ملة الإسلام

السورة 54 · 55 آية · Fareeq Musa

سورة القمر باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة القمر (1,232 قارئاً)
مكيةسورة القمر٥٥ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

ٱقۡتَرَبَتِ ٱلسَّاعَةُ وَٱنشَقَّ ٱلۡقَمَرُ ١Enkomerero esembedde n'omwezi ne gubejjukamu وَإِن يَرَوۡاْ ءَايَةً يُعۡرِضُواْ وَيَقُولُواْ سِحۡرٌ مُّسۡتَمِرٌّ ٢Bwe balaba ekya magero bakyawukanamu ne bagamba nti lino ddogo eritakoma وَكَذَّبُواْ وَٱتَّبَعُوٓاْ أَهۡوَآءَهُمۡۚ وَكُلُّ أَمۡرٍ مُّسۡتَقِرٌّ ٣Olwo nno ne balimbisa era ne bagoberera okwagala kwabwe, so nga buli kigambo kirina engeri gye kirina okubaamu (nungi oba mbi) وَلَقَدۡ جَآءَهُم مِّنَ ٱلۡأَنۢبَآءِ مَا فِيهِ مُزۡدَجَرٌ ٤Ate nga ddala gaabatuukako amawulire ago agaalimu okukanga (okwandibamaze ne batya Katonda) حِكۡمَةُۢ بَٰلِغَةٌۖ فَمَا تُغۡنِ ٱلنُّذُرُ ٥(Kur’ani eno) ejjudde amagezi etuukira ddala wala omuntu, (ekyekitalo) okutiisa kwokka tekumala (kwetagisaako okulungamya kwa Katonda) فَتَوَلَّ عَنۡهُمۡۘ يَوۡمَ يَدۡعُ ٱلدَّاعِ إِلَىٰ شَيۡءٍ نُّكُرٍ ٦Kale baveeko (olindirire) olunaku omukowooze lwalikowoola (abantu) kugenda eri ekintu ekitayagalwa خُشَّعًا أَبۡصَٰرُهُمۡ يَخۡرُجُونَ مِنَ ٱلۡأَجۡدَاثِ كَأَنَّهُمۡ جَرَادٌ مُّنتَشِرٌ ٧Amaaso gaabwe nga gatunudde wansi, baliva mu kabburi nga balinga ensenene ezisasaanye مُّهۡطِعِينَ إِلَى ٱلدَّاعِۖ يَقُولُ ٱلۡكَٰفِرُونَ هَٰذَا يَوۡمٌ عَسِرٌ ٨Balisaayirira okugenda eri omukowooze nga abakafiiri bwe bagamba nti, luno lunaku luzito ۞ كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٍ فَكَذَّبُواْ عَبۡدَنَا وَقَالُواْ مَجۡنُونٌ وَٱزۡدُجِرَ ٩Oluberyeberye lwabwe, abantu ba Nuhu balimbisa, olwo nno nebalimbisa omuddu waffe ne bagamba mbu muguwaddalu ate naatiisibwatiisibwa فَدَعَا رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَغۡلُوبٌ فَٱنتَصِرۡ ١٠Kyeyava asaba Mukama omulabirizi we nti mazima nze nemerdeddwa n’olwekyo nziruukirira فَفَتَحۡنَآ أَبۡوَٰبَ ٱلسَّمَآءِ بِمَآءٍ مُّنۡهَمِرٍ ١١Olwo nno netuggulawo emiryango gya waggulu ne tumuwa amazzi agafukumuka وَفَجَّرۡنَا ٱلۡأَرۡضَ عُيُونًا فَٱلۡتَقَى ٱلۡمَآءُ عَلَىٰٓ أَمۡرٍ قَدۡ قُدِرَ ١٢Era ettaka netulifukumulamu ensulo amazzi (ag’emirundi ebiri) ne gasisinkana okusinziira ku kiragiro ekyagerwa edda وَحَمَلۡنَٰهُ عَلَىٰ ذَاتِ أَلۡوَٰحٍ وَدُسُرٍ ١٣Netumusitulira na bonna abali naye mu lyato eryakolwa mu mbawo ne misumaali تَجۡرِي بِأَعۡيُنِنَا جَزَآءً لِّمَن كَانَ كُفِرَ ١٤Nga liddukira (ku mazzi ago) ku lwa buyinza bwaffe, ekyo nga kusasula eri oyo eyali awakanyizibwa وَلَقَد تَّرَكۡنَٰهَآ ءَايَةً فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٍ ١٥Mazima (ekyafaayo ekyo) twakireka nga kya kuyiga, abaffe waliwo eyeebuliridde فَكَيۡفَ كَانَ عَذَابِي وَنُذُرِ ١٦(Nebalaba nti) ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya وَلَقَدۡ يَسَّرۡنَا ٱلۡقُرۡءَانَ لِلذِّكۡرِ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٍ ١٧Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde