ملة الإسلام

السورة 43 · 89 آية · Fareeq Musa

سورة الزخرف باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة الزخرف (1,181 قارئاً)
مكيةسورة الزخرف٨٩ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

حمٓ ١Ha Miim وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ ٢Ndayidde ekitabo ekinnyonnyofu إِنَّا جَعَلۡنَٰهُ قُرۡءَٰنًا عَرَبِيًّا لَّعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ ٣Mazima ffe twagissa Kur’ani nga eri mu luwarabu oba olyawo ne mutegeera وَإِنَّهُۥ فِيٓ أُمِّ ٱلۡكِتَٰبِ لَدَيۡنَا لَعَلِيٌّ حَكِيمٌ ٤Era mazima yo eri ku nsibuko ye bitabo (Lauhul mahfudh) ddala yo ya waggulu nnyo ejjudde amagezi أَفَنَضۡرِبُ عَنكُمُ ٱلذِّكۡرَ صَفۡحًا أَن كُنتُمۡ قَوۡمًا مُّسۡرِفِينَ ٥Abaffe tunabajjirako ddala okubuulirira olwokuba muli abantu abasukka ekikemo (abatagoberera mateeka ga Katonda) وَكَمۡ أَرۡسَلۡنَا مِن نَّبِيٍّ فِي ٱلۡأَوَّلِينَ ٦Bameka ba Nabbi betwatuma mu baasooka وَمَا يَأۡتِيهِم مِّن نَّبِيٍّ إِلَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ٧Tewali Nabbi yenna yabajjira okugyako bamujeejanga فَأَهۡلَكۡنَآ أَشَدَّ مِنۡهُم بَطۡشًا وَمَضَىٰ مَثَلُ ٱلۡأَوَّلِينَ ٨Olwo nno netuzikiriza abamaanyi okusinga abo (abakafiiri be Makkah) era ekyatuuka ku baakulembera kimanyiddwa (abalala bandikitutte nga ekyokuyiga) وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ لَيَقُولُنَّ خَلَقَهُنَّ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡعَلِيمُ ٩Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu ne nsi, ddala bajja kugamba nti yabitonda nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ مَهۡدًا وَجَعَلَ لَكُمۡ فِيهَا سُبُلًا لَّعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ ١٠Oyo eyabateerawo ensi nga nyanjuluze nagibateeramu amakubo mulyoke mulungame (mutuuke gye mulaga) وَٱلَّذِي نَزَّلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءَۢ بِقَدَرٍ فَأَنشَرۡنَا بِهِۦ بَلۡدَةً مَّيۡتًاۚ كَذَٰلِكَ تُخۡرَجُونَ ١١Era oyo assa okuva waggulu amazzi nga ga kigero (ekyetaagisa) netuzza bugya nago ekitundu ekifu (olwekyeya) bwemutyo bwe mulifulumizibwa (nga muzuukira) وَٱلَّذِي خَلَقَ ٱلۡأَزۡوَٰجَ كُلَّهَا وَجَعَلَ لَكُم مِّنَ ٱلۡفُلۡكِ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ مَا تَرۡكَبُونَ ١٢Era yooyo eyatonda emitindo ebiri ebiri gyonna era nabateerawo amaato n’ebisolo ebyawaka ebyo bye mwebagala لِتَسۡتَوُۥاْ عَلَىٰ ظُهُورِهِۦ ثُمَّ تَذۡكُرُواْ نِعۡمَةَ رَبِّكُمۡ إِذَا ٱسۡتَوَيۡتُمۡ عَلَيۡهِ وَتَقُولُواْ سُبۡحَٰنَ ٱلَّذِي سَخَّرَ لَنَا هَٰذَا وَمَا كُنَّا لَهُۥ مُقۡرِنِينَ ١٣Mube nga mutebenkera ku migongo gyazo, oluvanyuma musiime