بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
صٓۚ وَٱلۡقُرۡءَانِ ذِي ٱلذِّكۡرِ ١Swad. Ndayidde Kur’ani ejjudde okujjukiza بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي عِزَّةٍ وَشِقَاقٍ ٢Wabula abaakaafuwala bali mu kwekuza na kuwalaaza mpaka كَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَبۡلِهِم مِّن قَرۡنٍ فَنَادَواْ وَّلَاتَ حِينَ مَنَاصٍ ٣Emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, abaatuuka okukuba ebiwoobe (nga banoonya okutaasibwa), naye nga tewakyali buwonero وَعَجِبُوٓاْ أَن جَآءَهُم مُّنذِرٌ مِّنۡهُمۡۖ وَقَالَ ٱلۡكَٰفِرُونَ هَٰذَا سَٰحِرٌ كَذَّابٌ ٤Nebeewuunya okuba nga omutiisa abajjira ng'ava mu bo, era abakaafiiri ne bagamba nti ono mulogo omulimba (awedde emirimu) أَجَعَلَ ٱلۡأٓلِهَةَ إِلَٰهًا وَٰحِدًاۖ إِنَّ هَٰذَا لَشَيۡءٌ عُجَابٌ ٥Abaffe abasinzibwa abangi abafudde omu! mazima ekyo kintu ekyewunyisa ennyo وَٱنطَلَقَ ٱلۡمَلَأُ مِنۡهُمۡ أَنِ ٱمۡشُواْ وَٱصۡبِرُواْ عَلَىٰٓ ءَالِهَتِكُمۡۖ إِنَّ هَٰذَا لَشَيۡءٌ يُرَادُ ٦Ekibinja kya bakungu mu bo nekigenda (nga kikunga abantu) nti: mugende mu maaso era mugumiikirize mulemere ku ba katonda ba mmwe مَا سَمِعۡنَا بِهَٰذَا فِي ٱلۡمِلَّةِ ٱلۡأٓخِرَةِ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا ٱخۡتِلَٰقٌ ٧Mazima kino (eky'okubaggya ku ba katonda ba mmwe) kkobaane (Muhammad mwayagalira okuyita abaggye ku nsinza yammwe), kino tetukiwulirangako mu nzikiriza (ey'abagoberezi ba Issa) eyasembayo, kino tekiri okugyako kiyiiye (buyiiya) أَءُنزِلَ عَلَيۡهِ ٱلذِّكۡرُ مِنۢ بَيۡنِنَاۚ بَلۡ هُمۡ فِي شَكٍّ مِّن ذِكۡرِيۚ بَل لَّمَّا يَذُوقُواْ عَذَابِ ٨Muffe fenna yye (Muhammad) yassiddwaako obubaka! wabula (ekibaleetera obuzibu) lwa kuba bo bali mu kubuusabuusa okubuulirira kwange wabula (bakola ekyo) lwa kuba tebannakomba ku bibonerezo byange أَمۡ عِندَهُمۡ خَزَآئِنُ رَحۡمَةِ رَبِّكَ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡوَهَّابِ ٩Oba (kyebava beeyisa bwe batyo) lwakuba balina amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wo, nantakubwa ku mukono, omugabi أَمۡ لَهُم مُّلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَاۖ فَلۡيَرۡتَقُواْ فِي ٱلۡأَسۡبَٰبِ ١٠Oba bo balina obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, bwe kiba bwekityo, kale baleke bakozese kyonna kyebasobola bafuneyo byebaagala جُندٌ مَّا هُنَالِكَ مَهۡزُومٌ مِّنَ ٱلۡأَحۡزَابِ ١١Bo, ggye eriri awo lya kuwangulwa, libalibwa mu bibinja (ebyawangulwa) كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٍ وَعَادٌ وَفِرۡعَوۡنُ ذُو ٱلۡأَوۡتَادِ ١٢Mazima oluberyeberye lwabwe abantu ba Nuhu ne A-adi ne Farawo nannyini nkondo baalimbisa وَثَمُودُ وَقَوۡمُ لُوطٍ وَأَصۡحَٰبُ لۡـَٔيۡكَةِۚ أُوْلَٰٓئِكَ ٱلۡأَحۡزَابُ ١٣Ne ba Thamud n’abantu ba Luut n’abantu b’omukibira, ebyonno bye bibinja (ebyogeddwaako mu Aya) إِن كُلٌّ إِلَّا كَذَّبَ ٱلرُّسُلَ فَحَقَّ عِقَابِ ١٤Tewali muntu yenna mwabo okugyako nga yalimbisa ababaka, olwo nno ebibonerezo byange nebikakata (ku bo) وَمَا يَنظُرُ هَٰٓؤُلَآءِ إِلَّا صَيۡحَةً وَٰحِدَةً مَّا لَهَا مِن فَوَاقٍ ١٥Era abo tebalindirira okugyako lubwatuka lumu (oluliba olw'amaanyi) nga telwetaaga kuddibwamu mulundi mulala وَقَالُواْ رَبَّنَا عَجِّل لَّنَا قِطَّنَا قَبۡلَ يَوۡمِ ٱلۡحِسَابِ ١٦Era (abatakkiriza) bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe twanguyirize omugabo gwaffe (ogw'ebibonerezo) ng'olunaku lw'okubalibwa terunnatuuka ٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَٱذۡكُرۡ عَبۡدَنَا دَاوُۥدَ ذَا ٱلۡأَيۡدِۖ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٌ ١٧(Katonda agamba Nabbi Muhammad nti:) gumikiiriza ku bye boogera ojjukire omuddu waffe Dauda eyalina amaanyi amasuffu (awamu n'ekyo) yali adda nnyo eri Katonda إِنَّا سَخَّرۡنَا ٱلۡجِبَالَ مَعَهُۥ يُسَبِّحۡنَ بِٱلۡعَشِيِّ وَٱلۡإِشۡرَاقِ ١٨Mazima ffe twagonza ensozi neziba nga zitendereza awamu naye olweggulo n’obudde nga busaasaana وَٱلطَّيۡرَ مَحۡشُورَةًۖ كُلٌّ لَّهُۥٓ أَوَّابٌ ١٩Era twagonza n’ebinyonyi nga biri mu bibinja (byabyo) buli kimu ku byo nga kigondera Dauda (nebitendereza nga bwatendereza) وَشَدَدۡنَا مُلۡكَهُۥ وَءَاتَيۡنَٰهُ ٱلۡحِكۡمَةَ وَفَصۡلَ ٱلۡخِطَابِ ٢٠Era twanyweza obufuzibwe era netumuwa okumanya ensonga n’okusalawo ekituufu ku bigambo ebiba byogeddwa ۞ وَهَلۡ أَتَىٰكَ نَبَؤُاْ ٱلۡخَصۡمِ إِذۡ تَسَوَّرُواْ ٱلۡمِحۡرَابَ ٢١Abaffe amawulire g’abaakaayana bwe baawalampa ekisenge (Dauda mweyasinzizanga) gaakutuukako إِذۡ دَخَلُواْ عَلَىٰ دَاوُۥدَ فَفَزِعَ مِنۡهُمۡۖ قَالُواْ لَا تَخَفۡۖ خَصۡمَانِ بَغَىٰ بَعۡضُنَا عَلَىٰ بَعۡضٍ فَٱحۡكُم بَيۡنَنَا بِٱلۡحَقِّ وَلَا تُشۡطِطۡ وَٱهۡدِنَآ إِلَىٰ سَوَآءِ ٱلصِّرَٰطِ ٢٢Bwe baayingira Dauda weyali naabekanga nebagamba nti: totya (ffe) tuli abakaayana ababiri ng'omu kuffe asobezza munne, kale lamula wakati waffe n’amazima teweekubiira era otulage enkola entuufu إِنَّ هَٰذَآ أَخِي