ملة الإسلام

السورة 85 · 22 آية · Fareeq Musa

سورة البروج باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة البروج (1,332 قارئاً)
مكيةسورة البروج٢٢ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

وَٱلسَّمَآءِ ذَاتِ ٱلۡبُرُوجِ ١Ndayira e ggulu eririmu ebifo omutambulira e munyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi) وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡمَوۡعُودِ ٢Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (olunaku lw’enkomerero) وَشَاهِدٍ وَمَشۡهُودٍ ٣Era ndayira oyo aliwa obujulizi n’oyo gwe balibuwaako (ku lunaku lw’enkomerero) قُتِلَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡأُخۡدُودِ ٤Katonda yagoba mu kusaasirakwe abo abaasima agannya ٱلنَّارِ ذَاتِ ٱلۡوَقُودِ ٥Gebaakumamu omuliro ogubumbujja إِذۡ هُمۡ عَلَيۡهَا قُعُودٌ ٦Bwe baatuula awo ku mabbali waagwo وَهُمۡ عَلَىٰ مَا يَفۡعَلُونَ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ شُهُودٌ ٧Nga bo (bennyini) balaba buli kyonna kyebakola ku bakkiriza وَمَا نَقَمُواْ مِنۡهُمۡ إِلَّآ أَن يُؤۡمِنُواْ بِٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ ٨Tebaalina kye baali babavunaana okugyako okukkiriza Katonda oweekitiibwa atenderezebwa ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ شَهِيدٌ ٩Oyo, obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi bwonna bubwe. Era Katonda alaba buli kintu إِنَّ ٱلَّذِينَ فَتَنُواْ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ ثُمَّ لَمۡ يَتُوبُواْ فَلَهُمۡ عَذَابُ جَهَنَّمَ وَلَهُمۡ عَذَابُ ٱلۡحَرِيقِ ١٠Mazima abo abaawalagganya abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi ate ne bateenenya, bakutuukibwako e bibonerezo by’omuliro Jahannama era balina e bibonerezo by’omuliro ogwokya ennyo إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَهُمۡ جَنَّٰتٌ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ ذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡكَبِيرُ ١١Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi bajja kufuna e jjana nga mukulukutira muyo emigga. Okwo nno kwe kwesiima okwannamaddala إِنَّ بَطۡشَ رَبِّكَ لَشَدِيدٌ ١٢Mazima okukwata kwa Mukamaawo kwamaanyi nnyo إِنَّهُۥ هُوَ يُبۡدِئُ وَيُعِيدُ ١٣Kubanga yye ye mutandisi wa buli kintu era yewookubizzaawo وَهُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلۡوَدُودُ ١٤Era musonyiyi nnyo, era abaagala nnyo ذُو ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡمَجِيدُ ١٥Yye ye nannyini Arishi, Oweekitiibwa فَعَّالٌ لِّمَا يُرِيدُ ١٦Akola buli ky’aba ayagadde هَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ ٱلۡجُنُودِ ١٧Wali owulidde ku byafaayo by’amagye فِرۡعَوۡنَ وَثَمُودَ ١٨Aga Firawo n’abantu ba Thamuud بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي تَكۡذِيبٍ ١٩Wabula abo abatakkiriza bali mu kulimbisa وَٱللَّهُ مِن وَرَآئِهِم مُّحِيطُۢ ٢٠So nga Katonda abeetoolodde بَلۡ هُوَ قُرۡءَانٌ مَّجِيدٌ ٢١Wabula yo Kur'ani (eyassibwa ku Nabbi Muhammad) ya kitiibwa فِي لَوۡحٍ مَّحۡفُوظِۭ ٢٢Eri mu ggwandiikiro erikuumwa obutiribiri

الترجمة: Fareeq Musa.