ملة الإسلام

السورة 63 · 11 آية · Fareeq Musa

سورة المنافقون باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة المنافقون (1,210 قارئاً)
مدنيةسورة المنافقون١١ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

إِذَا جَآءَكَ ٱلۡمُنَٰفِقُونَ قَالُواْ نَشۡهَدُ إِنَّكَ لَرَسُولُ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ إِنَّكَ لَرَسُولُهُۥ وَٱللَّهُ يَشۡهَدُ إِنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ لَكَٰذِبُونَ ١Abannanfusi bwe bajja gyoli (Ggwe Nabbi Muhammad (ﷺ)) bagamba nti tukkiriza nti mazima ddala ggwe oli Mubaka wa Katonda. Ne Katonda akimanyidde ddala nti mazima gwe oli Mubakawe, ate era Katonda akakasa nti mazima abannanfusi balimba nnyo ٱتَّخَذُوٓاْ أَيۡمَٰنَهُمۡ جُنَّةً فَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۚ إِنَّهُمۡ سَآءَ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ٢Ekyo kulayira kwabwe (nti basiramu) bakifuula ekyokulwanyisa ekibawonya, olwonno ne balyoka baziyiza abantu okuyingira mu ddiini y'a Katonda. Mazima bibi nnyo ebyo bye baali bakola ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ ءَامَنُواْ ثُمَّ كَفَرُواْ فَطُبِعَ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ فَهُمۡ لَا يَفۡقَهُونَ ٣Ekyo kiri bwe bityo lwa kuba baalangirira obukkiriza n'ennimi za bwe, so nga munda bakafiiri. Olwo nno e mitima gyabwe negiteekebwako envumbo ne babeera nga tebategeera ۞ وَإِذَا رَأَيۡتَهُمۡ تُعۡجِبُكَ أَجۡسَامُهُمۡۖ وَإِن يَقُولُواْ تَسۡمَعۡ لِقَوۡلِهِمۡۖ كَأَنَّهُمۡ خُشُبٌ مُّسَنَّدَةٌۖ يَحۡسَبُونَ كُلَّ صَيۡحَةٍ عَلَيۡهِمۡۚ هُمُ ٱلۡعَدُوُّ فَٱحۡذَرۡهُمۡۚ قَٰتَلَهُمُ ٱللَّهُۖ أَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ ٤Bwo batunulako, e mibiri gyabwe gikusanyusa, bwe boogera toyinza butatwala kigambo kyabwe, balinga ebiti ebyesigamiziddwa ku kisenge nga tebiyinza kwetengerera, buli lwonna lwe bawulira akakuba bagamba nti bubakeeredde, abo be balabe, n'olwekyo beegendereze, Katonda yabakolimira, ggwe ate bandivudde batya ku mazima وَإِذَا قِيلَ لَهُمۡ تَعَالَوۡاْ يَسۡتَغۡفِرۡ لَكُمۡ رَسُولُ ٱللَّهِ لَوَّوۡاْ رُءُوسَهُمۡ وَرَأَيۡتَهُمۡ يَصُدُّونَ وَهُم مُّسۡتَكۡبِرُونَ ٥Singa baba bagambiddwa nti mujje eri omubaka wa Katonda abasabire e kisonyiwo, banyeenya e mitwe n'obalabira ddala nga bajeemye era nga beekuluntazza سَوَآءٌ عَلَيۡهِمۡ أَسۡتَغۡفَرۡتَ لَهُمۡ أَمۡ لَمۡ تَسۡتَغۡفِرۡ لَهُمۡ لَن يَغۡفِرَ ٱللَّهُ لَهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡفَٰسِقِينَ ٦Okubasabira e kisonyiwo n'obutabasabira byonna bifaanana, Katonda tagenda kubasonyiwa, anti Katonda talungamya bantu boononyi هُمُ ٱلَّذِينَ يَقُولُونَ لَا تُنفِقُواْ عَلَىٰ مَنۡ عِندَ رَسُولِ ٱللَّهِ حَتَّىٰ يَنفَضُّواْۗ وَلِلَّهِ خَزَآئِنُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَٰكِنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ لَا يَفۡقَهُونَ ٧Be bamu be bo abagamba nti temuwaayo kintu kyonna eri abo abali awamu n'omubaka wa Katonda okutuusa lwe banamwabulira. So nga amawanika g'omuggulu n'ensi gonna ga Katonda. Naye mazima abananfusi tebategeera يَقُولُونَ لَئِن رَّجَعۡنَآ إِلَى ٱلۡمَدِينَةِ لَيُخۡرِجَنَّ ٱلۡأَعَزُّ مِنۡهَا ٱلۡأَذَلَّۚ وَلِلَّهِ ٱلۡعِزَّةُ وَلِرَسُولِهِۦ وَلِلۡمُؤۡمِنِينَ وَلَٰكِنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ لَا يَعۡلَمُونَ ٨Baatuuka n'okugamba nti bwe tunadda e Madinah (okuva mu lutalo lwa ba Bani Al Mus-twalik) abasinga okuba ab'ekitiibwa bajja kugoba mu (Madinah) abanyoomebwa. So nga e kitiibwa n'obuwanguzi bya Katonda n'omubakawe n'abakkiriza naye mazima abananfusi tebamanyi يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تُلۡهِكُمۡ أَمۡوَٰلُكُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُكُمۡ عَن ذِكۡرِ ٱللَّهِۚ وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ ٩Abange mmwe abakkiriza, ebyo bugagga byamwe n'abaana bamwe tebibawugulanga ne bibajja ku kwogera ku Katonda, oyo yenna akikola, abo nno be bokufaafaaganirwa وَأَنفِقُواْ مِن مَّا رَزَقۡنَٰكُم مِّن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَ أَحَدَكُمُ ٱلۡمَوۡتُ فَيَقُولَ رَبِّ لَوۡلَآ أَخَّرۡتَنِيٓ إِلَىٰٓ أَجَلٍ قَرِيبٍ فَأَصَّدَّقَ وَأَكُن مِّنَ ٱلصَّٰلِحِينَ ١٠Era mugabe kwe byo bye twabawa walumbe nga tannatuuka ku omu ku mmwe, naatuuka okulaajana nga agamba nti, ayi mukama omulezi wange singa ondeseewo akabanga ne nsadaakako era ne mbeera mu balongoofu وَلَن يُؤَخِّرَ ٱللَّهُ نَفۡسًا إِذَا جَآءَ أَجَلُهَاۚ وَٱللَّهُ خَبِيرُۢ بِمَا تَعۡمَلُونَ ١١Sso nga Katonda tagenda kulindiriza mwoyo gwonna entuuko yaagwo bweriba nga etuuse, Katonda bulijjo muyitirivu w'akumanya ebyo byonna bye mukola

الترجمة: Fareeq Musa.