لَهُۥ تِسۡعٌ وَتِسۡعُونَ نَعۡجَةً وَلِيَ نَعۡجَةٌ وَٰحِدَةٌ فَقَالَ أَكۡفِلۡنِيهَا وَعَزَّنِي فِي ٱلۡخِطَابِ ٢٣Mazima muganda wange ono alina endiga kyenda mu mwenda ng’ate nze nnina endiga emu, ate angamba nti gimpe ngikulundire ate nga ansinga ebigambo قَالَ لَقَدۡ ظَلَمَكَ بِسُؤَالِ نَعۡجَتِكَ إِلَىٰ نِعَاجِهِۦۖ وَإِنَّ كَثِيرًا مِّنَ ٱلۡخُلَطَآءِ لَيَبۡغِي بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٍ إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ وَقَلِيلٌ مَّا هُمۡۗ وَظَنَّ دَاوُۥدُ أَنَّمَا فَتَنَّٰهُ فَٱسۡتَغۡفَرَ رَبَّهُۥ وَخَرَّۤ رَاكِعًاۤ وَأَنَابَ ۩ ٢٤(Dauda) naagamba nti: mazima akuyisizza bubi bwakusabye endiga yo agigatte ku ndigaze, ate nga bangi mu bagatta emirimu basobya bannaabwe, okugyako abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu wabula ate abo batono, Dauda naamanya nti mazima tumugezesezza neyeegayirira Mukama omulabiriziwe naakutama ku maviivi neyeemenya era nadda eri Katonda فَغَفَرۡنَا لَهُۥ ذَٰلِكَۖ وَإِنَّ لَهُۥ عِندَنَا لَزُلۡفَىٰ وَحُسۡنَ مَـَٔابٍ ٢٥Olwo nno ekyo netukimusonyiwa, era mazima alina gye tuli ekifo ekyo ku mwanjo n’obuddo obulungi يَٰدَاوُۥدُ إِنَّا جَعَلۡنَٰكَ خَلِيفَةً فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱحۡكُم بَيۡنَ ٱلنَّاسِ بِٱلۡحَقِّ وَلَا تَتَّبِعِ ٱلۡهَوَىٰ فَيُضِلَّكَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَضِلُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ لَهُمۡ عَذَابٌ شَدِيدُۢ بِمَا نَسُواْ يَوۡمَ ٱلۡحِسَابِ ٢٦Owange Dauda mazima ffe twakufuula omusigire ku nsi, lamula wakati wa bantu mu mazima era togobereranga okwagala (kwo) nekukubuza okuva ku kkubo lya Katonda, mazima abo abaabula nebava ku kkubo lya Katonda, balifuna ebibonerezo ebikakali olw'ebyo ebyabeerabiza olunaku lw'okubalibwa وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَآءَ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا بَٰطِلًاۚ ذَٰلِكَ ظَنُّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۚ فَوَيۡلٌ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنَ ٱلنَّارِ ٢٧Eggulu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, tetwabitonda nga bya lusaago, eyo ndowooza yaabo abaakaafuwala, kale nno okubonaabona okw'omuliro kuliba ku abo abaakaafuwala أَمۡ نَجۡعَلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ كَٱلۡمُفۡسِدِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ نَجۡعَلُ ٱلۡمُتَّقِينَ كَٱلۡفُجَّارِ ٢٨Oba (basuubira nti) abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu, tulibayisa nga aboonoona mu nsi, oba abatya Katonda betuliyisa nga aboonoonyi كِتَٰبٌ أَنزَلۡنَٰهُ إِلَيۡكَ مُبَٰرَكٌ لِّيَدَّبَّرُوٓاْ ءَايَٰتِهِۦ وَلِيَتَذَكَّرَ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ٢٩(Kur’ani eno) kitabo twakissa gyoli nga kya mukisa babe nga beekenneenya ebigambo byakyo era ab'amagezi agakola babe nga beebuulirira وَوَهَبۡنَا لِدَاوُۥدَ سُلَيۡمَٰنَۚ نِعۡمَ ٱلۡعَبۡدُ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٌ ٣٠Era twagabira Dauda Sulaiman, yali muddu mulungi, (anti) mazima yye yali adda nnyo eri Katonda إِذۡ عُرِضَ عَلَيۡهِ بِٱلۡعَشِيِّ ٱلصَّٰفِنَٰتُ ٱلۡجِيَادُ ٣١Jjukira bwe yayanjulirwa mu kiseera eky'olweggulo enfaraasi ezirabika obulungi nga ziyimiridde (ate) empenyusi (bwe ziba zidduse) فَقَالَ إِنِّيٓ أَحۡبَبۡتُ حُبَّ ٱلۡخَيۡرِ عَن ذِكۡرِ رَبِّي حَتَّىٰ تَوَارَتۡ بِٱلۡحِجَابِ ٣٢Naagamba nti mazima nze nkulembezza okwagala ebirungi ku kutendereza Mukama omulabirizi wange (nenzira mu kutunuulira enfaraasi) okutuusa enjuba lwebuliddeyo رُدُّوهَا عَلَيَّۖ فَطَفِقَ مَسۡحَۢا بِٱلسُّوقِ وَٱلۡأَعۡنَاقِ ٣٣(Oluvanyuma yagamba nti) muzinkomezeewo, olwo nno naatandika okuzisala amagulu n'ensingo (naasaddaaka ennyama yaazo) وَلَقَدۡ فَتَنَّا سُلَيۡمَٰنَ وَأَلۡقَيۡنَا عَلَىٰ كُرۡسِيِّهِۦ جَسَدًا ثُمَّ أَنَابَ ٣٤Era mazima twagezesa Sulaiman netuteeka omubiri (ogutaliimu bulamu) ku nnamulondo ye, (naye) oluvanyuma yeenenya قَالَ رَبِّ ٱغۡفِرۡ لِي وَهَبۡ لِي مُلۡكًا لَّا يَنۢبَغِي لِأَحَدٍ مِّنۢ بَعۡدِيٓۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡوَهَّابُ ٣٥Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsonyiwa ongabire obwakabaka obutalisaanira mulala yenna oluvanyuma lwange, (anti) mazima ggwe mugabi فَسَخَّرۡنَا لَهُ ٱلرِّيحَ تَجۡرِي بِأَمۡرِهِۦ رُخَآءً حَيۡثُ أَصَابَ ٣٦Olwo nno netumugondeza empewo nga etambula ku lw'ekiragirokye mu ngeri ya mirembe neegenda wonna waaba asazeewo وَٱلشَّيَٰطِينَ كُلَّ بَنَّآءٍ وَغَوَّاصٍ ٣٧Era twamugondeza Sitane (nga mu zo mwalimu) enkugu mu kuzimba n'endala nga zibbira mu nnyanja وَءَاخَرِينَ مُقَرَّنِينَ فِي ٱلۡأَصۡفَادِ ٣٨Era nga ne (Sitane) endala zisibiddwa ku njegere (anti zo zaagaana okukola) هَٰذَا عَطَآؤُنَا فَٱمۡنُنۡ أَوۡ أَمۡسِكۡ بِغَيۡرِ حِسَابٍ ٣٩Netumugamba (nti) okwo kwe kugaba kwaffe, kale gabako oba omme (nga bwolaba) awatali kubuuzibwa