ملة الإسلام

السورة 75 · 40 آية · Fareeq Musa

سورة القيامة باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة القيامة (1,389 قارئاً)
مكيةسورة القيامة٤٠ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

لَآ أُقۡسِمُ بِيَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ ١Tewali kingaana kulayira lunaku lwakuzuukira وَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلنَّفۡسِ ٱللَّوَّامَةِ ٢Era nga bwewatali kingaana kulayira omwoyo ogwejjusa أَيَحۡسَبُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَلَّن نَّجۡمَعَ عِظَامَهُۥ ٣Abaffe omuntu alowooza nti tetugenda kusobola kuzzaawo magumbage بَلَىٰ قَٰدِرِينَ عَلَىٰٓ أَن نُّسَوِّيَ بَنَانَهُۥ ٤Nedda tukisobolera ddala nga bwetulisobola okuzzaawo ennwe zaabwe بَلۡ يُرِيدُ ٱلۡإِنسَٰنُ لِيَفۡجُرَ أَمَامَهُۥ ٥Wabula omuntu emirundi egisinga ayagala nnyo okuwangaalira mu kwonoona يَسۡـَٔلُ أَيَّانَ يَوۡمُ ٱلۡقِيَٰمَةِ ٦Ngabuuza (mu ngeri ey'okujerega n'okuwakanya) nti olunaku lwokuzuukira lulibaawo ddi فَإِذَا بَرِقَ ٱلۡبَصَرُ ٧Ddala lugenga kubaawo nga n'amaaso g'abantu galiralambala olwokutya وَخَسَفَ ٱلۡقَمَرُ ٨Ekitangala kyomwezi kigenda kuggwawo وَجُمِعَ ٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ ٩Enjuba n'omwezi birigattibwa (nga tewakyasobola kubaawo kiro namisana) يَقُولُ ٱلۡإِنسَٰنُ يَوۡمَئِذٍ أَيۡنَ ٱلۡمَفَرُّ ١٠Ku lunaku olwo omuntu agenda kwebuuza nti nzirukirewa كـَلَّا لَا وَزَرَ ١١Kyekyo ddala, tewagenda kubaawo muntu weyekweka إِلَىٰ رَبِّكَ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡمُسۡتَقَرُّ ١٢Obuddo ku lunaku olwo bujja kuba eri Mukama Katondawo يُنَبَّؤُاْ ٱلۡإِنسَٰنُ يَوۡمَئِذِۭ بِمَا قَدَّمَ وَأَخَّرَ ١٣Ku lunaku olwo omuntu agenda kutegeezebwa ebyo byonna byeyakola nebyataakola بَلِ ٱلۡإِنسَٰنُ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦ بَصِيرَةٌ ١٤Wabula ate ddala omuntu ye yennyini amanyi bye yakola ne byataakola (newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayeetonda) وَلَوۡ أَلۡقَىٰ مَعَاذِيرَهُۥ ١٥Newakubadde nga aligezaako okwogera kino nakiri ngayetonda لَا تُحَرِّكۡ بِهِۦ لِسَانَكَ لِتَعۡجَلَ بِهِۦٓ ١٦Bwoba osoma Kur'ani toyanguyiriza nga olowooza nti kyekinakuyamba okuginyweeza إِنَّ عَلَيۡنَا جَمۡعَهُۥ وَقُرۡءَانَهُۥ ١٧Anti okugikungaanya kuli kuffe nga era bwekiri kuffe okunywereza ku lulimi lwo ensoma ennungi فَإِذَا قَرَأۡنَٰهُ فَٱتَّبِعۡ قُرۡءَانَهُۥ ١٨Kale nno bwetumala