بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
طسٓمٓ ١Twaa Siin Miim تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ ٢Ebyo bye bigambo by'ekitabo ekinnyonnyola لَعَلَّكَ بَٰخِعٌ نَّفۡسَكَ أَلَّا يَكُونُواْ مُؤۡمِنِينَ ٣Olabika nga ayagala okwetta olw'okuba bagaanye okuba abakkiriza إِن نَّشَأۡ نُنَزِّلۡ عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ ءَايَةً فَظَلَّتۡ أَعۡنَٰقُهُمۡ لَهَا خَٰضِعِينَ ٤Singa twagadde twandissizza ku bo okuva mu ggulu akabonero, ensingo zaabwe nezikugondera olubeerera وَمَا يَأۡتِيهِم مِّن ذِكۡرٍ مِّنَ ٱلرَّحۡمَٰنِ مُحۡدَثٍ إِلَّا كَانُواْ عَنۡهُ مُعۡرِضِينَ ٥Tewali bubaka bwonna bupya kuva wa Katonda Omusaasizi ennyo wabula bo babuwakanya فَقَدۡ كَذَّبُواْ فَسَيَأۡتِيهِمۡ أَنۢبَٰٓؤُاْ مَا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ٦Nebaba nga mazima balimbisa, bigenda kubajjira ebigambo ebyo bye baali bajeeja أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ كَمۡ أَنۢبَتۡنَا فِيهَا مِن كُلِّ زَوۡجٍ كَرِيمٍ ٧Abaffe tebatunuulira nsi ne balaba bimeka bye twameza mu yo mu buli mutindo oguvaamu emigaso إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةًۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ٨Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ٩Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo وَإِذۡ نَادَىٰ رَبُّكَ مُوسَىٰٓ أَنِ ٱئۡتِ ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّٰلِمِينَ ١٠Era jjukira ekiseera Mukama omulabiriziwo bwe yakoowoola Musa (naamulagira) nti: genda eri abantu abeeyisa obubi قَوۡمَ فِرۡعَوۡنَۚ أَلَا يَتَّقُونَ ١١Abantu ba Firaawo (obagambe nti) abaffe tebatya Katonda قَالَ رَبِّ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يُكَذِّبُونِ ١٢(Musa) naagamba nti: mazima nze ntya okuba nga bannimbisa وَيَضِيقُ صَدۡرِي وَلَا يَنطَلِقُ لِسَانِي فَأَرۡسِلۡ إِلَىٰ هَٰرُونَ ١٣Ekifuba kyange ne kifunda olulimi lwange ne rutayatula, n'olwekyo lagira Haruna (annyambeko) وَلَهُمۡ عَلَيَّ ذَنۢبٌ فَأَخَافُ أَن يَقۡتُلُونِ ١٤Ate banninako omusango, ntya nti bayinza okunzita قَالَ كـَلَّاۖ فَٱذۡهَبَا بِـَٔايَٰتِنَآۖ إِنَّا مَعَكُم مُّسۡتَمِعُونَ ١٥(Katonda) naagamba nti nedda mugende n'obubonero bwaffe mazima ffe tuli wamu na mmwe tuwulira (tugoberera buli ekigenda mu maaso) فَأۡتِيَا فِرۡعَوۡنَ فَقُولَآ إِنَّا رَسُولُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ١٦Mugende ewa Firaawo mumugambe nti mazima ffe tutumiddwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna أَنۡ أَرۡسِلۡ مَعَنَا بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ١٧(Atugambye nti) tuwe abaana ba Israil tugende nabo قَالَ أَلَمۡ نُرَبِّكَ فِينَا وَلِيدًا وَلَبِثۡتَ فِينَا مِنۡ عُمُرِكَ سِنِينَ ١٨(Firaawo) naagamba nti tetwakukuliza mu ffe okuva nga oli mwana muto, era nga wawangaalira mu ffe emyaka mingi ku buwangaazibwo وَفَعَلۡتَ فَعۡلَتَكَ ٱلَّتِي فَعَلۡتَ وَأَنتَ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ١٩Era nookola ekikolwakyo ekyo kye wakola e kyakufuula okuba mu batasiima bye bakolerwa قَالَ فَعَلۡتُهَآ إِذًا وَأَنَا۠ مِنَ ٱلضَّآلِّينَ ٢٠(Musa) naagamba nti nnakikola bwe nnali nkyali mu babuze فَفَرَرۡتُ مِنكُمۡ لَمَّا خِفۡتُكُمۡ فَوَهَبَ لِي رَبِّي حُكۡمًا وَجَعَلَنِي مِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ٢١Olwo nno nembadduka bwe nnabatya, awo Mukama omulabirizi wange nangabira okumanya e nsonga era nanteeka mu babaka وَتِلۡكَ نِعۡمَةٌ تَمُنُّهَا عَلَيَّ أَنۡ عَبَّدتَّ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ٢٢Ne'kyo e kyengera (eky'okundera n'okukulira mu mmwe) okindalaasaako naye nga ggwe abaana ba Israil wabafuula abaddu قَالَ فِرۡعَوۡنُ وَمَا رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٢٣Firaawo naagamba nti Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna gwoyogerako