وَإِنَّ لَهُۥ عِندَنَا لَزُلۡفَىٰ وَحُسۡنَ مَـَٔابٍ ٤٠Era mazima (Sulaiman) alina gye tuli ekifo kya ku mwanjo n’obuddo obulungi وَٱذۡكُرۡ عَبۡدَنَآ أَيُّوبَ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَسَّنِيَ ٱلشَّيۡطَٰنُ بِنُصۡبٍ وَعَذَابٍ ٤١Era jjukira omuddu waffe Ayub bwe yakoowoola Mukama omulabirizi we (naagamba nti) mazima nze Sitane andeEtedde ennaku n’obuzibu (Ayi Mukama nkusaba omponye) ٱرۡكُضۡ بِرِجۡلِكَۖ هَٰذَا مُغۡتَسَلُۢ بَارِدٌ وَشَرَابٌ ٤٢(Katonda naamugamba nti) samba ettaka n'ekigerekyo awo amazzi negafukula era ne bamugamba nti amazzi gano mannyogovu g'a kunaaba na kunywa (lye ddagala erikuweereddwa) وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ أَهۡلَهُۥ وَمِثۡلَهُم مَّعَهُمۡ رَحۡمَةً مِّنَّا وَذِكۡرَىٰ لِأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ ٤٣Era netumuwa (nga tuzzaawo) abantu be era awamu nabo (netumuwa) abalinga bo (ebyo byonna) nga kusaasira okuva gyetuli era nga kubuulirira eri abo abalina amagezi وَخُذۡ بِيَدِكَ ضِغۡثًا فَٱضۡرِب بِّهِۦ وَلَا تَحۡنَثۡۗ إِنَّا وَجَدۡنَٰهُ صَابِرًاۚ نِّعۡمَ ٱلۡعَبۡدُ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٌ ٤٤Era (n'alagirwa nti) kwata ekisaaganda ky'obuti olwo nno okimukubise (mukyalawo) anti bwotyo bwe walayira obenga tomenye kilayiro kyo, mazima ffe twamusanga (Ayub) nga mugumiikiriza (yye) muddu mulungi, anti mazima yye adda nnyo eri Katonda وَٱذۡكُرۡ عِبَٰدَنَآ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ أُوْلِي ٱلۡأَيۡدِي وَٱلۡأَبۡصَٰرِ ٤٥Era jjukira abaddu baffe Ibrahim ne Ishaak ne Yakub abaalina amaanyi n’okulengera ewala إِنَّآ أَخۡلَصۡنَٰهُم بِخَالِصَةٍ ذِكۡرَى ٱلدَّارِ ٤٦Mazima ffe twabaawula n'enkizo ey’okujjukira e nyumba ey’olubeerera (enkomerero) وَإِنَّهُمۡ عِندَنَا لَمِنَ ٱلۡمُصۡطَفَيۡنَ ٱلۡأَخۡيَارِ ٤٧Era mazima bo gye tuli ba mu baawule abalondemu وَٱذۡكُرۡ إِسۡمَٰعِيلَ وَٱلۡيَسَعَ وَذَا ٱلۡكِفۡلِۖ وَكُلٌّ مِّنَ ٱلۡأَخۡيَارِ ٤٨Era jjukira Ismail ne Eliyasa-a ne Zul kifuli, nabuli omu kwabo wa mu balondemu هَٰذَا ذِكۡرٌۚ وَإِنَّ لِلۡمُتَّقِينَ لَحُسۡنَ مَـَٔابٍ ٤٩Kuno kujjukiza, era mazima ddala abatya Katonda bagenda kufuna obuddo obulungi جَنَّٰتِ عَدۡنٍ مُّفَتَّحَةً لَّهُمُ ٱلۡأَبۡوَٰبُ ٥٠(Obuddo obwo buliba) Janna ez’emirembe, nga kulwabwe emiryango (gyazo) giriba miggule مُتَّكِـِٔينَ فِيهَا يَدۡعُونَ فِيهَا بِفَٰكِهَةٍ كَثِيرَةٍ وَشَرَابٍ ٥١Balibeera beesigamye nga bali mu zo, nga