ملة الإسلام

السورة 37 · 182 آية · Fareeq Musa

سورة الصافات باللغة اللوغندية

السورة بالعربية مع التفسير استمع إلى سورة الصافات (1,203 قارئاً)
مكيةسورة الصافات١٨٢ آية

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

وَٱلصَّٰٓفَّٰتِ صَفًّا ١Ndayidde ba Malayika abasimbye ennyiriri ennambulukufu فَٱلزَّٰجِرَٰتِ زَجۡرًا ٢Olwo nno abo abagoba ebire olugoba (bigende bitonnyese enkuba) فَٱلتَّٰلِيَٰتِ ذِكۡرًا ٣N'abo abasoma ebigambo ebibuulirira إِنَّ إِلَٰهَكُمۡ لَوَٰحِدٌ ٤Mazima Katonda wa mmwe ddala ali omu رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا وَرَبُّ ٱلۡمَشَٰرِقِ ٥Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba (n'e bugwanjuba) إِنَّا زَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِزِينَةٍ ٱلۡكَوَاكِبِ ٦Mazima ffe twawunda eggulu ly'okunsi n'okulabika obulungi kw'e mmunyeenye (ezirijjudde) وَحِفۡظًا مِّن كُلِّ شَيۡطَٰنٍ مَّارِدٍ ٧N'okulikuuma ku buli Sitane kyewaggula لَّا يَسَّمَّعُونَ إِلَى ٱلۡمَلَإِ ٱلۡأَعۡلَىٰ وَيُقۡذَفُونَ مِن كُلِّ جَانِبٍ ٨Tezisobola kuwuliriza bitonde ebya waggulu era zikanyugirwa ebitawuliro okuva ku buli luuyi دُحُورًاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ وَاصِبٌ ٩Nga zifuumuulwa emisinde era nga zigenda kufuna ebibonerezo ebitakoma إِلَّا مَنۡ خَطِفَ ٱلۡخَطۡفَةَ فَأَتۡبَعَهُۥ شِهَابٌ ثَاقِبٌ ١٠Okugyako (Sitane) eyo enyakula ekigambo kyeba enyakudde olwo nno neekasukirirwa ekitawuliro ekibumbujja فَٱسۡتَفۡتِهِمۡ أَهُمۡ أَشَدُّ خَلۡقًا أَم مَّنۡ خَلَقۡنَآۚ إِنَّا خَلَقۡنَٰهُم مِّن طِينٍ لَّازِبِۭ ١١Kale nno babuuze nti bo be bazibu mu kutonda oba ebyo bye twatonda, mazima ffe (bo) twabatonda mu budongo obukwafu بَلۡ عَجِبۡتَ وَيَسۡخَرُونَ ١٢Wabula gwe weewuunya (ng’okungiriza) ate nga bo bajeeja bujeeja وَإِذَا ذُكِّرُواْ لَا يَذۡكُرُونَ ١٣Era nga bwe baba babuuliriddwa tebeebuulirira وَإِذَا رَأَوۡاْ ءَايَةً يَسۡتَسۡخِرُونَ ١٤Era bwe balaba akabonero konna (mu bubonero bwa Katonda) nga bajeeja وَقَالُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٌ مُّبِينٌ ١٥Era nebagamba nti: kino tekiri okugyako eddogo eryeyolefu أَءِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابًا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ ١٦(Nebongerako nti) bwe tuliba tufudde netufuuka ettaka era netuba magumba ameereere abaffe tulizuukizibwa أَوَءَابَآؤُنَا ٱلۡأَوَّلُونَ ١٧Oba ba kitaffe abaakulembera قُلۡ نَعَمۡ وَأَنتُمۡ دَٰخِرُونَ ١٨Gamba nti yee (mulizuukizibwa) nga nammwe mukkakkanyiziddwa فَإِنَّمَا هِيَ زَجۡرَةٌ وَٰحِدَةٌ فَإِذَا هُمۡ يَنظُرُونَ ١٩Mazima kyo (ekyo kuzuukira) luliba olufuuwa mu ngombe lumu oligenda okulaba nga bo batunula وَقَالُواْ يَٰوَيۡلَنَا هَٰذَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ ٢٠Era baligamba nti zitusanze luno lwe lunaku lw'okusasulwa هَٰذَا يَوۡمُ ٱلۡفَصۡلِ ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ ٢١(Ba Malayika baligamba nti) luno lwe lunaku lw'okwawula (wakati wa balongoofu n’aboonoonyi) olwo lwe mwali mulimbisa ۞ ٱحۡشُرُواْ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ وَأَزۡوَٰجَهُمۡ وَمَا كَانُواْ يَعۡبُدُونَ ٢٢(Ba Malayika baliragirwa nti) mukungaanye abo abeeyisa obubi wamu n'ababafaanana n'ebyo bye baasinzanga مِن دُونِ ٱللَّهِ فَٱهۡدُوهُمۡ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡجَحِيمِ ٢٣Nebava ku Katonda olwo nno mubalage ekkubo eridda eri omuliro Jahiimu وَقِفُوهُمۡۖ إِنَّهُم مَّسۡـُٔولُونَ ٢٤Era nga (temunnabatwala) mubayimirize (mu bbaliro) mazima bo balina okubuuzibwa مَا لَكُمۡ لَا تَنَاصَرُونَ ٢٥(Olwo nno bagambibwe) nti: mubaddeki lwaki temwetaasa بَلۡ هُمُ ٱلۡيَوۡمَ مُسۡتَسۡلِمُونَ ٢٦Wabula bo ku lunaku olwa leero bagenda kukkiriza (nti tebalina bya kukola kuvvuunuka buzibu bwe balibeeramu) وَأَقۡبَلَ بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٍ يَتَسَآءَلُونَ ٢٧Abamu ne boolekera bannaabwe nga bawaanyisiganya ebigambo قَالُوٓاْ إِنَّكُمۡ كُنتُمۡ تَأۡتُونَنَا عَنِ ٱلۡيَمِينِ ٢٨(Abagoberezi) ne bagamba (bebaagoberera) nti mazima mmwe mwalinga mutujjira nga mutuyita ku ddyo قَالُواْ بَل لَّمۡ تَكُونُواْ مُؤۡمِنِينَ ٢٩(Abaagobererwa) baligamba nti nedda wabula temwali bakkiriza وَمَا كَانَ لَنَا عَلَيۡكُم مِّن سُلۡطَٰنِۭۖ بَلۡ كُنتُمۡ قَوۡمًا طَٰغِينَ ٣٠Era tetwabalinaako buyinza bwonna wabula mwali bantu abeewagguzi فَحَقَّ عَلَيۡنَا قَوۡلُ رَبِّنَآۖ إِنَّا لَذَآئِقُونَ ٣١Olwo nno ekigambo kya Mukama omulabirizi waffe nekitukakatako (fenna) mazima ddala ffe tuteekwa kukomba (ku bibonerezo) فَأَغۡوَيۡنَٰكُمۡ إِنَّا كُنَّا غَٰوِينَ ٣٢Twababuza era mazima ddala ffe (okugenda okubabuza) twali babuze فَإِنَّهُمۡ يَوۡمَئِذٍ فِي ٱلۡعَذَابِ مُشۡتَرِكُونَ ٣٣Mazima bo (ab'emirundi ebiri) bagenda kwegatta mu kibonerezo إِنَّا كَذَٰلِكَ نَفۡعَلُ بِٱلۡمُجۡرِمِينَ ٣٤Mazima ffe bwe tutyo bwe tukola aboonoonyi إِنَّهُمۡ كَانُوٓاْ إِذَا قِيلَ لَهُمۡ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا ٱللَّهُ يَسۡتَكۡبِرُونَ ٣٥Mazima bo bwe baagambibwanga nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako Katonda baali nga beekuza وَيَقُولُونَ أَئِنَّا لَتَارِكُوٓاْ ءَالِهَتِنَا لِشَاعِرٍ مَّجۡنُونِۭ ٣٦Nebagamba nti mazima ffe tuyinza okuleka ba katonda baffe ku lw'omuyimbi omulalu بَلۡ جَآءَ بِٱلۡحَقِّ وَصَدَّقَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ٣٧Nedda (Nabbi Muhammad talinga bwe bagamba) wabula yajja na mazima era n’akakasa ababaka (abaamukulembera) إِنَّكُمۡ لَذَآئِقُواْ ٱلۡعَذَابِ ٱلۡأَلِيمِ ٣٨Mazima ddala mmwe muli ba kukomba ku bibonerezo ebiruma ennyo وَمَا تُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ٣٩Era temugenda kusasulwa wabula ebyo bye mwakolanga إِلَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ ٤٠Okugyako abaddu ba Katonda abalondobemu أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ رِزۡقٌ مَّعۡلُومٌ ٤١Abo baliweebwa ebigabirirwa ebimanyiddwa فَوَٰكِهُ وَهُم مُّكۡرَمُونَ ٤٢(Biriba) ebibala era nga nebaba nga bo bagabulwa فِي جَنَّٰتِ ٱلنَّعِيمِ ٤٣Nga bali mu jjana ez'ebyengera عَلَىٰ سُرُرٍ مُّتَقَٰبِلِينَ ٤٤(Baliba) ku bitanda nga buli bamu boolekedde bannaabwe يُطَافُ عَلَيۡهِم بِكَأۡسٍ مِّن مَّعِينِۭ ٤٥Nga babayisaamu (mu kubagabula) eggiraasi z'ebyo'kunywa eziva mu nsulo ezitakalira بَيۡضَآءَ لَذَّةٍ لِّلشَّٰرِبِينَ ٤٦(Eby'okunywa ebyo) nga byeru ebiriwoomera abanywi لَا فِيهَا غَوۡلٌ وَلَا هُمۡ عَنۡهَا يُنزَفُونَ ٤٧Tebigenda kubaamu kirumya mutwe era nga bwebatagenda kutamiira olw'okubinywa وَعِندَهُمۡ قَٰصِرَٰتُ ٱلطَّرۡفِ عِينٌ ٤٨Era baliba balina abakyala ab'amaaso amakkakkamu amanene كَأَنَّهُنَّ بَيۡضٌ مَّكۡنُونٌ ٤٩Abakyala abo balibanga amagi ageegenderezebwa obutayatika فَأَقۡبَلَ بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٍ يَتَسَآءَلُونَ ٥٠Olwo nno abamu neboolekera bannaabwe nga bawaanyisaganya ebigambo قَالَ قَآئِلٌ مِّنۡهُمۡ إِنِّي كَانَ لِي قَرِينٌ ٥١Omwogezi (omu) ku bo aligamba nti mazima nze nalina ow'omukwano يَقُولُ أَءِنَّكَ لَمِنَ ٱلۡمُصَدِّقِينَ ٥٢Yalinga angamba nti abaffe ggwe oli mu abo abakakasa أَءِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابًا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَدِينُونَ ٥٣Nti bwe tulifa netufuuka ettaka n’amagumba ameereere, abaffe tuli baakubalibwa قَالَ هَلۡ أَنتُم مُّطَّلِعُونَ ٥٤Omukozi w’obulungi aligamba nti abaffe mulaba ekiri mu muliro فَٱطَّلَعَ فَرَءَاهُ فِي سَوَآءِ ٱلۡجَحِيمِ ٥٥Olwo alitunulayo n’amulaba ng’ali mu makkati g’omuliro Jahiimu قَالَ تَٱللَّهِ إِن كِدتَّ لَتُرۡدِينِ ٥٦Aligamba nti ndayidde Katonda wabula kata onzikirize وَلَوۡلَا نِعۡمَةُ رَبِّي لَكُنتُ مِنَ ٱلۡمُحۡضَرِينَ ٥٧Singa si byengera bya Mukama omulabirizi wange nnaalibadde mu baleeteddwa (eri omuliro) أَفَمَا نَحۡنُ بِمَيِّتِينَ ٥٨Ate ffe tetukyaddayo nakufa إِلَّا مَوۡتَتَنَا ٱلۡأُولَىٰ وَمَا نَحۡنُ بِمُعَذَّبِينَ ٥٩Okugyako okufa kwaffe okwasooka era nga tetuli ba kubonerezebwa إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ ٦٠Mazima ekyo ddala kwo kwe kwesiima okusuffu لِمِثۡلِ هَٰذَا فَلۡيَعۡمَلِ ٱلۡعَٰمِلُونَ ٦١(N’olwekyo) ku lw’ebintu nga bino abatakabana baalitakabanye أَذَٰلِكَ خَيۡرٌ نُّزُلًا أَمۡ شَجَرَةُ ٱلزَّقُّومِ ٦٢Abaffe obwo bwe bugugenyi obulungi oba omuti gwa Zakkuumi إِنَّا جَعَلۡنَٰهَا فِتۡنَةً لِّلظَّٰلِمِينَ ٦٣Twagussaawo nga kikemo eri abeeyisa obubi إِنَّهَا شَجَرَةٌ تَخۡرُجُ فِيٓ أَصۡلِ ٱلۡجَحِيمِ ٦٤Mazima gwo muti guva ku ntobo ya muliro Jahiimu طَلۡعُهَا كَأَنَّهُۥ رُءُوسُ ٱلشَّيَٰطِينِ ٦٥Ebibala byagwo (okumanya bibi) biringa emitwe gya Sitane فَإِنَّهُمۡ لَأٓكِلُونَ مِنۡهَا فَمَالِـُٔونَ مِنۡهَا