yaani قَالَ رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَآۖ إِن كُنتُم مُّوقِنِينَ ٢٤Musa naagamba nti Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi bwe muba nga mwetegereza ebintu قَالَ لِمَنۡ حَوۡلَهُۥٓ أَلَا تَسۡتَمِعُونَ ٢٥(Firaawo) kwe kugamba abaali naye awo nti: abaffe temuwulira (nga bwabijweteka) قَالَ رَبُّكُمۡ وَرَبُّ ءَابَآئِكُمُ ٱلۡأَوَّلِينَ ٢٦(Musa) naagamba nti ye Mukama omulabirizi wa mmwe, era Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka قَالَ إِنَّ رَسُولَكُمُ ٱلَّذِيٓ أُرۡسِلَ إِلَيۡكُمۡ لَمَجۡنُونٌ ٢٧(Firaawo) naagamba nti: mazima omubaka wa mmwe oyo eyatumiddwa gye muli mulalu قَالَ رَبُّ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ وَمَا بَيۡنَهُمَآۖ إِن كُنتُمۡ تَعۡقِلُونَ ٢٨(Musa) naagamba nti (ye) Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba n'ebugwanjuba n'ebyo ebiri wakati wa byombi singa mubadde mutegeera قَالَ لَئِنِ ٱتَّخَذۡتَ إِلَٰهًا غَيۡرِي لَأَجۡعَلَنَّكَ مِنَ ٱلۡمَسۡجُونِينَ ٢٩(Firaawo) naagamba nti mazima singa oteekawo Katonda omulala atali nze nja kukuteera ddala mu b'okusibwa قَالَ أَوَلَوۡ جِئۡتُكَ بِشَيۡءٍ مُّبِينٍ ٣٠(Musa) naagamba nti ne bwennaaba nkuleetedde ekintu ekyeyolefu (ekiraga obutuufu bw'ebyo bye ngamba) قَالَ فَأۡتِ بِهِۦٓ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ ٣١(Firaawo) naagamba nti kale kireete bwoba nga oli mu boogera amazima فَأَلۡقَىٰ عَصَاهُ فَإِذَا هِيَ ثُعۡبَانٌ مُّبِينٌ ٣٢Awo nno Musa naasuula omuggogwe, okugenda okulaba nga musota omweyolefu وَنَزَعَ يَدَهُۥ فَإِذَا هِيَ بَيۡضَآءُ لِلنَّٰظِرِينَ ٣٣Era naggyayo omukonogwe okugenda okulaba nga ggwo gwakaayakanira abalabi قَالَ لِلۡمَلَإِ حَوۡلَهُۥٓ إِنَّ هَٰذَا لَسَٰحِرٌ عَلِيمٌ ٣٤(Firaawo) naagamba abo abaali batudde waali nti mazima ono mulogo kafulu يُرِيدُ أَن يُخۡرِجَكُم مِّنۡ أَرۡضِكُم بِسِحۡرِهِۦ فَمَاذَا تَأۡمُرُونَ ٣٥Ayagala kubaggya mu nsi yammwe ku lw'eddogolye kati mugamba ki قَالُوٓاْ أَرۡجِهۡ وَأَخَاهُ وَٱبۡعَثۡ فِي ٱلۡمَدَآئِنِ حَٰشِرِينَ ٣٦Ne bagamba nti mulagaanyise ne Mugandawe (ddi na wwa) aw'okubasisinkana era otume mu bitundu eby'enjawulo abakungaanya abalogo يَأۡتُوكَ بِكُلِّ سَحَّارٍ عَلِيمٍ ٣٧Bajja kukuleetera buli mulogo kakensa فَجُمِعَ ٱلسَّحَرَةُ لِمِيقَٰتِ يَوۡمٍ مَّعۡلُومٍ ٣٨Olwo nno abalogo ne bakungaanyizibwa mu kiseera ekiragaane ku lunaku olumanyiddwa وَقِيلَ لِلنَّاسِ هَلۡ أَنتُم مُّجۡتَمِعُونَ ٣٩Abantu baagambibwa nti abaffe mmwe munajja لَعَلَّنَا نَتَّبِعُ ٱلسَّحَرَةَ إِن كَانُواْ هُمُ ٱلۡغَٰلِبِينَ ٤٠Sikulwa nga tunaagoberera abalogo bwe banaaba bo nga be bawangudde فَلَمَّا جَآءَ ٱلسَّحَرَةُ قَالُواْ لِفِرۡعَوۡنَ أَئِنَّ لَنَا لَأَجۡرًا إِن كُنَّا نَحۡنُ ٱلۡغَٰلِبِينَ ٤١Abalogo bwe bajja baagamba Firaawo nti mazima tuteekwa okuweebwa empeera bwe tunaaba nga ffe tuwangudde قَالَ نَعَمۡ وَإِنَّكُمۡ إِذًا لَّمِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ ٤٢(Firaawo) naagamba nti weewaawo era mazima mmwe singa kinaaba bwe kityo mujja kubeera ba ku lusegere قَالَ لَهُم مُّوسَىٰٓ أَلۡقُواْ مَآ أَنتُم مُّلۡقُونَ ٤٣Musa naabagamba nti kale mwanje kye mwanja فَأَلۡقَوۡاْ حِبَالَهُمۡ وَعِصِيَّهُمۡ وَقَالُواْ بِعِزَّةِ فِرۡعَوۡنَ إِنَّا لَنَحۡنُ ٱلۡغَٰلِبُونَ ٤٤Nebasuula e miguwa gya bwe n'emiggo gya bwe era ne bagamba nti ku lw'ekitiibwa kya Firaawo mazima ffe tujja okuwangula فَأَلۡقَىٰ مُوسَىٰ عَصَاهُ فَإِذَا هِيَ تَلۡقَفُ مَا يَأۡفِكُونَ ٤٥Olwo nno Musa naasuula omuggogwe okugenda okulaba nga gwo gumira buli kye baali bagunjizzaawo فَأُلۡقِيَ ٱلسَّحَرَةُ سَٰجِدِينَ ٤٦Awo nno abalogo ne beeyala nga bavunnama قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٤٧Nebagamba nti tukkirizza Mukama Omulabirizi w'ebitonde رَبِّ مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ ٤٨Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna