۡبُدَ إِلَّا ٱللَّهَ وَلَا نُشۡرِكَ بِهِۦ شَيۡـًٔا وَلَا يَتَّخِذَ بَعۡضُنَا بَعۡضًا أَرۡبَابًا مِّن دُونِ ٱللَّهِۚ فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَقُولُواْ ٱشۡهَدُواْ بِأَنَّا مُسۡلِمُونَ ٦٤(Ggwe Nabbi Muhammad) gamba nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo mujje twegatte ku kigambo ekigatta wakati waffe nammwe, nakyo kwekuba nga tetusinza okugyako Katonda, era tuleme ku mugattako kintu kyonna, era tube nga tetufuula abamu muffe ebyokusinza netuleka Katonda. Ekyo bwebakivaako, mmwe mubagambe nti (mmwe) mujulire nti mazima ffe tuli basiramu tukkiririza mu bwomu bwa Katonda يَٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تُحَآجُّونَ فِيٓ إِبۡرَٰهِيمَ وَمَآ أُنزِلَتِ ٱلتَّوۡرَىٰةُ وَٱلۡإِنجِيلُ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِهِۦٓۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ٦٥Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakana ku bikwata ku Ibrahim so nga Taurat ne njili tebyajja okugyako oluvanyumalwe. Abaffe temutegeera هَٰٓأَنتُمۡ هَٰٓؤُلَآءِ حَٰجَجۡتُمۡ فِيمَا لَكُم بِهِۦ عِلۡمٌ فَلِمَ تُحَآجُّونَ فِيمَا لَيۡسَ لَكُم بِهِۦ عِلۡمٌۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ وَأَنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ٦٦(Mwewunyisa) okuba nga mwe mwennyini mwawakana ku kyemulinako okumanya, ate kati lwaki muwakana ku kintu kyemutalinaako kumanya! so nga Katonda amanyi ate mmwe nga temumanyi مَا كَانَ إِبۡرَٰهِيمُ يَهُودِيًّا وَلَا نَصۡرَانِيًّا وَلَٰكِن كَانَ حَنِيفًا مُّسۡلِمًا وَمَا كَانَ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ٦٧Ibrahim tabeerangako mu yudaaya wadde omukulisitayo wabula yali mukkiriza owa nnamaddala eyewaayo ewa Katonda, era tabeerangako mu bagatta ku Katonda bintu birala إِنَّ أَوۡلَى ٱلنَّاسِ بِإِبۡرَٰهِيمَ لَلَّذِينَ ٱتَّبَعُوهُ وَهَٰذَا ٱلنَّبِيُّ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۗ وَٱللَّهُ وَلِيُّ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٦٨Mazima omuntu asinga okuba okumpi ne Ibrahim, beebo abaamugoberera, noono Nabbi n’abo Abakkiriza, bulijjo Katonda abeera munne wabakkiriza وَدَّت طَّآئِفَةٌ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَوۡ يُضِلُّونَكُمۡ وَمَا يُضِلُّونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡ وَمَا يَشۡعُرُونَ ٦٩Ekitundu ku bantu abaaweebwa ekitabo bandyagadde okubabuza, (mu kukola ekyo) tebabuza okugyako myoyo gyabwe naye tebategeera يَٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَأَنتُمۡ تَشۡهَدُونَ ٧٠Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda ate nga ddala nammwe mukakasa nti g’emazima يَٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَلۡبِسُونَ ٱلۡحَقَّ بِٱلۡبَٰطِلِ وَتَكۡتُمُونَ ٱلۡحَقَّ وَأَنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ٧١Abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki amazima mugatabikamu obulimba! nemukweka amazima nga nammwe mumanyidde ddala (ekituufu) وَقَالَت طَّآئِفَةٌ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ ءَامِنُواْ بِٱلَّذِيٓ أُنزِلَ عَلَى ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَجۡهَ ٱلنَّهَارِ وَٱكۡفُرُوٓاْ ءَاخِرَهُۥ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ٧٢Ekitundu ku bantu abaaweebwa ekitabo baagamba nti mukkirize ebyassibwa kwabo abakkiriza kumakya ate mubiwakanye olweggulo oba olyawo ekyo kinaayambako nebakyusa وَلَا تُؤۡمِنُوٓاْ إِلَّا لِمَن تَبِعَ دِينَكُمۡ قُلۡ إِنَّ ٱلۡهُدَىٰ هُدَى ٱللَّهِ أَن يُؤۡتَىٰٓ أَحَدٌ مِّثۡلَ مَآ أُوتِيتُمۡ أَوۡ يُحَآجُّوكُمۡ عِندَ رَبِّكُمۡۗ قُلۡ إِنَّ ٱلۡفَضۡلَ بِيَدِ ٱللَّهِ يُؤۡتِيهِ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٌ ٧٣Era temukkirizanga okugyako oyo ali ku ddiini yammwe, Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti: mazima obulungamu obwannamaddala bulungamu bwa Katonda, abaffe ekibakozesa ekyo lwakuba nti temwagala muntu mulala yenna kuweebwa ekiringa kyemwaweebwa (obwa Nabbi)! oba lwakutya nti bayinza okuvuganya nammwe ku lwekyo mumaaso ga Katonda (Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti mazima ebirungi biri mu mikono gya Katonda, abiwa oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi nnyo era mumanyi mu buli kintu يَخۡتَصُّ بِرَحۡمَتِهِۦ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ٧٤Ayawula gwaba ayagadde mu mmwe naamuwa okusaasira kwe era Katonda ye nannyini birungi ebingi ۞ وَمِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ مَنۡ إِن تَأۡمَنۡهُ بِقِنطَارٍ يُؤَدِّهِۦٓ إِلَيۡكَ وَمِنۡهُم مَّنۡ إِن تَأۡمَنۡهُ بِدِينَارٍ لَّا يُؤَدِّهِۦٓ إِلَيۡكَ إِلَّا مَا دُمۡتَ عَلَيۡهِ قَآئِمًاۗ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُواْ لَيۡسَ عَلَيۡنَا فِي ٱلۡأُمِّيِّـۧنَ سَبِيلٌ وَيَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ٧٥Mu bantu abaaweebwa ekitabo mulimu, omuntu singa oba omwesize ku mmaali ennyingi nga atuukiriza obuvunaanyizibwa, ate mu bo mulimu omuntu singa oba omwesize ku dinar emu (busente obutono) nga tatuukiriza buvunaanyizibwa, okugyako nga omwewubyeko, ekyo nno lwakuba bo bagamba nti tetufuna musango nga tulyazaamanyizza abatali basomi (abatali abaweebwa ebitabo) ne baba nga boogera ku Katonda obulimba nga nabo bamanyi ekituufu بَلَىٰۚ مَنۡ أَوۡفَىٰ بِعَهۡدِهِۦ وَٱتَّقَىٰ فَإِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلۡمُتَّقِينَ ٧٦Wabula (omuntu asaanira okweyita omwagalwa wa Katonda yandibadde) oyo atuukiriza byeyalagaanyisa era naatya Katonda. Mazima ddala bulijjo Katonda ayagala abamutya إِنَّ ٱلَّذِينَ يَشۡتَرُونَ بِعَهۡدِ ٱللَّهِ وَأَيۡمَٰنِهِمۡ ثَمَنًا قَلِيلًا أُوْلَٰٓئِكَ لَا خَلَٰقَ لَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ وَلَا يُكَلِّمُهُمُ ٱللَّهُ وَلَا يَنظُرُ إِلَيۡهِمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَلَا يُزَكِّيهِمۡ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ ٧٧Mazima ddala abo abatunda endagaano ya Katonda nebirayiro byaabwe ku muwendo omutono, tebalina mugabo ku lunaku lw’enkomerero, era Katonda tagenda kwogera nabo era tagenda kubatunulako ku lunaku lw’enkomerero era nga bwatagenda kubatukuza era bagenda kutuukwaako ebibonerezo ebiruma وَإِنَّ مِنۡهُمۡ لَفَرِيقًا يَلۡوُۥنَ أَلۡسِنَتَهُم بِٱلۡكِتَٰبِ لِتَحۡسَبُوهُ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَمَا هُوَ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَيَقُولُونَ هُوَ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِ وَمَا هُوَ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ وَيَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ٧٨Era mazima mu bo mulimu ekibinja abakyusakyusa ekitabo ne nnimi zaabwe, era mazima mulimu ekibinja kyabantu abakozesa ennimi zaabwe nebakyusa ebiri mu kitabo babalowoozese nti bya mu kitabo, so nga sibyamu. Era nebagamba nti byo byava wa Katonda so nga tebivanga wa Katonda, nebaba nga boogedde ku Katonda ebyobulimba naye nga nabo bamanyi amazima مَا كَانَ لِبَشَرٍ أَن يُؤۡتِيَهُ ٱللَّهُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحُكۡمَ وَٱلنُّبُوَّةَ ثُمَّ يَقُولَ لِلنَّاسِ كُونُواْ عِبَادًا لِّي مِن دُونِ ٱللَّهِ وَلَٰكِن كُونُواْ رَبَّٰنِيِّـۧنَ بِمَا كُنتُمۡ تُعَلِّمُونَ ٱلۡكِتَٰبَ وَبِمَا كُنتُمۡ تَدۡرُسُونَ ٧٩Tekigwanira muntu yenna okuba nga Katonda amuwa ekitabo n’okumanya ensonga, n'obwa Nabbi, ate