ملة الإسلام

السورة 72 · 28 آية · Fareeq Musa

سورة الجن باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة الجن (1,235 قارئاً)
مكيةسورة الجن٢٨ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

قُلۡ أُوحِيَ إِلَيَّ أَنَّهُ ٱسۡتَمَعَ نَفَرٌ مِّنَ ٱلۡجِنِّ فَقَالُوٓاْ إِنَّا سَمِعۡنَا قُرۡءَانًا عَجَبًا ١Bagambe ggwe Nabbi Muhammad nti nafuna obubaka nga waliwo amajinni agamu agaawuliriza nga nsoma Kur'ani negagamba nti mazima Kur'ani tugiwulidde nga yewuunyisa يَهۡدِيٓ إِلَى ٱلرُّشۡدِ فَـَٔامَنَّا بِهِۦۖ وَلَن نُّشۡرِكَ بِرَبِّنَآ أَحَدًا ٢Ekowoola oyo agiwuliriza okudda eri obulungamu era naffe tugikkirizza, era tetugenda kuddayo kugatta ku Katonda kintu kirala وَأَنَّهُۥ تَعَٰلَىٰ جَدُّ رَبِّنَا مَا ٱتَّخَذَ صَٰحِبَةً وَلَا وَلَدًا ٣Era mazima ekitiibwa kya Mukama Katonda waffe kisukkulumu, tayinza kuba nti yeteerawo mukyala wadde omwana وَأَنَّهُۥ كَانَ يَقُولُ سَفِيهُنَا عَلَى ٱللَّهِ شَطَطًا ٤Era mazima ddala ababuyabuya muffe baayogera nga ku Katonda ebigambo ebitemerere وَأَنَّا ظَنَنَّآ أَن لَّن تَقُولَ ٱلۡإِنسُ وَٱلۡجِنُّ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا ٥Era mazima ddala ffe twalowoozanga nti abantu na majjini baali tebayinza kwogera ku Katonda byabulimba وَأَنَّهُۥ كَانَ رِجَالٌ مِّنَ ٱلۡإِنسِ يَعُوذُونَ بِرِجَالٍ مِّنَ ٱلۡجِنِّ فَزَادُوهُمۡ رَهَقًا ٦Waliwo abantu abamu abaasabanga obuyambi okuva eri amajinni ekyagongera okuwaganyala وَأَنَّهُمۡ ظَنُّواْ كَمَا ظَنَنتُمۡ أَن لَّن يَبۡعَثَ ٱللَّهُ أَحَدًا ٧Era mazima ddala amajinni gaalowooza nga bwemwalowooza nti Katonda yali tagenda kutuma mubaka yenna وَأَنَّا لَمَسۡنَا ٱلسَّمَآءَ فَوَجَدۡنَٰهَا مُلِئَتۡ حَرَسًا شَدِيدًا وَشُهُبًا ٨Era mazima ffe tubadde tugezaako okugenda ku ggulu netulisanga nga lijjudde abakuumi abakambwe nebitawuliro وَأَنَّا كُنَّا نَقۡعُدُ مِنۡهَا مَقَٰعِدَ لِلسَّمۡعِۖ فَمَن يَسۡتَمِعِ ٱلۡأٓنَ يَجِدۡ لَهُۥ شِهَابًا رَّصَدًا ٩Era mazima ffe waliwo enfo zetwatulangamu netuwuliriza ebifaayo, naye kati agezaako okuwuliriza asanga ebitawuliro nga bimuteeze وَأَنَّا لَا نَدۡرِيٓ أَشَرٌّ أُرِيدَ بِمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ أَرَادَ بِهِمۡ رَبُّهُمۡ رَشَدًا ١٠Wabula tetumanyi mu kukola ekyo kwali kulumya bitonde ebiri ku nsi oba Mukama Katonda wabyo yabyagaliza bulungamu وَأَنَّا مِنَّا ٱلصَّٰلِحُونَ وَمِنَّا دُونَ ذَٰلِكَۖ كُنَّا طَرَآئِقَ قِدَدًا ١١Mazima nemuffe mulimu abalongoofu n'abatali era tuli ebibiina ebyenjawulo وَأَنَّا ظَنَنَّآ أَن لَّن نُّعۡجِزَ ٱللَّهَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَن نُّعۡجِزَهُۥ هَرَبًا ١٢Era ffe tuli bakakafu nti tetuyinza kulemesa Katonda ku nsi era nga bwetutayinza kumulemesa ne tumuddukako وَأَنَّا لَمَّا سَمِعۡنَا ٱلۡهُدَىٰٓ ءَامَنَّا بِهِۦۖ فَمَن يُؤۡمِنۢ بِرَبِّهِۦ فَلَا يَخَافُ بَخۡسًا وَلَا رَهَقًا ١٣Era mazima ddala bwe twawulira obulungamu twabukkiriza, nga ate oyo yenna akkiriza Mukama Katonda we tayinza kutya butasasulwa oba okunyigirizibwa وَأَنَّا مِنَّا ٱلۡمُسۡلِمُونَ وَمِنَّا ٱلۡقَٰسِطُونَۖ فَمَنۡ أَسۡلَمَ فَأُوْلَٰٓئِكَ تَحَرَّوۡاْ رَشَدًا ١٤Mazima ddala muffe mulimu abasiramu nga bwemulimu abaabula. Oyo yenna asiramuka, abo nno bebaba banoonya amazima mu