قَالَ ءَامَنتُمۡ لَهُۥ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّهُۥ لَكَبِيرُكُمُ ٱلَّذِي عَلَّمَكُمُ ٱلسِّحۡرَ فَلَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَۚ لَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٍ وَلَأُصَلِّبَنَّكُمۡ أَجۡمَعِينَ ٤٩Firaawo naagamba nti: mukkirizza byagamba nga sinnaba kubawa lukusa, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, kale nno mujja kukitegeera, nja ku bakutulako e mikono gya mmwe n'amagulu ga mmwe nga bwe nkuggyako okugulu okwa ddyo, omukono nkuggyako gwa kkono, era ddala mwenna nja ku bakomerera ku musaalaba قَالُواْ لَا ضَيۡرَۖ إِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا مُنقَلِبُونَ ٥٠Ne bagamba nti ekyo tekiriimu buzibu, (anti) mazima ffe tujja kuba tudda eri Mukama omulabirizi waffe إِنَّا نَطۡمَعُ أَن يَغۡفِرَ لَنَا رَبُّنَا خَطَٰيَٰنَآ أَن كُنَّآ أَوَّلَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٥١Mazima ffe tululunkanira okuba nga Mukama omulabirizi waffe atusonyiwa ebyonoono byaffe bwe tuba nga ffe abakkiriza abasooka ۞ وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَسۡرِ بِعِبَادِيٓ إِنَّكُم مُّتَّبَعُونَ ٥٢Era netutumira Musa nti tambula ekiro n'abaddu bange, mazima mmwe mujja kulondoolwa فَأَرۡسَلَ فِرۡعَوۡنُ فِي ٱلۡمَدَآئِنِ حَٰشِرِينَ ٥٣Firaawo naatuma mu bibuga abakungaanya (eggye era naagamba nti) إِنَّ هَٰٓؤُلَآءِ لَشِرۡذِمَةٌ قَلِيلُونَ ٥٤Mazima abo kabiina ka bantu batono وَإِنَّهُمۡ لَنَا لَغَآئِظُونَ ٥٥Era mazima bbo batunyiizizza وَإِنَّا لَجَمِيعٌ حَٰذِرُونَ ٥٦Era nga bulijjo mazima ffe nga tukolera wamu tuli abantu abeekengera فَأَخۡرَجۡنَٰهُم مِّن جَنَّٰتٍ وَعُيُونٍ ٥٧(Okusinziira ku nteekateeka zaabwe ne bye bakola ate) twabaggya mu malimiro ne nsulo ezikulukuta وَكُنُوزٍ وَمَقَامٍ كَرِيمٍ ٥٨N'amawanika n'ebifo eby'ekitiibwa كَذَٰلِكَۖ وَأَوۡرَثۡنَٰهَا بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ٥٩Bwe tutyo nno ne tubisikiza abaana ba Israil فَأَتۡبَعُوهُم مُّشۡرِقِينَ ٦٠Olwo nno nebabagoberera nga busaasaana فَلَمَّا تَرَٰٓءَا ٱلۡجَمۡعَانِ قَالَ أَصۡحَٰبُ مُوسَىٰٓ إِنَّا لَمُدۡرَكُونَ ٦١Ebibinja byombi bwe byalengeragana abantu ba Musa baagamba nti mazima ffe bajja kutukwata (batutte) قَالَ كـَلَّآۖ إِنَّ مَعِيَ رَبِّي سَيَهۡدِينِ ٦٢(Musa) naagamba nti nedda mazima Mukama omulabirizi wange ali nange ajja kundaga eky'okukola فَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنِ ٱضۡرِب بِّعَصَاكَ ٱلۡبَحۡرَۖ فَٱنفَلَقَ فَكَانَ كُلُّ فِرۡقٍ كَٱلطَّوۡدِ ٱلۡعَظِيمِ ٦٣Awo nno ne tutumira Musa nti kuba omuggogwo ku nnyanja, olwo neebajjukamu, buli kibajjo ne kiba nga olusozi olunene وَأَزۡلَفۡنَا ثَمَّ ٱلۡأٓخَرِينَ ٦٤Netusembeza awo abalala (Firaawo ne ggyerye nabo ne bayingira e kkubo Musa lye yakuba ku nnyanja) وَأَنجَيۡنَا مُوسَىٰ وَمَن مَّعَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ ٦٥Netuwonya Musa n'abaali naye bonna ثُمَّ أَغۡرَقۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ ٦٦Oluvanyuma ne tuzikiriza abasigadde إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةًۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ٦٧Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebaali bakkiriza وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ٦٨Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi وَٱتۡلُ عَلَيۡهِمۡ نَبَأَ إِبۡرَٰهِيمَ ٦٩Era basomere ebigambo ebikwata ku Ibrahim إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَا تَعۡبُدُونَ ٧٠Bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti musinza biki قَالُواْ نَعۡبُدُ أَصۡنَامًا فَنَظَلُّ لَهَا عَٰكِفِينَ ٧١Nebagamba nti tusinza amasanamu tubeera we gali era ne tugawa ebiseera bingi mu kugasinza قَالَ هَلۡ يَسۡمَعُونَكُمۡ إِذۡ تَدۡعُونَ ٧٢(Ibrahim) naagamba nti abaffe bwe musaba gabawulira أَوۡ يَنفَعُونَكُمۡ أَوۡ يَضُرُّونَ ٧٣Oba gabagasa oba gasobola okubatuusaako akabi قَالُواْ بَلۡ وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا كَذَٰلِكَ يَفۡعَلُونَ ٧٤Nebagamba nti nedda wabula bwe tutyo bakadde baffe bye twasanga bakola قَالَ أَفَرَءَيۡتُم مَّا كُنتُمۡ تَعۡبُدُونَ ٧٥Naagamba nti mulaba ebyo bye musinza أَنتُمۡ وَءَابَآؤُكُمُ ٱلۡأَقۡدَمُونَ ٧٦Mmwe ne bakadde ba mmwe abaabakulembera فَإِنَّهُمۡ عَدُوٌّ لِّيٓ إِلَّا رَبَّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٧٧Mazima byo balabe bange, okugyako Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna ٱلَّذِي خَلَقَنِي فَهُوَ يَهۡدِينِ ٧٨Oyo eyantonda, yye y'annungamya وَٱلَّذِي هُوَ يُطۡعِمُنِي وَيَسۡقِينِ ٧٩Era yye yooyo andiisa nannyweesa وَإِذَا مَرِضۡتُ فَهُوَ يَشۡفِينِ ٨٠Era bwe ndwala yye y'amponya وَٱلَّذِي يُمِيتُنِي ثُمَّ يُحۡيِينِ ٨١Era yooyo anzita ate nampa obulamu وَٱلَّذِيٓ أَطۡمَعُ أَن يَغۡفِرَ لِي خَطِيٓـَٔتِي يَوۡمَ ٱلدِّينِ ٨٢Era yye gwe ndulunkanira abe nga ansonyiwa ebyonoono byange ku lunaku lw'okusasulwa رَبِّ هَبۡ لِي حُكۡمًا وَأَلۡحِقۡنِي بِٱلصَّٰلِحِينَ ٨٣Ayi Mukama omulabirizi ngabira okumanya ensonga era onsisinkanye abalongoofu وَٱجۡعَل لِّي لِسَانَ صِدۡقٍ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ ٨٤Era onteerewo okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma وَٱجۡعَلۡنِي مِن وَرَثَةِ جَنَّةِ ٱلنَّعِيمِ ٨٥Era onteeke mu balisikira e jjana ey'ebyengera وَٱغۡفِرۡ لِأَبِيٓ إِنَّهُۥ كَانَ مِنَ ٱلضَّآلِّينَ ٨٦Era sonyiwa Kitange mazima yye yali mu babuze وَلَا تُخۡزِنِي يَوۡمَ يُبۡعَثُونَ ٨٧Era tonswazanga olunaku lwe balizuukizibwa يَوۡمَ لَا يَنفَعُ مَالٌ وَلَا بَنُونَ ٨٨Olunaku emmaali n'abaana lwe bitaligasa إِلَّا مَنۡ أَتَى ٱللَّهَ بِقَلۡبٍ سَلِيمٍ ٨٩Okugyako (aliganyulwa) yooyo alijja ewa Katonda n'omutima omuyonjo وَأُزۡلِفَتِ ٱلۡجَنَّةُ لِلۡمُتَّقِينَ ٩٠E jjana erisembezebwa eri abatya Katonda وَبُرِّزَتِ ٱلۡجَحِيمُ لِلۡغَاوِينَ ٩١N'omuliro ne gulagibwa eri ababuze وَقِيلَ لَهُمۡ أَيۡنَ مَا كُنتُمۡ تَعۡبُدُونَ ٩٢Era bagenda kugambibwa nti biriwa ebyo bye mwasinzanga مِن دُونِ ٱللَّهِ هَلۡ يَنصُرُونَكُمۡ أَوۡ يَنتَصِرُونَ ٩٣Ne muleka Katonda, abaffe bisobola okubataasa oba byo bisobola okwetaasa فَكُبۡكِبُواْ فِيهَا هُمۡ وَٱلۡغَاوُۥنَ ٩٤Olwo nno ne bakasukibwa mu gwo bo n'ababuze وَجُنُودُ إِبۡلِيسَ أَجۡمَعُونَ ٩٥Na bonna abali muggye lya Ibuliisu قَالُواْ وَهُمۡ فِيهَا يَخۡتَصِمُونَ ٩٦Baligamba nga bali mu gwo nga bakaayagana (nti) تَٱللَّهِ إِن كُنَّا لَفِي ضَلَٰلٍ مُّبِينٍ ٩٧Tulayira Katonda nti mazima ddala twali mu bubuze obw'olwatu إِذۡ نُسَوِّيكُم بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٩٨Bwe twabenkanya (mmwe) ne Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna وَمَآ أَضَلَّنَآ إِلَّا ٱلۡمُجۡرِمُونَ ٩٩Era tewali yatubuza okugyako aboonoonyi فَمَا لَنَا مِن شَٰفِعِينَ ١٠٠N'olwekyo tetulina bawolereza وَلَا صَدِيقٍ حَمِيمٍ ١٠١Wadde ow'omukwano alumirwa فَلَوۡ أَنَّ لَنَا كَرَّةً فَنَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ١٠٢Naye singa tubadde tulina omukisa (okudda ku nsi) ne tuba mu bakkiriza إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةًۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ١٠٣Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ١٠٤Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaazizi كَذَّبَتۡ قَوۡمُ نُوحٍ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ١٠٥Abantu ba Nuhu baalimbisa ababaka إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ نُوحٌ أَلَا تَتَّقُونَ ١٠٦Mu kiseera muganda waabwe Nuhu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda) إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٌ ١٠٧Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ١٠٨Kale mutye Katonda era mungondere وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ١٠٩Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ١١٠Kale mutye Katonda era mungondere ۞ قَالُوٓاْ أَنُؤۡمِنُ لَكَ وَٱتَّبَعَكَ ٱلۡأَرۡذَلُونَ ١١١Nebagamba nti abaffe tukukkirize nga abakugoberedde be ba wansi قَالَ وَمَا عِلۡمِي بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ١١٢Naagamba nti: mmanya ntya bye baali bakola إِنۡ حِسَابُهُمۡ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّيۖ لَوۡ تَشۡعُرُونَ ١١٣Okubalibwa kwa bwe tekuli okugyako kuli ku Mukama omulabirizi wange singa mubadde mumanyi وَمَآ أَنَا۠ بِطَارِدِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ١١٤Ate nze siri wa kugoba bakkiriza (olw'okuba ba wansi) إِنۡ أَنَا۠ إِلَّا نَذِيرٌ مُّبِينٌ ١١٥Nze siri okugyako omutiisa ow'olwatu قَالُواْ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ يَٰنُوحُ لَتَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمَرۡجُومِينَ ١١٦Nebagamba nti: owange Nuhu bwo teekomeko ojja kubeerera ddala mu b'okukubwa amayinja قَالَ رَبِّ إِنَّ قَوۡمِي كَذَّبُونِ ١١٧Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima abantu bange bannimbisizza فَٱفۡتَحۡ بَيۡنِي وَبَيۡنَهُمۡ فَتۡحًا وَنَجِّنِي وَمَن مَّعِيَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ١١٨Kale salawo wakati wange nabo olusalawo olwannamaddala, era omponye owonye n'abakkiriza bendi nabo فَأَنجَيۡنَٰهُ وَمَن مَّعَهُۥ فِي ٱلۡفُلۡكِ ٱلۡمَشۡحُونِ ١١٩Ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato eryali lijjudde ثُمَّ أَغۡرَقۡنَا بَعۡدُ ٱلۡبَاقِينَ ١٢٠Oluvanyuma twazikiriza abaasigala إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةًۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ١٢١Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ١٢٢Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi كَذَّبَتۡ عَادٌ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ١٢٣Abantu ba A’di baalimbisa ababaka إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ هُودٌ أَلَا تَتَّقُونَ ١٢٤Mu kiseera muganda waabwe Hudu lwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda) إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٌ ١٢٥Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ١٢٦Kale mutye Katonda era mungondere وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ١٢٧Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna أَتَبۡنُونَ بِكُلِّ رِيعٍ ءَايَةً تَعۡبَثُونَ ١٢٨Abaffe muzimba ku buli katunnumba ekijjukizo nga muzannya buzannyi وَتَتَّخِذُونَ مَصَانِعَ لَعَلَّكُمۡ تَخۡلُدُونَ ١٢٩Era nemweteerawo amayumba amagundiivu nga mulinga abalibeerawo olubeerera وَإِذَا بَطَشۡتُم بَطَشۡتُمۡ جَبَّارِينَ ١٣٠Ate bwe mukwata (abalabe ba mmwe) mukwata enkwata eya ba kirimaanyi (abanyigiriza bannaabwe) فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ١٣١Kale mutye Katonda era mungondere وَٱتَّقُواْ ٱلَّذِيٓ أَمَدَّكُم بِمَا تَعۡلَمُونَ ١٣٢Era mutye oyo abagabirira ebyo bye mumanyi أَمَدَّكُم بِأَنۡعَٰمٍ وَبَنِينَ ١٣٣Abagabirira ebisolo ebirundibwa era n'abaana وَجَنَّٰتٍ وَعُيُونٍ ١٣٤N'amalimiro n'emigga إِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُمۡ عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٍ ١٣٥Mazima nze ku lwa mmwe ntya ebibonerezo by'olunaku oluzibu قَالُواْ سَوَآءٌ عَلَيۡنَآ أَوَعَظۡتَ أَمۡ لَمۡ تَكُن مِّنَ ٱلۡوَٰعِظِينَ ١٣٦Nebagamba nti kyekimu obuuliridde oba toli mu babuulirira إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا خُلُقُ ٱلۡأَوَّلِينَ ١٣٧Tekiri kino (eky'okubuulirira kwokola) okugyako nkola ya baasooka وَمَا نَحۡنُ بِمُعَذَّبِينَ ١٣٨Era ffe tetuli ba kubonerezebwa فَكَذَّبُوهُ فَأَهۡلَكۡنَٰهُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةًۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ١٣٩Nebamulimbisa olwo nno ne