ملة الإسلام

السورة 32 · 30 آية · Fareeq Musa

سورة السجدة باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة السجدة (1,287 قارئاً)
مكيةسورة السجدة٣٠ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

الٓمٓ ١Alif Laam Miim تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ لَا رَيۡبَ فِيهِ مِن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٢Okussibwa kw'ekitabo kino (Kur'ani) tekuliimu kubuusabuusa (okuba nti) kyava ewa Mukama omulabirizi w'ebitonde أَمۡ يَقُولُونَ ٱفۡتَرَىٰهُۚ بَلۡ هُوَ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ لِتُنذِرَ قَوۡمًا مَّآ أَتَىٰهُم مِّن نَّذِيرٍ مِّن قَبۡلِكَ لَعَلَّهُمۡ يَهۡتَدُونَ ٣Oba bagamba nti (Muhammad) yakyegunjirawo, si bwe kiri, kyo g'emazima agava ewa Mukama omulabiriziwo, obe nga otiisa abantu abatajjirwa mutiisa oluberyeberyelwo olwo nno babe nga balungama ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا فِي سِتَّةِ أَيَّامٍ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ مَا لَكُم مِّن دُونِهِۦ مِن وَلِيٍّ وَلَا شَفِيعٍۚ أَفَلَا تَتَذَكَّرُونَ ٤Katonda y'oyo eyatonda mu nnaku mukaaga eggulu omusanvu n'ensi, na byonna ebiri wakati wa byombi bwe yamala naatebenkera ku Arishi, okugyako yye temulina mukuumi wadde omuwolereza. abaffe temwebuulirira يُدَبِّرُ ٱلۡأَمۡرَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ ثُمَّ يَعۡرُجُ إِلَيۡهِ فِي يَوۡمٍ كَانَ مِقۡدَارُهُۥٓ أَلۡفَ سَنَةٍ مِّمَّا تَعُدُّونَ ٥(Katonda) atambuza e bintu byonna (nga ebiragiro) biva mu ggulu ne bijja ku nsi, oluvanyuma (ebikwata ku bikoleddwa) birinnya ne byambuka gyali mu lunaku nga e kigero kyalwo kyenkana emyaka lukumi mu egyo gye mubala ذَٰلِكَ عَٰلِمُ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ٦Oyo nno ye mumanyi w'ebikusike n'ebirabwako, nantakubwa ku mukono omusaasizi ٱلَّذِيٓ أَحۡسَنَ كُلَّ شَيۡءٍ خَلَقَهُۥۖ وَبَدَأَ خَلۡقَ ٱلۡإِنسَٰنِ مِن طِينٍ ٧Oyo eyalungiya buli kintu kye yatonda, nga era yatandika okutonda omuntu nga amuggya mu ttaka ثُمَّ جَعَلَ نَسۡلَهُۥ مِن سُلَٰلَةٍ مِّن مَّآءٍ مَّهِينٍ ٨Ate ezaddelye (omuntu) n'aba nga alisibimbula mu mazzi aganyoomebwa ثُمَّ سَوَّىٰهُ وَنَفَخَ فِيهِ مِن رُّوحِهِۦۖ وَجَعَلَ لَكُمُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَٱلۡأَفۡـِٔدَةَۚ قَلِيلًا مَّا تَشۡكُرُونَ ٩Bwe yamala yamussa mu kifaananyi e kimusaanira, naamufuwamu ogumu ku myoyogye (gye yatonda edda) naabassaako amatu, n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono وَقَالُوٓاْ أَءِذَا ضَلَلۡنَا فِي ٱلۡأَرۡضِ أَءِنَّا لَفِي خَلۡقٍ جَدِيدِۭۚ بَلۡ هُم بِلِقَآءِ رَبِّهِمۡ كَٰفِرُونَ ١٠Era (abatakkiriza) baagamba nti bwe tulimala okusaanirawo mu ttaka, abaffe walibaayo okutonda okupya (ne tuddawo), ekiboogeza ekyo si kirala wabula lwa kuba nti bawakanya okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe ۞ قُلۡ يَتَوَفَّىٰكُم مَّلَكُ ٱلۡمَوۡتِ ٱلَّذِي وُكِّلَ بِكُمۡ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّكُمۡ تُرۡجَعُونَ ١١Bagambe nti Malayika walumbe oyo eyaweebwa obuyinza ku mmwe agenda kubatta, oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe gye mulizzibwa وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذِ ٱلۡمُجۡرِمُونَ نَاكِسُواْ رُءُوسِهِمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ رَبَّنَآ أَبۡصَرۡنَا وَسَمِعۡنَا فَٱرۡجِعۡنَا نَعۡمَلۡ صَٰلِحًا إِنَّا مُوقِنُونَ ١٢Singa olisobola okulaba aboonoonyi webalikutamiza emitwe gyabwe, mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, nga bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulabye era tuwulidde, n'olwekyo tuzzeeyo tukole e mirimu e mirungi mazima ffe tumaze okukakasa وَلَوۡ شِئۡنَا لَأٓتَيۡنَا كُلَّ نَفۡسٍ هُدَىٰهَا وَلَٰكِنۡ حَقَّ ٱلۡقَوۡلُ مِنِّي لَأَمۡلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنَ ٱلۡجِنَّةِ وَٱلنَّاسِ أَجۡمَعِينَ ١٣Era singa twayagala buli mwoyo twaliguwadde obulungamu bwago, naye mazima kyakakata e kigambo okuva mu nze nti: nja kujjuliza ddala omuliro Jahannama okuva mu Majinni n'abantu bonna awamu فَذُوقُواْ بِمَا نَسِيتُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَآ إِنَّا نَسِينَٰكُمۡۖ وَذُوقُواْ عَذَابَ ٱلۡخُلۡدِ بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ١٤(Baligambibwa nti) kale mukombe (ku bibonerezo) ku lw'okwerabira kwa mmwe okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, mazima ffe tubeerabidde era mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera olw'ebyo bye mwali mukola إِنَّمَا يُؤۡمِنُ بِـَٔايَٰتِنَا ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِّرُواْ بِهَا خَرُّواْۤ سُجَّدًاۤ وَسَبَّحُواْ بِحَمۡدِ رَبِّهِمۡ وَهُمۡ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ ۩ ١٥Mazima abakkiriza e bigambo byaffe, beebo buli lwe baba babuuliriddwa nabyo nga babutama wansi ne bavunnama era nebatendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era bulijjo bbo tebeekuza تَتَجَافَىٰ جُنُوبُهُمۡ عَنِ ٱلۡمَضَاجِعِ يَدۡعُونَ رَبَّهُمۡ خَوۡفًا وَطَمَعًا وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ ١٦Nga e mbiriizi zaabwe ziva ku buliri (e kiro) ne baba mu kusaba Mukama omulabirizi waabwe olw'okutya (ebibonerezo bye) n'olwokululunkana (okufuna ebirungi bye), era bulijjo bawaayo nga baggya Mu ebyo bye tubagabirira فَلَا تَعۡلَمُ نَفۡسٌ مَّآ أُخۡفِيَ لَهُم مِّن قُرَّةِ أَعۡيُنٍ جَزَآءَۢ بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ١٧Tewali muntu amanyi ebyo ebyabateerekerwa mu kyama mu bitebenkeza amaaso (ebyabaweebwa) nga mpeera olw'ebyo bye baali bakola أَفَمَن كَانَ مُؤۡمِنًا كَمَن كَانَ فَاسِقًاۚ لَّا يَسۡتَوُۥنَ ١٨Abaffe oyo abeera nga mukkiriza ayinza okuba nga oyo omwonoonyi! (e kituufu kiri nti) tebenkana أَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ فَلَهُمۡ جَنَّٰتُ ٱلۡمَأۡوَىٰ نُزُلَۢا بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ١٩Bo abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina e jjana ezeeyagaza okubeeramu, nga bugenyi (obulibaweebwa) olw'ebyo bye baakolanga وَأَمَّا ٱلَّذِينَ فَسَقُواْ فَمَأۡوَىٰهُمُ ٱلنَّارُۖ كُلَّمَآ أَرَادُوٓاْ أَن يَخۡرُجُواْ مِنۡهَآ أُعِيدُواْ فِيهَا وَقِيلَ لَهُمۡ ذُوقُواْ عَذَابَ ٱلنَّارِ ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ ٢٠Bo abo abaayonoona obuddo bwabwe muliro, lwonna lwe baliyagalanga okugufuluma nga bazzibwamu era ne bagambibwa nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa وَلَنُذِيقَنَّهُم مِّنَ ٱلۡعَذَابِ ٱلۡأَدۡنَىٰ دُونَ ٱلۡعَذَابِ ٱلۡأَكۡبَرِ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ٢١Era ddala tugenda kubakombesa ku bibonerezo ebinafu (mu bulamu obw'ensi) nga tebannatuuka ku bibonerezo ebinene (ku lunaku lw'enkomerero), oba oli awo ne badda (eri obutuufu) وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦ ثُمَّ أَعۡرَضَ عَنۡهَآۚ إِنَّا مِنَ ٱلۡمُجۡرِمِينَ مُنتَقِمُونَ ٢٢Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo abuulirirwa ne bigambo bya Mukama omulabiriziwe ate naabivaako! Mazima ffe tugenda kubonereza aboonoonyi وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ فَلَا تَكُن فِي مِرۡيَةٍ مِّن لِّقَآئِهِۦۖ وَجَعَلۡنَٰهُ هُدًى لِّبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ٢٣Era mazima twawa Musa e kitabo (nga Taurat n'olwekyo naawe) tobeeramu kubuusabuusa mu ku kifuna (nga Kur'ani) era twakifuula bulungamu eri abaana ba Israil وَجَعَلۡنَا مِنۡهُمۡ أَئِمَّةً يَهۡدُونَ بِأَمۡرِنَا لَمَّا صَبَرُواْۖ وَكَانُواْ بِـَٔايَٰتِنَا يُوقِنُونَ ٢٤Era twassaawo nga tuggya mu bo abakulembeze abalungamya (abantu) nga bakolera ku kiragiro kyaffe, kavuna bagumiikiriza era ne baba nga bakakasa obubonero bwaffe إِنَّ رَبَّكَ هُوَ يَفۡصِلُ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كَانُواْ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ ٢٥Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ajja kusalawo wakati waabwe ku lunaku lw'enkomerero mu ebyo bye baayawukanangamu أَوَلَمۡ يَهۡدِ لَهُمۡ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَبۡلِهِم مِّنَ ٱلۡقُرُونِ يَمۡشُونَ فِي مَسَٰكِنِهِمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٍۚ أَفَلَا يَسۡمَعُونَ ٢٦Abaffe tebakimanyanga mu bulambulukufu nti e mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, ate nga batambulira mu bitundu gye baabeeranga, mazima mu ekyo mulimu obubonero bwaffe. Abaffe tebawulira أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا نَسُوقُ ٱلۡمَآءَ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ ٱلۡجُرُزِ فَنُخۡرِجُ بِهِۦ زَرۡعًا تَأۡكُلُ مِنۡهُ أَنۡعَٰمُهُمۡ وَأَنفُسُهُمۡۚ أَفَلَا يُبۡصِرُونَ ٢٧Abaffe tebalaba nti mazima ffe tusundika amazzi eri ettaka ekkalu ne tumeza nago ebirimwa, e bisolo bya bwe kwe birya nabo bennyini, abaffe tebalaba وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡفَتۡحُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ٢٨Era bagamba nti okuwangula (okwo kwe mwogerako) kulibaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima قُلۡ يَوۡمَ ٱلۡفَتۡحِ لَا يَنفَعُ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِيمَٰنُهُمۡ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ ٢٩Bagambe nti olunaku lw'okuwangula (bwe lulituuka) abo abaakaafuwala obukkiriza bwa bwe, (bwe baliyagala okukola mu kiseera ekyo) tebulibagasa, era tebagenda kulindirizibwa فَأَعۡرِضۡ عَنۡهُمۡ وَٱنتَظِرۡ إِنَّهُم مُّنتَظِرُونَ ٣٠Kale nno baveeko era ggwe olindirire, mazima bbo bali mu kulindirira

الترجمة: Fareeq Musa.