بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
تَبَٰرَكَ ٱلَّذِي بِيَدِهِ ٱلۡمُلۡكُ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ قَدِيرٌ ١Mukama Katonda nanyini buyinza bwonna musukkulumu, era nga muyinza w'abuli kintu ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلۡمَوۡتَ وَٱلۡحَيَوٰةَ لِيَبۡلُوَكُمۡ أَيُّكُمۡ أَحۡسَنُ عَمَلًاۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡغَفُورُ ٢Oyo eyatonda okufa n'obulamu, olwokubageseza alabe ani asinga okukola obulungi. Naye ye Nnantakubwa ku mukono omusonyiyi ٱلَّذِي خَلَقَ سَبۡعَ سَمَٰوَٰتٍ طِبَاقًاۖ مَّا تَرَىٰ فِي خَلۡقِ ٱلرَّحۡمَٰنِ مِن تَفَٰوُتٍۖ فَٱرۡجِعِ ٱلۡبَصَرَ هَلۡ تَرَىٰ مِن فُطُورٍ ٣Oyo eyatonda eggulu omusanvu nga myaliro, toyinza kulaba mu kutonda kwa Katonda kamogo konna w'etegereze abaffe olabamu obukyamu bwonna ثُمَّ ٱرۡجِعِ ٱلۡبَصَرَ كَرَّتَيۡنِ يَنقَلِبۡ إِلَيۡكَ ٱلۡبَصَرُ خَاسِئًا وَهُوَ حَسِيرٌ ٤Era zzaayo amaaso emirundi nemirundi eriiso lijja ku kuddira nga likooye era nga tolina kyofunyeeyo وَلَقَدۡ زَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِمَصَٰبِيحَ وَجَعَلۡنَٰهَا رُجُومًا لِّلشَّيَٰطِينِۖ وَأَعۡتَدۡنَا لَهُمۡ عَذَابَ ٱلسَّعِيرِ ٥Mazima eggulu eriri okumpi n'ensi twalinyiriza nemunyeeye ezaaka, era nga bitawuliro ebigoba Sitani era Sitani ezo twazitegekera ebibonerezo byomuliro Ssair وَلِلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡ عَذَابُ جَهَنَّمَۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ٦Ate bbo abaawakanya Katonda waabwe twabategekera ebibonerezo byamuliro Jahannama era buliba buddo bubi إِذَآ أُلۡقُواْ فِيهَا سَمِعُواْ لَهَا شَهِيقًا وَهِيَ تَفُورُ ٧Bwe baligusuulwamu bagenda kuguwulira nga gutokota era nga gufuuwa تَكَادُ تَمَيَّزُ مِنَ ٱلۡغَيۡظِۖ كُلَّمَآ أُلۡقِيَ فِيهَا فَوۡجٌ سَأَلَهُمۡ خَزَنَتُهَآ أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ نَذِيرٌ ٨Nga gubula kuyulikamu buli lwegunasulwangamu ekibinja abakuumi bagwo banababuuzanga nti temwajjirwa muntu yenna abatiisa (muliro guno) قَالُواْ بَلَىٰ قَدۡ جَآءَنَا نَذِيرٌ فَكَذَّبۡنَا وَقُلۡنَا مَا نَزَّلَ ٱللَّهُ مِن شَيۡءٍ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا فِي ضَلَٰلٍ كَبِيرٍ ٩Baliddamu nti weewawo omutiisa yatujjira naye netumulimbisa era netumugamba nti Katonda tassanga bubaka bwonna, ebyo byemulimu bubuze obuyitirivu وَقَالُواْ لَوۡ كُنَّا نَسۡمَعُ أَوۡ نَعۡقِلُ مَا كُنَّا فِيٓ أَصۡحَٰبِ ٱلسَّعِيرِ ١٠Baligamba nti singa twali tuwulira oba nga tutegeera (ebyatugambwanga) tetwandibadde bamu kwabo abayingira omuliro فَٱعۡتَرَفُواْ بِذَنۢبِهِمۡ فَسُحۡقًا لِّأَصۡحَٰبِ ٱلسَّعِيرِ ١١Nebeekakasaako ekyonoono kyabwe okufaafaganirwa kuli ku bantu bo mu muliro إِنَّ ٱلَّذِينَ يَخۡشَوۡنَ رَبَّهُم بِٱلۡغَيۡبِ لَهُم مَّغۡفِرَةٌ وَأَجۡرٌ كَبِيرٌ ١٢Mazima abo abatya Katonda wabwe awamu n'okuba nga talabika, bagenda okufuna ekisonyiwo n'empeera ensuffu وَأَسِرُّواْ قَوۡلَكُمۡ أَوِ ٱجۡهَرُواْ بِهِۦٓۖ إِنَّهُۥ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ١٣Kyekimu mukwese ebigambo byamwe oba mubyatudde mazima yye amanyi ebiri mu bifuba أَلَا يَعۡلَمُ مَنۡ خَلَقَ وَهُوَ ٱللَّطِيفُ ٱلۡخَبِيرُ ١٤Abaffe eyatonda ayinza obutamanya nga ate ye muyitirivu w'okumanya era nga mukugu nnyo هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ ذَلُولًا فَٱمۡشُواْ فِي مَنَاكِبِهَا وَكُلُواْ مِن رِّزۡقِهِۦۖ وَإِلَيۡهِ ٱلنُّشُورُ ١٥Yye yoyo eyabafuulira ensi enyangu, kale mutambule mu bitundu byayo mulye mu bigabwabye era gyali gye mugenda okudda ءَأَمِنتُم مَّن فِي ٱلسَّمَآءِ أَن يَخۡسِفَ بِكُمُ ٱلۡأَرۡضَ فَإِذَا هِيَ تَمُورُ ١٦Musuubidde okuwona oyo ali waggulu ensi n'etabamira singa eba etabanguse أَمۡ أَمِنتُم مَّن فِي ٱلسَّمَآءِ أَن يُرۡسِلَ عَلَيۡكُمۡ حَاصِبًاۖ فَسَتَعۡلَمُونَ كَيۡفَ نَذِيرِ ١٧Oba musuubidde okuwona oyo ali waggulu n'atabasindikira muyaga, wabula mugenda kumanya okulabula kwange nga bwekwali okukulu وَلَقَدۡ كَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ فَكَيۡفَ كَانَ نَكِيرِ ١٨Abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa, naye tewamanya kyennabatusaako أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَى ٱلطَّيۡرِ فَوۡقَهُمۡ صَٰٓفَّٰتٍ وَيَقۡبِضۡنَۚ مَا يُمۡسِكُهُنَّ إِلَّا ٱلرَّحۡمَٰنُۚ إِنَّهُۥ بِكُلِّ شَيۡءِۭ بَصِيرٌ ١٩Abaffe tebalaba ebinyonyi ebibuukira waggulu wabwe nga byanjuluza ebiwawaatiro ate nga n'oluusi biwumbako, tewali kibikuumira mu bbanga okugyako Katonda omusaasizi, mazima ye alaba buli kintu أَمَّنۡ هَٰذَا ٱلَّذِي هُوَ جُندٌ لَّكُمۡ يَنصُرُكُم مِّن دُونِ ٱلرَّحۡمَٰنِۚ إِنِ ٱلۡكَٰفِرُونَ إِلَّا فِي غُرُورٍ ٢٠Oba ani oyo asobola okubalwanirira n'abataasa atali Katonda, abawakanyi tebalina kyebaliko okugyako mawaggali أَمَّنۡ هَٰذَا ٱلَّذِي يَرۡزُقُكُمۡ إِنۡ أَمۡسَكَ رِزۡقَهُۥۚ بَل لَّجُّواْ فِي عُتُوٍّ وَنُفُورٍ ٢١Ye abaffe ani oyo ayinza okubagabirira singa Katonda abajjako okugabirirakwe. Wabula baagwa mu kateebe k'okuwalaaza empaka n'okwewaggula أَفَمَن يَمۡشِي مُكِبًّا عَلَىٰ وَجۡهِهِۦٓ أَهۡدَىٰٓ أَمَّن يَمۡشِي سَوِيًّا عَلَىٰ صِرَٰطٍ مُّسۡتَقِيمٍ ٢٢Ye abaffe oyo atambula abwamiridde ku kyenyikye y'abeera kubulungamu oba oyo atambula nga yeegolodde ngali ku Kkubo eggolokofu قُلۡ هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنشَأَكُمۡ وَجَعَلَ لَكُمُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَٱلۡأَفۡـِٔدَةَۚ قَلِيلًا مَّا تَشۡكُرُونَ ٢٣Bagambe nti Katonda y'eyabatandikawo n'abassako amatu n'amaaso n'abawa n'emitima wabula mwebaza kitono قُلۡ هُوَ ٱلَّذِي ذَرَأَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَإِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ ٢٤Bagambe nti Katonda yoyo eyabassa mu nsi era nga mugenda kuzuukizibwa mudde gyali وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ٢٥Bagamba mu kubalaata nti ebyo byemutulaganyisa biribaawo ddi bwe mubanga byemwogera bituufu قُلۡ إِنَّمَا ٱلۡعِلۡمُ عِندَ ٱللَّهِ وَإِنَّمَآ أَنَا۠ نَذِيرٌ مُّبِينٌ ٢٦Bagambe nti okumanya okujjuvu okukwata ku nsonga eyo kuli wa Katonda, naye nze ndi mutiisa owolwatu فَلَمَّا رَأَوۡهُ زُلۡفَةً سِيٓـَٔتۡ وُجُوهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَقِيلَ هَٰذَا ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تَدَّعُونَ ٢٧Bwe baliraba e bibonerezo nga bisembedde, ebyenyi byabo abakafuwala bigenda kwekaba, awo balyoke bategezebwe nti ekyo nno kye mwagambanga nti kirituukaddi قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِنۡ أَهۡلَكَنِيَ ٱللَّهُ وَمَن مَّعِيَ أَوۡ رَحِمَنَا فَمَن يُجِيرُ ٱلۡكَٰفِرِينَ مِنۡ عَذَابٍ أَلِيمٍ ٢٨Bagambe nti, mulaba mutya singa Katonda anzikiriza n'abo abali nange oba n'atusaasira anti obuyinza bwonna buli gyali, naye ani alitaasa abakafiiri ku bibonerezo ebiruma قُلۡ هُوَ ٱلرَّحۡمَٰنُ ءَامَنَّا بِهِۦ وَعَلَيۡهِ تَوَكَّلۡنَاۖ فَسَتَعۡلَمُونَ مَنۡ هُوَ فِي ضَلَٰلٍ مُّبِينٍ ٢٩Bagambe nti yye Katonda omusaasizi gwetukkiriza era yekka gwetwesiga wabula lumu mulimanya ani ali mu bubuze obweyolefu قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِنۡ أَصۡبَحَ مَآؤُكُمۡ غَوۡرًا فَمَن يَأۡتِيكُم بِمَآءٍ مَّعِينِۭ ٣٠Bagambe nti mulaba mutya singa amazzi gammwe bukya nga gakalidde ani ayinza okubawa amazzi agakulukuta amayonjo