tubazikiriza, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ١٤٠Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi كَذَّبَتۡ ثَمُودُ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ١٤١Abantu ba Thamud baalimbisa ababaka إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ صَٰلِحٌ أَلَا تَتَّقُونَ ١٤٢Mu kiseera muganda waabwe Swalehe we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda) إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٌ ١٤٣Mazima nze gye muli ndi mubaka mwesigwa فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ١٤٤Kale mutye Katonda era mungondere وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ١٤٥Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna أَتُتۡرَكُونَ فِي مَا هَٰهُنَآ ءَامِنِينَ ١٤٦(Mulowooza nti) mujja kulekebwa mirembe mu bintu ebiri wano فِي جَنَّٰتٍ وَعُيُونٍ ١٤٧(Nga muli) mu malimiro n'emigga وَزُرُوعٍ وَنَخۡلٍ طَلۡعُهَا هَضِيمٌ ١٤٨N'ebimera n'emitende egiweese enkota enzito وَتَنۡحِتُونَ مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتًا فَٰرِهِينَ ١٤٩Era nemukola amayumba mu nsozi mu ngeri y'ekikugu فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ١٥٠Kale mutye Katonda era mungondere وَلَا تُطِيعُوٓاْ أَمۡرَ ٱلۡمُسۡرِفِينَ ١٥١Era temugondera ekigambo ky'abasukka e nsalosalo za Katonda ٱلَّذِينَ يُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا يُصۡلِحُونَ ١٥٢Abo aboonoona mu nsi nebatalongoosa قَالُوٓاْ إِنَّمَآ أَنتَ مِنَ ٱلۡمُسَحَّرِينَ ١٥٣Nebagamba nti mazima ggwe oli wa mu baloge مَآ أَنتَ إِلَّا بَشَرٌ مِّثۡلُنَا فَأۡتِ بِـَٔايَةٍ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ ١٥٤Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, kale leeta akabonero bwoba nga oli mu boogera amazima قَالَ هَٰذِهِۦ نَاقَةٌ لَّهَا شِرۡبٌ وَلَكُمۡ شِرۡبُ يَوۡمٍ مَّعۡلُومٍ ١٥٥Naagamba nti engamiya yiino, erina okunywa (ku lunaku lwayo) nammwe munywe ku lunaku olumanyiddwa وَلَا تَمَسُّوهَا بِسُوٓءٍ فَيَأۡخُذَكُمۡ عَذَابُ يَوۡمٍ عَظِيمٍ ١٥٦Temugituusangako kabi ne bibakwata e bibonerezo by'olunaku oluzito فَعَقَرُوهَا فَأَصۡبَحُواْ نَٰدِمِينَ ١٥٧Wabula baagifumita (neefa) olwo nno ne baba nga bejjusa فَأَخَذَهُمُ ٱلۡعَذَابُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةًۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ١٥٨Ebibonerezo ne bibatuukako mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga, naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ١٥٩Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi كَذَّبَتۡ قَوۡمُ لُوطٍ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ١٦٠Abantu ba Luutu baalimbisa ababaka إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ لُوطٌ أَلَا تَتَّقُونَ ١٦١Mu kiseera Muganda waabwe Luutu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda) إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٌ ١٦٢Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ١٦٣Kale mutye Katonda era mungondere وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ١٦٤Era ssi kibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna أَتَأۡتُونَ ٱلذُّكۡرَانَ مِنَ ٱلۡعَٰلَمِينَ ١٦٥Abaffe mu bitonde byonna ne mwagalamu basajja وَتَذَرُونَ مَا خَلَقَ لَكُمۡ رَبُّكُم مِّنۡ أَزۡوَٰجِكُمۚ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٌ عَادُونَ ١٦٦Ne muleka ekyo Mukama omulabirizi wa mmwe kye yabatondera mu abo be mwafumbiriganwa nabo, wabula mmwe muli bantu abasukka ebikomo قَالُواْ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ يَٰلُوطُ لَتَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُخۡرَجِينَ ١٦٧Nebagamba nti owange Luutu bwoteekomeko ojja kubeerera ddala mu bafulumizibwa (ne bagobwa mu nsi eno) قَالَ إِنِّي لِعَمَلِكُم مِّنَ ٱلۡقَالِينَ ١٦٨Naagamba nti mazima ndi omu ku batamwa ekikolwa kya mmwe (eky'ebisiyaga) رَبِّ نَجِّنِي