ملة الإسلام

السورة 56 · 96 آية · Fareeq Musa

سورة الواقعة باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة الواقعة (1,362 قارئاً)
مكيةسورة الواقعة٩٦ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

إِذَا وَقَعَتِ ٱلۡوَاقِعَةُ ١Ekiseera ekitaliimu kubuusabuusa bwe kirituuka لَيۡسَ لِوَقۡعَتِهَا كَاذِبَةٌ ٢Okutuuka kwakyo tekuliimu kubuusabuusa خَافِضَةٌ رَّافِعَةٌ ٣Kirikakkanya (abeeyisa obubi era) kirisitula (abeeyisa obulungi) إِذَا رُجَّتِ ٱلۡأَرۡضُ رَجًّا ٤Ensi bwe rikankanyizibwa olukankana وَبُسَّتِ ٱلۡجِبَالُ بَسًّا ٥N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa فَكَانَتۡ هَبَآءً مُّنۢبَثًّا ٦Olwo nno nezifuuka enfuufu efumuuka وَكُنتُمۡ أَزۡوَٰجًا ثَلَٰثَةً ٧Era mmwe nemuba emitendera esatu فَأَصۡحَٰبُ ٱلۡمَيۡمَنَةِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡمَيۡمَنَةِ ٨Olwo nno newabaawo ogwa ba nannyini mukono ogwa ddyo, yye omanyi okubeera ku mukono ogwaddyo kye kitegeeza وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡمَشۡـَٔمَةِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡمَشۡـَٔمَةِ ٩Era newabaawo n’ogwa ba nannyini mukono ogwa kkono, yye omanyi okubeera ku mukono ogwa kkono kye kitegeeza وَٱلسَّٰبِقُونَ ٱلسَّٰبِقُونَ ١٠Newabaawo n’ogwabo abaakulembera, abalikulembera mu buli kimu أُوْلَٰٓئِكَ ٱلۡمُقَرَّبُونَ ١١Abo be bo kusembezebwa (ewa Katonda) فِي جَنَّٰتِ ٱلنَّعِيمِ ١٢Nga bali mu jjana ez'ebyengera ثُلَّةٌ مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ ١٣Bangi mu bibiina ebyasooka وَقَلِيلٌ مِّنَ ٱلۡأٓخِرِينَ ١٤Nabatono mu kibiina kya bantu abenkomerero (abekibiina kya Nabbi Muhammad) عَلَىٰ سُرُرٍ مَّوۡضُونَةٍ ١٥(Balibeera) ku bitanda ebyakolebwa mu zzaabu n'amayinja amalala agomuwendo مُّتَّكِـِٔينَ عَلَيۡهَا مُتَقَٰبِلِينَ ١٦Baliba bagalamidde ku byo nga boolekaganye (nga banyumya) يَطُوفُ عَلَيۡهِمۡ وِلۡدَٰنٌ مُّخَلَّدُونَ ١٧Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu بِأَكۡوَابٍ وَأَبَارِيقَ وَكَأۡسٍ مِّن مَّعِينٍ ١٨Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo لَّا يُصَدَّعُونَ عَنۡهَا وَلَا يُنزِفُونَ ١٩Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira وَفَٰكِهَةٍ مِّمَّا يَتَخَيَّرُونَ ٢٠N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo وَلَحۡمِ طَيۡرٍ مِّمَّا يَشۡتَهُونَ ٢١Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala وَحُورٌ عِينٌ ٢٢N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana كَأَمۡثَٰلِ ٱللُّؤۡلُوِٕ ٱلۡمَكۡنُونِ ٢٣Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri جَزَآءَۢ بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ٢٤(Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi) لَا يَسۡمَعُونَ فِيهَا لَغۡوًا وَلَا تَأۡثِيمًا ٢٥Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza إِلَّا قِيلًا سَلَٰمًا سَلَٰمًا ٢٦Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ ٢٧Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya فِي سِدۡرٍ مَّخۡضُودٍ ٢٨Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa وَطَلۡحٍ مَّنضُودٍ ٢٩N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye وَظِلٍّ مَّمۡدُودٍ ٣٠N'ebisikirize ebigazi وَمَآءٍ مَّسۡكُوبٍ ٣١N'amazzi agakulukuta awatali kusalako وَفَٰكِهَةٍ كَثِيرَةٍ ٣٢N'ebibala ebingi لَّا مَقۡطُوعَةٍ وَلَا مَمۡنُوعَةٍ ٣٣Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo وَفُرُشٍ مَّرۡفُوعَةٍ ٣٤N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu إِنَّآ أَنشَأۡنَٰهُنَّ إِنشَآءً ٣٥Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda فَجَعَلۡنَٰهُنَّ أَبۡكَارًا ٣٦Olwo nno twabatonda nga mbeerera عُرُبًا أَتۡرَابًا ٣٧Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa لِّأَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ ٣٨Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo ثُلَّةٌ مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ ٣٩Bangi mu bibiina ebyasooka وَثُلَّةٌ مِّنَ ٱلۡأٓخِرِينَ ٤٠Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammad) وَأَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ ٤١Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya فِي سَمُومٍ وَحَمِيمٍ ٤٢Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze وَظِلٍّ مِّن يَحۡمُومٍ ٤٣Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya لَّا بَارِدٍ وَلَا كَرِيمٍ ٤٤Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَبۡلَ ذَٰلِكَ مُتۡرَفِينَ ٤٥Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya وَكَانُواْ يُصِرُّونَ عَلَى ٱلۡحِنثِ ٱلۡعَظِيمِ ٤٦Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira) وَكَانُواْ يَقُولُونَ أَئِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابًا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ ٤٧Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba gumba abaffe tulizuukizibwa أَوَءَابَآؤُنَا ٱلۡأَوَّلُونَ ٤٨Ne bakadde baffe abasooka (nabo bwe batyo) قُلۡ إِنَّ ٱلۡأَوَّلِينَ وَٱلۡأٓخِرِينَ ٤٩Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma لَمَجۡمُوعُونَ إِلَىٰ مِيقَٰتِ يَوۡمٍ مَّعۡلُومٍ ٥٠Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa ثُمَّ إِنَّكُمۡ أَيُّهَا ٱلضَّآلُّونَ ٱلۡمُكَذِّبُونَ ٥١Oluvanyuma mazima mmwe, abange mmwe ababuze abalimbisa لَأٓكِلُونَ مِن شَجَرٍ مِّن زَقُّومٍ ٥٢Ddala mugenda kulya ku muti gwa zakkumu فَمَالِـُٔونَ مِنۡهَا ٱلۡبُطُونَ ٥٣Nulijjuza nagwo embuto (gujjuze embuto zammwe) فَشَٰرِبُونَ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡحَمِيمِ ٥٤Olwo nno munywereko amazzi ageeseze فَشَٰرِبُونَ شُرۡبَ ٱلۡهِيمِ ٥٥Mugenda kunywa ng'ennywa ye ngamiya erina ennyonta هَٰذَا نُزُلُهُمۡ يَوۡمَ ٱلدِّينِ ٥٦Obwo bwe buliba obugenyi bwabwe ku lunaku lwo kusasula نَحۡنُ خَلَقۡنَٰكُمۡ فَلَوۡلَا تُصَدِّقُونَ ٥٧Ffe twabatonda, kale singa mukkiriza (okusinziira kwekyo) أَفَرَءَيۡتُم مَّا تُمۡنُونَ ٥٨Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana ءَأَنتُمۡ تَخۡلُقُونَهُۥٓ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡخَٰلِقُونَ ٥٩Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi نَحۡنُ قَدَّرۡنَا بَيۡنَكُمُ ٱلۡمَوۡتَ وَمَا نَحۡنُ بِمَسۡبُوقِينَ ٦٠Ffe twagera netussa wakati wa mmwe okufa, (netubakakasaako okufa) era tetuli ffe ba kulemesebwa عَلَىٰٓ أَن نُّبَدِّلَ أَمۡثَٰلَكُمۡ وَنُنشِئَكُمۡ فِي مَا لَا تَعۡلَمُونَ ٦١Okuba nga tuwaanyisa abalinga mmwe (mu mmwe) olwo nno mmwe, netubakolamu ebirala bye mutamanyi وَلَقَدۡ عَلِمۡتُمُ ٱلنَّشۡأَةَ ٱلۡأُولَىٰ فَلَوۡلَا تَذَكَّرُونَ ٦٢Ate nga ddala mwamanya entandikwa eyasooka (engeri Katonda gye yabatondamu) kale singa mwebulirira أَفَرَءَيۡتُم مَّا تَحۡرُثُونَ ٦٣Abaffe mulaba ebyo bye mulima ءَأَنتُمۡ تَزۡرَعُونَهُۥٓ أَمۡ نَحۡنُ ٱلزَّٰرِعُونَ ٦٤Abaffe mmwe mubimeza oba ffe tumeza لَوۡ نَشَآءُ لَجَعَلۡنَٰهُ حُطَٰمًا فَظَلۡتُمۡ تَفَكَّهُونَ ٦٥Singa twagadde tusobola okubifuula ebikaze nemusigala nga mwewunaganya إِنَّا لَمُغۡرَمُونَ ٦٦(Nga mugamba nti) mazima ffe tetufunye ate nga tubanjibwa بَلۡ نَحۡنُ مَحۡرُومُونَ ٦٧(Si kye kyokka) wabula ffe tummiddwa أَفَرَءَيۡتُمُ ٱلۡمَآءَ ٱلَّذِي تَشۡرَبُونَ ٦٨Abaffe mulaba amazzi ago gemunywa ءَأَنتُمۡ أَنزَلۡتُمُوهُ مِنَ ٱلۡمُزۡنِ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡمُنزِلُونَ ٦٩Mwe mugassa okuva mu bire oba ffe tugassa لَوۡ نَشَآءُ جَعَلۡنَٰهُ أُجَاجًا فَلَوۡلَا تَشۡكُرُونَ ٧٠Singa twagadde twaligafudde olukalabule kale singa mwebaza (Katonda olwo kugafuula amalungi) أَفَرَءَيۡتُمُ ٱلنَّارَ ٱلَّتِي تُورُونَ ٧١Abaffe mulaba omuliro ogwo gwe mukuma ءَأَنتُمۡ أَنشَأۡتُمۡ شَجَرَتَهَآ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡمُنشِـُٔونَ ٧٢Abaffe mmwe mwatandikawo omuti gwagwo, oba ffe twagutandika نَحۡنُ جَعَلۡنَٰهَا تَذۡكِرَةً وَمَتَٰعًا لِّلۡمُقۡوِينَ ٧٣Ffe twagufuula kya kujjukiza, era nga gwa mugaso eri abatambuze (abataba na byoto bibakumira muliro) فَسَبِّحۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلۡعَظِيمِ ٧٤Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa ۞ فَلَآ أُقۡسِمُ بِمَوَٰقِعِ ٱلنُّجُومِ ٧٥Tewali kingaana kulayira bifo bya munyeenye وَإِنَّهُۥ لَقَسَمٌ لَّوۡ تَعۡلَمُونَ عَظِيمٌ ٧٦Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi إِنَّهُۥ لَقُرۡءَانٌ كَرِيمٌ ٧٧Okuba nti ddala yo Kur’ani yakitiibwa فِي كِتَٰبٍ مَّكۡنُونٍ ٧٨Eri mu kitabo ekikuumibwa obutiribiri (ku Lawuhu al mahfudhu) لَّا يَمَسُّهُۥٓ إِلَّا ٱلۡمُطَهَّرُونَ ٧٩Takikwatako okugyako abaatukuzibwa (ba malayika abatalina bukyafu bwa mibiri oba obwe nzikiriza) تَنزِيلٌ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٨٠Essibwa okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde أَفَبِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِ أَنتُم مُّدۡهِنُونَ ٨١Abaffe ebigambo bino (ebya Kur’ani) mmwe bye mugayaalirira وَتَجۡعَلُونَ رِزۡقَكُمۡ أَنَّكُمۡ تُكَذِّبُونَ ٨٢Okugirimbisa mmwe ne mukifuula okuba nga ye Riziki yammwe فَلَوۡلَآ إِذَا بَلَغَتِ ٱلۡحُلۡقُومَ ٨٣Singa omwoyo wegutuukira mu ddokooli (musala amagezi nemugutaasa) وَأَنتُمۡ حِينَئِذٍ تَنظُرُونَ ٨٤Ate nga mmwe mu kiseera ekyo mubaawo nga mutunula وَنَحۡنُ أَقۡرَبُ إِلَيۡهِ مِنكُمۡ وَلَٰكِن لَّا تُبۡصِرُونَ ٨٥Era ffe tuba okumpi naye okusinga mmwe, naye temulaba فَلَوۡلَآ إِن كُنتُمۡ غَيۡرَ مَدِينِينَ ٨٦Kale singa mwali temufugibwa (Katonda) تَرۡجِعُونَهَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ٨٧Muyinza okugamba nti mwandiguzizzaamu mu mubiri, bwe muba mwogera mazima فَأَمَّآ إِن كَانَ مِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ ٨٨Naye (omufu) bwaba mu bo kumpi (ne Katonda) فَرَوۡحٌ وَرَيۡحَانٌ وَجَنَّتُ نَعِيمٍ ٨٩Aliba mu kwesiima na mirembe na jjana eye byengera وَأَمَّآ إِن كَانَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ ٩٠Ate bwaba mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo فَسَلَٰمٌ لَّكَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ ٩١(Aliyozebwayozebwa nti) emirembe gibeere ku ggwe, olwokuba oli mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo وَأَمَّآ إِن كَانَ مِنَ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ٱلضَّآلِّينَ ٩٢Wabula bwabeera nga ali mu balimbisa ababuze فَنُزُلٌ مِّنۡ حَمِيمٍ ٩٣(Oyo nno) obugenyi (bwe) bwalwegye lwa mazzi وَتَصۡلِيَةُ جَحِيمٍ ٩٤Nakwesogga muliro Jahiimu إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ حَقُّ ٱلۡيَقِينِ ٩٥Mazima ebyo ge mazima agannamaddala فَسَبِّحۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلۡعَظِيمِ ٩٦Kale nno tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa

الترجمة: Fareeq Musa.