Millat al-Islam

Chapter 68 · 52 verses · Fareeq Musa

Surah Al-Qalam in Ganda

Arabic with tafsir Listen to Surah Al-Qalam (1262 reciters)
Meccanسورة القلم52 verses

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

نٓۚ وَٱلۡقَلَمِ وَمَا يَسۡطُرُونَ ١Nuni, yemu kunyukuta ezikola walifu empalabu. Ndayidde e kalamu nebyebagiwandiisa مَآ أَنتَ بِنِعۡمَةِ رَبِّكَ بِمَجۡنُونٍ ٢Mazima Gwe Muhammad ekyengera kyobwa Nabbi Katonda wo kyeyakuwa tekiyinza ku kufuula mulalu وَإِنَّ لَكَ لَأَجۡرًا غَيۡرَ مَمۡنُونٍ ٣Era ddala oteekwa okufuna empeera etakutukawo وَإِنَّكَ لَعَلَىٰ خُلُقٍ عَظِيمٍ ٤Era mazima ddala Ggwe oli wampisa nungi nnyo فَسَتُبۡصِرُ وَيُبۡصِرُونَ ٥Ojja kulaba nga nabo bwebagenda okulaba بِأَييِّكُمُ ٱلۡمَفۡتُونُ ٦Ani kumwenna eyatukwako ekizibu kyeddalu إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعۡلَمُ بِمَن ضَلَّ عَن سَبِيلِهِۦ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ ٧Mazima Katondawo amanyidde ddala ani eyabula okuva ku kkubolye era nga bwamanyidde ddala abalungamu فَلَا تُطِعِ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ٨Kale nno togondera abo abalimbisa وَدُّواْ لَوۡ تُدۡهِنُ فَيُدۡهِنُونَ ٩Bandyagadde nti singa obagondera nabo nebakugondera وَلَا تُطِعۡ كُلَّ حَلَّافٍ مَّهِينٍ ١٠Era togeza n'ogondera buli alayiralayira ataliimu nsa هَمَّازٍ مَّشَّآءِۭ بِنَمِيمٍ ١١Omugeyi atambuza olugambo مَّنَّاعٍ لِّلۡخَيۡرِ مُعۡتَدٍ أَثِيمٍ ١٢Omukodo, omulumbaganyi omwononefu عُتُلِّۭ بَعۡدَ ذَٰلِكَ زَنِيمٍ ١٣Mubi nnyo ate awamu n'ekyo mwana w'abwenzi أَن كَانَ ذَا مَالٍ وَبَنِينَ ١٤Tomugondera olwokuba alina emmali n'abaana إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ءَايَٰتُنَا قَالَ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ١٥Omuntu oyo bwasomerwa ebigambo byaffe agamba nti nfumo z'abantu abedda سَنَسِمُهُۥ عَلَى ٱلۡخُرۡطُومِ ١٦Kulunaku lw’enkomerero tugenda kussa kunyindo ye akabonero akamulamba nga tanayingizibwa muliro إِنَّا بَلَوۡنَٰهُمۡ كَمَا بَلَوۡنَآ أَصۡحَٰبَ ٱلۡجَنَّةِ إِذۡ أَقۡسَمُواْ لَيَصۡرِمُنَّهَا مُصۡبِحِينَ ١٧Mazima ffe twagezesa abantu be Makkah bwetwabaleetera enjala nga bwetwagezesa abantu abaalina enimiro yaabwe abalayira nti baali bagenda kukungula kumakya nnyo, olwo nno baleme kugabirako bantu balala وَلَا يَسۡتَثۡنُونَ ١٨Wabula beerabira okugamba nti Insh'allah فَطَافَ عَلَيۡهَا طَآئِفٌ مِّن رَّبِّكَ وَهُمۡ نَآئِمُونَ ١٩Katonda n'agisindikira nabbambula w'omuliro ogwa gizikiriza ekiro nga beebase فَأَصۡبَحَتۡ كَٱلصَّرِيمِ ٢٠Okugenda okukya ngankalu nga enkungule فَتَنَادَوۡاْ مُصۡبِحِينَ ٢١Ku lunaku olulaganye baakeera nnyo era nga buli omu agenda atemya kumunne