bwegendereza وَأَمَّا ٱلۡقَٰسِطُونَ فَكَانُواْ لِجَهَنَّمَ حَطَبًا ١٥Wabula bo abaabula be bagenda okubeera enku z'omuliro Jahannama وَأَلَّوِ ٱسۡتَقَٰمُواْ عَلَى ٱلطَّرِيقَةِ لَأَسۡقَيۡنَٰهُم مَّآءً غَدَقًا ١٦Naye singa abantu banywerera ku kkubo ettuufu twalibawadde enkuba mu bungi لِّنَفۡتِنَهُمۡ فِيهِۚ وَمَن يُعۡرِضۡ عَن ذِكۡرِ رَبِّهِۦ يَسۡلُكۡهُ عَذَابًا صَعَدًا ١٧Tulyoke tubageseze ngeri ki gye be bazaamu e byengera, oyo yenna eyeesamba ebigambo bya Katondawe agenda kumubonereza n'ebibonerezo ebikambwe وَأَنَّ ٱلۡمَسَٰجِدَ لِلَّهِ فَلَا تَدۡعُواْ مَعَ ٱللَّهِ أَحَدًا ١٨Mazima ddala emizigiti gya kusinzizamu Katonda yekka, kale nno temugatta ku Katonda ekintu kyonna وَأَنَّهُۥ لَمَّا قَامَ عَبۡدُ ٱللَّهِ يَدۡعُوهُ كَادُواْ يَكُونُونَ عَلَيۡهِ لِبَدًا ١٩Era mazima ddala omuddu w'a Katonda (Nabbi Muhammad) bweyayimirira nga asaala amajinni gaasembera negamwetoloola kumpi kumwetuumako nga gali mu bibinja قُلۡ إِنَّمَآ أَدۡعُواْ رَبِّي وَلَآ أُشۡرِكُ بِهِۦٓ أَحَدًا ٢٠Bagambe (Gwe Nabbi Muhammad) nti mazima nze nsinza Katonda wange ate si mugattako kintu kirala kyonna قُلۡ إِنِّي لَآ أَمۡلِكُ لَكُمۡ ضَرًّا وَلَا رَشَدًا ٢١(Ggwe Nabbi Muhammad) bagambe nti tekiri mu mikono gyange okubaggyirawo obuzibu obuba bubatuuseeko nga bwe kitali mu busobozi bwange okubafunira obulungamu قُلۡ إِنِّي لَن يُجِيرَنِي مِنَ ٱللَّهِ أَحَدٌ وَلَنۡ أَجِدَ مِن دُونِهِۦ مُلۡتَحَدًا ٢٢Era bagambe nti mazima nze tewali muntu yenna ayinza kumponya bibonerezo bya Katonda singa mba mujeemedde. Era sisobola kufuna buddukiro nga si bwa Katonda إِلَّا بَلَٰغًا مِّنَ ٱللَّهِ وَرِسَٰلَٰتِهِۦۚ وَمَن يَعۡصِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَإِنَّ لَهُۥ نَارَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدًا ٢٣Nekiba nga ekisigadde kubatuusako bubaka obuva eri Katonda, naye abo bonna abajeemera Katonda n'omubakawe baakuyingira omuliro Jahannama, era nga b'akugubeeramu olubeerera حَتَّىٰٓ إِذَا رَأَوۡاْ مَا يُوعَدُونَ فَسَيَعۡلَمُونَ مَنۡ أَضۡعَفُ نَاصِرًا وَأَقَلُّ عَدَدًا ٢٤Okutuusizza ddala bwe balibanga balabye ebyo ebyabalagaanyisibwa olwo nno lwe bajja okukakasa nti ani alina omutaasa omunafu neggye ettono قُلۡ إِنۡ أَدۡرِيٓ أَقَرِيبٌ مَّا تُوعَدُونَ أَمۡ يَجۡعَلُ لَهُۥ رَبِّيٓ أَمَدًا ٢٥Bagambe ggwe Nabbi Muhammad nti mazima nze simanyi oba e bibonerezo bye mulaganyisibwa biri kumpi oba byakujja oluvanyuma lwebbanga eggwanvu عَٰلِمُ ٱلۡغَيۡبِ فَلَا يُظۡهِرُ عَلَىٰ غَيۡبِهِۦٓ أَحَدًا ٢٦Ye yekka, Katonda yaamanyi ebitamanyiddwa ng'ate talina yenna gwabikkulira e byamabye إِلَّا مَنِ ٱرۡتَضَىٰ مِن رَّسُولٍ فَإِنَّهُۥ يَسۡلُكُ مِنۢ بَيۡنِ يَدَيۡهِ وَمِنۡ خَلۡفِهِۦ رَصَدًا ٢٧Okugyako oyo gwaba alonze okubeera omubaka (kale nno oyo amubikkulira ebimu ku byamabye) era amuteerawo obukuumi bwa Malayika nga bamwetolodde, Sitani obutasobola kumutuukako لِّيَعۡلَمَ أَن قَدۡ أَبۡلَغُواْ رِسَٰلَٰتِ رَبِّهِمۡ وَأَحَاطَ بِمَا لَدَيۡهِمۡ وَأَحۡصَىٰ كُلَّ شَيۡءٍ عَدَدَۢا ٢٨Nabbi alyoke amanye nti mazima ba Nabbi baatuukiriza obubaka bwa Katonda waabwe (nga naye bwa butuukiriza) era bamanye nti Katonda amanyi ebyo byonna bye bakola nga era bwamanyi buli kintu kyonna

الترجمة: Fareeq Musa.