ملة الإسلام

السورة 62 · 11 آية · Fareeq Musa

سورة الجمعة باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة الجمعة (1,229 قارئاً)
مدنيةسورة الجمعة١١ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

يُسَبِّحُ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ ٱلۡمَلِكِ ٱلۡقُدُّوسِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ ١Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda omufuzi wa buli kintu, omutukuvu mu buli kimu, nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo هُوَ ٱلَّذِي بَعَثَ فِي ٱلۡأُمِّيِّـۧنَ رَسُولًا مِّنۡهُمۡ يَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِهِۦ وَيُزَكِّيهِمۡ وَيُعَلِّمُهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَإِن كَانُواْ مِن قَبۡلُ لَفِي ضَلَٰلٍ مُّبِينٍ ٢Yye yooyo eyatuma eri abo abataamanya kusoma na kuwandiika omubaka (Muhammad) nga ava mu bo ng'abasomera e bigambo bya Katonda era nga abatukuza (okubajja mu bukafiiri) era nga abayigiriza ekitabo (Kur'ani) n'ebiva mu Hadith so nga oluberyeberye (nga Nabbi tannatumwa) baali mu bubuze obw'olwatu وَءَاخَرِينَ مِنۡهُمۡ لَمَّا يَلۡحَقُواْ بِهِمۡۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ٣Era yamutuma n'eri abalala nga ba mu bo, naye nga balijja luvannyuma lwabwe (nabo be basiramu abalala bonna abakkiriza Nabbi Muhammad abataamulabako okutuusiza ddala ku lunaku lw'enkomerero) era yye Katonda, ye nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo ذَٰلِكَ فَضۡلُ ٱللَّهِ يُؤۡتِيهِ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ٤Ebyo bye birungi bya Katonda byawa oyo gwaba ayagadde. Mazima Katonda ye nannyini birungi ebisukkulumu مَثَلُ ٱلَّذِينَ حُمِّلُواْ ٱلتَّوۡرَىٰةَ ثُمَّ لَمۡ يَحۡمِلُوهَا كَمَثَلِ ٱلۡحِمَارِ يَحۡمِلُ أَسۡفَارَۢاۚ بِئۡسَ مَثَلُ ٱلۡقَوۡمِ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِۚ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّٰلِمِينَ ٥Ekifaananyi kyabo abaaweebwa Taurat ne batagikozesa, balinga endogoyi ey'etikka ebitabo (nga tesobola kwe gasa nabiri mu bitabo ebyo), kibi nnyo ekifaananyi ekyo, ekyabo abalimbisa ebigambo bya Katonda. Bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi قُلۡ يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ هَادُوٓاْ إِن زَعَمۡتُمۡ أَنَّكُمۡ أَوۡلِيَآءُ لِلَّهِ مِن دُونِ ٱلنَّاسِ فَتَمَنَّوُاْ ٱلۡمَوۡتَ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ٦Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abayudaaya bwe muba nga mweyita abaagalwa ba Katonda (mwe mwekka) so ssi abantu abalala, kale nno mwegombe okufa bwe muba nga muli ba mazima وَلَا يَتَمَنَّوۡنَهُۥٓ أَبَدَۢا بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيهِمۡۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِٱلظَّٰلِمِينَ ٧Tebagenda kwe gombera ddala kufa, olwebyo byebaakola. Bulijjo Katonda amanyi nnyo abeeyisa obubi قُلۡ إِنَّ ٱلۡمَوۡتَ ٱلَّذِي تَفِرُّونَ مِنۡهُ فَإِنَّهُۥ مُلَٰقِيكُمۡۖ ثُمَّ تُرَدُّونَ إِلَىٰ عَٰلِمِ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ فَيُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ٨Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima okwo okufa kwe mudduka kwakubatuukako, oluvanyuma muzzibwe eri omumanyi w'ebitalabikako n'ebirabika. Ate nno olwo alyoke abategeeze ebyo byonna bye mwali mukola يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا نُودِيَ لِلصَّلَوٰةِ مِن يَوۡمِ ٱلۡجُمُعَةِ فَٱسۡعَوۡاْ إِلَىٰ ذِكۡرِ ٱللَّهِ وَذَرُواْ ٱلۡبَيۡعَۚ ذَٰلِكُمۡ خَيۡرٌ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ٩Abange mmwe abakkiriza, bwe baaziinanga olw'esswala (ye jjuma) ku lunaku lwe jjuma, mwanguwenga okugenda eri okwogera ku Katonda, ate muyimirize emirimu. Ekyo kye kirungi gye muli singa mubadde mumanyi فَإِذَا قُضِيَتِ ٱلصَّلَوٰةُ فَٱنتَشِرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِ ٱللَّهِ وَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ كَثِيرًا لَّعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ١٠E sswala bweggwa, olwo nno mugende mu nsi munoonye ebigabwa bya Katonda, mwogere nnyo ku Katonda mulyoke mwesiime وَإِذَا رَأَوۡاْ تِجَٰرَةً أَوۡ لَهۡوًا ٱنفَضُّوٓاْ إِلَيۡهَا وَتَرَكُوكَ قَآئِمًاۚ قُلۡ مَا عِندَ ٱللَّهِ خَيۡرٌ مِّنَ ٱللَّهۡوِ وَمِنَ ٱلتِّجَٰرَةِۚ وَٱللَّهُ خَيۡرُ ٱلرَّٰزِقِينَ ١١Bwe balaba ebyo busuubuzi, oba ebya masanyu, banguwa okugenda gyebiri ne bakuleka nga oyimiridde. Bagambe nti ebya Katonda bye birungi okusinga ebya masanyu n'obusuubuzi, ate nga Katonda yaasinga abagabi bonna

الترجمة: Fareeq Musa.