أَنِ ٱغۡدُواْ عَلَىٰ حَرۡثِكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰرِمِينَ ٢٢Ngabagamba nti muzuukuke mugende mu nimiro yammwe bwe muba ddala nga munakungula nga bwemwagambye فَٱنطَلَقُواْ وَهُمۡ يَتَخَٰفَتُونَ ٢٣Baatambula nga bogera bwama أَن لَّا يَدۡخُلَنَّهَا ٱلۡيَوۡمَ عَلَيۡكُم مِّسۡكِينٌ ٢٤Nga bwebagamba nti tebagenda kukkiriza Masikiini yenna kuyingira mu ssamba yaabwe وَغَدَوۡاْ عَلَىٰ حَرۡدٍ قَٰدِرِينَ ٢٥Baatambula kumakya okwo nga bakakasa nti bagenda kutuukiriza kyebaali basazeewo eggulo limu فَلَمَّا رَأَوۡهَا قَالُوٓاْ إِنَّا لَضَآلُّونَ ٢٦Bwebaalaba ennimiro yaabwe b'agamba nti tubuze بَلۡ نَحۡنُ مَحۡرُومُونَ ٢٧Sinakindi Katonda yagizikirizza olwe kigendererwa kyaffe ekibi ekyobutakkiriza kugabirako ba Masikiini قَالَ أَوۡسَطُهُمۡ أَلَمۡ أَقُل لَّكُمۡ لَوۡلَا تُسَبِّحُونَ ٢٨Eyali abasingako eddiini n'obuntu bulamu nabagamba nti ssabagambye nti obutawaako banaku buba bulyazamanyi bwennyini, era kati kyetuteekwa okukola kwekutendereza Katonda kuba tetunamanya yatusonyiye oba nedda قَالُواْ سُبۡحَٰنَ رَبِّنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ ٢٩Olwo nno nebagamba nti yayawukana Katonda waffe mazima twabadde tweyisizza bubi فَأَقۡبَلَ بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٍ يَتَلَٰوَمُونَ ٣٠Awamu nekyo baatandika okuwaanyisiganya ebigambo nga abamu banenya bannabwe قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا طَٰغِينَ ٣١Nebagamba nti mazima ffe tubadde bajeemu عَسَىٰ رَبُّنَآ أَن يُبۡدِلَنَا خَيۡرًا مِّنۡهَآ إِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا رَٰغِبُونَ ٣٢Tusaba Katonda waffe emmali yaffe etokomose atuwanyisizeemu ebirungi, mazima ddala ew'a Katonda waffe yokka gyetusaba obuyambi كَذَٰلِكَ ٱلۡعَذَابُۖ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَكۡبَرُۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ٣٣Bwebityo nno ebibonerezo bwebiba naye wabula ebibonerezo by'olunaku lw’enkomerero byebisinga obukakali singa baba ddala nga bamanyi إِنَّ لِلۡمُتَّقِينَ عِندَ رَبِّهِمۡ جَنَّٰتِ ٱلنَّعِيمِ ٣٤Mazima abatya Katonda baategekerwa e jjana ez'ebyengera ewa Katonda waabwe أَفَنَجۡعَلُ ٱلۡمُسۡلِمِينَ كَٱلۡمُجۡرِمِينَ ٣٥Gwe ate abakkiriza twalibayisizza nga abonoonyi مَا لَكُمۡ كَيۡفَ تَحۡكُمُونَ ٣٦Mwaba ki, e nsonga muzisalawo mutya أَمۡ لَكُمۡ كِتَٰبٌ فِيهِ تَدۡرُسُونَ ٣٧Simanyi mulinayo ekitabo mwemubisoma إِنَّ لَكُمۡ فِيهِ لَمَا تَخَيَّرُونَ ٣٨Era nga mukitaba ekyo mulimu nti mwe mulyesalirawo kyemwagala ku lunaku lw'enkomerero أَمۡ لَكُمۡ أَيۡمَٰنٌ عَلَيۡنَا بَٰلِغَةٌ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ إِنَّ لَكُمۡ لَمَا