ekyengera kya Mukama omulabirizi wa mmwe wemuzituulirako, era mugambe nti, musukkulumu oyo eyatugondeza kino tetwandibadde bakisobola وَإِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا لَمُنقَلِبُونَ ١٤Era mazima ddala ffe tuli ba kudda ewa Mukama omulabirizi waffe وَجَعَلُواْ لَهُۥ مِنۡ عِبَادِهِۦ جُزۡءًاۚ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَكَفُورٌ مُّبِينٌ ١٥Naye abatakkiriza bateeka ku Katonda abamu ku baddube (nti nabo ba Katonda), mazima omuntu mwewakanyi omweyolefu أَمِ ٱتَّخَذَ مِمَّا يَخۡلُقُ بَنَاتٍ وَأَصۡفَىٰكُم بِٱلۡبَنِينَ ١٦Oba mwebyo byatonda mweyasalawo okwegyira abawala ate mmwe naasalawo okubawa abalenzi وَإِذَا بُشِّرَ أَحَدُهُم بِمَا ضَرَبَ لِلرَّحۡمَٰنِ مَثَلًا ظَلَّ وَجۡهُهُۥ مُسۡوَدًّا وَهُوَ كَظِيمٌ ١٧So nga omu kubo bwaba aweereddwa amawulire nti afunye omwana agwa mu kiti kyabo be bapaatiika ku Katonda ekyenyi kye kisiiba kifumye era nga naye munyiikaavu أَوَمَن يُنَشَّؤُاْ فِي ٱلۡحِلۡيَةِ وَهُوَ فِي ٱلۡخِصَامِ غَيۡرُ مُبِينٍ ١٨Abaffe oyo akuzibwa ng’ali mu bya kwenyiriza, era nga yye mu kunnyonnyola taba na nsonga nywevu (gwemuwa Katonda) وَجَعَلُواْ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةَ ٱلَّذِينَ هُمۡ عِبَٰدُ ٱلرَّحۡمَٰنِ إِنَٰثًاۚ أَشَهِدُواْ خَلۡقَهُمۡۚ سَتُكۡتَبُ شَهَٰدَتُهُمۡ وَيُسۡـَٔلُونَ ١٩Ba Malayika abo, abaddu ba Katonda omusaasizi ne babafuula abakazi! abaffe baaliwo nga batondwa? Obujulizi bwabwe (bwe bepampalika okuwa) bujja kuwandiikibwa era bagenda kubuuzibwa وَقَالُواْ لَوۡ شَآءَ ٱلرَّحۡمَٰنُ مَا عَبَدۡنَٰهُمۗ مَّا لَهُم بِذَٰلِكَ مِنۡ عِلۡمٍۖ إِنۡ هُمۡ إِلَّا يَخۡرُصُونَ ٢٠Era bagamba nti singa Katonda omusaasizi ennyo yayagala tetwandibasinzizza ekyo tebakirinaako kumanya kwonna, tebali (mu kukola ekyo) okugyako bateebereza buteebereza أَمۡ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ كِتَٰبًا مِّن قَبۡلِهِۦ فَهُم بِهِۦ مُسۡتَمۡسِكُونَ ٢١Abaffe twabawa ekitabo oluberyeberye lwakino (ekikolwa kyabwe) balyoke babe nga kye bekwatako بَلۡ قَالُوٓاْ إِنَّا وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا عَلَىٰٓ أُمَّةٍ وَإِنَّا عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِم مُّهۡتَدُونَ ٢٢Wabula bagamba nti mazima ffe twasanga baganda baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buwufu bwabwe kwe tulungamira وَكَذَٰلِكَ مَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ فِي قَرۡيَةٍ مِّن نَّذِيرٍ إِلَّا قَالَ مُتۡرَفُوهَآ إِنَّا وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا عَلَىٰٓ أُمَّةٍ وَإِنَّا عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِم مُّقۡتَدُونَ ٢٣Nabwekityo tetwatuma luberyeberyelwo mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga babinojjo baamu bagamba nti mazima ffe twasanga bakadde baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buwufu bwabwe tugoberera ۞ قَٰلَ أَوَلَوۡ جِئۡتُكُم بِأَهۡدَىٰ مِمَّا وَجَدتُّمۡ عَلَيۡهِ ءَابَآءَكُمۡۖ قَالُوٓاْ إِنَّا بِمَآ أُرۡسِلۡتُم بِهِۦ كَٰفِرُونَ ٢٤Omubaka waabwe kwe kugamba nti (kiba bwekityo) newakubadde nga mbaleetedde ekirungamu okusinga ekyo kye mwasangako bakadde ba mmwe ne bagamba nti mazima ffe, tuwakanya ekyo kye mutumiddwa nakyo فَٱنتَقَمۡنَا مِنۡهُمۡۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ٢٥Olwo nno netubabonereza, kale tunuulira enkomerero ya balimbisa yali etya وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِيمُ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦٓ إِنَّنِي بَرَآءٌ مِّمَّا تَعۡبُدُونَ ٢٦Jjukira Ibrahim bwe yagamba kitawe n’abantu be, nti mazima nze neganye ebyo bye musinza إِلَّا ٱلَّذِي فَطَرَنِي فَإِنَّهُۥ سَيَهۡدِينِ ٢٧Okugyako (okusinza) oyo eyantonda anti mazima yye yajja okunnungamya وَجَعَلَهَا كَلِمَةَۢ بَاقِيَةً فِي عَقِبِهِۦ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ٢٨(Ibrahim) yakiteekawo nga kigambo ekyokusigalawo oluvanyuma lwe, balyoke babe nga badda (eri okwawula Katonda) بَلۡ مَتَّعۡتُ هَٰٓؤُلَآءِ وَءَابَآءَهُمۡ حَتَّىٰ جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ وَرَسُولٌ مُّبِينٌ ٢٩Wabula nawa abo ne bakadde baabwe okweyagalira mu bulamu bwensi, okutuusiza ddala nga amazima gabajjidde (Kur’ani) n’omubaka annyonnyola (amazima ago) وَلَمَّا جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ قَالُواْ هَٰذَا سِحۡرٌ وَإِنَّا بِهِۦ كَٰفِرُونَ ٣٠Naye nno amazima bwe gaamala okubajjira nebagamba nti lino ddogo, era mazima ffe tuliwakanya وَقَالُواْ لَوۡلَا نُزِّلَ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانُ عَلَىٰ رَجُلٍ مِّنَ ٱلۡقَرۡيَتَيۡنِ عَظِيمٍ ٣١Era nebagamba nti singa Kur’ani eno essiddwa ku musajja owekitiibwa ngava mu kimu ku bitundu ebibiri أَهُمۡ يَقۡسِمُونَ رَحۡمَتَ رَبِّكَۚ نَحۡنُ قَسَمۡنَا بَيۡنَهُم مَّعِيشَتَهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۚ وَرَفَعۡنَا بَعۡضَهُمۡ فَوۡقَ بَعۡضٍ دَرَجَٰتٍ لِّيَتَّخِذَ بَعۡضُهُم بَعۡضًا سُخۡرِيًّاۗ وَرَحۡمَتُ رَبِّكَ خَيۡرٌ مِّمَّا يَجۡمَعُونَ ٣٢Abaffe bo be bagabanya okusaasira kwa Katonda, (obwa Nabbi nga bwe baagala) ffe tubagabanyiza ebibabeesaawo mu bulamu bwensi, ne tusukkulumya abamu ku balala mu madaala, abamu balyoke bafuule bannaabwe abaweereza, wabula okusaasira kwa Katonda kwe kusinga obulungi kwebyo byonna bye bakungaanya وَلَوۡلَآ أَن يَكُونَ ٱلنَّاسُ أُمَّةً وَٰحِدَةً لَّجَعَلۡنَا لِمَن يَكۡفُرُ بِٱلرَّحۡمَٰنِ لِبُيُوتِهِمۡ سُقُفًا مِّن فِضَّةٍ وَمَعَارِجَ عَلَيۡهَا يَظۡهَرُونَ ٣٣Singa sikuba nti abantu bonna bajja kufuuka ekibiina kimu (eky'obukafiiri), buli eyandibadde awakanya Katonda omusaasizi ennyo twalitadde ku mayumba gaabwe obusolya nga bwa ffeeza ne ku madaala gebalinnyirako (bonoonekere ddala) وَلِبُيُوتِهِمۡ أَبۡوَٰبًا وَسُرُرًا عَلَيۡهَا يَتَّكِـُٔونَ ٣٤Nga ne ku nyumba zaabwe twanditaddeko emiryango ne ku bitanda bye bawummulirako (nakwo twanditaddeko ffeeza) وَزُخۡرُفًاۚ وَإِن كُلُّ ذَٰلِكَ لَمَّا مَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۚ وَٱلۡأٓخِرَةُ عِندَ رَبِّكَ لِلۡمُتَّقِينَ ٣٥Era (twandibawadde) ebyokwewunda nga bya zzaabu, ebyo byonna tebiri okugyako okuba nga bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga enkomerero ewa Mukama omulabiriziwo, ya batya Katonda وَمَن يَعۡشُ عَن ذِكۡرِ ٱلرَّحۡمَٰنِ نُقَيِّضۡ لَهُۥ شَيۡطَٰنًا فَهُوَ لَهُۥ قَرِينٌ ٣٦Nooyo yenna eyesulubabba ebigambo bya Katonda (Kur’ani) tumuteerawo Sitane olwo nno neba nga ye mukwanogwe وَإِنَّهُمۡ لَيَصُدُّونَهُمۡ عَنِ ٱلسَّبِيلِ وَيَحۡسَبُونَ أَنَّهُم مُّهۡتَدُونَ ٣٧Era mazima bo bannaabwe (ba Sitane) ddala babaziyiza okutuuka ku kkubo (eggolokofu) ate mazima bo ne basuubira nti balungamu حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَنَا قَالَ يَٰلَيۡتَ بَيۡنِي وَبَيۡنَكَ بُعۡدَ ٱلۡمَشۡرِقَيۡنِ فَبِئۡسَ ٱلۡقَرِينُ ٣٨Okutuusa (omuntu oyo eyesulubabba) lwalijja gyetuli aligamba nti nga ndabye, singa wakati wange naawe waliwo ebbanga eryenkana wakati we buvanjuba ne bugwanjuba, agenda kuba munywanyi mubi وَلَن يَنفَعَكُمُ ٱلۡيَوۡمَ إِذ ظَّلَمۡتُمۡ أَنَّكُمۡ فِي ٱلۡعَذَابِ مُشۡتَرِكُونَ ٣٩Mazima mmwe ekyokuba nti mwegattidde mu bibonerezo tekijja kubagasa olwaleero okuva lwe mweyisa obubi mwekka أَفَأَنتَ تُسۡمِعُ ٱلصُّمَّ أَوۡ تَهۡدِي ٱلۡعُمۡيَ وَمَن كَانَ فِي ضَلَٰلٍ مُّبِينٍ ٤٠Abaffe ggwe (Muhammad) osobola okuwuliza kiggala oba okulaga muzibe ekkubo nooyo ali mu bubuze obweyolefu فَإِمَّا نَذۡهَبَنَّ بِكَ فَإِنَّا مِنۡهُم مُّنتَقِمُونَ ٤١Singa tukugyawo (noofa nga tetunnaba kubonereza bajeemu abo) mazima ffe tuba ba ku babonereza أَوۡ نُرِيَنَّكَ ٱلَّذِي وَعَدۡنَٰهُمۡ فَإِنَّا عَلَيۡهِم مُّقۡتَدِرُونَ ٤٢Oba tulikulaga ekyo kye twa balaganyisa anti mazima ffe tusobola فَٱسۡتَمۡسِكۡ بِٱلَّذِيٓ أُوحِيَ إِلَيۡكَۖ إِنَّكَ عَلَىٰ صِرَٰطٍ مُّسۡتَقِيمٍ ٤٣Kale wekwate kwekyo ekikuweebwa (Kur’ani) anti mazima ggwe oli ku kkubo eggolokofu وَإِنَّهُۥ لَذِكۡرٌ لَّكَ وَلِقَوۡمِكَۖ وَسَوۡفَ تُسۡـَٔلُونَ ٤٤Era mazima yo (Kur’ani) kitiibwa gyoli neeri abantu bo era lumu mugenda kubuuzibwa (ku ngeri gye mwagigobereramu) وَسۡـَٔلۡ مَنۡ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ مِن رُّسُلِنَآ أَجَعَلۡنَا مِن دُونِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ءَالِهَةً يُعۡبَدُونَ ٤٥Buuza abo betwatuma oluberyeberye lwo mu babaka baffe nti, abaffe twaleka Katonda omusaasizi ennyo netuteekawo bu katonda obulala obusinzibwa وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مُوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦ فَقَالَ إِنِّي رَسُولُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٤٦Mazima twatuma Musa n’obubonero bwaffe nti genda eri Falawo na bakungu be, olwo nno nabagamba nti mazima nze ndi mubaka w'omulabirizi w’ebitonde فَلَمَّا جَآءَهُم بِـَٔايَٰتِنَآ إِذَا هُم مِّنۡهَا يَضۡحَكُونَ ٤٧Wabula bwe yabajjira n’obubonero bwaffe wagenda okulaba nga babusekerera وَمَا نُرِيهِم مِّنۡ ءَايَةٍ إِلَّا هِيَ أَكۡبَرُ مِنۡ أُخۡتِهَاۖ وَأَخَذۡنَٰهُم بِٱلۡعَذَابِ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ ٤٨Tetwabalaga kabonero konna okugyako nga kko kaba kanene okusinga kannaako (wabula era tebakkiriza) netubatusaako ebibonerezo oba olyawo ne bekyusa (okuva ku kye babaddeko) وَقَالُواْ يَٰٓأَيُّهَ ٱلسَّاحِرُ ٱدۡعُ لَنَا رَبَّكَ بِمَا عَهِدَ عِندَكَ إِنَّنَا لَمُهۡتَدُونَ ٤٩(Bwe balaba ebibonerezo) olwo nno ne bagamba nti owange ggwe omulogo tusabire Mukama omulabirizi wo ng’okozesa ebyo bye yakuwa (ebisabisibwa) mazima ffe ddala tujja kulungama فَلَمَّا كَشَفۡنَا عَنۡهُمُ ٱلۡعَذَابَ إِذَا هُمۡ يَنكُثُونَ ٥٠Bwe twabagyako ebibonerezo amangu ago bo ne bamenya endagaano وَنَادَىٰ فِرۡعَوۡنُ فِي قَوۡمِهِۦ قَالَ يَٰقَوۡمِ أَلَيۡسَ لِي مُلۡكُ مِصۡرَ وَهَٰذِهِ ٱلۡأَنۡهَٰرُ تَجۡرِي مِن تَحۡتِيٓۚ أَفَلَا تُبۡصِرُونَ ٥١Era Firawo nalangirira mu bantu be naagamba nti abange bantu bange obufuzi bwa Misiri si bwange, nga nagino emigga gikulukutira wansi wange abaffe temulaba أَمۡ أَنَا۠ خَيۡرٌ مِّنۡ هَٰذَا ٱلَّذِي هُوَ مَهِينٌ وَلَا يَكَادُ يُبِينُ ٥٢Wabula nze nsinga ono (Musa) oyo yye anyomwa, era nga kumpi tasobola na kunnyonnyola (nsonga) yonna فَلَوۡلَآ أُلۡقِيَ عَلَيۡهِ أَسۡوِرَةٌ مِّن ذَهَبٍ أَوۡ جَآءَ مَعَهُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ مُقۡتَرِنِينَ ٥٣Singa yanaanikibwa ebikomo ebya zaabu oba ba Malayika nebajja naye nga ba muwerekera (olwo nno) twanditegedde nti mubaka wa Katonda فَٱسۡتَخَفَّ قَوۡمَهُۥ فَأَطَاعُوهُۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمًا فَٰسِقِينَ ٥٤(Firawo) bwatyo bwe yazannyira ku bwongo bwa bantu be, olwo nno ne bamugondera era mazima bo nebaba abantu abonoonyi فَلَمَّآ ءَاسَفُونَا ٱنتَقَمۡنَا مِنۡهُمۡ فَأَغۡرَقۡنَٰهُمۡ أَجۡمَعِينَ ٥٥Bwe bamala okutunyiiza twababonereza ne tubazikiriza n’amazzi bonna فَجَعَلۡنَٰهُمۡ سَلَفًا وَمَثَلًا لِّلۡأٓخِرِينَ ٥٦Ne tubafuula abedda abogerwako era ne tubafuula eky'okulabirako eri ab'oluvanyuma ۞ وَلَمَّا ضُرِبَ ٱبۡنُ مَرۡيَمَ مَثَلًا إِذَا قَوۡمُكَ مِنۡهُ يَصِدُّونَ ٥٧Mutabani wa Mariam (Issa) bwe yakubirwako ekifaananyi, ogenda okulaba nga abantu bo kibawogganya (olwessanyu) وَقَالُوٓاْ ءَأَٰلِهَتُنَا خَيۡرٌ أَمۡ هُوَۚ مَا ضَرَبُوهُ لَكَ إِلَّا جَدَلَۢاۚ بَلۡ هُمۡ قَوۡمٌ خَصِمُونَ ٥٨Nebagamba nti abaffe ba katonda baffe bebasinga oba yye, tebakukubira kifaananyi ekyo okugyako lwa kuwalaaza mpaka, nedda (si ekyo kyokka kye bawakanya) bulijjo bo bantu bawakanyi إِنۡ هُوَ إِلَّا عَبۡدٌ أَنۡعَمۡنَا عَلَيۡهِ وَجَعَلۡنَٰهُ مَثَلًا لِّبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ٥٩(Isa) tali yye okugyako okuba nti muddu waffe nga abalala, twamugabira ekyengera (kyo bwa Nabbi) era netumufuula ekyokulabirako eri abaaana ba Israil وَلَوۡ نَشَآءُ لَجَعَلۡنَا مِنكُم مَّلَٰٓئِكَةً فِي ٱلۡأَرۡضِ يَخۡلُفُونَ ٦٠Singa twayagala abamu mu mmwe twandibafudde ba Malayika nga basikiragana mu nsi وَإِنَّهُۥ لَعِلۡمٌ لِّلسَّاعَةِ فَلَا تَمۡتَرُنَّ بِهَا وَٱتَّبِعُونِۚ هَٰذَا صِرَٰطٌ مُّسۡتَقِيمٌ ٦١Era mazima yye (Isa) kabonero akaliranga okusembera kw'olunaku lw'enkomerero, n'olwekyo temukibuusabusaamu naakamu era mungoberere, lino lye kkubo eggolokofu وَلَا يَصُدَّنَّكُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُۖ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوٌّ مُّبِينٌ ٦٢Era Sitane tabasuuliranga emisanvu (mu kkubo) anti mazima yye ku mmwe mulabe owolwatu وَلَمَّا جَآءَ عِيسَىٰ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ قَالَ قَدۡ جِئۡتُكُم بِٱلۡحِكۡمَةِ وَلِأُبَيِّنَ لَكُم بَعۡضَ ٱلَّذِي تَخۡتَلِفُونَ فِيهِۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ٦٣(Nabbi) Isa bweyajja nobunnyonnyofu yagamba nti mazima mbajjidde nebigambo ebyamagezi era mbannyonnyole ebimu kwebyo bye muwakanamu kale mutye Katonda era mungondere إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ رَبِّي وَرَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُوهُۚ هَٰذَا صِرَٰطٌ مُّسۡتَقِيمٌ ٦٤Mazima Katonda ye Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze lino lye kkubo eggolokofu فَٱخۡتَلَفَ ٱلۡأَحۡزَابُ مِنۢ بَيۡنِهِمۡۖ فَوَيۡلٌ لِّلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنۡ عَذَابِ يَوۡمٍ أَلِيمٍ ٦٥Wabula ebibiina byayawukana nga biva mu bo bennyini (ku nsonga ya Isa) kale okubonabona