ملة الإسلام

السورة 76 · 31 آية · Fareeq Musa

سورة الإنسان باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة الإنسان (1,366 قارئاً)
مدنيةسورة الإنسان٣١ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

هَلۡ أَتَىٰ عَلَى ٱلۡإِنسَٰنِ حِينٌ مِّنَ ٱلدَّهۡرِ لَمۡ يَكُن شَيۡـًٔا مَّذۡكُورًا ١Omuntu tajjukira nti waayitawo ekiseera kinene nga tayogerwako (nga tannatondebwa) إِنَّا خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِن نُّطۡفَةٍ أَمۡشَاجٍ نَّبۡتَلِيهِ فَجَعَلۡنَٰهُ سَمِيعَۢا بَصِيرًا ٢Mazima ffe twatonda omuntu nga ava mu kwetabula kwamazzi (ag'omusajja n'omukazi) naye nga waakugezesebwa mu bulamu bwe. Kyetwava tumuwa okuwulira n'okulaba إِنَّا هَدَيۡنَٰهُ ٱلسَّبِيلَ إِمَّا شَاكِرًا وَإِمَّا كَفُورًا ٣Mazima ddala twamulaga e kkubo, kiri gyali yeebaza naasinza Katonda omu oba ajeema n'awakanya إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا لِلۡكَٰفِرِينَ سَلَٰسِلَاْ وَأَغۡلَٰلًا وَسَعِيرًا ٤Mazima ddala abakafiiri twabategekera enjegere n'amakoligo n'omuliro ogutuntumuka إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ يَشۡرَبُونَ مِن كَأۡسٍ كَانَ مِزَاجُهَا كَافُورًا ٥Mazima abakozi bobulungi bagenda kunywa ekyokunywa nga kitabuddwa mu kafuura عَيۡنًا يَشۡرَبُ بِهَا عِبَادُ ٱللَّهِ يُفَجِّرُونَهَا تَفۡجِيرًا ٦Olwo nno luliba luzzi abaddu b'a Katonda abeeyisa obulungi kwebagendanga okunywa, lugenda kukulukuta nga buli muntu lumutuukako waali يُوفُونَ بِٱلنَّذۡرِ وَيَخَافُونَ يَوۡمًا كَانَ شَرُّهُۥ مُسۡتَطِيرًا ٧(Bagenda kutuuka kwebyo kubanga) kuno ku nsi baatuukiriza nnaziri zaabwe, era nga batya olunaku olwo obuzibu bwalwo obugenda okubuutikira e nsi n'eggulu وَيُطۡعِمُونَ ٱلطَّعَامَ عَلَىٰ حُبِّهِۦ مِسۡكِينًا وَيَتِيمًا وَأَسِيرًا ٨Era bagabira abanaku ne bamulekwa nabasibe emmere awamu n'okuba nti bo bennyini bagyetaaga إِنَّمَا نُطۡعِمُكُمۡ لِوَجۡهِ ٱللَّهِ لَا نُرِيدُ مِنكُمۡ جَزَآءً وَلَا شُكُورًا ٩Nga bagamba nti mazima tubaliisa lwa Katonda tetubaagalamu mpeera wadde okwebaza إِنَّا نَخَافُ مِن رَّبِّنَا يَوۡمًا عَبُوسًا قَمۡطَرِيرًا ١٠(Ekitukozesa bino lwakuba nti) mazima ddala ffe tutya engeri gye tulisisinkanamu Katonda waffe ku lunaku e byenyi (bya bantu) lwe birijjula emitaafu nga byekabye فَوَقَىٰهُمُ ٱللَّهُ شَرَّ ذَٰلِكَ ٱلۡيَوۡمِ وَلَقَّىٰهُمۡ نَضۡرَةً وَسُرُورًا ١١N'olwekyo nno Katonda wakubawonya obuzibu bw'olunaku olwo era abawe okutangalijja kwe byenyi awamu n'essanyu وَجَزَىٰهُم بِمَا صَبَرُواْ جَنَّةً وَحَرِيرًا ١٢Era wakubasasula olwobugumikiriza, nga abayingiza e jjana omuli ebyambalo bya Siliki (awamu nokuba nti kunsi abasajja baaziyizibwa okumwambala) مُّتَّكِـِٔينَ فِيهَا عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِۖ لَا يَرَوۡنَ فِيهَا شَمۡسًا وَلَا زَمۡهَرِيرًا ١٣Balituula mu ntebe ez'omuwendo nga besigamye, tebagenda kutukwako kwokya kwanjuba wadde obutiti وَدَانِيَةً عَلَيۡهِمۡ ظِلَٰلُهَا وَذُلِّلَتۡ قُطُوفُهَا تَذۡلِيلًا ١٤Era nga mulimu emiti egiribakolera ebisiikirize, era nga nebibala byamu bigenda kuba byangu byakunoga وَيُطَافُ عَلَيۡهِم بِـَٔانِيَةٍ مِّن فِضَّةٍ وَأَكۡوَابٍ كَانَتۡ قَوَارِيرَا۠ ١٥Baligabulirwa ku sowane eza feeza era bakunywera ku girasi ezitemagana قَوَارِيرَاْ مِن فِضَّةٍ قَدَّرُوهَا تَقۡدِيرًا ١٦Ziritemegana anti ziriba zaakolebwa mu feeza, ziriba zimala bumazi okubeeramu ekyokunywa ekimalawo obwetaavu bwoyo anywa وَيُسۡقَوۡنَ فِيهَا كَأۡسًا كَانَ مِزَاجُهَا زَنجَبِيلًا ١٧Era bagenda kuweebwa eby'okunywa ebiri mu girasi nga bitabulwamu entangawuzi عَيۡنًا فِيهَا تُسَمَّىٰ سَلۡسَبِيلًا ١٨Eyo nno egenda kuba nsulo mu jjana eyitibwa "Salsabiila ۞ وَيَطُوفُ عَلَيۡهِمۡ وِلۡدَٰنٌ مُّخَلَّدُونَ إِذَا رَأَيۡتَهُمۡ حَسِبۡتَهُمۡ لُؤۡلُؤًا مَّنثُورًا ١٩Bagenda kuweerezebwanga abaweereza abolubeerera, nga bwobatunulako bwoti olaba lu'ulu asasanyiziddwa وَإِذَا رَأَيۡتَ ثَمَّ رَأَيۡتَ نَعِيمًا وَمُلۡكًا كَبِيرًا ٢٠Buli wonotunulanga mu jjana ng'olaba ebyengera ebisuffu n'obwanannyini obutaliiko kkomo عَٰلِيَهُمۡ ثِيَابُ سُندُسٍ خُضۡرٌ وَإِسۡتَبۡرَقٌۖ وَحُلُّوٓاْ أَسَاوِرَ مِن فِضَّةٍ وَسَقَىٰهُمۡ رَبُّهُمۡ شَرَابًا طَهُورًا ٢١Baliba bambadde engoye eza Siliki omuweweevu owakiragala ne Siliki omuzito, era bagenda kuba bawundiddwa nebikomo ebya feeza, era Mukama Katonda waabwe agenda kubawa ebyokunywa ebitukuvu إِنَّ هَٰذَا كَانَ لَكُمۡ جَزَآءً وَكَانَ سَعۡيُكُم مَّشۡكُورًا ٢٢(Baligambwa nti) Mazima ebyo byonna yempeera yammwe, mazima okutegana kwa mmwe kusiimiddwa إِنَّا نَحۡنُ نَزَّلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡقُرۡءَانَ تَنزِيلًا ٢٣Mazima ffe twakussaako Kur'ani (gwe Nabbi Muhammad) olussa فَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ وَلَا تُطِعۡ مِنۡهُمۡ ءَاثِمًا أَوۡ كَفُورًا ٢٤Kale nno beera mugumikiriza ku kugera kwa Katondawo, togezaako okugondera omwonoonyi oba omuwakanyi yenna وَٱذۡكُرِ ٱسۡمَ رَبِّكَ بُكۡرَةً وَأَصِيلًا ٢٥Era yogeranga kulinnya lya Mukama Katondawo enkya neggulo وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَٱسۡجُدۡ لَهُۥ وَسَبِّحۡهُ لَيۡلًا طَوِيلًا ٢٦Ne mukiro muvunnamire ng'osaala era omutendereze mu ttumbi ebbanga ggwanvu إِنَّ هَٰٓؤُلَآءِ يُحِبُّونَ ٱلۡعَاجِلَةَ وَيَذَرُونَ وَرَآءَهُمۡ يَوۡمًا ثَقِيلًا ٢٧Mazima abatakkiriza basinga kwagala birungi byansi ebyamangu, ne basuulayo gwannaggamba ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero oluzito نَّحۡنُ خَلَقۡنَٰهُمۡ وَشَدَدۡنَآ أَسۡرَهُمۡۖ وَإِذَا شِئۡنَا بَدَّلۡنَآ أَمۡثَٰلَهُمۡ تَبۡدِيلًا ٢٨Ffe twabatonda ne tugumya e biyungo byabwe, naye nga bwe tuba twagadde (tuyinza okubazikiriza) ne tuleeta abantu abalala إِنَّ هَٰذِهِۦ تَذۡكِرَةٌۖ فَمَن شَآءَ ٱتَّخَذَ إِلَىٰ رَبِّهِۦ سَبِيلًا ٢٩Mazima obubaka bwa Kur'ani buno kya kwebulirira era nga kyakujjukiza, n'olwekyo aba ayagadde asanye y'eteerewo ekkubo erimutuusa eri Katondawe وَمَا تَشَآءُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلِيمًا حَكِيمًا ٣٠Naye ate temusobola kwagala okugyako nga Katonda ayagadde, mazima Katonda lubeerera amanyi, assa buli kintu mussa lyako يُدۡخِلُ مَن يَشَآءُ فِي رَحۡمَتِهِۦۚ وَٱلظَّٰلِمِينَ أَعَدَّ لَهُمۡ عَذَابًا أَلِيمَۢا ٣١Ayingiza oyo gwaba ayagadde mu kusaasirakwe, ate bbo abalyazamanyi yabategekera ebibonerezo ebiruma

الترجمة: Fareeq Musa.