ملة الإسلام

السورة 84 · 25 آية · Fareeq Musa

سورة الانشقاق باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة الانشقاق (1,276 قارئاً)
مكيةسورة الانشقاق٢٥ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

إِذَا ٱلسَّمَآءُ ٱنشَقَّتۡ ١Eggulu bwe liryeyasaamu وَأَذِنَتۡ لِرَبِّهَا وَحُقَّتۡ ٢Ne ligondera ekiragiro kya Mukama waalyo, era nga bwe kyandibadde وَإِذَا ٱلۡأَرۡضُ مُدَّتۡ ٣Ensi bw'eriseeteezebwa وَأَلۡقَتۡ مَا فِيهَا وَتَخَلَّتۡ ٤N'ewandula ebigirimu n'esigala nga njereere وَأَذِنَتۡ لِرَبِّهَا وَحُقَّتۡ ٥N'egondera ekiragiro kya mukama waayo era nga bwe kyandibadde يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡإِنسَٰنُ إِنَّكَ كَادِحٌ إِلَىٰ رَبِّكَ كَدۡحًا فَمُلَٰقِيهِ ٦Owange ggwe omuntu! Otakabana olutakabana (okukola e mirimu) ng'odda eri Katondawo. Era oli wakumusisinkana فَأَمَّا مَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ بِيَمِينِهِۦ ٧Kale nno omuntu aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo فَسَوۡفَ يُحَاسَبُ حِسَابًا يَسِيرًا ٨Agenda kubalwa olubala olwangu وَيَنقَلِبُ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِۦ مَسۡرُورًا ٩Era adde eri banne nga musanyufu وَأَمَّا مَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ وَرَآءَ ظَهۡرِهِۦ ١٠Naye oyo aliweebwa ekitabokye e mabega w'omugongogwe فَسَوۡفَ يَدۡعُواْ ثُبُورًا ١١Agenda kukuba e biwoobe وَيَصۡلَىٰ سَعِيرًا ١٢Yeesogge omuliro Sa-iira إِنَّهُۥ كَانَ فِيٓ أَهۡلِهِۦ مَسۡرُورًا ١٣Kubanga yabeeranga (ku nsi) mu bantube nga musanyufu (mu kujeemera amateeka ga Mukama Katonda) إِنَّهُۥ ظَنَّ أَن لَّن يَحُورَ ١٤Bambi! yalowooza nti tagenda kuzuukira بَلَىٰٓۚ إِنَّ رَبَّهُۥ كَانَ بِهِۦ بَصِيرًا ١٥So nno, mazima Katondawe yalinga amulaba فَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلشَّفَقِ ١٦Ndayira ekire ekimyufu (ekibaawo ng'enjuba yakagwa) وَٱلَّيۡلِ وَمَا وَسَقَ ١٧Ne ndayira n'ekiro n'ebyo bye kikungaanya وَٱلۡقَمَرِ إِذَا ٱتَّسَقَ ١٨Era ndayira omwezi bwe guba gujjudde لَتَرۡكَبُنَّ طَبَقًا عَن طَبَقٍ ١٩Mujja kukyusibwakyusibwa (mu mbeera za mmwe nga muva mu mbeera okudda ku ndala) فَمَا لَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ٢٠Naye lwaki tebakkiriza وَإِذَا قُرِئَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقُرۡءَانُ لَا يَسۡجُدُونَۤ ۩ ٢١Ne Kur'ani bwe basomerwa tebavunnama بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يُكَذِّبُونَ ٢٢Wabula e nsonga ebagaana okuvunnama lwakuba nti abakafuuru balimbisa (Kur'ani) وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا يُوعُونَ ٢٣So nga Katonda amannyidde ddala bye bakweka (mu mitima gyabwe) فَبَشِّرۡهُم بِعَذَابٍ أَلِيمٍ ٢٤Bawe amawulire nti bagenda kubeera mu bibonerezo ebiruma إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَهُمۡ أَجۡرٌ غَيۡرُ مَمۡنُونِۭ ٢٥Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirongoofu. Abo be bagenda okufuna e mpeera etakutukawo

الترجمة: Fareeq Musa.