ٱلۡبُطُونَ ٦٦Mazima bo bagenda kugulyako bagenda kujjuza nagwo embuto ثُمَّ إِنَّ لَهُمۡ عَلَيۡهَا لَشَوۡبًا مِّنۡ حَمِيمٍ ٦٧Oluvanyuma bagenda kubongeza ku gwo eby'okunywa ebitabuddwa mu lweje ثُمَّ إِنَّ مَرۡجِعَهُمۡ لَإِلَى ٱلۡجَحِيمِ ٦٨Oluvanyuma mazima obuddo bwabwe buli mu muliro Jahiimu إِنَّهُمۡ أَلۡفَوۡاْ ءَابَآءَهُمۡ ضَآلِّينَ ٦٩Mazima bo baasanga bakadde baabwe nga babuze فَهُمۡ عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِمۡ يُهۡرَعُونَ ٧٠N’olwekyo bo mu buwufu bwabwe batwalibwa kantindiggwa وَلَقَدۡ ضَلَّ قَبۡلَهُمۡ أَكۡثَرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ٧١Era mazima oluberyeberye lwabwe abasinga obungi mu baasooka baabula وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا فِيهِم مُّنذِرِينَ ٧٢So nga ate twatuma mu bo abatiisa فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُنذَرِينَ ٧٣Kale tunuulira olabe enkomerero y'abaatiisibwa yali etya إِلَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ ٧٤(Tewali yawona) okugyako abaddu ba Katonda abalondobemu وَلَقَدۡ نَادَىٰنَا نُوحٌ فَلَنِعۡمَ ٱلۡمُجِيبُونَ ٧٥Mazima Nuhu yatukoowoola naffe nno twali abaamwanukula obulungi وَنَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥ مِنَ ٱلۡكَرۡبِ ٱلۡعَظِيمِ ٧٦Netumuwonya n’abantube akabenje akayitirivu وَجَعَلۡنَا ذُرِّيَّتَهُۥ هُمُ ٱلۡبَاقِينَ ٧٧Netufuula ezzadde lye nebaba bo nga be basigaddewo وَتَرَكۡنَا عَلَيۡهِ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ ٧٨Netumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma سَلَٰمٌ عَلَىٰ نُوحٍ فِي ٱلۡعَٰلَمِينَ ٧٩Emirembe gibeere ku Nuhu (n’okwogerwako okulungi) mu bitonde byonna إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ ٨٠Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi إِنَّهُۥ مِنۡ عِبَادِنَا ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٨١Mazima (Nuhu) ali mu baddu baffe abakkiriza aba nnamaddala ثُمَّ أَغۡرَقۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ ٨٢Oluvanyuma twazikiriza abasigadde (abatakkiriza Nuhu) ۞ وَإِنَّ مِن شِيعَتِهِۦ لَإِبۡرَٰهِيمَ ٨٣Era mazima ddala Ibrahim ali ku nkolaye(Nuhu) إِذۡ جَآءَ رَبَّهُۥ بِقَلۡبٍ سَلِيمٍ ٨٤Kubanga yajja ewa Mukama omulabiriziwe n’omutima omuyonjo إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَاذَا تَعۡبُدُونَ ٨٥Bwe yagamba kitaawe n’abantu be nti biki bye musinza أَئِفۡكًا ءَالِهَةً دُونَ ٱللَّهِ تُرِيدُونَ ٨٦Ba katonda abajingirire bemwagala nemuleka Katonda فَمَا ظَنُّكُم بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ٨٧Olwo Mukama omulabirizi w’ebitonde byonna, ki kye mumulowoozaako فَنَظَرَ نَظۡرَةً فِي ٱلنُّجُومِ ٨٨Olwo nno naatunula olutunula mu munyeenye (nga enkola ya bantube bwe yali) فَقَالَ إِنِّي سَقِيمٌ ٨٩(Naagamba nti) mazima nze ndi mulwadde فَتَوَلَّوۡاْ عَنۡهُ مُدۡبِرِينَ ٩٠Olwo nebamuvaako nebamulekawo