okwe bibonyobonyo by'olunaku oluzito kugenda kubeera kwabo abeeyisa obubi هَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّا ٱلسَّاعَةَ أَن تَأۡتِيَهُم بَغۡتَةً وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ ٦٦Abaffe (balina kye) balindirira okugyako ekiseera eky'enkomerero okuba nga kibajjira ekibwatukira nga nabo tebamanyi ٱلۡأَخِلَّآءُ يَوۡمَئِذِۭ بَعۡضُهُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوٌّ إِلَّا ٱلۡمُتَّقِينَ ٦٧Abomukwano ku lunaku olwo, abamu baliba balabe ba bannabwe okugyako abatya Katonda يَٰعِبَادِ لَا خَوۡفٌ عَلَيۡكُمُ ٱلۡيَوۡمَ وَلَآ أَنتُمۡ تَحۡزَنُونَ ٦٨(Era Katonda alilangirira nti) abange baddu bange temuggya kubaako kutya olwaleero era mmwe temuli ba kunakuwala ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَكَانُواْ مُسۡلِمِينَ ٦٩Abo abakkiriza ebigambo byaffe era nebaba abewaayo gyetuli (abasiramu) ٱدۡخُلُواْ ٱلۡجَنَّةَ أَنتُمۡ وَأَزۡوَٰجُكُمۡ تُحۡبَرُونَ ٧٠Muyingire e jjana ne bakkiriza bannammwe nga mwegazaanya يُطَافُ عَلَيۡهِم بِصِحَافٍ مِّن ذَهَبٍ وَأَكۡوَابٍۖ وَفِيهَا مَا تَشۡتَهِيهِ ٱلۡأَنفُسُ وَتَلَذُّ ٱلۡأَعۡيُنُۖ وَأَنتُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ٧١Essowani eza zzaabu n’a magiraasi biryetolozebwa mu bo, era (e jjana) eribaamu buli kintu emyoyo gye kyagala, era ekiwoomera amaaso, era nga mmwe muli ba kutuula bugenderevu mu yo وَتِلۡكَ ٱلۡجَنَّةُ ٱلَّتِيٓ أُورِثۡتُمُوهَا بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ٧٢Era eyo e jjana, eyo gye mugisikiziddwa olwebyo bye mwakola (ku nsi) لَكُمۡ فِيهَا فَٰكِهَةٌ كَثِيرَةٌ مِّنۡهَا تَأۡكُلُونَ ٧٣Mulina mu yo ebibala bingi nga ku byo kwemulya إِنَّ ٱلۡمُجۡرِمِينَ فِي عَذَابِ جَهَنَّمَ خَٰلِدُونَ ٧٤Mazima abonoonyi ba kutuula bugenderevu mu bibonerezo byo muliro Jahannama لَا يُفَتَّرُ عَنۡهُمۡ وَهُمۡ فِيهِ مُبۡلِسُونَ ٧٥Tegugenda kukendezebwa ku bo, era nga bo tebalina na ssuubi lyonna lya kuguvaamu وَمَا ظَلَمۡنَٰهُمۡ وَلَٰكِن كَانُواْ هُمُ ٱلظَّٰلِمِينَ ٧٦Tetwabayisa bubi naye bo be baali beeyisa obubi وَنَادَوۡاْ يَٰمَٰلِكُ لِيَقۡضِ عَلَيۡنَا رَبُّكَۖ قَالَ إِنَّكُم مَّٰكِثُونَ ٧٧(Abaliba mu muliro) balikowoola nti owange Maliki (Malayika akuuma omuliro tusaba nti) Mukama omulabirizi wo atumalirewo ddala (tufe), alibagamba nti mazima mmwe muli ba kugubeeramu (awatali kufa oba okuguvaamu) لَقَدۡ جِئۡنَٰكُم بِٱلۡحَقِّ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَكُمۡ لِلۡحَقِّ كَٰرِهُونَ ٧٨Mazima twabaleetera amazima naye abasinga obungi mu mmwe batamwanga amazima أَمۡ أَبۡرَمُوٓاْ أَمۡرًا فَإِنَّا مُبۡرِمُونَ ٧٩Bwebaba nga baasalawo ekigambo (ekyokusalira (Muhammad enkwe) naffe twasalawo (okuba nti tezigenda kuyitamu) أَمۡ يَحۡسَبُونَ أَنَّا لَا نَسۡمَعُ سِرَّهُمۡ وَنَجۡوَىٰهُمۚ بَلَىٰ وَرُسُلُنَا لَدَيۡهِمۡ يَكۡتُبُونَ ٨٠Oba balowooza nti mazima ffe tetuwulira ebyo bye balowooza mu mitima gyabwe oba bye bakubaganyaako ebirowoozo, nedda (tetukoma ku kubimanya bumanya, wabula webabikolera) nabatumwa baffe baba mu maaso gaabwe nga bawandiika قُلۡ إِن كَانَ لِلرَّحۡمَٰنِ وَلَدٌ فَأَنَا۠ أَوَّلُ ٱلۡعَٰبِدِينَ ٨١Gamba nti singa Katonda omusaasizi ennyo aba alina omwana olwo nno nze mbeera musaale mu bamusinza سُبۡحَٰنَ رَبِّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ رَبِّ ٱلۡعَرۡشِ عَمَّا يَصِفُونَ ٨٢Mukama omulabirizi weggulu omusanvu ne nsi (era) omulabirizi wa Arish musukkulumu nnyo kwebyo bye bamujwetekako فَذَرۡهُمۡ يَخُوضُواْ وَيَلۡعَبُواْ حَتَّىٰ يُلَٰقُواْ يَوۡمَهُمُ ٱلَّذِي يُوعَدُونَ ٨٣Kale baleke balimbe era bazannye okutuusa lwe balisisinkanyizibwa olunaku lwabwe lwe balaganyisibwa وَهُوَ ٱلَّذِي فِي ٱلسَّمَآءِ إِلَٰهٌ وَفِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَٰهٌۚ وَهُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡعَلِيمُ ٨٤Anti yye (Katonda) ye Katonda mu ggulu, era ne mu nsi ye Katonda. Era yye ye mugoba nsonga omumanyi ennyo وَتَبَارَكَ ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا وَعِندَهُۥ عِلۡمُ ٱلسَّاعَةِ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ٨٥Era yatukula oyo, byonna bibye ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, era ye yekka yalina okumanya ebikwata ku lunaku lw'enkomerero (ddi lwelituuka) era gyali gye mulizzibwa وَلَا يَمۡلِكُ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِهِ ٱلشَّفَٰعَةَ إِلَّا مَن شَهِدَ بِٱلۡحَقِّ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ ٨٦Abo bebasinza nebava ku ye tebalisobola kuwolereza, be ppo oyo aliwa obujulizi mu mazima (yaliyogera) ate era bo nebaba nga baliba bamanyi amazima وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَهُمۡ لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۖ فَأَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ ٨٧Singa obabuuza nti ani yabatonda? ddala bajja kugamba nti Katonda, kale ate bawugulwa batya وَقِيلِهِۦ يَٰرَبِّ إِنَّ هَٰٓؤُلَآءِ قَوۡمٌ لَّا يُؤۡمِنُونَ ٨٨(Katonda amanyi) ekigambo kye (Muhammad kyayogera olutata nga awanjagira Katonda nti) ayi Mukama omulabirizi wange mazima abo (benkowoola) bantu abatakkiriza فَٱصۡفَحۡ عَنۡهُمۡ وَقُلۡ سَلَٰمٌۚ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ ٨٩Kale nno baleke era ogambe nti mirembe kya ddaaki balianya

الترجمة: Fareeq Musa.