بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦٓ أَنۡ أَنذِرۡ قَوۡمَكَ مِن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ ١Mazima ffe twatuma Nuhu eri abantu be. Nti tiisa abantubo nga ebibonerezo abiruma ennyo tebinabajjira قَالَ يَٰقَوۡمِ إِنِّي لَكُمۡ نَذِيرٌ مُّبِينٌ ٢Naabagamba nti mazima nze ndi mutiisa omunnyonnyozi أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱتَّقُوهُ وَأَطِيعُونِ ٣Nti musinze Katonda era mu mutye nange mungondere يَغۡفِرۡ لَكُم مِّن ذُنُوبِكُمۡ وَيُؤَخِّرۡكُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٍ مُّسَمًّىۚ إِنَّ أَجَلَ ٱللَّهِ إِذَا جَآءَ لَا يُؤَخَّرُۚ لَوۡ كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ٤Olwo nno ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe (bye mwakola nga temunnaba kukkiriza mubaka era alyoke abawonye okuzikirira n'ebibonerezo ebibamalawo olumu). Abalindirize abatuuse ku ntuuko ze yabagerera. Mazima entuuko za Katonda bweziba zituuse tezirindirizibwa singa muba mumanyi قَالَ رَبِّ إِنِّي دَعَوۡتُ قَوۡمِي لَيۡلًا وَنَهَارًا ٥Awamu nekyo tebakkiriza", Nuhu naagamba nti ayi Katonda wange nkowodde abantu bange ekiro n'emisana فَلَمۡ يَزِدۡهُمۡ دُعَآءِيٓ إِلَّا فِرَارًا ٦Wabula okukowoola kwange tekubongedde okugyako okunnesamba وَإِنِّي كُلَّمَا دَعَوۡتُهُمۡ لِتَغۡفِرَ لَهُمۡ جَعَلُوٓاْ أَصَٰبِعَهُمۡ فِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَٱسۡتَغۡشَوۡاْ ثِيَابَهُمۡ وَأَصَرُّواْ وَٱسۡتَكۡبَرُواْ ٱسۡتِكۡبَارًا ٧Mazima buli lwembadde mbakowoola badde eri okusonyiwa kwo bassa ennwe zaabwe mu matu gaabwe, ne beebikka engoye zaabwe, ne bakalambira era ne beekuluntaza olw'ekuluntaza ثُمَّ إِنِّي دَعَوۡتُهُمۡ جِهَارًا ٨Ate era mazima mbakowodde mulwatu ثُمَّ إِنِّيٓ أَعۡلَنتُ لَهُمۡ وَأَسۡرَرۡتُ لَهُمۡ إِسۡرَارًا ٩Era njogedde nabo mu lujjudde nga bwenjogedde nabo kinnomu فَقُلۡتُ ٱسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّكُمۡ إِنَّهُۥ كَانَ غَفَّارًا ١٠Nembagamba nti mwegayirire Katonda wa mmwe anti mazima yye bulijjo musonyiyi يُرۡسِلِ ٱلسَّمَآءَ عَلَيۡكُم مِّدۡرَارًا ١١Olwonno ajja kubatonnyeseza enkuba ey'omuddiringanwa وَيُمۡدِدۡكُم بِأَمۡوَٰلٍ وَبَنِينَ وَيَجۡعَل لَّكُمۡ جَنَّٰتٍ وَيَجۡعَل لَّكُمۡ أَنۡهَٰرًا ١٢Era abawe mu bungi emmaali n'abaana abawe n'amasamba abateeremu n'emigga مَّا لَكُمۡ لَا تَرۡجُونَ لِلَّهِ وَقَارًا ١٣Naye lwaki Katonda temumuwa kitiibwa وَقَدۡ خَلَقَكُمۡ أَطۡوَارًا ١٤Sso nga yabatonda ngabayisa mumitendera egyenjawulo أَلَمۡ تَرَوۡاْ كَيۡفَ خَلَقَ ٱللَّهُ سَبۡعَ سَمَٰوَٰتٍ طِبَاقًا ١٥Abaffe temulaba engeri Katondawo gyeyakolamu eggulu omusanvu nga myaliiro وَجَعَلَ ٱلۡقَمَرَ فِيهِنَّ نُورًا وَجَعَلَ ٱلشَّمۡسَ سِرَاجًا ١٦Nassaamu omwezi nga kitangaala nga bweyassamu enjuba nga eyaka وَٱللَّهُ أَنۢبَتَكُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ نَبَاتًا ١٧Katonda yabatandika ng'abajja muttaka nemujja nga mukula nga ebimera bwe bikula ثُمَّ يُعِيدُكُمۡ فِيهَا وَيُخۡرِجُكُمۡ إِخۡرَاجًا ١٨Oluvanyuma abazza mu ttaka nga era bwagenda okubazuukiza alibagyemu bulambalamba (nga temuyise mu mitendera nga ebimera) وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ بِسَاطًا ١٩Era Katonda yabateerawo ensi nga esoboka okuwangalirwako لِّتَسۡلُكُواْ مِنۡهَا سُبُلًا فِجَاجًا ٢٠Mube nga musobola okutambulira muyo nga mukwata amakubo ge muba mwagadde قَالَ نُوحٌ رَّبِّ إِنَّهُمۡ عَصَوۡنِي وَٱتَّبَعُواْ مَن لَّمۡ يَزِدۡهُ مَالُهُۥ وَوَلَدُهُۥٓ إِلَّا خَسَارًا ٢١Nuhu kwekugamba nti, ayi mukama wange mazima ddala abantu abo banjemedde nebasalawo okugoberera oyo yenna emmaali ye n'abaana be bebitayongera okugyako okufafaganirwa وَمَكَرُواْ مَكۡرًا كُبَّارًا ٢٢Nebakola olukwe sinziggu (bwebagezaako okutta Nuhu) وَقَالُواْ لَا تَذَرُنَّ ءَالِهَتَكُمۡ وَلَا تَذَرُنَّ وَدًّا وَلَا سُوَاعًا وَلَا يَغُوثَ وَيَعُوقَ وَنَسۡرًا ٢٣Era nebagamba nti temugeza nemuva ku ba Katonda ba mmwe naddala Wadda ne Suwa'a ne Yagutha ne Yauka ne Nasira وَقَدۡ أَضَلُّواْ كَثِيرًاۖ وَلَا تَزِدِ ٱلظَّٰلِمِينَ إِلَّا ضَلَٰلًا ٢٤Olwekyo baabuza abantu bangi (Nange kyenva nkusaba nti) mukama Katonda abantu abeyisa obubi tobongera okugyako kubula مِّمَّا خَطِيٓـَٰٔتِهِمۡ أُغۡرِقُواْ فَأُدۡخِلُواْ نَارًا فَلَمۡ يَجِدُواْ لَهُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ أَنصَارًا ٢٥Olwobwonoonyi bwabwe baazikiziribwa nebayingizibwa omuliro baali tebayinza kufuna abataasa yenna وَقَالَ نُوحٌ رَّبِّ لَا تَذَرۡ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ دَيَّارًا ٢٦Ye Nuhu kwekugamba nti, ayi Katonda wange toleka kunsi mukafiiri yenna إِنَّكَ إِن تَذَرۡهُمۡ يُضِلُّواْ عِبَادَكَ وَلَا يَلِدُوٓاْ إِلَّا فَاجِرًا كَفَّارًا ٢٧Anti singa obalekawo bajja kubuza abaddu bo era buli gwebanazaala ajja kuba mwononefu omukafiiri رَّبِّ ٱغۡفِرۡ لِي وَلِوَٰلِدَيَّ وَلِمَن دَخَلَ بَيۡتِيَ مُؤۡمِنًا وَلِلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۖ وَلَا تَزِدِ ٱلظَّٰلِمِينَ إِلَّا تَبَارَۢا ٢٨Ayi Mukama Katonda wange nsonyiwa ne bakadde bange na buli yenna anaayingira mu nju yange kavuna anaaba nga mukkiriza, era nkusaba osonyiwe abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, wabula bo abeeyisa obubi tobongera okugyako okuzikirira