تَحۡكُمُونَ ٣٩Oba mulina e ndagano gye twabawa nga etuukira ddala ku lunaku lw'enkomerero ngebawa ebbeetu okwesalirawo nga bwemulaba سَلۡهُمۡ أَيُّهُم بِذَٰلِكَ زَعِيمٌ ٤٠Babuuze ani eyesowolayo abe nga akulembera endowooza eyo أَمۡ لَهُمۡ شُرَكَآءُ فَلۡيَأۡتُواْ بِشُرَكَآئِهِمۡ إِن كَانُواْ صَٰدِقِينَ ٤١Oba balinayo (ababeesiguza) nga babayita babeezi ba Katonda, kale nno bajjanga nabo bwebaba nga bogera mazima يَوۡمَ يُكۡشَفُ عَن سَاقٍ وَيُدۡعَوۡنَ إِلَى ٱلسُّجُودِ فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ ٤٢Ku lunaku olulibeera olw'okubikkula ku ntumbwe. Balikowoolwa okuvunnamira Katonda naye nga tebasobola خَٰشِعَةً أَبۡصَٰرُهُمۡ تَرۡهَقُهُمۡ ذِلَّةٌۖ وَقَدۡ كَانُواْ يُدۡعَوۡنَ إِلَى ٱلسُّجُودِ وَهُمۡ سَٰلِمُونَ ٤٣Nga amaaso gaabwe makakkamu olw'obuswavu, nga bajjudde okunyomebwa so nga ate baakowolwa okuvunnamira Katonda nga bakyali balamu ne batakikola فَذَرۡنِي وَمَن يُكَذِّبُ بِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِۖ سَنَسۡتَدۡرِجُهُم مِّنۡ حَيۡثُ لَا يَعۡلَمُونَ ٤٤Kale ndeka noyo alimbisa ebigambo bino tujja kubatwaliriza mpola mpola nga tebamanyi وَأُمۡلِي لَهُمۡۚ إِنَّ كَيۡدِي مَتِينٌ ٤٥Era mbalindiriza, anti entegeka zange nnywevu أَمۡ تَسۡـَٔلُهُمۡ أَجۡرًا فَهُم مِّن مَّغۡرَمٍ مُّثۡقَلُونَ ٤٦Abaffe wali obasabye empeera nebakaluubirirwa kusasula أَمۡ عِندَهُمُ ٱلۡغَيۡبُ فَهُمۡ يَكۡتُبُونَ ٤٧Oba bamanyi ebyewala nga babiwandiika (nga bebyelamuza, era nga biraga nti bagenda kubeera bulungi) فَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ وَلَا تَكُن كَصَاحِبِ ٱلۡحُوتِ إِذۡ نَادَىٰ وَهُوَ مَكۡظُومٌ ٤٨Kale nno beera mugumikiriza ku kusalawo kwa Katondawo, tobeera nga ow'ekyennyanja (Nabbi Yunus) eyatuuka okukowoola (Katondawe okumutaasa) nga ajjudde obunyiikaavu لَّوۡلَآ أَن تَدَٰرَكَهُۥ نِعۡمَةٌ مِّن رَّبِّهِۦ لَنُبِذَ بِٱلۡعَرَآءِ وَهُوَ مَذۡمُومٌ ٤٩Singa teyafuna kyengera ekyava ewa Katondawe (ekyokukiriza okwenenyakwe) yandikasukiddwa mu nsi e nkalu (etariiko bulamu) nga naye anenyezebwa فَٱجۡتَبَٰهُ رَبُّهُۥ فَجَعَلَهُۥ مِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ ٥٠Wabula Katonda yamulekera obwa Nabbi era namuteeka mu bantu abalongofu وَإِن يَكَادُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَيُزۡلِقُونَكَ بِأَبۡصَٰرِهِمۡ لَمَّا سَمِعُواْ ٱلذِّكۡرَ وَيَقُولُونَ إِنَّهُۥ لَمَجۡنُونٌ ٥١Abakafiiri basemberera ddala okukuzikiriza n'amaaso gaabwe amabi (olw'ekkonda eriri ku myoyo gyabwe) bwe bawulira Kur'ani era ne bagamba nti mazima yye (Nabbi) mulalu وَمَا هُوَ إِلَّا ذِكۡرٌ لِّلۡعَٰلَمِينَ ٥٢So ng'ate (Kur'ani) teri okugyako kya kujjukiza eri e bitonde

Translation: Fareeq Musa.