naagamba Abantu nti mubeere baddu bange (munsinze) muve ku Katonda. (kyeyandibagambye kyandibadde nti:) Naye mubeere abasinza Katonda okusinziira ku kuba nti mmwe mubadde muyigiriza abantu abalala ekitabo, era n'olwokuba nti mubadde mukisoma (n'olwekyo mumanyi ekituufu ekyokukola) وَلَا يَأۡمُرَكُمۡ أَن تَتَّخِذُواْ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةَ وَٱلنَّبِيِّـۧنَ أَرۡبَابًاۚ أَيَأۡمُرُكُم بِٱلۡكُفۡرِ بَعۡدَ إِذۡ أَنتُم مُّسۡلِمُونَ ٨٠Era tabalagira kufuula ba Malayika ne ba Nabbi ba Katonda, (okiraba nti kijja) nti okuba nti abalagira ebyobukafiiri oluvanyuma lwokuba Abasiramu وَإِذۡ أَخَذَ ٱللَّهُ مِيثَٰقَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ لَمَآ ءَاتَيۡتُكُم مِّن كِتَٰبٍ وَحِكۡمَةٍ ثُمَّ جَآءَكُمۡ رَسُولٌ مُّصَدِّقٌ لِّمَا مَعَكُمۡ لَتُؤۡمِنُنَّ بِهِۦ وَلَتَنصُرُنَّهُۥۚ قَالَ ءَأَقۡرَرۡتُمۡ وَأَخَذۡتُمۡ عَلَىٰ ذَٰلِكُمۡ إِصۡرِيۖ قَالُوٓاْ أَقۡرَرۡنَاۚ قَالَ فَٱشۡهَدُواْ وَأَنَا۠ مَعَكُم مِّنَ ٱلشَّٰهِدِينَ ٨١Jjukira Katonda bweyakozesa ba Nabbi endagaano nti, lwonna lwembawanga ekitabo n’okumanya ensonga, oluvanyuma omubaka (Nabbi Muhammad () naabajjira nga ava gyendi) ng’akakasa ebyo byemulina, nti ddala mugenda kumukkiriza, era mugenda kumutaasa. Katonda naagamba nti mukkirizza, era mututte endagaano eno nti ekakase nebagamba (ba Nabbi) nti tukkirizza. Katonda naagamba nti mujulire era nange ndi wamu nammwe mu bajulizi فَمَن تَوَلَّىٰ بَعۡدَ ذَٰلِكَ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡفَٰسِقُونَ ٨٢Oyo yenna aliyawukana kwekyo abo nno be bonoonyi أَفَغَيۡرَ دِينِ ٱللَّهِ يَبۡغُونَ وَلَهُۥٓ أَسۡلَمَ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ طَوۡعًا وَكَرۡهًا وَإِلَيۡهِ يُرۡجَعُونَ ٨٣Abaffe abo (abonoonyi) baagala etali ddiini ya Katonda (Busiramu?) ate nga kululwe byewaayo (nebisiramuka) byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi mu kugonda ne mu kukakibwa, era nga gyali gyebiggya okuzzibwa قُلۡ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَمَآ أُنزِلَ عَلَيۡنَا وَمَآ أُنزِلَ عَلَىٰٓ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡمَٰعِيلَ وَإِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ وَٱلۡأَسۡبَاطِ وَمَآ أُوتِيَ مُوسَىٰ وَعِيسَىٰ وَٱلنَّبِيُّونَ مِن رَّبِّهِمۡ لَا نُفَرِّقُ بَيۡنَ أَحَدٍ مِّنۡهُمۡ وَنَحۡنُ لَهُۥ مُسۡلِمُونَ ٨٤Ggwe Nabbi Muhammad () gamba nti tukkiriza Katonda netukkiriza n'ebyo ebyassibwa gyetuli n'ebyo ebyassibwa ku Ibrahim ne Ismail, ne Ishak ne Yakub ne ku bazzukulube, n'ebyo ebyaweebwa Musa ne Isa n'ebyo byonna ebyassibwa ku ba Nabbi okuva ewa Katonda waabwe, tetulina Nabbi yenna gwetutakkiriza naffe twewaddeyo (mu Busiramu) eri Katonda waffe وَمَن يَبۡتَغِ غَيۡرَ ٱلۡإِسۡلَٰمِ دِينًا فَلَن يُقۡبَلَ مِنۡهُ وَهُوَ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ مِنَ ٱلۡخَٰسِرِينَ ٨٥Oyo yenna ayagala okweteerawo eddiini etali busiramu tegenda kukkirizibwa okuva gyali, era nga yye ku lunaku lw’enkomerero agenda kubeera mubafaafaganirwa كَيۡفَ يَهۡدِي ٱللَّهُ قَوۡمًا كَفَرُواْ بَعۡدَ إِيمَٰنِهِمۡ وَشَهِدُوٓاْ أَنَّ ٱلرَّسُولَ حَقٌّ وَجَآءَهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُۚ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّٰلِمِينَ ٨٦Katonda ayinza atya okulungamya abo abawakanya (obubaka bwa Nabbi Muhammad () oluvanyuma lwokukkiriza kwabwe nebawa n'obujulizi nti omubaka (Muhammad ()) w’amazima era nga n'obujulizi obukakasa obwa Nabbi bwe bwa baggyira, mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi أُوْلَٰٓئِكَ جَزَآؤُهُمۡ أَنَّ عَلَيۡهِمۡ لَعۡنَةَ ٱللَّهِ وَٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ وَٱلنَّاسِ أَجۡمَعِينَ ٨٧Abo nno okusasulwa kwabwe kuli nti mazima Katonda yabassaako ekikolimo n'ekya ba Malayika n’ekya bantu bonna خَٰلِدِينَ فِيهَا لَا يُخَفَّفُ عَنۡهُمُ ٱلۡعَذَابُ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ ٨٨(Abeeyisa obubi abo) Baakubeera mu muliro olubeerera tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo ate tebagenda kulindirizibwa إِلَّا ٱلَّذِينَ تَابُواْ مِنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَ وَأَصۡلَحُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ ٨٩Okugyako abo abeenenya oluvanyuma lwokukafuwala kwabwe era nebalongoosa, anti bulijjo Katonda musonyiyi nnyo era musaasizi إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بَعۡدَ إِيمَٰنِهِمۡ ثُمَّ ٱزۡدَادُواْ كُفۡرًا لَّن تُقۡبَلَ تَوۡبَتُهُمۡ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلضَّآلُّونَ ٩٠Mazima abo abaakafuwala oluvanyuma lwokukkiriza kwabwe, oluvanyuma nebeeyongera okukaafuwala, okwenenya kwabwe tekugenda kukkirizibwa, era abo be babuze abannamaddala إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَمَاتُواْ وَهُمۡ كُفَّارٌ فَلَن يُقۡبَلَ مِنۡ أَحَدِهِم مِّلۡءُ ٱلۡأَرۡضِ ذَهَبًا وَلَوِ ٱفۡتَدَىٰ بِهِۦٓۗ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ وَمَا لَهُم مِّن نَّٰصِرِينَ ٩١Mazima abo abaakafuwala nebafiira ku bukaafiiri tewali n'omu ku bo agenda kukkirizibwa kwenunula nebwaliba aleese zaabu ajjuza ensi, abo nno balina ebibonerezo ebiruma ennyo ate tebagenda kufuna mutaasa yenna لَن تَنَالُواْ ٱلۡبِرَّ حَتَّىٰ تُنفِقُواْ مِمَّا تُحِبُّونَۚ وَمَا تُنفِقُواْ مِن شَيۡءٍ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِهِۦ عَلِيمٌ ٩٢Temuyinza kutuuka ku ddaala lyokuyitibwa abakozi b’obulungi okugyako nga muwaddeyo kwebyo byemwagala, buli Kintu kyonna kyemuwayo mazima ddala Katonda akimanyi

الجزء الرابع

۞ كُلُّ ٱلطَّعَامِ كَانَ حِلًّا لِّبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ إِلَّا مَا حَرَّمَ إِسۡرَٰٓءِيلُ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦ مِن قَبۡلِ أَن تُنَزَّلَ ٱلتَّوۡرَىٰةُۚ قُلۡ فَأۡتُواْ بِٱلتَّوۡرَىٰةِ فَٱتۡلُوهَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ٩٣Ebyokulya byonna byali Halali eri abaana ba Israil okugyako ebyo Israil (Yakubu) byeyeeziyiza nga Taurat tennaba kussibwa, bagambe nti muleete Taurat mugisome bwe muba nga mwogera mazima فَمَنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ مِنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلظَّٰلِمُونَ ٩٤Oyo yenna anaatemerera Katonda ebigambo ebyobulimba oluvanyuma lwekyo, abo nno be beeyisa obubi قُلۡ صَدَقَ ٱللَّهُۗ فَٱتَّبِعُواْ مِلَّةَ إِبۡرَٰهِيمَ حَنِيفًاۖ وَمَا كَانَ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ٩٥Gamba nti Katonda yayogera mazima, kale mugoberere eddiini ya Ibrahim, nga takkiriza kusinza kintu kirala wadde okuba mwabo abagatta ku Katonda ekintu ekirala إِنَّ أَوَّلَ بَيۡتٍ وُضِعَ لِلنَّاسِ لَلَّذِي بِبَكَّةَ مُبَارَكًا وَهُدًى لِّلۡعَٰلَمِينَ ٩٦Mazima ddala e nyumba eyasooka okuterwawo abantu (olwokusinza Katonda) yeeyo eri e Mekka y’amikisa era nga kya kulungamya eri abantu bonna فِيهِ ءَايَٰتُۢ بَيِّنَٰتٌ مَّقَامُ إِبۡرَٰهِيمَۖ وَمَن دَخَلَهُۥ كَانَ ءَامِنًاۗ وَلِلَّهِ عَلَى ٱلنَّاسِ حِجُّ ٱلۡبَيۡتِ مَنِ ٱسۡتَطَاعَ إِلَيۡهِ سَبِيلًاۚ وَمَن كَفَرَ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَنِيٌّ عَنِ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٩٧Mulimu mu yo obubonero obwenkukunala, nga ekifo kya Ibrahim. Oyo yenna agiyingira abeera mirembe, era Katonda alaalise ku bantu okulambula e nyumba eyo kwoyo aba asobodde ebyetaagisa okutuuka gyeri, naye omuntu awakanya (obukakafu bwa Hijja) mazima ddala Katonda talina kyeyeeguya ku bantu قُلۡ يَٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَٱللَّهُ شَهِيدٌ عَلَىٰ مَا تَعۡمَلُونَ ٩٨Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muwakanya ebigambo bya Katonda! era bulijjo byemukola Katonda abiraba قُلۡ يَٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لِمَ تَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ مَنۡ ءَامَنَ تَبۡغُونَهَا عِوَجًا وَأَنتُمۡ شُهَدَآءُۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ ٩٩Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo lwaki muziyiza abantu okukwata ekkubo lya Katonda! nemuba nga akkiriza ekikolwakye mukitwala kuba nti kyabubuze, so nga mmwe mwennyini mumanyi ekituufu, Katonda tayinza kuba nga tafaayo kubyemukola يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِن تُطِيعُواْ فَرِيقًا مِّنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ يَرُدُّوكُم بَعۡدَ إِيمَٰنِكُمۡ كَٰفِرِينَ ١٠٠Abange Mmwe Abakkiriza bwemunaagondera ekibinja mwabo abaaweebwa ekitabo bajja kubazza mu bukafiiri oluvanyuma lwokuba nga mubadde bakkiriza وَكَيۡفَ تَكۡفُرُونَ وَأَنتُمۡ تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتُ ٱللَّهِ وَفِيكُمۡ رَسُولُهُۥۗ وَمَن يَعۡتَصِم بِٱللَّهِ فَقَدۡ هُدِيَ إِلَىٰ صِرَٰطٍ مُّسۡتَقِيمٍ ١٠١Muyinza mutya okukaafuwala nga ate musomerwa ebigambo bya Katonda era nga omubaka we ali mu mmwe, oyo yenna eyeekwata ku Katonda aba alungamiziddwa mu kkubo eggolokofu يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ حَقَّ تُقَاتِهِۦ وَلَا تَمُوتُنَّ إِلَّا وَأَنتُم مُّسۡلِمُونَ ١٠٢Abange mmwe Abakkiriza mutye Katonda mubutuufu bwokumutya era temufanga okugyako nga muli Basiramu وَٱعۡتَصِمُواْ بِحَبۡلِ ٱللَّهِ جَمِيعًا وَلَا تَفَرَّقُواْۚ وَٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ إِذۡ كُنتُمۡ أَعۡدَآءً فَأَلَّفَ بَيۡنَ قُلُوبِكُمۡ فَأَصۡبَحۡتُم بِنِعۡمَتِهِۦٓ إِخۡوَٰنًا وَكُنتُمۡ عَلَىٰ شَفَا حُفۡرَةٍ مِّنَ ٱلنَّارِ فَأَنقَذَكُم مِّنۡهَاۗ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ ١٠٣Mwekwate ku muguwa gwa Katonda mwenna, temwawukananga era mujjukire ekyengera kya Katonda kyeyabawa bwemwali nga muwalaggana n'atabaganya wakati w'emitima gyammwe olwekyengerakye, nemukeesa nga muli baaluganda, mwali mutuuse ku mugo gwekinnya kyomuliro n'agubatasaako, bwatyo nno Katonda bwabannyonyola ebigambo bye mube nga mulungama وَلۡتَكُن مِّنكُمۡ أُمَّةٌ يَدۡعُونَ إِلَى ٱلۡخَيۡرِ وَيَأۡمُرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَيَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِۚ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ١٠٤Wateekeddwa okuba mu mmwe ekibiina (Nga abakirimu) bakubiriza Abantu okudda eri obulungi era nga bakubiriza Abantu okuyisa obulungi era nga babaziyiza okweyisa obubi era abo be b'okwesiima (ku lunaku lw’enkomerero nebawona ebibonerezo bya Katonda) وَلَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ تَفَرَّقُواْ وَٱخۡتَلَفُواْ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُۚ وَأُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٌ ١٠٥Temubeera nga abo abeetemamu nebaawukana oluvanyuma lw'obunnyonnyofu okubajjira, n’abo nno balina ebibonerezo ebyamaanyi يَوۡمَ تَبۡيَضُّ وُجُوهٌ وَتَسۡوَدُّ وُجُوهٌۚ فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ٱسۡوَدَّتۡ وُجُوهُهُمۡ أَكَفَرۡتُم بَعۡدَ إِيمَٰنِكُمۡ فَذُوقُواْ ٱلۡعَذَابَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ ١٠٦Ku lunaku ebyenyi lwebiritemagana ebirala nebisiiwuuka bo abo abalisiwuuka ebyenyi byabwe (baligambibwa nti ekibatuusizza kwekyo lwakuba nti) mwakafuwala oluvanyuma lwokuba nti mwali bakkiriza, n'olwekyo mukombe ku bukaawu bwebibonerezo olwebyo byemwawakanyanga وَأَمَّا ٱلَّذِينَ ٱبۡيَضَّتۡ وُجُوهُهُمۡ فَفِي رَحۡمَةِ ٱللَّهِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ١٠٧Bo abo ebiritemagana ebyenyi byabwe baakubeera mu kusaasira kwa Katonda (jjana) bo baakubeeramu obugenderevu تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱللَّهِ نَتۡلُوهَا عَلَيۡكَ بِٱلۡحَقِّۗ وَمَا ٱللَّهُ يُرِيدُ ظُلۡمًا لِّلۡعَٰلَمِينَ ١٠٨Ebyo bigambo bya Katonda tubikusomera mu butuufu bwabyo, Katonda tayagaliza bitonde kulyazamanyizibwa وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ ١٠٩Era bya Katonda ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi era eri Katonda ebintu byonna gyebizzibwa كُنتُمۡ خَيۡرَ أُمَّةٍ أُخۡرِجَتۡ لِلنَّاسِ تَأۡمُرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَتَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَتُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِۗ وَلَوۡ ءَامَنَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ لَكَانَ خَيۡرًا لَّهُمۚ مِّنۡهُمُ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَأَكۡثَرُهُمُ ٱلۡفَٰسِقُونَ ١١٠Mmwe kibiina ekisinga obulungi ekyaweebwa Abantu, mukubiriza okukola empisa nemuziyiza okukola ebibi, era nga mukkiriza Katonda. singa ab'aweebwa ekitabo bakkiriza kyandibadde kirungi gyebali, (naye) abamu ku bo bakkiriza nga n’abasinga obungi bagyemu لَن يَضُرُّوكُمۡ إِلَّآ أَذًىۖ وَإِن يُقَٰتِلُوكُمۡ يُوَلُّوكُمُ ٱلۡأَدۡبَارَ ثُمَّ لَا يُنصَرُونَ ١١١Tebayinza kubatuusaako buzibu, okugyako ebinyiizo ebitonotono, naye bwebaba balwanaganye nammwe babakuba amabega ne badduka ate era nga tebataasibwa ضُرِبَتۡ عَلَيۡهِمُ ٱلذِّلَّةُ أَيۡنَ مَا ثُقِفُوٓاْ إِلَّا بِحَبۡلٍ مِّنَ ٱللَّهِ وَحَبۡلٍ مِّنَ ٱلنَّاسِ وَبَآءُو بِغَضَبٍ مِّنَ ٱللَّهِ وَضُرِبَتۡ عَلَيۡهِمُ ٱلۡمَسۡكَنَةُۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَانُواْ يَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَيَقۡتُلُونَ ٱلۡأَنۢبِيَآءَ بِغَيۡرِ حَقٍّۚ ذَٰلِكَ بِمَا عَصَواْ وَّكَانُواْ يَعۡتَدُونَ ١١٢B'ateekebwako okunyomebwa wonna webaba bali okugyako nga balina obukuumi bwa Katonda n'obwa basiramu (nebaweebwa omukisa gwokuwangalira mu nsi ya Basiramu nga bali wansi wa mateeka g’obusiraamu,) nebateekebwako obusungu bwa Katonda, nebassibwako okuswazibwa ekyo nno lwakuba nti baali bawakanya ebigambo bya Katonda nebatta ne ba Nabbi mu ngeri etali ntuufu, ekyonno (baakikola nga) olw'obujeemu bwabwe era nga baali babuuka ensalo za mateeka (ga Katonda) ۞ لَيۡسُواْ سَوَآءًۗ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ أُمَّةٌ قَآئِمَةٌ يَتۡلُونَ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ ءَانَآءَ ٱلَّيۡلِ وَهُمۡ يَسۡجُدُونَ ١١٣Bonna tebali kimu, Mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu ekibinja ekirambulukufu, abasoma ebigambo bya Katonda, mu biseera by'ekiro era nga bavunnama يُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَيَأۡمُرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَيَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَيُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡخَيۡرَٰتِۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ مِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ ١١٤Bakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero nebakubiriza Abantu okweyisa obulungi, nebabakomako kukweyisa obubi era nga banguwa mu kukola ebirungi era abo ba mu luse lwa balongoofu وَمَا يَفۡعَلُواْ مِنۡ خَيۡرٍ فَلَن يُكۡفَرُوهُۗ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِٱلۡمُتَّقِينَ ١١٥Buli kirungi kyonna kyebakola tekiribalyazamanyizibwa. Katonda amanyidde ddala ebifa ku bamutya إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَن تُغۡنِيَ عَنۡهُمۡ أَمۡوَٰلُهُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُهُم مِّنَ ٱللَّهِ شَيۡـًٔاۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ١١٦Mazima abo abaakafuwala emmaali yaabwe nabaana baabwe tebigenda kubayamba ewa Katonda naakamu, era abo be bantu b’omumuliro bo b'akugubeeramu obugenderevu مَثَلُ مَا يُنفِقُونَ فِي هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا كَمَثَلِ رِيحٍ فِيهَا صِرٌّ أَصَابَتۡ حَرۡثَ قَوۡمٍ ظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فَأَهۡلَكَتۡهُۚ وَمَا ظَلَمَهُمُ ٱللَّهُ وَلَٰكِنۡ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ ١١٧Byebawaayo mu bulamu buno obwensi bifaanagana nga kibuyaga alimu muzira eyakuba ebirime bya bantu abeeyisa obubi naabizikiriza, Katonda si ye yabayisa obubi naye bo bennyini be beeyisa obubi يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَّخِذُواْ بِطَانَةً مِّن دُونِكُمۡ لَا يَأۡلُونَكُمۡ خَبَالًا وَدُّواْ مَا عَنِتُّمۡ قَدۡ بَدَتِ ٱلۡبَغۡضَآءُ مِنۡ أَفۡوَٰهِهِمۡ وَمَا تُخۡفِي صُدُورُهُمۡ أَكۡبَرُۚ قَدۡ بَيَّنَّا لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِۖ إِن كُنتُمۡ تَعۡقِلُونَ ١١٨Abange mmwe abakkiriza, abatali ba mu mmwe temubafuulanga ab'emikwano ab'omunda, tebayinza kulekayo kubaagaliza kabi, bulijjo babaagaliza ekyo ekibazitoowereza. Obukyayi bulabika ku mimwa gyabwe (ku nnimi zaabwe) so nga byebakweka mu bifuba byabwe byebisinga obunene, mazima tubannyonnyodde ebigambo bwe muba nga mukozesa amagezi gammwe (bibamala okutegeera ekituufu) هَٰٓأَنتُمۡ أُوْلَآءِ تُحِبُّونَهُمۡ وَلَا يُحِبُّونَكُمۡ وَتُؤۡمِنُونَ بِٱلۡكِتَٰبِ كُلِّهِۦ وَإِذَا لَقُوكُمۡ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا وَإِذَا خَلَوۡاْ عَضُّواْ عَلَيۡكُمُ ٱلۡأَنَامِلَ مِنَ ٱلۡغَيۡظِۚ قُلۡ مُوتُواْ بِغَيۡظِكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ١١٩(Buno bwe bujulizi obulaga ensobi gyemukola) Anti mmwe mubaagala sso nga bo tebabaagala, era mmwe mukkiriza ebitabo byonna! Bwe babasisinkana bagamba nti tukkiriza naye ate bwebava wemuli babalumira ennwe olw'obusungu, gamba (ggwe Muhammad) nti mufe n’obusungu bwa mmwe. mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba إِن تَمۡسَسۡكُمۡ حَسَنَةٌ تَسُؤۡهُمۡ وَإِن تُصِبۡكُمۡ سَيِّئَةٌ يَفۡرَحُواْ بِهَاۖ وَإِن تَصۡبِرُواْ وَتَتَّقُواْ لَا يَضُرُّكُمۡ كَيۡدُهُمۡ شَيۡـًٔاۗ إِنَّ ٱللَّهَ بِمَا يَعۡمَلُونَ مُحِيطٌ ١٢٠Bwemutuukwako ekirungi kibanakuwaza, naye bwemugwibwako akabi (olwonno) nebasanyuka nakyo, naye singa mugumiikiriza nemutya Katonda enkwe zaabwe tezigenda kubatuusaako kabi konna, anti mazima Katonda byonna byebakola abyetoolodde وَإِذۡ غَدَوۡتَ مِنۡ أَهۡلِكَ تُبَوِّئُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ مَقَٰعِدَ لِلۡقِتَالِۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ ١٢١Era jjukira (Ggwe Muhammad) bwewakeera n’oleka ab'omumaka go n’ogenda otegekere abakkiriza ebifo mwebanaalwanira, bulijjo Katonda awulira era amanyi byonna إِذۡ هَمَّت طَّآئِفَتَانِ مِنكُمۡ أَن تَفۡشَلَا وَٱللَّهُ وَلِيُّهُمَاۗ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ١٢٢Jjukira ebibiina ebibiri mu mmwe lwebyayagala okufotookerera, Katonda yeeyali omukuumi wa byombi, bulijjo abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda وَلَقَدۡ نَصَرَكُمُ ٱللَّهُ بِبَدۡرٍ وَأَنتُمۡ أَذِلَّةٌۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ١٢٣Mazima Katonda yabataasa e Badr so nga ate mwali banafu, kale mutye Katonda mulyoke mube abeebaza إِذۡ تَقُولُ لِلۡمُؤۡمِنِينَ أَلَن يَكۡفِيَكُمۡ أَن يُمِدَّكُمۡ رَبُّكُم بِثَلَٰثَةِ ءَالَٰفٍ مِّنَ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ مُنزَلِينَ ١٢٤Jjukira bwewagamba abakkiriza nti tekibamala Katonda wa mmwe okubadduukirira naabassiza ba Malayika enkumi ssatu بَلَىٰٓۚ إِن تَصۡبِرُواْ وَتَتَّقُواْ وَيَأۡتُوكُم مِّن فَوۡرِهِمۡ هَٰذَا يُمۡدِدۡكُمۡ رَبُّكُم بِخَمۡسَةِ ءَالَٰفٍ مِّنَ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ مُسَوِّمِينَ ١٢٥So nno, bwemunagumiikiriza nemutya Katonda, ne babajjira mu bwangu obwo, ajja kubadduukirira ne ba Malayika enkumi ttaano abalambe nga basibye ebiremba وَمَا جَعَلَهُ ٱللَّهُ إِلَّا بُشۡرَىٰ لَكُمۡ وَلِتَطۡمَئِنَّ قُلُوبُكُم بِهِۦۗ وَمَا ٱلنَّصۡرُ إِلَّا مِنۡ عِندِ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ ١٢٦Ekyo Katonda teyakibawa wabula lwakubasanyusa, era emitima gyammwe gibe nga ginyweera nakyo, naye nga bulijjo okutaasa tekuva okugyako ewa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga لِيَقۡطَعَ طَرَفًا مِّنَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَوۡ يَكۡبِتَهُمۡ فَيَنقَلِبُواْ خَآئِبِينَ ١٢٧(Ekyo Katonda yakikola) abe nga ajjawo ekitundu ekimu ekya baakafiiri oba abanakuwaze (Bawangulwe) baddeyo nga baswavu لَيۡسَ لَكَ مِنَ ٱلۡأَمۡرِ شَيۡءٌ أَوۡ يَتُوبَ عَلَيۡهِمۡ أَوۡ يُعَذِّبَهُمۡ فَإِنَّهُمۡ ظَٰلِمُونَ ١٢٨Tekiri mu busobozi bo (ggwe Muhammad), Katonda okubasonyiwa oba okubabonereza, anti mazima bo beeyisa bubi وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ يَغۡفِرُ لِمَن يَشَآءُ وَيُعَذِّبُ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ غَفُورٌ رَّحِيمٌ ١٢٩Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bya Katonda. Asonyiwa gwaba ayagadde naabonereza gwaba ayagadde, bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَأۡكُلُواْ ٱلرِّبَوٰٓاْ أَضۡعَٰفًا مُّضَٰعَفَةًۖ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ١٣٠Abange Abakkiriza temulyanga Riba ekisobola okubatuusa okubazaamu emirundi n’emirundi, bulijjo mutye Katonda kibawe okulokoka ku lunaku lw’enkomerero وَٱتَّقُواْ ٱلنَّارَ ٱلَّتِيٓ أُعِدَّتۡ لِلۡكَٰفِرِينَ ١٣١Era mutye omuliro ogwo ogwateekerwateekerwa Abakafiiri وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَٱلرَّسُولَ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ ١٣٢Era mugondere Katonda n'omubaka olwo nno musaasirwe ۞ وَسَارِعُوٓاْ إِلَىٰ مَغۡفِرَةٍ مِّن رَّبِّكُمۡ وَجَنَّةٍ عَرۡضُهَا ٱلسَّمَٰوَٰتُ وَٱلۡأَرۡضُ أُعِدَّتۡ لِلۡمُتَّقِينَ ١٣٣Era mwanguwe nga munoonya okusonyiwa kwa Katonda wa mmwe, ne jjana eyo obugazi bwayo obwenkana eggulu omusanvu ne nsi, eyateekerwateekerwa abatya Katonda ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ فِي ٱلسَّرَّآءِ وَٱلضَّرَّآءِ وَٱلۡكَٰظِمِينَ ٱلۡغَيۡظَ وَٱلۡعَافِينَ عَنِ ٱلنَّاسِۗ وَٱللَّهُ يُحِبُّ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ١٣٤Abo be bawaayo mu kkubo lya Katonda, mu biseera ebyessanyu ne by'obuzibu, era ababikka ku busungu, abasonyiwa abantu. bulijjo Katonda ayagala abakozi be birungi وَٱلَّذِينَ إِذَا فَعَلُواْ فَٰحِشَةً أَوۡ ظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ ذَكَرُواْ ٱللَّهَ فَٱسۡتَغۡفَرُواْ لِذُنُوبِهِمۡ وَمَن يَغۡفِرُ ٱلذُّنُوبَ إِلَّا ٱللَّهُ وَلَمۡ يُصِرُّواْ عَلَىٰ مَا فَعَلُواْ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ١٣٥Era abo bwebaba bakoze ebyobuwemu oba nebaba nga beeyisizza bubi (mu ngeri endala) bajjukira Katonda nebasaba okusonyiyibwa ebyonoono byabwe ate ani yandisonyiye ebyonoono okugyako Katonda! era nebatalemera kw’ebyo byebaakola ate nga nabo bamanyi ekituufu أُوْلَٰٓئِكَ جَزَآؤُهُم مَّغۡفِرَةٌ مِّن رَّبِّهِمۡ وَجَنَّٰتٌ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ وَنِعۡمَ أَجۡرُ ٱلۡعَٰمِلِينَ ١٣٦Abo empeera yaabwe kisonyiwo okuva ewa Mukama Katonda waabwe ne jjana ezikulukutiramu emigga, nga bagenda kuzibeeramu bugenderevu, nga eriba mpera nnungi eri abo abakola emirimu emirongoofu قَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلِكُمۡ سُنَنٌ فَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ١٣٧Bwebityo ebintu bwebibadde bitambula oluberyeberye lwa mmwe, kale mutambule mu nsi mutunule, mujja kulaba engeri enkomerero yaabalimbisa bweba هَٰذَا بَيَانٌ لِّلنَّاسِ وَهُدًى وَمَوۡعِظَةٌ لِّلۡمُتَّقِينَ ١٣٨(Kur'an eno) kwe kunnyonnyola okuweereddwa eri Abantu era bulungamu era kwe kubuulirira eri abatya Katonda وَلَا تَهِنُواْ وَلَا تَحۡزَنُواْ وَأَنتُمُ ٱلۡأَعۡلَوۡنَ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ١٣٩Temuterebukanga era temunakuwalanga, ng’ate mmwe muli ku ngulu kavuna muba nga muli bakkiriza abannamaddala إِن يَمۡسَسۡكُمۡ قَرۡحٌ فَقَدۡ مَسَّ ٱلۡقَوۡمَ قَرۡحٌ مِّثۡلُهُۥۚ وَتِلۡكَ ٱلۡأَيَّامُ نُدَاوِلُهَا بَيۡنَ ٱلنَّاسِ وَلِيَعۡلَمَ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَيَتَّخِذَ مِنكُمۡ شُهَدَآءَۗ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ ٱلظَّٰلِمِينَ ١٤٠Bwe muba mutuukiddwako obuvune (mu lutalo lwe Uhud) nabali baatuukwako obuvune ng’obwo (mu lutalo lwe Badr) nabwekityo bulijjo ennaku tuzikyusakyusa wakati wa bantu (olumu lw’ono, olundi lwa mulala) olwo nno Katonda ayawule abakkiriza, mu ngeri yeemu ajje mu mmwe abafiira mu kulwanirira eddiini era bulijjo Katonda tayagala beeyisa bubi وَلِيُمَحِّصَ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَيَمۡحَقَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ١٤١Era Katonda alyoke asengejje ayawulemu abo Abakkiriza, era azikirize Abakafiiri أَمۡ حَسِبۡتُمۡ أَن تَدۡخُلُواْ ٱلۡجَنَّةَ وَلَمَّا يَعۡلَمِ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ جَٰهَدُواْ مِنكُمۡ وَيَعۡلَمَ ٱلصَّٰبِرِينَ ١٤٢Oba mulowooza nti muyinza okuyingira e jjana nga Katonda tannaba kwawula abo abaalwana mu kkubo lye mu mmwe, era naayawula na bagumiikiriza وَلَقَدۡ كُنتُمۡ تَمَنَّوۡنَ ٱلۡمَوۡتَ مِن قَبۡلِ أَن تَلۡقَوۡهُ فَقَدۡ رَأَيۡتُمُوهُ وَأَنتُمۡ تَنظُرُونَ ١٤٣Mwalinga mwegomba okufa nga temunnaba kusisinkana (Mu lutalo lwe Uhud) naye mubutuufu kwabatuukako nga mulabira ddala وَمَا مُحَمَّدٌ إِلَّا رَسُولٌ قَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلِهِ ٱلرُّسُلُۚ أَفَإِيْن مَّاتَ أَوۡ قُتِلَ ٱنقَلَبۡتُمۡ عَلَىٰٓ أَعۡقَٰبِكُمۡۚ وَمَن يَنقَلِبۡ عَلَىٰ عَقِبَيۡهِ فَلَن يَضُرَّ ٱللَّهَ شَيۡـًٔاۚ وَسَيَجۡزِي ٱللَّهُ ٱلشَّٰكِرِينَ ١٤٤Muhammad tali okugyako okuba nti Mubaka era nga Ababaka bonna abaamukulembera, kaakano bwaba afudde oba nattibwa olwo nga mukyukira ku bisinziiro byammwe (nemuva mu Busiraamu). Oyo yenna anaakyukira ku bisinziirobye talina kabi konna kaatuusa ku Katonda, era Katonda ajja kusasula abo abeebaza وَمَا كَانَ لِنَفۡسٍ أَن تَمُوتَ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِ كِتَٰبًا مُّؤَجَّلًاۗ وَمَن يُرِدۡ ثَوَابَ ٱلدُّنۡيَا نُؤۡتِهِۦ مِنۡهَا وَمَن يُرِدۡ ثَوَابَ ٱلۡأٓخِرَةِ نُؤۡتِهِۦ مِنۡهَاۚ وَسَنَجۡزِي ٱلشَّٰكِرِينَ ١٤٥Era tewali muntu yenna afa okugyako nga Katonda yakkirizza, ekyo nga kiwandiike ekyagererwa ekiseera kyakyo, oyo yenna ayagala empera z’ensi tuzimuwa mu yo, n’oyo ayagala empeera z’enkomerero tulizimuwa ku nkomerero, era tujja kusasula abeebaza وَكَأَيِّن مِّن نَّبِيٍّ قَٰتَلَ مَعَهُۥ رِبِّيُّونَ كَثِيرٌ فَمَا وَهَنُواْ لِمَآ أَصَابَهُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَمَا ضَعُفُواْ وَمَا ٱسۡتَكَانُواْۗ وَٱللَّهُ يُحِبُّ ٱلصَّٰبِرِينَ ١٤٦Ba Nabbi bangi, ebibinja bya bagoberezi baabwe bingi byabanga nabo mu kulwana, tebaaterebukanga olw'ebizibu ebyabatuukangako mu kulwana mu kkubo lya Katonda tebanafuwa wadde okwewaayo eri omulabe bulijjo Katonda ayagala abagumiikiriza وَمَا كَانَ قَوۡلَهُمۡ إِلَّآ أَن قَالُواْ رَبَّنَا ٱغۡفِرۡ لَنَا ذُنُوبَنَا وَإِسۡرَافَنَا فِيٓ أَمۡرِنَا وَثَبِّتۡ أَقۡدَامَنَا وَٱنصُرۡنَا عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ١٤٧Ekigambo kyabwe tekyali, okugyako okugamba nti Ayi Mukama omulabirizi waffe tusonyiwe ebyonoono byaffe, era otusonyiwe bwetuba tususse ekkomo mu nsonga zeddiini yaffe, era otunyweze mu kuyimirira kwaffe ku nsonga, era otutaase mu kibiina ku Bakafiiri فَـَٔاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ ثَوَابَ ٱلدُّنۡيَا وَحُسۡنَ ثَوَابِ ٱلۡأٓخِرَةِۗ وَٱللَّهُ يُحِبُّ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ١٤٨Katonda n’abawa empeera z’okunsi, era nempeera ezisinga okuba ennungi ku lunaku lw’enkomerero, era bulijjo Katonda ayagala abakozi b’obulungi يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِن تُطِيعُواْ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَرُدُّوكُمۡ عَلَىٰٓ أَعۡقَٰبِكُمۡ فَتَنقَلِبُواْ خَٰسِرِينَ ١٤٩Abange mmwe Abakkiriza bwemunaagondera abo Abaakafuwala bajja kubazzaayo ekyennyumannyuma mukyuke okuva mu bukkiriza, mubeere abafaafaganiddwa بَلِ ٱللَّهُ مَوۡلَىٰكُمۡۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلنَّٰصِرِينَ ١٥٠Wabula Katonda yemukuumi wa mmwe era bulijjo yaasinga abataasa bonna سَنُلۡقِي فِي قُلُوبِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلرُّعۡبَ بِمَآ أَشۡرَكُواْ بِٱللَّهِ مَا لَمۡ يُنَزِّلۡ بِهِۦ سُلۡطَٰنًاۖ وَمَأۡوَىٰهُمُ ٱلنَّارُۖ وَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلظَّٰلِمِينَ ١٥١Tujja kussa okutya ku mitima gy’abo abaakafuwala kulw’okugatta kwabwe ku Katonda ebintu ebirala ebyo byatassaako bujulizi. Era omuliro bwebuddo bwabwe, era bulijjo obuddo bw’abeeyisa obubi buba bubi وَلَقَدۡ صَدَقَكُمُ ٱللَّهُ وَعۡدَهُۥٓ إِذۡ تَحُسُّونَهُم بِإِذۡنِهِۦۖ حَتَّىٰٓ إِذَا فَشِلۡتُمۡ وَتَنَٰزَعۡتُمۡ فِي ٱلۡأَمۡرِ وَعَصَيۡتُم مِّنۢ بَعۡدِ مَآ أَرَىٰكُم مَّا تُحِبُّونَۚ مِنكُم مَّن يُرِيدُ ٱلدُّنۡيَا وَمِنكُم مَّن يُرِيدُ ٱلۡأٓخِرَةَۚ ثُمَّ صَرَفَكُمۡ عَنۡهُمۡ لِيَبۡتَلِيَكُمۡۖ وَلَقَدۡ عَفَا عَنكُمۡۗ وَٱللَّهُ ذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ١٥٢Mazima Katonda yatuukiriza gyemuli endagaanoye bwemwatuuka okubatirimbula olwokukkirizakwe, mpozzi bwemwatiitiira ne mukaayagana nga temukyakkaanya ku nsonga, ne mujeema (nemuva ku kasozi) bwemwalaba nti kyemwagala (ekyokuwangula omulabe) kyali kituukirira, mu mmwe mwalimu abaagala ebyokufuna bye nsi, nga bwemwalimu abagala enkomerero, oluvanyuma Katonda yaakyusa obwali obuwanguzi bwa mmwe ku bo (nebaba nga beebawangula) alyoke abe nga abagezesa ate mazima yabasonyiwa mmwe, bulijjo Katonda abakkiriza abagonnomolako ebirungi ۞ إِذۡ تُصۡعِدُونَ وَلَا تَلۡوُۥنَ عَلَىٰٓ أَحَدٍ وَٱلرَّسُولُ يَدۡعُوكُمۡ فِيٓ أُخۡرَىٰكُمۡ فَأَثَٰبَكُمۡ غَمَّۢا بِغَمٍّ لِّكَيۡلَا تَحۡزَنُواْ عَلَىٰ مَا فَاتَكُمۡ وَلَا مَآ أَصَٰبَكُمۡۗ وَٱللَّهُ خَبِيرُۢ بِمَا تَعۡمَلُونَ ١٥٣Jjukira ekiseera wemwayambukira olusozi, olwonno nga temukyatunula ku muntu yenna. Nga omubaka mumulese mabega abakowoola, awo nno Katonda kwekubasasula okweraliikirira okwomuddinganwa mube nga temunakuwala olwebyo byemutaafuna, oba olwobuzibu obubatuseeko Katonda amanyidde ddala byonna byemukola ثُمَّ أَنزَلَ عَلَيۡكُم مِّنۢ بَعۡدِ ٱلۡغَمِّ أَمَنَةً نُّعَاسًا يَغۡشَىٰ طَآئِفَةً مِّنكُمۡۖ وَطَآئِفَةٌ قَدۡ أَهَمَّتۡهُمۡ أَنفُسُهُمۡ يَظُنُّونَ بِٱللَّهِ غَيۡرَ ٱلۡحَقِّ ظَنَّ ٱلۡجَٰهِلِيَّةِۖ يَقُولُونَ هَل لَّنَا مِنَ ٱلۡأَمۡرِ مِن شَيۡءٍۗ قُلۡ إِنَّ ٱلۡأَمۡرَ كُلَّهُۥ لِلَّهِۗ يُخۡفُونَ فِيٓ أَنفُسِهِم مَّا لَا يُبۡدُونَ لَكَۖ يَقُولُونَ لَوۡ كَانَ لَنَا مِنَ ٱلۡأَمۡرِ شَيۡءٌ مَّا قُتِلۡنَا هَٰهُنَاۗ قُل لَّوۡ كُنتُمۡ فِي بُيُوتِكُمۡ لَبَرَزَ ٱلَّذِينَ كُتِبَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقَتۡلُ إِلَىٰ مَضَاجِعِهِمۡۖ وَلِيَبۡتَلِيَ ٱللَّهُ مَا فِي صُدُورِكُمۡ وَلِيُمَحِّصَ مَا فِي قُلُوبِكُمۡۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ١٥٤Ate oluvanyuma lwokwelariikirira Katonda yassa kummwe akalembereza kokwebakamu okwakwata abamu ku mmwe, ate abalala batiirira nnyo obulamu bwabwe nga balowooleza Katonda ebitali bituufu endowooza ya Jahiliyyah, nga bagamba nti tukyalina obusobozi mu nsonga eno? Gamba nti ebintu byonna biri mu mikono gya Katonda, (Abantu abo) bakweka mu mitima gyaabwe byebatakulaga era nga bagamba nti singa tubadde tulina okusalawo ku nsonga eno, tetwandittiddwa wano, Bagambe nti nebwemwandibadde mu mayumba gammwe ab'awandiikwako okufa bandigudde mu bifo ebyabawandiikibwako okufiiramu, olwonno Katonda alyoke agezese ebiri mu bifuba byammwe, era asengejje ebiri mu mitima gyammwe, bulijjo Katonda amanyi ebiri mu bifuba إِنَّ ٱلَّذِينَ تَوَلَّوۡاْ مِنكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡتَقَى ٱلۡجَمۡعَانِ إِنَّمَا ٱسۡتَزَلَّهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ بِبَعۡضِ مَا كَسَبُواْۖ وَلَقَدۡ عَفَا ٱللَّهُ عَنۡهُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٌ حَلِيمٌ ١٥٥Mazima abo abeekyusa mu mmwe olunaku enjuyi ebbiri lwezaasisinkana, mazima Sitane yeeyabaseereza olwebimu kw’ebyo byebaakola era mazima Katonda yabasonyiwa anti mazima ddala Katonda musonyiyi w’akisa يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَقَالُواْ لِإِخۡوَٰنِهِمۡ إِذَا ضَرَبُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَوۡ كَانُواْ غُزًّى لَّوۡ كَانُواْ عِندَنَا مَا مَاتُواْ وَمَا قُتِلُواْ لِيَجۡعَلَ ٱللَّهُ ذَٰلِكَ حَسۡرَةً فِي قُلُوبِهِمۡۗ وَٱللَّهُ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٌ ١٥٦Abange mmwe abakkiriza temubeera ng’abo abaakafuwala nebagamba bannaabwe bwebaabanga batambudde mu nsi, oba nga bagenze ku lutalo nti singa baasigala wano naffe tebandifudde wadde okuttibwa, (baafuna endowooza eyo) Katonda alyoke akifuule ekyokwejjusa mu mitima gyabwe naye nga bulijjo Katonda y’awa obulamu era yatta era buli kyonna kyemukola Katonda akiraba وَلَئِن قُتِلۡتُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَوۡ مُتُّمۡ لَمَغۡفِرَةٌ مِّنَ ٱللَّهِ وَرَحۡمَةٌ خَيۡرٌ مِّمَّا يَجۡمَعُونَ ١٥٧Singa muttibwa nga muli mukuweereza mu kkubo lya Katonda, oba nemufa (enfa eyaabulijjo, mu ngeri zombi) okusonyiwa okuva eri Katonda n’okusaasira by’ebirungi okusinga ebyo byebakunganya وَلَئِن مُّتُّمۡ أَوۡ قُتِلۡتُمۡ لَإِلَى ٱللَّهِ تُحۡشَرُونَ ١٥٨(Kyekimu) okuba nti mufudde oba muttiddwa ewa Katonda yekka gyemulikunganyiizibwa فَبِمَا رَحۡمَةٍ مِّنَ ٱللَّهِ لِنتَ لَهُمۡۖ وَلَوۡ كُنتَ فَظًّا غَلِيظَ ٱلۡقَلۡبِ لَٱنفَضُّواْ مِنۡ حَوۡلِكَۖ فَٱعۡفُ عَنۡهُمۡ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لَهُمۡ وَشَاوِرۡهُمۡ فِي ٱلۡأَمۡرِۖ فَإِذَا عَزَمۡتَ فَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلۡمُتَوَكِّلِينَ ١٥٩Kulwokusaasira kwa Katonda wabagondera (Gwe Muhammad) naye singa wali waboggo omuzito w'omutima bandikudduseeko, kale basonyiwe, obeegayiririre (ewa Katonda) obebuuzengako mu nsonga zonna wabula bwobanga omaliridde (n’osalawo ekyokukola) olwo nno weekwase Katonda, mazima Katonda ayagala abamwekwasa إِن يَنصُرۡكُمُ ٱللَّهُ فَلَا غَالِبَ لَكُمۡۖ وَإِن يَخۡذُلۡكُمۡ فَمَن ذَا ٱلَّذِي يَنصُرُكُم مِّنۢ بَعۡدِهِۦۗ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ١٦٠Katonda bwabataasa teri ayinza kubawangula naye singa aba abavuddemu ani oyo ayinza okubataasa atali yye, bulijjo Abakkiriza bateekwa okwessa mu mikono gya Katonda mu nsonga zonna وَمَا كَانَ لِنَبِيٍّ أَن يَغُلَّۚ وَمَن يَغۡلُلۡ يَأۡتِ بِمَا غَلَّ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ ثُمَّ تُوَفَّىٰ كُلُّ نَفۡسٍ مَّا كَسَبَتۡ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ١٦١Tekisoboka ku Nabbi yenna okuba nga akumpanya eminyago naye omuntu yenna bwakumpanya ku minyago, agenda kujja ku lunaku lw’enkomerero n’ebyo byeyakumpanya oluvanyuma omuntu agenda kusasulwa mu bujjuvu ekyo kyeyakola, nabo tebaliyisibwa bubi أَفَمَنِ ٱتَّبَعَ رِضۡوَٰنَ ٱللَّهِ كَمَنۢ بَآءَ بِسَخَطٍ مِّنَ ٱللَّهِ وَمَأۡوَىٰهُ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ١٦٢Abaffe, oyo agoberera okusiima kwa Katonda ayinza okufaanana nooyo avuddeyo n’okusunguwalirwa Katonda! nga n’obuddo bwe muliro Jahannama ate nga buddo bubi ddala هُمۡ دَرَجَٰتٌ عِندَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ بَصِيرُۢ بِمَا يَعۡمَلُونَ ١٦٣Abantu abo balina ebifo byanjawulo ewa Katonda, anti era bulijjo Katonda alabira ddala byebakola لَقَدۡ مَنَّ ٱللَّهُ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ إِذۡ بَعَثَ فِيهِمۡ رَسُولًا مِّنۡ أَنفُسِهِمۡ يَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِهِۦ وَيُزَكِّيهِمۡ وَيُعَلِّمُهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَإِن كَانُواْ مِن قَبۡلُ لَفِي ضَلَٰلٍ مُّبِينٍ ١٦٤Mazima Katonda yawa Abakkiriza ekyengera bweyabatumamu omubaka nga ava mu bo, nga abasomera ebigambo by’a Katonda, era nga abatukuza era nga abayigiriza ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebyamagezi (Hadith) newaakubadde nga mu kusooka baali mu bubuze obweyolefu أَوَلَمَّآ أَصَٰبَتۡكُم مُّصِيبَةٌ قَدۡ أَصَبۡتُم مِّثۡلَيۡهَا قُلۡتُمۡ أَنَّىٰ هَٰذَاۖ قُلۡ هُوَ مِنۡ عِندِ أَنفُسِكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ قَدِيرٌ ١٦٥Lwaki bwemwatuukwako omuswiba (mu Uhudi) nga ate bo mwabatusaako omuswiba ogwenkana ogwo emirundi ebiri (mu Badr) mwagamba nti ate lwaki kizze bwekityo, bagambe (gwe Nabbi Muhammad ()) ekyo kivudde ku mmwe mwennyini mazima Katonda bulijjo muyinza wa buli kintu وَمَآ أَصَٰبَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡتَقَى ٱلۡجَمۡعَانِ فَبِإِذۡنِ ٱللَّهِ وَلِيَعۡلَمَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ١٦٦N’ekyo ekyabatuukako olunaku ebibinja ebibiri lwebyasisinkana kyaliwo ku lwa kukkiriza kwa Katonda, era abe nga ayawula abakkiriza ab'amazima وَلِيَعۡلَمَ ٱلَّذِينَ نَافَقُواْۚ وَقِيلَ لَهُمۡ تَعَالَوۡاْ قَٰتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَوِ ٱدۡفَعُواْۖ قَالُواْ لَوۡ نَعۡلَمُ قِتَالًا لَّٱتَّبَعۡنَٰكُمۡۗ هُمۡ لِلۡكُفۡرِ يَوۡمَئِذٍ أَقۡرَبُ مِنۡهُمۡ لِلۡإِيمَٰنِۚ يَقُولُونَ بِأَفۡوَٰهِهِم مَّا لَيۡسَ فِي قُلُوبِهِمۡۚ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا يَكۡتُمُونَ ١٦٧Mu ngeri yeemu ayawule abo abanafunsi era abaagambibwa nti mujje mulwane mukuweereza mu kkubo lya Katonda, oba waakiri mujje twetaase tusindiikirize omulabe nebaddamu nti, singa tubadde tukakasa nti waliyo okulwana twaligenze nammwe, ku lunaku olwo nga bali kumpi nnyo n’obukafiiri okusinga okubeera n’obukkiriza, boogera nemimwa gyaabwe ebitava mu mitima gyabwe, ate nga bulijjo Katonda amanyi nnyo byebakweka ٱلَّذِينَ قَالُواْ لِإِخۡوَٰنِهِمۡ وَقَعَدُواْ لَوۡ أَطَاعُونَا مَا قُتِلُواْۗ قُلۡ فَٱدۡرَءُواْ عَنۡ أَنفُسِكُمُ ٱلۡمَوۡتَ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ١٦٨Abo (Abananfusi) abagamba bannaabwe (ab’agenda ku lutalo) bo nebasigala nga b'etuulidde eka nti singa baatuwuliriza tebandittiddwa. Bagambe (Gwe Muhammad) nti kale mwewonye okufa bwe muba nga muli b'amazima mu byemwogera وَلَا تَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ قُتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَمۡوَٰتَۢاۚ بَلۡ أَحۡيَآءٌ عِندَ رَبِّهِمۡ يُرۡزَقُونَ ١٦٩Tolowoozanga nti abo abattirwa ku kuweereza mu kkubo lya Katonda nti bafu, nedda wabula balamu, era nga bagabirirwa ewa Mukama Katonda waabwe فَرِحِينَ بِمَآ ءَاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦ وَيَسۡتَبۡشِرُونَ بِٱلَّذِينَ لَمۡ يَلۡحَقُواْ بِهِم مِّنۡ خَلۡفِهِمۡ أَلَّا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ١٧٠Nga bajaganya olw’ebyo Katonda byabawa mubigabwabye, era nga basanyuka olwa bannaabwe bebaleka ku nsi nti tebatuukiddwako kutya, era nga bwebatagenda kunakuwala ۞ يَسۡتَبۡشِرُونَ بِنِعۡمَةٍ مِّنَ ٱللَّهِ وَفَضۡلٍ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ١٧١Nga basanyuka olwebyengera, n’obulungi obungi ebivudde ewa Katonda, era mazima ddala Katonda bulijjo talina bwatayinza kusasula mpeera z’abakkiriza ٱلَّذِينَ ٱسۡتَجَابُواْ لِلَّهِ وَٱلرَّسُولِ مِنۢ بَعۡدِ مَآ أَصَابَهُمُ ٱلۡقَرۡحُۚ لِلَّذِينَ أَحۡسَنُواْ مِنۡهُمۡ وَٱتَّقَوۡاْ أَجۡرٌ عَظِيمٌ ١٧٢Abo abaayanukula (okukowoola kwa)Katonda n'omubaka (nebakkiriza okuddayo okulwana) oluvanyuma lwokutuukibwako obulumi bwolutalo, abeeyisa obulungi mu bo nebatya Katonda bagenda kufuna empeera nnyingi ٱلَّذِينَ قَالَ لَهُمُ ٱلنَّاسُ إِنَّ ٱلنَّاسَ قَدۡ جَمَعُواْ لَكُمۡ فَٱخۡشَوۡهُمۡ فَزَادَهُمۡ إِيمَٰنًا وَقَالُواْ حَسۡبُنَا ٱللَّهُ وَنِعۡمَ ٱلۡوَكِيلُ ١٧٣Abo abantu (Abagatta Katonda ne bintu ebirala) bebaagamba nti mazima (Abantu bemwalwanye nabo) babeekobaanidde baagala kubaddamu nvuunula bibya musaanye mubeegendereze (ekintu ekyandibaleetedde okutya) naye ate kyabongera bukkiriza, era nebagamba nti Katonda atumala era yemukuumi asinga obulungi فَٱنقَلَبُواْ بِنِعۡمَةٍ مِّنَ ٱللَّهِ وَفَضۡلٍ لَّمۡ يَمۡسَسۡهُمۡ سُوٓءٌ وَٱتَّبَعُواْ رِضۡوَٰنَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ ذُو فَضۡلٍ عَظِيمٍ ١٧٤(Omulabe yabadduka awatali kulwana kwonna) ate nebadda ewaboobwe nga bafunye ebyengera okuva ewa Katonda n'obulungi obungi awatali kutuukwako kabi konna, (mukukola ebyo byonna) baali bayayaanira kusiima kwa Katonda, anti bulijjo Katonda alina obulungi bungi إِنَّمَا ذَٰلِكُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ يُخَوِّفُ أَوۡلِيَآءَهُۥ فَلَا تَخَافُوهُمۡ وَخَافُونِ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ١٧٥(Eyali ababuzaabuza obutagenda kulwana) mazima ddala oyo ye Sitane bulijjo abatiisa mikwano gye, kale nno temubatya wabula mutye nze bwe muba muli bakkiriza abannamaddala وَلَا يَحۡزُنكَ ٱلَّذِينَ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡكُفۡرِۚ إِنَّهُمۡ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـًٔاۚ يُرِيدُ ٱللَّهُ أَلَّا يَجۡعَلَ لَهُمۡ حَظًّا فِي ٱلۡأٓخِرَةِۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٌ ١٧٦Era tebakunakuwaza abo abanguwa okuyingira obukafiiri, mazima bo tebayinza kutuusa ku Katonda kabi konna, Katonda ayagala babe nga tebaba namugabo gwonna ku lunaku lw’enkomerero era balina ebibonerezo ebyamaanyi إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱشۡتَرَوُاْ ٱلۡكُفۡرَ بِٱلۡإِيمَٰنِ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـًٔاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ ١٧٧Mazima abo abawaanyisa obukafiiri mu bukkiriza tebagenda kutuusa kabi ku Katonda mu kintu kyonna, era balina ebibonerezo ebiruma وَلَا يَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَنَّمَا نُمۡلِي لَهُمۡ خَيۡرٌ لِّأَنفُسِهِمۡۚ إِنَّمَا نُمۡلِي لَهُمۡ لِيَزۡدَادُوٓاْ إِثۡمًاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ مُّهِينٌ ١٧٨Era abo abakaafuwala tebalowooza nti mazima ffe okubalindiriza kirungi gyebali, mazima tubalindiriza b’eyongere okukola ebibi, era bagenda kussibwako ebibonerezo ebinyomesa مَّا كَانَ ٱللَّهُ لِيَذَرَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ عَلَىٰ مَآ أَنتُمۡ عَلَيۡهِ حَتَّىٰ يَمِيزَ ٱلۡخَبِيثَ مِنَ ٱلطَّيِّبِۗ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيُطۡلِعَكُمۡ عَلَى ٱلۡغَيۡبِ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَجۡتَبِي مِن رُّسُلِهِۦ مَن يَشَآءُۖ فَـَٔامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦۚ وَإِن تُؤۡمِنُواْ وَتَتَّقُواْ فَلَكُمۡ أَجۡرٌ عَظِيمٌ ١٧٩Katonda teyali w'akuleka bakkiriza kw’ekyo kyemuliko okugyako ngamaze okwawula ababi mu balungi, era Katonda teyali waakubalaga ebyo ebitalabika, naye mazima ddala Katonda alonda mu babaka be oyo gwaba ayagadde, kale mukkirize Katonda nababakabe, ate singa mukkiriza nemutya (Katonda) mujja kufuna empeera enzito وَلَا يَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ يَبۡخَلُونَ بِمَآ ءَاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦ هُوَ خَيۡرًا لَّهُمۖ بَلۡ هُوَ شَرٌّ لَّهُمۡۖ سَيُطَوَّقُونَ مَا بَخِلُواْ بِهِۦ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۗ وَلِلَّهِ مِيرَٰثُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٌ ١٨٠Abo abaakodowalira ebyo Katonda byeyababawa mu bigabwabye, tebalowoozanga nti ekyo kirungi gyebali, wabula kyo kibi gyebali ku lunaku lw’enkomerero bagenda kwambazibwa mu bulago ebyo byebaakodowaliranga, bya Katonda ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi era bulijjo Katonda amanyi mu bujjuvu byonna byemukola لَّقَدۡ سَمِعَ ٱللَّهُ قَوۡلَ ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ فَقِيرٌ وَنَحۡنُ أَغۡنِيَآءُۘ سَنَكۡتُبُ مَا قَالُواْ وَقَتۡلَهُمُ ٱلۡأَنۢبِيَآءَ بِغَيۡرِ حَقٍّ وَنَقُولُ ذُوقُواْ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ ١٨١Mazima Katonda awulidde ekigambo kyabo abagamba nti mazima Katonda mwavu era nga ffe bagagga. Tujja kuwandiika ebyo byeboogera nga bwetujja okuwandiika okutta kwabwe ba Nabbi awatali nsonga, era tugambe nti mukombe ku bibonerezo by’omuliro ذَٰلِكَ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيكُمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَيۡسَ بِظَلَّامٍ لِّلۡعَبِيدِ ١٨٢(Ekyo kigenda kubatuukako) olwebyo emikono gyamwe byegyakola, era mazima ddala Katonda tayisa bubi baddube ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ عَهِدَ إِلَيۡنَآ أَلَّا نُؤۡمِنَ لِرَسُولٍ حَتَّىٰ يَأۡتِيَنَا بِقُرۡبَانٍ تَأۡكُلُهُ ٱلنَّارُۗ قُلۡ قَدۡ جَآءَكُمۡ رُسُلٌ مِّن قَبۡلِي بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَبِٱلَّذِي قُلۡتُمۡ فَلِمَ قَتَلۡتُمُوهُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ١٨٣Era beebo abagamba nti mazima Katonda yatulagaanyisa okuba nga tetukkiriza mubaka yenna okugyako nga atuleetedde Saddaaka omuliro negugyokya, bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad ()) ababaka bangi abaabajjira oluberyeberye lwange nga baleese neebyo byemugamba, lwaki ate mwabatta bwe muba nga muli b'amazima mukino kyemugamba فَإِن كَذَّبُوكَ فَقَدۡ كُذِّبَ رُسُلٌ مِّن قَبۡلِكَ جَآءُو بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَٱلزُّبُرِ وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُنِيرِ ١٨٤(Ggwe Muhammad tobafaako) bwebakulimbisa ababaka bangi abaakulembera abaalimbisibwa, baaleeta obujulizi obwenkukunala n'ebiwandiiko n'ebitabo ebijjudde ekitangaala كُلُّ نَفۡسٍ ذَآئِقَةُ ٱلۡمَوۡتِۗ وَإِنَّمَا تُوَفَّوۡنَ أُجُورَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۖ فَمَن زُحۡزِحَ عَنِ ٱلنَّارِ وَأُدۡخِلَ ٱلۡجَنَّةَ فَقَدۡ فَازَۗ وَمَا ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَآ إِلَّا مَتَٰعُ ٱلۡغُرُورِ ١٨٥Buli muntu yenna wa kukomba ku kufa, era mazima ddala mugenda kusasulwa mu bujjuvu empeera zammwe ku lunaku lw’enkomerero oyo yenna aliwonyezebwa omuliro naayingizibwa e jjana aliba yeesiimye, obulamu bwensi tebuliimu kantu konna okugyako okweyagala okwokugayaaza ۞ لَتُبۡلَوُنَّ فِيٓ أَمۡوَٰلِكُمۡ وَأَنفُسِكُمۡ وَلَتَسۡمَعُنَّ مِنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلِكُمۡ وَمِنَ ٱلَّذِينَ أَشۡرَكُوٓاْ أَذًى كَثِيرًاۚ وَإِن تَصۡبِرُواْ وَتَتَّقُواْ فَإِنَّ ذَٰلِكَ مِنۡ عَزۡمِ ٱلۡأُمُورِ ١٨٦Mujja kugezesebwa nnyo mu mmaali zammwe nemubulamu bwa mmwe, era mujja kutuukibwako ebitasanyusa bingi okuva mwabo ab'aweebwa ekitabo oluberyeberye, n'okuva mwabo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, naye singa mugumiikiriza nemutya Katonda mazima ekyo kyekimu ku bintu ebikulu وَإِذۡ أَخَذَ ٱللَّهُ مِيثَٰقَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ لَتُبَيِّنُنَّهُۥ لِلنَّاسِ وَلَا تَكۡتُمُونَهُۥ فَنَبَذُوهُ وَرَآءَ ظُهُورِهِمۡ وَٱشۡتَرَوۡاْ بِهِۦ ثَمَنًا قَلِيلًاۖ فَبِئۡسَ مَا يَشۡتَرُونَ ١٨٧Era jjukira ekiseera Katonda bweyakozesa endagaano abo ab'aweebwa ekitabo nti mugenda kukinnyonnyola abantu era temugenda kukikweka wabula (endagaano) baagisuula emabega waabwe nebagiwaanyisaamu eby’okufuna ebitono, bibi nnyo byebaagula لَا تَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ يَفۡرَحُونَ بِمَآ أَتَواْ وَّيُحِبُّونَ أَن يُحۡمَدُواْ بِمَا لَمۡ يَفۡعَلُواْ فَلَا تَحۡسَبَنَّهُم بِمَفَازَةٍ مِّنَ ٱلۡعَذَابِۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ ١٨٨Tosuubiriranga abo abasanyuka olwebyo byebawaddeyo era nga baagala okutenderezebwa olwebyo byebaba tebakoze, tolowoolezanga ddala nti bagenda kuwona ebibonerezo, era bagenda kussibwako ebibonerezo ebiruma وَلِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ قَدِيرٌ ١٨٩Obufuzi bwe ggulu ne nsi bwa Katonda, era Katonda muyinza ku buli kintu kyonna إِنَّ فِي خَلۡقِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱخۡتِلَٰفِ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ لَأٓيَٰتٍ لِّأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ ١٩٠Mazima mu kutonda eggulu omusanvu ne nsi nokwawukana kwekiro ne misana ddala bubonero eri abo abalina amagezi amalamu ٱلَّذِينَ يَذۡكُرُونَ ٱللَّهَ قِيَٰمًا وَقُعُودًا وَعَلَىٰ جُنُوبِهِمۡ وَيَتَفَكَّرُونَ فِي خَلۡقِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ رَبَّنَا مَا خَلَقۡتَ هَٰذَا بَٰطِلًا سُبۡحَٰنَكَ فَقِنَا عَذَابَ ٱلنَّارِ ١٩١Abo abatendereza Katonda nga bayimiridde oba nga batudde, oba nga bagalamidde, nebafumiitiriza mu ngeri eggulu omusanvu ne nsi gyebyatondebwamu, ne bagamba nti Ayi Mukama Katonda waffe ebintu bino tewabitonda mu bukyamu, wasukkuluma ku bintu byonna, n’olwekyo tukusaba otukingirize ebibonerezo byomuliro رَبَّنَآ إِنَّكَ مَن تُدۡخِلِ ٱلنَّارَ فَقَدۡ أَخۡزَيۡتَهُۥۖ وَمَا لِلظَّٰلِمِينَ مِنۡ أَنصَارٍ ١٩٢Ayi mukama Katonda waffe, mazima ggwe omuntu gwoliyingiza omuliro oliba omukkakkanyizza. Abeeyisa obubi tebagenda kufuna mutaasa yenna رَّبَّنَآ إِنَّنَا سَمِعۡنَا مُنَادِيًا يُنَادِي لِلۡإِيمَٰنِ أَنۡ ءَامِنُواْ بِرَبِّكُمۡ فَـَٔامَنَّاۚ رَبَّنَا فَٱغۡفِرۡ لَنَا ذُنُوبَنَا وَكَفِّرۡ عَنَّا سَيِّـَٔاتِنَا وَتَوَفَّنَا مَعَ ٱلۡأَبۡرَارِ ١٩٣Ayi Mukama Katonda waffe tuwulidde omukoowooze ayita Abantu okujja eri obukkiriza nga agamba nti mukkirize Mukama Katonda wa mmwe, naffe netukkiriza, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba otusonyiwe ebibi byaffe, otusanguleko ebyonoono byaffe, otuuse okututta nga tuli mu luse lwa baddubo abalongoofu رَبَّنَا وَءَاتِنَا مَا وَعَدتَّنَا عَلَىٰ رُسُلِكَ وَلَا تُخۡزِنَا يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۖ إِنَّكَ لَا تُخۡلِفُ ٱلۡمِيعَادَ ١٩٤Ayi Mukama omulabirizi waffe tukusaba otuwe byewatulagaanyisa nga biyita ku babaka bo, totufuulanga abanyomebwa ku lunaku lw’enkomerero, mazima ddala ggwe toyawukana ku ndagaano فَٱسۡتَجَابَ لَهُمۡ رَبُّهُمۡ أَنِّي لَآ أُضِيعُ عَمَلَ عَٰمِلٍ مِّنكُم مِّن ذَكَرٍ أَوۡ أُنثَىٰۖ بَعۡضُكُم مِّنۢ بَعۡضٍۖ فَٱلَّذِينَ هَاجَرُواْ وَأُخۡرِجُواْ مِن دِيَٰرِهِمۡ وَأُوذُواْ فِي سَبِيلِي وَقَٰتَلُواْ وَقُتِلُواْ لَأُكَفِّرَنَّ عَنۡهُمۡ سَيِّـَٔاتِهِمۡ وَلَأُدۡخِلَنَّهُمۡ جَنَّٰتٍ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ ثَوَابًا مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِۚ وَٱللَّهُ عِندَهُۥ حُسۡنُ ٱلثَّوَابِ ١٩٥Mukama omulabirizi waabwe kwekubaanukula nti, siyinza butasasula mulimu omu ku mmwe gwaba akoze kaabe musajja oba mukazi, mwenna muli kyekimu (anti muli basiraamu). Abonno abaasenguka nebagobaganyizibwa mu mayumba gaabwe, nebabonyabonyezebwa ku lwange, ne balwanagana n'omulabe kulwange, ne balwanagana n’omulabe ne battibwa nja kubajjirako ddala ebibi byaabwe era nja kubayingiriza ddala e jjana ezikulukutiramu emigga, eyonno nga mpeera okuva ewa Katonda, era bulijjo ewa Katonda yeeri empeera ennungi لَا يَغُرَّنَّكَ تَقَلُّبُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي ٱلۡبِلَٰدِ ١٩٦Abakafiiri okwegiriisiza mu nsi tekikuyigulanga ttama مَتَٰعٌ قَلِيلٌ ثُمَّ مَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ١٩٧Ebyo byebalimu byakweyagala kutono, oluvanyuma obuddo bwaabwe muliro Jahannama, era obwo buddo bubi لَٰكِنِ ٱلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ رَبَّهُمۡ لَهُمۡ جَنَّٰتٌ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَا نُزُلًا مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِۗ وَمَا عِندَ ٱللَّهِ خَيۡرٌ لِّلۡأَبۡرَارِ ١٩٨Naye mazima abo abatya mukama Katonda waabwe baakufuna e jjana ezikulukutiramu emigga, baakuzibeeramu obugenderevu nga bibanja ebyolubeerera ebiribaweebwa Katonda. Ebiri ewa Katonda byebirungi eri abaddu abalongoofu وَإِنَّ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَمَن يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكُمۡ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِمۡ خَٰشِعِينَ لِلَّهِ لَا يَشۡتَرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ ثَمَنًا قَلِيلًاۚ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ١٩٩Mazima ddala mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu abantu abakkiriza Katonda nebakkiriza ebyassibwa gyemuli, n’ebyassibwa gyebali, bagondera Katonda ebigambo bya Katonda tebabitundamu muwendo mutono, abo balina okufuna empeera yaabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, mazima Katonda tagenda kukaluubirirwa kubala يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱصۡبِرُواْ وَصَابِرُواْ وَرَابِطُواْ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ٢٠٠Abange mmwe abakkiriza mugumiikirize (wabula mukimanye nti n’omulabe gwe mulwana naye agumiikiriza) n’olwekyo muvuganye naye mu kugumiikiriza (mulabe nga mumuwangula nemwekyo kibasobozese okuwangula olutalo) era munyweere nga muli mu lutalo era mutye Katonda mulyoke mubeere abalyesiima ku lunaku lw’enkomerero

الترجمة: Fareeq Musa.