ملة الإسلام

السورة 55 · 78 آية · Fareeq Musa

سورة الرحمن باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة الرحمن (1,425 قارئاً)
مدنيةسورة الرحمن٧٨ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

ٱلرَّحۡمَٰنُ ١(Katonda) omusaasizi ennyo عَلَّمَ ٱلۡقُرۡءَانَ ٢Yayigiriza (omuntu) Kur’ani خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ ٣Yatonda omuntu عَلَّمَهُ ٱلۡبَيَانَ ٤Yamuyizigiriza okunnyonnyola ٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ بِحُسۡبَانٍ ٥Enjuba n’omwezi bitambulira ku nteekateeka (eyabiweebwa) وَٱلنَّجۡمُ وَٱلشَّجَرُ يَسۡجُدَانِ ٦Ebiddo n’emiti (bivunnama nga bisinza Katonda) وَٱلسَّمَآءَ رَفَعَهَا وَوَضَعَ ٱلۡمِيزَانَ ٧Era eggulu yalisitula era nassaawo obwenkanya أَلَّا تَطۡغَوۡاْ فِي ٱلۡمِيزَانِ ٨Mube nga temusukka ebipimo (mu kutuukiriza obwenkanya) وَأَقِيمُواْ ٱلۡوَزۡنَ بِٱلۡقِسۡطِ وَلَا تُخۡسِرُواْ ٱلۡمِيزَانَ ٩Era muyirizeewo ebipimo mu bwenkanya era temukendezanga minzane وَٱلۡأَرۡضَ وَضَعَهَا لِلۡأَنَامِ ١٠N'ensi yagiteerawo ebitonde فِيهَا فَٰكِهَةٌ وَٱلنَّخۡلُ ذَاتُ ٱلۡأَكۡمَامِ ١١Nga erimu ebibalo n’emitende egirina ebirimba وَٱلۡحَبُّ ذُو ٱلۡعَصۡفِ وَٱلرَّيۡحَانُ ١٢N'ebimera ebye mpeke eziri mu bikuta n’ebimera ebya kawoowo فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ١٣Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِن صَلۡصَٰلٍ كَٱلۡفَخَّارِ ١٤Yatonda omuntu mu bumba eggumu eriringa ejjokye وَخَلَقَ ٱلۡجَآنَّ مِن مَّارِجٍ مِّن نَّارٍ ١٥Ate naatonda amajinni mu bitawuliro by’omuliro فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ١٦Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) رَبُّ ٱلۡمَشۡرِقَيۡنِ وَرَبُّ ٱلۡمَغۡرِبَيۡنِ ١٧Mukama omulabirizi w’o buvanjuba bwombi, era Mukama omulabirizi w'obugwanjuba bwombi فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ١٨Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) مَرَجَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ يَلۡتَقِيَانِ ١٩Yagatta enyanja ebbiri (ez’amazzi agenjawulo aganyweka na gatanyweka) zesisinkana بَيۡنَهُمَا بَرۡزَخٌ لَّا يَبۡغِيَانِ ٢٠Wakati wa zombi waliwo ekyawula, tezigenda kwetabula فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٢١Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) يَخۡرُجُ مِنۡهُمَا ٱللُّؤۡلُؤُ وَٱلۡمَرۡجَانُ ٢٢Ate nga mu zombi mwe muva Luulu ne Marijaani (amayinja ag’omuwendo) فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٢٣Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) وَلَهُ ٱلۡجَوَارِ ٱلۡمُنشَـَٔاتُ فِي ٱلۡبَحۡرِ كَٱلۡأَعۡلَٰمِ ٢٤Era gatambula ku lwo buyinza bwe amaato agakolwa ku lwo kutambulira ku nyanja nga galinga ensozi فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٢٥Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) كُلُّ مَنۡ عَلَيۡهَا فَانٍ ٢٦Buli kyonna ekigiriko (ensi) kya kuggwawo وَيَبۡقَىٰ وَجۡهُ رَبِّكَ ذُو ٱلۡجَلَٰلِ وَٱلۡإِكۡرَامِ ٢٧Olwo nno wasigalewo obwennyini bwa Mukama omulabirizi wo, nannyini kugulumizibwa era nannyini kitiibwa فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٢٨Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) يَسۡـَٔلُهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ كُلَّ يَوۡمٍ هُوَ فِي شَأۡنٍ ٢٩Bimusaba ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi (naye nga) buli lunaku aba ku ngeri ndala (mu kugera kwe) فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٣٠Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) سَنَفۡرُغُ لَكُمۡ أَيُّهَ ٱلثَّقَلَانِ ٣١Tujja kubateerawo ekiseera abange mmwe ebitonde ebizito ebibiri (amajinni n’abantu, ekiseera ekyo mwe tulibalira buli omu) فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٣٢Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ إِنِ ٱسۡتَطَعۡتُمۡ أَن تَنفُذُواْ مِنۡ أَقۡطَارِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ فَٱنفُذُواْۚ لَا تَنفُذُونَ إِلَّا بِسُلۡطَٰنٍ ٣٣Abange mmwe ab'oluse lwa majinni n’oluse lwa bantu, bwe muba musobola okuyita mu bitundu bye ggulu omusanvu n'ensi (mube nga mudduka ku Katonda) kale muyitemu (naye) temuyinza kuyitamu okugyako nga mulina obusobozi فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٣٤Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) يُرۡسَلُ عَلَيۡكُمَا شُوَاظٌ مِّن نَّارٍ وَنُحَاسٌ فَلَا تَنتَصِرَانِ ٣٥Musindikirwa mwe ab'emirundi ebiri (amajinni n’abantu) ebitawuliro byomuliro, n’ekikomo ekisaanuuse (naye temusobola kwetaasa) فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٣٦Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) فَإِذَا ٱنشَقَّتِ ٱلسَّمَآءُ فَكَانَتۡ وَرۡدَةً كَٱلدِّهَانِ ٣٧Olwo nno eggulu bwe liribajjuka nerirabika nga ekimuli ekimyufu (olwamaanyi g’omuliro) neriba nga omuzigo omusanuuse فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٣٨Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) فَيَوۡمَئِذٍ لَّا يُسۡـَٔلُ عَن ذَنۢبِهِۦٓ إِنسٌ وَلَا جَآنٌّ ٣٩Ku lunaku olwo ekibi omuntu (kye yakola) tekigenda kubuuzibwa muntu mulala oba ejinni فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٤٠Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) يُعۡرَفُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ بِسِيمَٰهُمۡ فَيُؤۡخَذُ بِٱلنَّوَٰصِي وَٱلۡأَقۡدَامِ ٤١Abonoonyi balimanyibwa olwobubonero bwabwe, olwo nno nebakwatibwa ku nviiri z’o mu buwompo n’ebigere (nebamenyebwamu nebakasukwa mu muliro) فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٤٢Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) هَٰذِهِۦ جَهَنَّمُ ٱلَّتِي يُكَذِّبُ بِهَا ٱلۡمُجۡرِمُونَ ٤٣Baligamba nti guno gwe muliro Jahannama abonoonyi gwe baali balimbisa يَطُوفُونَ بَيۡنَهَا وَبَيۡنَ حَمِيمٍ ءَانٍ ٤٤Bagenda kwetoloolera wakati waagwo ne wakati w'olwegye oluyitirivu lwokwokya فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٤٥Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) وَلِمَنۡ خَافَ مَقَامَ رَبِّهِۦ جَنَّتَانِ ٤٦Era oyo eyatya okuyimirira mu kifo kya Mukama omulabirizi we alina e jjana bbiri فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٤٧Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) ذَوَاتَآ أَفۡنَانٍ ٤٨Ezirimu amatabi agalanda فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٤٩Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) فِيهِمَا عَيۡنَانِ تَجۡرِيَانِ ٥٠Mu zombi (e jjana) mulimu ensulo bbiri ezikulukuta فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٥١Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) فِيهِمَا مِن كُلِّ فَٰكِهَةٍ زَوۡجَانِ ٥٢Mu zombi mulimu ku buli kika kya kibala