فَرَاغَ إِلَىٰٓ ءَالِهَتِهِمۡ فَقَالَ أَلَا تَأۡكُلُونَ ٩١Olwo nadda ku ba katonda baabwe naalyoka abagamba nti lwaki temulya مَا لَكُمۡ لَا تَنطِقُونَ ٩٢Mwabaaki, nga temwogera فَرَاغَ عَلَيۡهِمۡ ضَرۡبَۢا بِٱلۡيَمِينِ ٩٣Olwo kwe kutandika okubatema n’omukono gwe ogwa ddyo فَأَقۡبَلُوٓاْ إِلَيۡهِ يَزِفُّونَ ٩٤Olwo (abantu ba Ibrahim bwe baamanya kyakoze) bajja gyali nga banguwa قَالَ أَتَعۡبُدُونَ مَا تَنۡحِتُونَ ٩٥(Ibrahim) naagamba nti, musinza ebyo bye mubajja وَٱللَّهُ خَلَقَكُمۡ وَمَا تَعۡمَلُونَ ٩٦So nga Katonda yeeyabatonda mmwe n'ebyo bye mukola قَالُواْ ٱبۡنُواْ لَهُۥ بُنۡيَٰنًا فَأَلۡقُوهُ فِي ٱلۡجَحِيمِ ٩٧Nebagamba nti mumuzimbire ekifo (mukikumemu omuliro) olwo nno mumukasuke mu nnabeengeya w’omuliro فَأَرَادُواْ بِهِۦ كَيۡدًا فَجَعَلۡنَٰهُمُ ٱلۡأَسۡفَلِينَ ٩٨Mu kukola ekyo, baagenderera okumukolera olukwe (bamutte) wabula bbo netubafuula ab'awansi (bwe twalemesa olukwe lwabwe) وَقَالَ إِنِّي ذَاهِبٌ إِلَىٰ رَبِّي سَيَهۡدِينِ ٩٩(Awo Ibrahim naasalawo okusenguka) era naagamba nti mazima nze ngenda ewa Mukama omulabirizi wange ajja kunnungamya رَبِّ هَبۡ لِي مِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ ١٠٠Ayi Mukama omulabirizi wange ngabira (omwana) nga wa mu balongoofu فَبَشَّرۡنَٰهُ بِغُلَٰمٍ حَلِيمٍ ١٠١Olwo netumusanyusa nti ajja kufuna omwana omulenzi ow'ekisa فَلَمَّا بَلَغَ مَعَهُ ٱلسَّعۡيَ قَالَ يَٰبُنَيَّ إِنِّيٓ أَرَىٰ فِي ٱلۡمَنَامِ أَنِّيٓ أَذۡبَحُكَ فَٱنظُرۡ مَاذَا تَرَىٰۚ قَالَ يَٰٓأَبَتِ ٱفۡعَلۡ مَا تُؤۡمَرُۖ سَتَجِدُنِيٓ إِن شَآءَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلصَّٰبِرِينَ ١٠٢Omwana oyo (Ismail) bwe yatandika okutambula naye (Ibrahim) naagamba nti owange mutabani wange nkirabye lunye mu kirooto mazima nze nga nkusala kale tunula olabe, ogamba ki? (Ismail) naagamba nti owange taata kola ekyo kyolagirwa, Katonda nga ayagadde ojja kunsanga nga ndi mu bagumiikiriza فَلَمَّآ أَسۡلَمَا وَتَلَّهُۥ لِلۡجَبِينِ ١٠٣Bombi bwe baamala okwewaayo eri (ekiragiro kya Katonda) naamugalamiza nga amuwunzise وَنَٰدَيۡنَٰهُ أَن يَٰٓإِبۡرَٰهِيمُ ١٠٤Netumukoowoola nti owange Ibrahim قَدۡ صَدَّقۡتَ ٱلرُّءۡيَآۚ إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ ١٠٥Mazima otuukirizza endooto, mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ ٱلۡبَلَٰٓؤُاْ ٱلۡمُبِينُ ١٠٦Mazima ekyo (ekyatuuka ku Ibrahim n’omwana we) ddala kwe kugezesa okw'olwatu وَفَدَيۡنَٰهُ بِذِبۡحٍ عَظِيمٍ ١٠٧Era (Ismail) twamununula n'ensolo ensuffu eyasalibwa وَتَرَكۡنَا عَلَيۡهِ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ ١٠٨Netumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma سَلَٰمٌ عَلَىٰٓ إِبۡرَٰهِيمَ ١٠٩Emirembe gibeere ku Ibrahim كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ ١١٠Bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa إِنَّهُۥ مِنۡ عِبَادِنَا ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ١١١Mazima ye wa mu baddu baffe abakkiriza (abannamaddala) وَبَشَّرۡنَٰهُ بِإِسۡحَٰقَ نَبِيًّا مِّنَ ٱلصَّٰلِحِينَ ١١٢Era twamusanyusa n’okumuwa Ishaak nga nabbi nga wa mu balongoofu وَبَٰرَكۡنَا عَلَيۡهِ وَعَلَىٰٓ إِسۡحَٰقَۚ وَمِن ذُرِّيَّتِهِمَا مُحۡسِنٌ وَظَالِمٌ لِّنَفۡسِهِۦ مُبِينٌ ١١٣Era twamuwa omukisa netuguwa ne Ishaak era mu zadde lyabwe bombi mwalimu omulongoosa n'yeeyisa obubi ow'olwatu وَلَقَدۡ مَنَنَّا عَلَىٰ مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ ١١٤Mazima twabunduggula ebyengera ku Musa ne Haruna وَنَجَّيۡنَٰهُمَا وَقَوۡمَهُمَا مِنَ ٱلۡكَرۡبِ ٱلۡعَظِيمِ ١١٥Netubawonya n’abantu baabwe bombi akabenje ak'amaanyi وَنَصَرۡنَٰهُمۡ فَكَانُواْ هُمُ ٱلۡغَٰلِبِينَ ١١٦Netubataasa nebaba bbo nga bawanguzi وَءَاتَيۡنَٰهُمَا ٱلۡكِتَٰبَ ٱلۡمُسۡتَبِينَ ١١٧Bombi twabawa ekitabo ekinnyonnyofu okutangaaza ekkubo وَهَدَيۡنَٰهُمَا ٱلصِّرَٰطَ ٱلۡمُسۡتَقِيمَ ١١٨Era twabalungamya mu kkubo eggolokofu وَتَرَكۡنَا عَلَيۡهِمَا فِي ٱلۡأٓخِرِينَ ١١٩Era bombi twabalekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma سَلَٰمٌ عَلَىٰ مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ ١٢٠Emirembe gibeere ku Musa ne Haruna إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ ١٢١Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa إِنَّهُمَا مِنۡ عِبَادِنَا ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ١٢٢Mazima bombi ba mu baddu baffe abakkiriza (abannamaddala) وَإِنَّ إِلۡيَاسَ لَمِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ١٢٣Era mazima ddala Elias wa mu babaka إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِۦٓ أَلَا تَتَّقُونَ ١٢٤Jjukira ekiseera bwe yagamba abantu be abaffe temutya (Katonda) أَتَدۡعُونَ بَعۡلًا وَتَذَرُونَ أَحۡسَنَ ٱلۡخَٰلِقِينَ ١٢٥Musinza ekibumbe ne muleka (Katonda) omutonzi asinga abatonzi bonna ٱللَّهَ رَبَّكُمۡ وَرَبَّ ءَابَآئِكُمُ ٱلۡأَوَّلِينَ ١٢٦Katonda ye Mukama omulabirizi wa mmwe era ye Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka فَكَذَّبُوهُ فَإِنَّهُمۡ لَمُحۡضَرُونَ ١٢٧Ne bamulimbisa n’olwekyo mazima bo baakuleetebwa (babitebye) إِلَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ ١٢٨Okugyako abaddu ba Katonda abalondemu وَتَرَكۡنَا عَلَيۡهِ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ ١٢٩Era twamulekera okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma سَلَٰمٌ عَلَىٰٓ إِلۡ يَاسِينَ ١٣٠Emirembe gibe ku bantu ba Elias إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ ١٣١Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa إِنَّهُۥ مِنۡ عِبَادِنَا ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ١٣٢Mazima ye wa mu baddu baffe abakkiriza abannamaddala وَإِنَّ لُوطًا لَّمِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ١٣٣Era mazima Luutu wa mu babaka إِذۡ نَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ ١٣٤(Jjukira) bwe twamuwonya n’abantube bonna إِلَّا عَجُوزًا فِي ٱلۡغَٰبِرِينَ ١٣٥Okugyako omukadde (Mukyalawe) eyali mu baasigala ثُمَّ دَمَّرۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ ١٣٦Oluvanyuma twazikiriza abaasigala وَإِنَّكُمۡ لَتَمُرُّونَ عَلَيۡهِم مُّصۡبِحِينَ ١٣٧Era mazima mmwe mubayitako (muyita ku matongo gaabwe) ku makya وَبِٱلَّيۡلِۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ ١٣٨N'ekiro abaffe temutegeera وَإِنَّ يُونُسَ لَمِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ١٣٩Era mazima Yunus wa mu babaka إِذۡ أَبَقَ إِلَى ٱلۡفُلۡكِ ٱلۡمَشۡحُونِ ١٤٠Jjukira (bwe yasuulawo omulimu Katonda gwe yamukwasa) naalinnya eryato eryali limaze okutikka فَسَاهَمَ فَكَانَ مِنَ ٱلۡمُدۡحَضِينَ ١٤١(Bwe lyasemberera okusaanawo olw'okuba lyali litisse nnyo), olwo nno (Yunus) yeetaba mu kalulu (ak'okusalawo ab'okukasukibwa mu nnyanja, akalulu kaagenda okuggwa) nga ali mu be kakutte (ne bamukasuka mu nnyanja) فَٱلۡتَقَمَهُ ٱلۡحُوتُ وَهُوَ مُلِيمٌ ١٤٢Olwo nno ekyennyanja kwe kumumira nga ye y'anenyezebwa فَلَوۡلَآ أَنَّهُۥ كَانَ مِنَ ٱلۡمُسَبِّحِينَ ١٤٣Singa mazima ddala teyali mu batendereza (Katonda) لَلَبِثَ فِي بَطۡنِهِۦٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ ١٤٤Yandibadde mu lubuto lwakyo okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa ۞ فَنَبَذۡنَٰهُ بِٱلۡعَرَآءِ وَهُوَ سَقِيمٌ ١٤٥Wabula twamukasuka ku lukalu naye nga yali mulwadde وَأَنۢبَتۡنَا عَلَيۡهِ شَجَرَةً مِّن يَقۡطِينٍ ١٤٦Twamumereza ekimera eky'ekiryo (kimusiikirize kimugobeko n'ensowera) وَأَرۡسَلۡنَٰهُ إِلَىٰ مِاْئَةِ أَلۡفٍ أَوۡ يَزِيدُونَ ١٤٧Era twamutuma eri abantu emitwalo kkumi oba okusingawo فَـَٔامَنُواْ فَمَتَّعۡنَٰهُمۡ إِلَىٰ حِينٍ ١٤٨Bakkiriza, olwo nno netubeeyagaza okutuuka ebbanga eggere فَٱسۡتَفۡتِهِمۡ أَلِرَبِّكَ ٱلۡبَنَاتُ وَلَهُمُ ٱلۡبَنُونَ ١٤٩Kaakano ggwe babuuze (aba Kuraish) nti Mukama omulabiriziwo y'aba n'abawala bo nebaba n’abalenzi أَمۡ خَلَقۡنَا ٱلۡمَلَٰٓئِكَةَ إِنَٰثًا وَهُمۡ شَٰهِدُونَ ١٥٠Oba abaffe bo baaliwo nga tutonda ba Malayika nga bakazi أَلَآ إِنَّهُم مِّنۡ إِفۡكِهِمۡ لَيَقُولُونَ ١٥١Abange mazima mu kutemerera kwabwe batuuka n'okugamba nti وَلَدَ ٱللَّهُ وَإِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ ١٥٢Katonda yazaala nga ate ddala bo balimba أَصۡطَفَى ٱلۡبَنَاتِ عَلَى ٱلۡبَنِينَ ١٥٣(Katonda) asalawo okutwala abawala n'aleka abalenzi مَا لَكُمۡ كَيۡفَ تَحۡكُمُونَ ١٥٤Mwabaaki mulamula mutya (ebintu) أَفَلَا تَذَكَّرُونَ ١٥٥Abaffe temwebuulirira أَمۡ لَكُمۡ سُلۡطَٰنٌ مُّبِينٌ ١٥٦Oba mulina obujulizi obweyolefu (nga kye kibakozesa ekyo) فَأۡتُواْ بِكِتَٰبِكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ١٥٧Kale muleete ekiwandiiko kyammwe bwe muba ab'amazima وَجَعَلُواْ بَيۡنَهُۥ وَبَيۡنَ ٱلۡجِنَّةِ نَسَبًاۚ وَلَقَدۡ عَلِمَتِ ٱلۡجِنَّةُ إِنَّهُمۡ لَمُحۡضَرُونَ ١٥٨(Abatakkiriza) nebateeka oluganda wakati we (Katonda) n'amajinni, nga ate amajinni gamanyi nti mazima ggo gaakuleetebwa (mu maaso ga Katonda gabitebye) سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ عَمَّا يَصِفُونَ ١٥٩Katonda musukkulumu ku bye boogera إِلَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ ١٦٠Wabula abaddu ba Katonda abalondobemu (anti bbo tebagwa mu kiti kyabo abamwogerako eby'ensimattu) فَإِنَّكُمۡ وَمَا تَعۡبُدُونَ ١٦١Kale nno mazima ddala mmwe n'ebyo bye musinza مَآ أَنتُمۡ عَلَيۡهِ بِفَٰتِنِينَ ١٦٢Temusobola mmwe kufiiriza Katonda (ne mumujjako abaddu be) إِلَّا مَنۡ هُوَ صَالِ ٱلۡجَحِيمِ ١٦٣Be ppo oyo y'ewokwesonseka omuliro Jahiimu (oyo musobola okumubuza) وَمَا مِنَّآ إِلَّا لَهُۥ مَقَامٌ مَّعۡلُومٌ ١٦٤(Ba Malayika ne bagamba nti) era tewali n'omu ku ffe okugyako nga alina ekifo ekimanyiddwa وَإِنَّا لَنَحۡنُ ٱلصَّآفُّونَ ١٦٥Era mazima ffe (bulijjo) ffe tubeera mu nnyiriri (nga tusinza Katonda) وَإِنَّا لَنَحۡنُ ٱلۡمُسَبِّحُونَ ١٦٦Era mazima ffe ddala ffe abatendereza (Katonda) وَإِن كَانُواْ لَيَقُولُونَ ١٦٧Newaakubadde nga (abakaafiiri) ddala bagamba nti لَوۡ أَنَّ عِندَنَا ذِكۡرًا مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ ١٦٨Ddala singa twalina okujjukizibwa nga kuva eri abaasooka لَكُنَّا عِبَادَ ٱللَّهِ ٱلۡمُخۡلَصِينَ ١٦٩Twandibadde abaddu ba Katonda abalondobemu فَكَفَرُواْ بِهِۦۖ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ ١٧٠(Wabula kitalo byonna ebyo bwe byajja nga ne Nabbi Muhammad kwali) baabiwakanya, kale kyaddaaki balimanya وَلَقَدۡ سَبَقَتۡ كَلِمَتُنَا لِعِبَادِنَا ٱلۡمُرۡسَلِينَ ١٧١Mazima kyakulembera ekigambo kyaffe eri abaddu baffe abaatumwa إِنَّهُمۡ لَهُمُ ٱلۡمَنصُورُونَ ١٧٢Nti mazima bbo ddala be b'okutaasibwa وَإِنَّ جُندَنَا لَهُمُ ٱلۡغَٰلِبُونَ ١٧٣Era mazima eggye lyaffe ddala bo be baba abawanguzi فَتَوَلَّ عَنۡهُمۡ حَتَّىٰ حِينٍ ١٧٤Kale baveeko okutuusa ekiseera ekigere وَأَبۡصِرۡهُمۡ فَسَوۡفَ يُبۡصِرُونَ ١٧٥Era batunuulire kyaddaaki baliraba أَفَبِعَذَابِنَا يَسۡتَعۡجِلُونَ ١٧٦Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba bibatuukeko mangu فَإِذَا نَزَلَ بِسَاحَتِهِمۡ فَسَآءَ صَبَاحُ ٱلۡمُنذَرِينَ ١٧٧Lwe birituuka mu lujja lwabwe galiba makya mabi eri abaaweebwa amawulire agabatiisa (omuliro ne batawulira) وَتَوَلَّ عَنۡهُمۡ حَتَّىٰ حِينٍ ١٧٨Era baveeko okutuusa ekiseera ekigere وَأَبۡصِرۡ فَسَوۡفَ يُبۡصِرُونَ ١٧٩Era tunula kyaddaaki baliraba سُبۡحَٰنَ رَبِّكَ رَبِّ ٱلۡعِزَّةِ عَمَّا يَصِفُونَ ١٨٠Mukama omulabirizi wo, nannyini buyinza musukkulumu Ku ebyo bye boogera وَسَلَٰمٌ عَلَى ٱلۡمُرۡسَلِينَ ١٨١Era emirembe gibeere ku babaka (ba Katonda) وَٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ١٨٢Era buli kitendo kya Mukama omulabirizi w'ebitonde

الترجمة: Fareeq Musa.