وَأَهۡلِي مِمَّا يَعۡمَلُونَ ١٦٩Ayi Mukama omulabirizi wange mponya n'abantu bange mu ebyo bye bakola فَنَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ ١٧٠Netumuwonya n'abantu be bonna إِلَّا عَجُوزًا فِي ٱلۡغَٰبِرِينَ ١٧١Okugyako omukazi omukadde omu eyali mu baasigala ثُمَّ دَمَّرۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ ١٧٢Oluvanyuma twazikiriza abalala (bonna) وَأَمۡطَرۡنَا عَلَيۡهِم مَّطَرًاۖ فَسَآءَ مَطَرُ ٱلۡمُنذَرِينَ ١٧٣Netubatonnyesaako enkuba, mazima yali mbi nnyo enkuba y'abo abaalabulwa (ne bateebuulirira) إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةًۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ١٧٤Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga kinene naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ١٧٥Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi كَذَّبَ أَصۡحَٰبُ لۡـَٔيۡكَةِ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ١٧٦Abantu b'o mu kitundu eky'ekibira baalimbisa ababaka إِذۡ قَالَ لَهُمۡ شُعَيۡبٌ أَلَا تَتَّقُونَ ١٧٧Mu kiseera Swaibu bwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda) إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٌ ١٧٨Mazima gye muli ndi Mubaka omwesigwa فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ١٧٩Kale mutye Katonda era mungondere وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ١٨٠Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna ۞ أَوۡفُواْ ٱلۡكَيۡلَ وَلَا تَكُونُواْ مِنَ ٱلۡمُخۡسِرِينَ ١٨١Era mutuukirizenga okupima temubeera mu abo abafiiriza abalala وَزِنُواْ بِٱلۡقِسۡطَاسِ ٱلۡمُسۡتَقِيمِ ١٨٢Mupimisenga ebipimo ebituufu وَلَا تَبۡخَسُواْ ٱلنَّاسَ أَشۡيَآءَهُمۡ وَلَا تَعۡثَوۡاْ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُفۡسِدِينَ ١٨٣Temukendeerezanga abantu ebintu bya bwe, temukolanga ebibi mu nsi ne muba aboonoonyi وَٱتَّقُواْ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ وَٱلۡجِبِلَّةَ ٱلۡأَوَّلِينَ ١٨٤Era mutye oyo eyabatonda n'atonda n'emirembe egyasooka قَالُوٓاْ إِنَّمَآ أَنتَ مِنَ ٱلۡمُسَحَّرِينَ ١٨٥Nebagamba nti mazima ggwe oli mu baloge وَمَآ أَنتَ إِلَّا بَشَرٌ مِّثۡلُنَا وَإِن نَّظُنُّكَ لَمِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ ١٨٦Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, era tukulowooza okuba nti oli mu balimba فَأَسۡقِطۡ عَلَيۡنَا كِسَفًا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ ١٨٧Kale nno tusuuleko ekibajjo okuva waggulu bwoba nga oli mu boogera amazima قَالَ رَبِّيٓ أَعۡلَمُ بِمَا تَعۡمَلُونَ ١٨٨Naagamba nti Mukama omulabirizi wange yaasinga okumanya ebyo bye mukola فَكَذَّبُوهُ فَأَخَذَهُمۡ عَذَابُ يَوۡمِ ٱلظُّلَّةِۚ إِنَّهُۥ كَانَ عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٍ ١٨٩Wabula baamulimbisa ne bibakwata ebibonerezo ku lunaku ekire lwe kyabasiikiriza. Mazima kyo kyali kibonerezo kya lunaku oluzito إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةًۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ ١٩٠Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ ١٩١Era mazima Mukama omulabiriziwo, ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi وَإِنَّهُۥ لَتَنزِيلُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ١٩٢Era mazima yyo (Kur’ani) yassibwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna نَزَلَ بِهِ ٱلرُّوحُ ٱلۡأَمِينُ ١٩٣Yakka nayo mwoyo omwesigwa (Jiburilu) عَلَىٰ قَلۡبِكَ لِتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُنذِرِينَ ١٩٤(Naagissa) ku mutima gwo olyoke obe mu batiisa (abantu okukola ebibi) بِلِسَانٍ عَرَبِيٍّ مُّبِينٍ ١٩٥Nga eri mu lulimi oluwarabu olutegeerekeka وَإِنَّهُۥ لَفِي زُبُرِ ٱلۡأَوَّلِينَ ١٩٦Era mazima yo eyogerwako mu bitabo eby'edda ebyasooka أَوَلَمۡ يَكُن لَّهُمۡ ءَايَةً أَن يَعۡلَمَهُۥ عُلَمَٰٓؤُاْ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ١٩٧Abaffe