emitindo ebiri ebiri فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٥٣Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) مُتَّكِـِٔينَ عَلَىٰ فُرُشِۭ بَطَآئِنُهَا مِنۡ إِسۡتَبۡرَقٍۚ وَجَنَى ٱلۡجَنَّتَيۡنِ دَانٍ ٥٤(Abalibeeramu) baliba bagalamidde ku byaliiro, nga munda mwabyo mulimu Liiri omuzito, nga ne nimiro za jjana zombi ebibala byamwo bireebeeta (byangu bya kulaba era byangu bya kunoga) فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٥٥Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) فِيهِنَّ قَٰصِرَٰتُ ٱلطَّرۡفِ لَمۡ يَطۡمِثۡهُنَّ إِنسٌ قَبۡلَهُمۡ وَلَا جَآنٌّ ٥٦Mu zo (e jjana) mulimu abakyala abamaaso amakkakkamu (embeerera) nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe (abo abaliba babaweereddwa mu jjana) فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٥٧Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) كَأَنَّهُنَّ ٱلۡيَاقُوتُ وَٱلۡمَرۡجَانُ ٥٨(Olwo bulungi bwabwe) baliba nga Yaakut ne Marijaan (amayinja ag’omuwendo) فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٥٩Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) هَلۡ جَزَآءُ ٱلۡإِحۡسَٰنِ إِلَّا ٱلۡإِحۡسَٰنُ ٦٠Abaffe empera y’okukola obulungi (eyinza okuba ekintu ekirala kyonna) okugyako okusasulwa obulungi فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٦١Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) وَمِن دُونِهِمَا جَنَّتَانِ ٦٢Nga oggyeko ezo ebbiri baakufuna ate e jjana endala bbiri فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٦٣Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) مُدۡهَآمَّتَانِ ٦٤Eza kiragala omukwafu فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٦٥Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) فِيهِمَا عَيۡنَانِ نَضَّاخَتَانِ ٦٦Mu zombi mulimu ensulo bbiri ezifukumuka amazzi فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٦٧Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) فِيهِمَا فَٰكِهَةٌ وَنَخۡلٌ وَرُمَّانٌ ٦٨Mu zombi mulimu ebibala n’emitende ne nkoma mawanga فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٦٩Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) فِيهِنَّ خَيۡرَٰتٌ حِسَانٌ ٧٠Muzonna awamu zirimu abakyala abalungi be mpisa era abalungi mu ndabika فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٧١Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) حُورٌ مَّقۡصُورَٰتٌ فِي ٱلۡخِيَامِ ٧٢Ba nalulungi abatafulumafuluma mu weema فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٧٣Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) لَمۡ يَطۡمِثۡهُنَّ إِنسٌ قَبۡلَهُمۡ وَلَا جَآنٌّ ٧٤Nga tebakwatwangako muntu yenna wadde ejinni oluberyeberye lwabwe, (abo abaliba babaweereddwa mu jjana) فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٧٥Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) مُتَّكِـِٔينَ عَلَىٰ رَفۡرَفٍ خُضۡرٍ وَعَبۡقَرِيٍّ حِسَانٍ ٧٦Baliba besigamye ku mitto egiriko ebibikka ebya kiragala ne byaliiro ebirungi ennyo فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ٧٧Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni) تَبَٰرَكَ ٱسۡمُ رَبِّكَ ذِي ٱلۡجَلَٰلِ وَٱلۡإِكۡرَامِ ٧٨Sukkulumu erinnya lya Mukama omulabirizi wo nannyini kugulumizibwa n’okuweebwa ekitiibwa

الترجمة: Fareeq Musa.