كَذَّبَتۡ عَادٌ فَكَيۡفَ كَانَ عَذَابِي وَنُذُرِ ١٨Abeekika kya Aadi baalimbisa naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ رِيحًا صَرۡصَرًا فِي يَوۡمِ نَحۡسٍ مُّسۡتَمِرٍّ ١٩Mazima ffe twabasindikira kikungunta omukambwe, mu lunaku olwe kikwa ekitaasalako olunaku lwonna تَنزِعُ ٱلنَّاسَ كَأَنَّهُمۡ أَعۡجَازُ نَخۡلٍ مُّنقَعِرٍ ٢٠Eyasikulanga abantu (okuva ku ttaka) nga bagwa nga ebikonge by'emitende ebisiguddwa فَكَيۡفَ كَانَ عَذَابِي وَنُذُرِ ٢١Naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya وَلَقَدۡ يَسَّرۡنَا ٱلۡقُرۡءَانَ لِلذِّكۡرِ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٍ ٢٢Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde كَذَّبَتۡ ثَمُودُ بِٱلنُّذُرِ ٢٣Abeekika kya Thamud baalimbisa okutiisa kwa (Nabbi waabwe Swaleh) فَقَالُوٓاْ أَبَشَرًا مِّنَّا وَٰحِدًا نَّتَّبِعُهُۥٓ إِنَّآ إِذًا لَّفِي ضَلَٰلٍ وَسُعُرٍ ٢٤Olwo nno ne bagamba nti abaffe omuntu obuntu omu mu ffe, gwetuba tugoberera (netumala tukikola) olwo nno mazima ffe tujja kuba mu bubuze na bugwi bwa ddalu أَءُلۡقِيَ ٱلذِّكۡرُ عَلَيۡهِ مِنۢ بَيۡنِنَا بَلۡ هُوَ كَذَّابٌ أَشِرٌ ٢٥Mu ffe fenna ye yaweereddwa obubaka! Nedda ssi bwekiri yye mulimba alina kyalubirira سَيَعۡلَمُونَ غَدًا مَّنِ ٱلۡكَذَّابُ ٱلۡأَشِرُ ٢٦Enkya bajja kumanya ani mulimba omwerazi إِنَّا مُرۡسِلُواْ ٱلنَّاقَةِ فِتۡنَةً لَّهُمۡ فَٱرۡتَقِبۡهُمۡ وَٱصۡطَبِرۡ ٢٧(Anti) mazima ffe tujja kuweereza engamiya nga kikemo gye bali, olwo nno batunuulire nkaliriza era ogumikirize (ku nneeyisa yaabwe embi) وَنَبِّئۡهُمۡ أَنَّ ٱلۡمَآءَ قِسۡمَةُۢ بَيۡنَهُمۡۖ كُلُّ شِرۡبٍ مُّحۡتَضَرٌ ٢٨Era bategeeze nti (okuva engamiya lwezze) ddala amazzi ga kugabanyizibwa wakati waabwe nayo, nga buli luwalo lutuukirizibwa, (nyinirwo yaalina okufuna amazzi keebe ngamiya oba bantu) فَنَادَوۡاْ صَاحِبَهُمۡ فَتَعَاطَىٰ فَعَقَرَ ٢٩Olwo nno baakowoola mu nnaabwe neyeesowolayo naafumita (engamiya) فَكَيۡفَ كَانَ عَذَابِي وَنُذُرِ ٣٠Naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ صَيۡحَةً وَٰحِدَةً فَكَانُواْ كَهَشِيمِ ٱلۡمُحۡتَظِرِ ٣١(Anti) mazima twabasindikira olubwatuka lumu, olwo nno ne baba nga ebisubi ebigwa okuva ku lugo (lwo muntu agenderera okukuuma ebisolo bye) وَلَقَدۡ يَسَّرۡنَا ٱلۡقُرۡءَانَ لِلذِّكۡرِ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٍ ٣٢Mazima Kur’ani twagifuula nyangu, ebeere nga ebuulirira abaffe waliyo eyebuuliridde كَذَّبَتۡ قَوۡمُ لُوطِۭ بِٱلنُّذُرِ ٣٣Abantu ba Luutu baalimbisa obubaka إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ حَاصِبًا إِلَّآ ءَالَ لُوطٍۖ نَّجَّيۡنَٰهُم بِسَحَرٍ ٣٤Mazima ffe twabasindikira kibuyaga owa mayinja (eyabasanyaawo bonna) okugyako abantu b’o mu maka ga Luutu, twabawonya mu ttumbi نِّعۡمَةً مِّنۡ عِندِنَاۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي مَن شَكَرَ ٣٥Ekyo kyengera okuva gye tuli bwe tutyo nno, bwe tusasula oyo eyeebaza وَلَقَدۡ أَنذَرَهُم بَطۡشَتَنَا فَتَمَارَوۡاْ بِٱلنُّذُرِ ٣٦Mazima (Luutu) yabeekesa okukwata kwaffe wabula nebabuusabuusa okulabula (kwe) وَلَقَدۡ رَٰوَدُوهُ عَن ضَيۡفِهِۦ فَطَمَسۡنَآ أَعۡيُنَهُمۡ فَذُوقُواْ عَذَابِي وَنُذُرِ ٣٧Mazima baagezaako okumusendasenda abawe abagenyi be (babasiyage) olwo nno netuziba amaaso gaabwe, ne bakomba ku bibonerezo byange n'okulabula kwange وَلَقَدۡ صَبَّحَهُم بُكۡرَةً عَذَابٌ مُّسۡتَقِرٌّ ٣٨Era mazima ebibonerezo ebitasalako bya bazinda mu matulutulu فَذُوقُواْ عَذَابِي وَنُذُرِ ٣٩Olwo nno nebakomba ku bibonerezo byange n’okulabula kwange وَلَقَدۡ يَسَّرۡنَا ٱلۡقُرۡءَانَ لِلذِّكۡرِ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٍ ٤٠Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuuririra abaffe waliyo eyebuuliridde وَلَقَدۡ جَآءَ ءَالَ فِرۡعَوۡنَ ٱلنُّذُرُ ٤١Mazima okulabula kwajjira abantu ba Firawo كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا كُلِّهَا فَأَخَذۡنَٰهُمۡ أَخۡذَ عَزِيزٍ مُّقۡتَدِرٍ ٤٢Baalimbisa ebigambo byaffe byonna, olwo nno netubakwata enkwata ya Nantakubwa ku mukono, nannyini buyinza أَكُفَّارُكُمۡ خَيۡرٌ مِّنۡ أُوْلَٰٓئِكُمۡ أَمۡ لَكُم بَرَآءَةٌ فِي ٱلزُّبُرِ ٤٣Abakafiiri ba mmwe be balungi okusinga abo! oba (ekibayinula) mulina akalagaane ku butavunaanwa nga kawandiikibwa mu bitabo ebitukuvu ebyasooka أَمۡ يَقُولُونَ نَحۡنُ جَمِيعٌ مُّنتَصِرٌ ٤٤Oba (ekibayinula lwakuba) bagamba nti ffe tuli bangi nga twegasse tusobola okwetaasa سَيُهۡزَمُ ٱلۡجَمۡعُ وَيُوَلُّونَ ٱلدُّبُرَ ٤٥(Zibasanze) ekibiina (ekyo) kijja kuwangulwa era bakubeyo amabega (badduke) بَلِ ٱلسَّاعَةُ مَوۡعِدُهُمۡ وَٱلسَّاعَةُ أَدۡهَىٰ وَأَمَرُّ ٤٦(Byonna bye baliko temuli) wabula olunaku lw’enkomerero ye ndagaano yaabwe era olunaku lw’enkomerero lwelusinga obukalubo n’obukaawu إِنَّ ٱلۡمُجۡرِمِينَ فِي ضَلَٰلٍ وَسُعُرٍ ٤٧Mazima abonoonyi bali mu bubuze na bugwi bwa ddalu يَوۡمَ يُسۡحَبُونَ فِي ٱلنَّارِ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ ذُوقُواْ مَسَّ سَقَرَ ٤٨(Bandibadde bajjukira) olunaku lwe baliwalulwa ku byenyi byabwe mu muliro (nga bwe bagambibwa nti) mukombe ku bulumi bw’omuliro Sakara إِنَّا كُلَّ شَيۡءٍ خَلَقۡنَٰهُ بِقَدَرٍ ٤٩Mazima ffe buli kintu twakitonda mu ngeri nga bwe kisaana okuba وَمَآ أَمۡرُنَآ إِلَّا وَٰحِدَةٌ كَلَمۡحِۭ بِٱلۡبَصَرِ ٥٠(Ate mu kukola ebintu byonna) ekiragiro kyaffe tekiri okugyako kimu nga kiringa lutemya lwa liiso وَلَقَدۡ أَهۡلَكۡنَآ أَشۡيَاعَكُمۡ فَهَلۡ مِن مُّدَّكِرٍ ٥١Era ddala twazikiriza abafaanana nga mmwe, abaffe waliyo eyebuuliridde وَكُلُّ شَيۡءٍ فَعَلُوهُ فِي ٱلزُّبُرِ ٥٢Na buli kintu kyonna kye baakola kiri mu kitabo وَكُلُّ صَغِيرٍ وَكَبِيرٍ مُّسۡتَطَرٌ ٥٣Era buli kitono n'ekinene kyawandiikibwa إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي جَنَّٰتٍ وَنَهَرٍ ٥٤Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n’emigga (egiriba gikulukutira wansi waazo) فِي مَقۡعَدِ صِدۡقٍ عِندَ مَلِيكٍ مُّقۡتَدِرِۭ ٥٥Mu kifo ekya mazima ew’omufuzi nannyini buyinza

الترجمة: Fareeq Musa.