okugikusomera (nga tugiyisa ku Jiburilu) goberera ensoma yaayo ثُمَّ إِنَّ عَلَيۡنَا بَيَانَهُۥ ١٩Era mazima okuginnyonnyola kuli kuffe كـَلَّا بَلۡ تُحِبُّونَ ٱلۡعَاجِلَةَ ٢٠(Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala omuntu okwebuulirira nabyo) wabula ebyembi mmwe mwagala ebyokufuna byensi ebyamangu وَتَذَرُونَ ٱلۡأٓخِرَةَ ٢١Nemuleka ebyolunaku lw’enkomerero وُجُوهٌ يَوۡمَئِذٍ نَّاضِرَةٌ ٢٢Ebyenyi bya bantu abamu ku lunaku olwo bigenda kuba nga bitemagana إِلَىٰ رَبِّهَا نَاظِرَةٌ ٢٣Bigenda kutunula ku Mukama Katonda waabyo وَوُجُوهٌ يَوۡمَئِذِۭ بَاسِرَةٌ ٢٤Ate nga ebyenyi bya bantu abalala bigenda kuba binyikaavu تَظُنُّ أَن يُفۡعَلَ بِهَا فَاقِرَةٌ ٢٥Nga bimanyidde ddala nti bigenda kutuukibwako akabi akanene akamenya nenkizi كـَلَّآ إِذَا بَلَغَتِ ٱلتَّرَاقِيَ ٢٦Naye omwoyo bwegutuuka mu ddokooli وَقِيلَ مَنۡۜ رَاقٍ ٢٧Abantu webagambira nti ani alina eddagala eriyinza okumuwonya وَظَنَّ أَنَّهُ ٱلۡفِرَاقُ ٢٨Wabula yye ngamaze okukakasa nti agenda kufa وَٱلۡتَفَّتِ ٱلسَّاقُ بِٱلسَّاقِ ٢٩Entumbwe ne yeegatta ku ntumbwe إِلَىٰ رَبِّكَ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡمَسَاقُ ٣٠Olwo nno obuddo buba busigadde eri Katondawo فَلَا صَدَّقَ وَلَا صَلَّىٰ ٣١Naye nga omufu teyasaddaaka wadde okusaala وَلَٰكِن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰ ٣٢Wabula yalimbisa ebigambo bya Katonda nabyesamba ثُمَّ ذَهَبَ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِۦ يَتَمَطَّىٰٓ ٣٣Olwo nno naatambula nadda eri abantu be nga yeeraga أَوۡلَىٰ لَكَ فَأَوۡلَىٰ ٣٤(Aligambibwa nti ekyo) ekikutuuseeko kikugwanidde era ddala kikugwanidde (owange ggwe omwonoonyi) ثُمَّ أَوۡلَىٰ لَكَ فَأَوۡلَىٰٓ ٣٥Ate era kikugwanidde ng'ate era ddala kikugwanidde أَيَحۡسَبُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَن يُتۡرَكَ سُدًى ٣٦Omuntu alowooza nti ayinza okulekwa neyeeyisa nga bwayagala أَلَمۡ يَكُ نُطۡفَةً مِّن مَّنِيٍّ يُمۡنَىٰ ٣٧Tajjukira nti yasooka kuba tondo lyamazzi agazaala agateekebwa mu nabaana ثُمَّ كَانَ عَلَقَةً فَخَلَقَ فَسَوَّىٰ ٣٨Oluvanyuma naafuuka ekisayisayi, olwo Katonda naamutonda namussaako byonna ebimufuula omuntu فَجَعَلَ مِنۡهُ ٱلزَّوۡجَيۡنِ ٱلذَّكَرَ وَٱلۡأُنثَىٰٓ ٣٩Nga bwatyo bwakola emitendera ebiri, omusajja n'omukazi أَلَيۡسَ ذَٰلِكَ بِقَٰدِرٍ عَلَىٰٓ أَن يُحۡـِۧيَ ٱلۡمَوۡتَىٰ ٤٠Abaffe oyo eyakola omuntu mu ngeri eyo tasobola kulamusa bafu

الترجمة: Fareeq Musa.