tekibamala kuba bujulizi okuba nti bagimanyi abayivu b'abaana ba Israil وَلَوۡ نَزَّلۡنَٰهُ عَلَىٰ بَعۡضِ ٱلۡأَعۡجَمِينَ ١٩٨Singa twagissa ku bamu mu batali bawarabu فَقَرَأَهُۥ عَلَيۡهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ مُؤۡمِنِينَ ١٩٩Olwo nno (omu kubo) naagibasomera tebandigikkirizza كَذَٰلِكَ سَلَكۡنَٰهُ فِي قُلُوبِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ٢٠٠Bwe kityo twagiyingiza mu mitima gy'aboonoonyi لَا يُؤۡمِنُونَ بِهِۦ حَتَّىٰ يَرَوُاْ ٱلۡعَذَابَ ٱلۡأَلِيمَ ٢٠١Tebagenda kugikkiriza okutuusa lwe baliraba ebibonerezo ebiruma فَيَأۡتِيَهُم بَغۡتَةً وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ ٢٠٢Ebiribajjira ekibwatukira nga bo tebategedde فَيَقُولُواْ هَلۡ نَحۡنُ مُنظَرُونَ ٢٠٣Olwo nno bagambe nti abaffe tusobola okulindirizibwa أَفَبِعَذَابِنَا يَسۡتَعۡجِلُونَ ٢٠٤Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba okubaleetera amangu أَفَرَءَيۡتَ إِن مَّتَّعۡنَٰهُمۡ سِنِينَ ٢٠٥Okiraba nti singa tubawangaazizza emyaka (egiwera) ثُمَّ جَآءَهُم مَّا كَانُواْ يُوعَدُونَ ٢٠٦Oluvanyuma ne bibajjira ebyo bye balagaanyisibwa مَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يُمَتَّعُونَ ٢٠٧Tebiyinza kubayamba ebyo bye baaweebwa okweyagaliramu وَمَآ أَهۡلَكۡنَا مِن قَرۡيَةٍ إِلَّا لَهَا مُنذِرُونَ ٢٠٨Tewali kitundu kye twazikiriza okugyako nga kimaze kufuna batiisa (ba Nabbi) ذِكۡرَىٰ وَمَا كُنَّا ظَٰلِمِينَ ٢٠٩(Kyabanga bwe kityo) lwa kubabuulirira, tetubangako balyazaamaanyi وَمَا تَنَزَّلَتۡ بِهِ ٱلشَّيَٰطِينُ ٢١٠Era Sitane ssi ze zaajissa (Kur’ani) وَمَا يَنۢبَغِي لَهُمۡ وَمَا يَسۡتَطِيعُونَ ٢١١Era tekizisaanira era nga tezikisobola إِنَّهُمۡ عَنِ ٱلسَّمۡعِ لَمَعۡزُولُونَ ٢١٢(Ku lw'ensonga nti) mazima zaaziyizibwa okuwulira ebifa mu ggulu فَلَا تَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُعَذَّبِينَ ٢١٣(N'olwekyo) bwoba osinza Katonda tomugattako kintu kirala (anti bwokikola) obeera wa mu balibonerezebwa وَأَنذِرۡ عَشِيرَتَكَ ٱلۡأَقۡرَبِينَ ٢١٤Era tiisa ab'oluganda lwo ab'okumpi وَٱخۡفِضۡ جَنَاحَكَ لِمَنِ ٱتَّبَعَكَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٢١٥Era kakkanya ekiwawaatiro kyo (weewombeke) eri oyo aba akugoberedde mu bakkiriza فَإِنۡ عَصَوۡكَ فَقُلۡ إِنِّي بَرِيٓءٌ مِّمَّا تَعۡمَلُونَ ٢١٦Wabula bwe bakujeemera gamba nti mazima nze nnesambye ebyo bye mukola وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱلۡعَزِيزِ ٱلرَّحِيمِ ٢١٧Era weekwate ku nantakubwa ku mukono omusaasizi ٱلَّذِي يَرَىٰكَ حِينَ تَقُومُ ٢١٨Oyo akulaba woobeerera nga oyimiridde (mu kusaala) وَتَقَلُّبَكَ فِي ٱلسَّٰجِدِينَ ٢١٩Era n'alaba okwekyusakyusakwo mu bavunnama إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ٢٢٠Mazima yye y'awulira ennyo omumanyi هَلۡ أُنَبِّئُكُمۡ عَلَىٰ مَن تَنَزَّلُ ٱلشَّيَٰطِينُ ٢٢١Abaffe mbategeeze Sitane zikka ku ani تَنَزَّلُ عَلَىٰ كُلِّ أَفَّاكٍ أَثِيمٍ ٢٢٢Zikka ku buli musazi w'abigambo omwonoonyi يُلۡقُونَ ٱلسَّمۡعَ وَأَكۡثَرُهُمۡ كَٰذِبُونَ ٢٢٣Abo abasaasaanya bye bawulira naye nga abasinga obungi mu bo balimba وَٱلشُّعَرَآءُ يَتَّبِعُهُمُ ٱلۡغَاوُۥنَ ٢٢٤Era abatontomi, ababuze be babagoberera أَلَمۡ تَرَ أَنَّهُمۡ فِي كُلِّ وَادٍ يَهِيمُونَ ٢٢٥Abaffe tolaba nti babulubuutira mu buli lusenyi وَأَنَّهُمۡ يَقُولُونَ مَا لَا يَفۡعَلُونَ ٢٢٦Era nti mazima bbo boogera bye batakola إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ وَذَكَرُواْ ٱللَّهَ كَثِيرًا وَٱنتَصَرُواْ مِنۢ بَعۡدِ مَا ظُلِمُواْۗ وَسَيَعۡلَمُ ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ أَيَّ مُنقَلَبٍ يَنقَلِبُونَ ٢٢٧Okugyako abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi ne boogera nnyo ku Katonda era ne baba nga beetaasa oluvanyuma lw'okuba nti bayisibwa bubi, era mazima abo abeeyisa obubi bagenda kumanya buddo ki gye balidda