ملة الإسلام

السورة 50 · 45 آية · Fareeq Musa

سورة ق باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة ق (1,405 قارئاً)
مكيةسورة ق٤٥ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

قٓۚ وَٱلۡقُرۡءَانِ ٱلۡمَجِيدِ ١Kaaf, ndayidde Kur’ani eyekitiibwa (mazima ggwe Muhammad oli mubaka wa Katonda era olunaku lw’enkomerero lwa kubaawo) بَلۡ عَجِبُوٓاْ أَن جَآءَهُم مُّنذِرٌ مِّنۡهُمۡ فَقَالَ ٱلۡكَٰفِرُونَ هَٰذَا شَيۡءٌ عَجِيبٌ ٢Wabula bewunya okuba nti omutiisa (Nabbi Muhammad) yabajjira nga ava mu bo olwo nno abakaafiiri nebagamba nti kino kintu kya kitalo أَءِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابًاۖ ذَٰلِكَ رَجۡعُۢ بَعِيدٌ ٣(Nebagamba nti) abaffe bwetufa netufuuka ettaka (ate tuli bakuzzibwa!), bwekiba bwekityo okwo kudda okuli ewala ennyo قَدۡ عَلِمۡنَا مَا تَنقُصُ ٱلۡأَرۡضُ مِنۡهُمۡۖ وَعِندَنَا كِتَٰبٌ حَفِيظُۢ ٤(Ekyo kibalemera bwereere okukkiriza anti) mazima tumanyi ekyo ettaka kye libakendezaako (nga lirya emibiri gyabwe) era tulina eggwanika erikuuma (buli kintu) بَلۡ كَذَّبُواْ بِٱلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُمۡ فَهُمۡ فِيٓ أَمۡرٍ مَّرِيجٍ ٥Wabula (tebakoma kwekyo era) baalimbisa amazima bwe gabajjira olwo nno bo baali mu mbeera ey’ekigambo ekitali kinywevu, (olumu bagamba bati olulala ne bagamba kirala) أَفَلَمۡ يَنظُرُوٓاْ إِلَى ٱلسَّمَآءِ فَوۡقَهُمۡ كَيۡفَ بَنَيۡنَٰهَا وَزَيَّنَّٰهَا وَمَا لَهَا مِن فُرُوجٍ ٦Abaffe tebatunula ku ggulu waggulu waabwe (ne balaba) nga bwe twalizimba era netulinyiriza nga teririna bituli وَٱلۡأَرۡضَ مَدَدۡنَٰهَا وَأَلۡقَيۡنَا فِيهَا رَوَٰسِيَ وَأَنۢبَتۡنَا فِيهَا مِن كُلِّ زَوۡجِۭ بَهِيجٍ ٧Ne nsi twagiseeteeza era netugissaamu ensozi ennywevu, netumeza mu yo mu buli mutindo oguwa essanyu تَبۡصِرَةً وَذِكۡرَىٰ لِكُلِّ عَبۡدٍ مُّنِيبٍ ٨Bibe ekizibula amaaso era ekyokubuulirira buli muddu adda eri Katonda وَنَزَّلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءً مُّبَٰرَكًا فَأَنۢبَتۡنَا بِهِۦ جَنَّٰتٍ وَحَبَّ ٱلۡحَصِيدِ ٩Era tussa amazzi okuva waggulu agoomukisa, olwo nno netumeza nago amalimiro n'empeke ebikungulwa وَٱلنَّخۡلَ بَاسِقَٰتٍ لَّهَا طَلۡعٌ نَّضِيدٌ ١٠N’emitende emitumbiivu egirina ebirimba ebyeberese ku binnabyo رِّزۡقًا لِّلۡعِبَادِۖ وَأَحۡيَيۡنَا بِهِۦ بَلۡدَةً مَّيۡتًاۚ كَذَٰلِكَ ٱلۡخُرُوجُ ١١Nga byakulya bya baddu, era tulamusa nago (amazzi) ettaka effu eriba likaze, nabwekutyo okuzuukira bwe kuliba كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٍ وَأَصۡحَٰبُ ٱلرَّسِّ وَثَمُودُ ١٢Oluberyeberye lwabwe (abantu be Makkah) abantu ba Nuhu baalimbisa, n’abantu ababbika Nabbi wabwe mu luzzi, n’abekika kya Thamud وَعَادٌ وَفِرۡعَوۡنُ وَإِخۡوَٰنُ لُوطٍ ١٣Nabekika kya Aadi ne Firaawo ne baganda ba Luutu وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡأَيۡكَةِ وَقَوۡمُ تُبَّعٍۚ كُلٌّ كَذَّبَ ٱلرُّسُلَ فَحَقَّ وَعِيدِ ١٤N’abantu be nsi y’ebibira, n’abantu ba Tubbai, bonna baalimbisa ababaka, olwo nno nebikakata (ebibonerezo) byange bye nalagaanyisa أَفَعَيِينَا بِٱلۡخَلۡقِ ٱلۡأَوَّلِۚ بَلۡ هُمۡ فِي لَبۡسٍ مِّنۡ خَلۡقٍ جَدِيدٍ ١٥Abaffe twakoowa olwokutonda okwasooka (tube nga tweganya okubazzaawo)! nedda bo bali mu kutabulwa ku bikwata ku kutonda okupya وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ وَنَعۡلَمُ مَا تُوَسۡوِسُ بِهِۦ نَفۡسُهُۥۖ وَنَحۡنُ أَقۡرَبُ إِلَيۡهِ مِنۡ حَبۡلِ ٱلۡوَرِيدِ ١٦Ng’ate ddala twatonda omuntu era tumanyi ekyo omwoyogwe kye gumulabankanya nakyo naye nga ffe tuli okumpi naye okusinga omusuwa (gwe) ogwobulamu إِذۡ يَتَلَقَّى ٱلۡمُتَلَقِّيَانِ عَنِ ٱلۡيَمِينِ وَعَنِ ٱلشِّمَالِ قَعِيدٌ ١٧Mu kiseera we bamugyirako ebimukwatako (ba Malayika) abakwatibwako ensonga ababiri, nga bakikola ku mukono ogwa ddyo, n’ogwa kkono nga buli omu atudde ku ludda lwe مَّا يَلۡفِظُ مِن قَوۡلٍ إِلَّا لَدَيۡهِ رَقِيبٌ عَتِيدٌ ١٨Olwo nno (omuntu) tayatula kigambo kyonna okugyako ng’aliko omulondoozi amubeerako buli kiseera وَجَآءَتۡ سَكۡرَةُ ٱلۡمَوۡتِ بِٱلۡحَقِّۖ ذَٰلِكَ مَا كُنتَ مِنۡهُ تَحِيدُ ١٩Olwo nno obukambwe bwokufa nebujja mu mazima (nagambibwa nti) kino bulijjo kyobadde weewala وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِۚ ذَٰلِكَ يَوۡمُ ٱلۡوَعِيدِ ٢٠Era engombe nefuuyibwa olwo lwe luliba olunaku olwalagaanyisibwa وَجَآءَتۡ كُلُّ نَفۡسٍ مَّعَهَا سَآئِقٌ وَشَهِيدٌ ٢١Buli muntu alijja nga aliko (Malayika) amugoba n’omujulizi لَّقَدۡ كُنتَ فِي غَفۡلَةٍ مِّنۡ هَٰذَا فَكَشَفۡنَا عَنكَ غِطَآءَكَ فَبَصَرُكَ ٱلۡيَوۡمَ حَدِيدٌ ٢٢(Omukozi weebibi aligambwa nti) mazima wali mu bulagajjavu ku nsonga eno, kakano tukuggyeko ekibikka olwo nno eriiso lyo olwaleero lyogi nnyo وَقَالَ قَرِينُهُۥ هَٰذَا مَا لَدَيَّ عَتِيدٌ ٢٣Munne (Malayika eyamuberangako) aligamba nti, bino bye nnina ebimuwaako obujulizi binywevu nnyo أَلۡقِيَا فِي جَهَنَّمَ كُلَّ كَفَّارٍ عَنِيدٍ ٢٤(Katonda aliragira Malayika alijja amugoba n'alimuwaako obujulizi nti) mukasuke mu muliro Jahannama buli mukafiiri omuwalaza we mpaka مَّنَّاعٍ لِّلۡخَيۡرِ مُعۡتَدٍ مُّرِيبٍ ٢٥Eyekiikanga mu kkubo lyo bulungi, eyabukanga ebikomo (bya mateeka ga Katonda) omubusabuusa ٱلَّذِي جَعَلَ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَأَلۡقِيَاهُ فِي ٱلۡعَذَابِ ٱلشَّدِيدِ ٢٦Oyo eyassa ku Katonda ekisinzibwa ekirala, kale nno mumukasuke mu bibonerezo ebikambwe ۞ قَالَ قَرِينُهُۥ رَبَّنَا مَآ أَطۡغَيۡتُهُۥ وَلَٰكِن كَانَ فِي ضَلَٰلِۭ بَعِيدٍ ٢٧(Sitane) munywanyiwe aligamba nti, ayi Mukama omulabirizi waffe simubuzanga, wabula (ye yennyini) yali mu bubuze obwewala قَالَ لَا تَخۡتَصِمُواْ لَدَيَّ وَقَدۡ قَدَّمۡتُ إِلَيۡكُم بِٱلۡوَعِيدِ ٢٨(Katonda) aligamba nti temukayanira mu maaso gange nabawa dda okulabula (kwange nga mukyali ku nsi) مَا يُبَدَّلُ ٱلۡقَوۡلُ لَدَيَّ وَمَآ أَنَا۠ بِظَلَّٰمٍ لِّلۡعَبِيدِ ٢٩Ekigambo tekikyusibwa gyendi (kasita mala okusalawo) era nze siyinza kuba mulyazamanyi eri abaddu يَوۡمَ نَقُولُ لِجَهَنَّمَ هَلِ ٱمۡتَلَأۡتِ وَتَقُولُ هَلۡ مِن مَّزِيدٍ ٣٠(Mutye) olunaku lwe tuligamba omuliro Jahannama nti abaffe ojjudde, negugamba nti abaffe waliyo enyongeza وَأُزۡلِفَتِ ٱلۡجَنَّةُ لِلۡمُتَّقِينَ غَيۡرَ بَعِيدٍ ٣١E jjana erisembezebwa eri abo abatya Katonda, nga tekyali wala هَٰذَا مَا تُوعَدُونَ لِكُلِّ أَوَّابٍ حَفِيظٍ ٣٢Nebagambibwa nti, ekyo kye mwalaganyisibwa nga kya kufunwa oyo yenna eyadda ewa Katonda, n'akuma butiribiri (amateekage) مَّنۡ خَشِيَ ٱلرَّحۡمَٰنَ بِٱلۡغَيۡبِ وَجَآءَ بِقَلۡبٍ مُّنِيبٍ ٣٣(Yye yooyo) eyatya Katonda omusaasizi ennyo awamu nokuba nga tamulabako, era najja (olwaleero ku lunaku lw’enkomerero) n’omutima ogwemalira ku Katonda ٱدۡخُلُوهَا بِسَلَٰمٍۖ ذَٰلِكَ يَوۡمُ ٱلۡخُلُودِ ٣٤(Baligambibwa nti) mugiyingire (e jjana) mu mirembe, olwo lwe lunaku olulitandika obulamu obwolubeerera لَهُم مَّا يَشَآءُونَ فِيهَا وَلَدَيۡنَا مَزِيدٌ ٣٥Balifuna byonna bye baagala nga bali mu yo (e jjana), era tulina ebyo kubongeza وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّن قَرۡنٍ هُمۡ أَشَدُّ مِنۡهُم بَطۡشًا فَنَقَّبُواْ فِي ٱلۡبِلَٰدِ هَلۡ مِن مَّحِيصٍ ٣٦Era emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano abakuwakanya ggwe Nabbi Muhammad), nga bo baali bamaanyi okubasinga, nebetoloola ensi (nga bakola buli kye bagala), abaffe waliwo obuwonero إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَذِكۡرَىٰ لِمَن كَانَ لَهُۥ قَلۡبٌ أَوۡ أَلۡقَى ٱلسَّمۡعَ وَهُوَ شَهِيدٌ ٣٧Mazima mwekyo mulimu okubuulirira eri oyo alina omutima oba atega amatu era nga yenna waali (awuliriza) وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا فِي سِتَّةِ أَيَّامٍ وَمَا مَسَّنَا مِن لُّغُوبٍ ٣٨Era mazima twatonda eggulu omusanvu ne nsi neebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga era tetwatukwako kukoowa kwonna فَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ قَبۡلَ طُلُوعِ ٱلشَّمۡسِ وَقَبۡلَ ٱلۡغُرُوبِ ٣٩Kale gumikiriza ebyo bye bagamba, otendereze ebitendo bya Mukama omulabirizi wo nga enjuba tennavaayo, ne nga tennagwa وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡهُ وَأَدۡبَٰرَ ٱلسُّجُودِ ٤٠Era omutendereze ekiro nabuli luvannyuma lwa kuvunnama (okusaala e sswala ezalaalikibwa) وَٱسۡتَمِعۡ يَوۡمَ يُنَادِ ٱلۡمُنَادِ مِن مَّكَانٍ قَرِيبٍ ٤١Era wuliriza (ng’olinda) olunaku omukowooze lwalikowoola nga asinziira mu kifo kyo kumpi يَوۡمَ يَسۡمَعُونَ ٱلصَّيۡحَةَ بِٱلۡحَقِّۚ ذَٰلِكَ يَوۡمُ ٱلۡخُرُوجِ ٤٢Olunaku lwe bali wulira okubwatuka okwa mazima, olwo nno lwe luliba olunaku lwokufuluma (okuzuukira okuva mu ntaana) إِنَّا نَحۡنُ نُحۡيِۦ وَنُمِيتُ وَإِلَيۡنَا ٱلۡمَصِيرُ ٤٣Mazima ffe, ffe tuwa obulamu era netutta, era gye tuli yokka yeeri obuddo يَوۡمَ تَشَقَّقُ ٱلۡأَرۡضُ عَنۡهُمۡ سِرَاعًاۚ ذَٰلِكَ حَشۡرٌ عَلَيۡنَا يَسِيرٌ ٤٤Ku lunaku ettaka lweriyatika neribavaako (nga bazuukira) nebajja misinde (gye tuli), okwo kwe kukungaanya era kuliba kwangu ku ffe نَّحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَقُولُونَۖ وَمَآ أَنتَ عَلَيۡهِم بِجَبَّارٍۖ فَذَكِّرۡ بِٱلۡقُرۡءَانِ مَن يَخَافُ وَعِيدِ ٤٥Ffe tusinga okumanya bye bagamba, era ggwe toli ku bo asobola kubawaliriza, n’olwekyo buulirira nga okozesa Kur’ani, oyo yenna atya ebitiisa byange

الترجمة: Fareeq Musa.