bwe batumya mu zo ebibala ebingi nga bya njawulo n'eby'okunywa ۞ وَعِندَهُمۡ قَٰصِرَٰتُ ٱلطَّرۡفِ أَتۡرَابٌ ٥٢Era baliba balina abakyala abakkakkamu ab'amaaso ab'emyaka egyenkana هَٰذَا مَا تُوعَدُونَ لِيَوۡمِ ٱلۡحِسَابِ ٥٣(Baligambibwa nti) kino (kye mutuseeko) kyekyo kye mwalagaanyisibwa okuweebwa ku lunaku lw'okubalibwa إِنَّ هَٰذَا لَرِزۡقُنَا مَا لَهُۥ مِن نَّفَادٍ ٥٤Mazima ebyo kwe kugabiririra kwaffe tekuyinza kukalira هَٰذَاۚ وَإِنَّ لِلطَّٰغِينَ لَشَرَّ مَـَٔابٍ ٥٥Ekyo kyekyo, naye mazima abeewagguzi balifuna obuddo obubi جَهَنَّمَ يَصۡلَوۡنَهَا فَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ٥٦Nga muliro Jahannama gwe balyesonseka naye buliba buliri bubi ddala هَٰذَا فَلۡيَذُوقُوهُ حَمِيمٌ وَغَسَّاقٌ ٥٧Kino (kye balimu bye bibonerezo ebiruma ennyo) kale balibikombako nga nabyo mazzi agookya n'amasira ag'olusaayisaayi وَءَاخَرُ مِن شَكۡلِهِۦٓ أَزۡوَٰجٌ ٥٨Ne (bibonerezo) ebirala ebiringa ebyo ebyengeri ez'ejawulo (nabyo biribatuukako) هَٰذَا فَوۡجٌ مُّقۡتَحِمٌ مَّعَكُمۡ لَا مَرۡحَبَۢا بِهِمۡۚ إِنَّهُمۡ صَالُواْ ٱلنَّارِ ٥٩(Buli aboonoonyi abapya lwe banaaleetebwanga mu muliro, nga abasookayo bagambibwa nti:) kino kibinja kyesozze omuliro awamu nammwe (olwo abalisangwamu bagambe nti) abo tebaanirizibwa (tebalina mirembe) mazima bo beesozze muliro قَالُواْ بَلۡ أَنتُمۡ لَا مَرۡحَبَۢا بِكُمۡۖ أَنتُمۡ قَدَّمۡتُمُوهُ لَنَاۖ فَبِئۡسَ ٱلۡقَرَارُ ٦٠(Abaagoberera) baligamba (abaasooka) nti wabula mmwe, mmwe mutaanirizibwa, mmwe mwabituleetera, bugenda kuba butuulo bubi قَالُواْ رَبَّنَا مَن قَدَّمَ لَنَا هَٰذَا فَزِدۡهُ عَذَابًا ضِعۡفًا فِي ٱلنَّارِ ٦١Baligamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe oyo eyatuleetera bino mwongere ebibonerezo eby'okuba mu muliro nga bibazziddwamu وَقَالُواْ مَا لَنَا لَا نَرَىٰ رِجَالًا كُنَّا نَعُدُّهُم مِّنَ ٱلۡأَشۡرَارِ ٦٢Era (aboonoonyi) baligamba nti lwaki tetulaba bantu betwali tubalira mu babi أَتَّخَذۡنَٰهُمۡ سِخۡرِيًّا أَمۡ زَاغَتۡ عَنۡهُمُ ٱلۡأَبۡصَٰرُ ٦٣Abaffe twabafuula eky'okujeeja (so nga baali balungi) oba amaaso ge gatabalaba إِنَّ ذَٰلِكَ لَحَقٌّ تَخَاصُمُ أَهۡلِ ٱلنَّارِ ٦٤Mazima ebyo (ebyogeddwa) ddala (okwo kwe kuliba) okuyombagana kw'abantu bo mu muliro قُلۡ إِنَّمَآ أَنَا۠ مُنذِرٌۖ وَمَا مِنۡ إِلَٰهٍ إِلَّا ٱللَّهُ ٱلۡوَٰحِدُ ٱلۡقَهَّارُ ٦٥Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) mazima nze ndi mutiisa era tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako Katonda ali omu nantalemwa رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡغَفَّٰرُ ٦٦Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo قُلۡ هُوَ نَبَؤٌاْ عَظِيمٌ ٦٧Bagambe nti kyo (kye mbagamba) kigambo kikulu ddala أَنتُمۡ عَنۡهُ مُعۡرِضُونَ ٦٨(Ate) mmwe kye mwawukanako مَا كَانَ لِيَ مِنۡ عِلۡمِۭ بِٱلۡمَلَإِ ٱلۡأَعۡلَىٰٓ إِذۡ يَخۡتَصِمُونَ ٦٩Sibangako na kumanya kwonna ku bikwata ku bakungu ab'awaggula webakaayanira, (ba Malayika bwe beemulugunya nga baagala Katonda baaba asindika ku nsi mu kifo kya Adam) إِن يُوحَىٰٓ إِلَيَّ إِلَّآ أَنَّمَآ أَنَا۠ نَذِيرٌ مُّبِينٌ ٧٠Ssaatumirwa kirala kyonna okugyako (okuba) nti mazima ddala nze ndi mutiisa ow'olwatu إِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ إِنِّي خَٰلِقُۢ بَشَرًا مِّن طِينٍ ٧١Jjukira ekiseera Mukama omulabirizi wo bwe yagamba ba Malayika, nti mazima nze nja kutonda omuntu nga mugya mu kadongo فَإِذَا سَوَّيۡتُهُۥ وَنَفَخۡتُ فِيهِ مِن رُّوحِي فَقَعُواْ لَهُۥ سَٰجِدِينَ ٧٢Bwe nnaamala okukola engeri nga bwanabeera era nemmufuuwamu omwoyo oguva gyendi, kale mubutame nga mumuvunnamira فَسَجَدَ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ كُلُّهُمۡ أَجۡمَعُونَ ٧٣Olwo nno ba Malayika bonna nga bali wamu baavunnama إِلَّآ إِبۡلِيسَ ٱسۡتَكۡبَرَ وَكَانَ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ٧٤Okugyako Ibliis yeekuluntaza naaba mu bakaafiiri قَالَ يَٰٓإِبۡلِيسُ مَا مَنَعَكَ أَن تَسۡجُدَ لِمَا خَلَقۡتُ بِيَدَيَّۖ أَسۡتَكۡبَرۡتَ أَمۡ كُنتَ مِنَ ٱلۡعَالِينَ ٧٥(Katonda) naagamba nti owange Ibliis kiki ekikugaanye okuvunnamira oyo gwe nnatonda n’omukono gwange abaffe wetwala nti oli wa kitiibwa (okusinga Adam), oba lwakuba nti bulijjo oli mu ba kiwagi ku Katonda قَالَ أَنَا۠ خَيۡرٌ مِّنۡهُ خَلَقۡتَنِي مِن نَّارٍ وَخَلَقۡتَهُۥ مِن طِينٍ ٧٦(Ibliis) naagamba nti: nze mmusinga, wantonda mu muliro ate (yye) noomutonda mu kadongo قَالَ فَٱخۡرُجۡ مِنۡهَا فَإِنَّكَ رَجِيمٌ ٧٧(Katonda) naagamba nti: kale gifulume (e jjana) mazima ggwe ogobeddwa (era oli mukolimire) وَإِنَّ عَلَيۡكَ لَعۡنَتِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلدِّينِ ٧٨Era mazima okakaseeko ekikolimo kyange okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa قَالَ رَبِّ فَأَنظِرۡنِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ ٧٩(Ibliis) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa قَالَ فَإِنَّكَ مِنَ ٱلۡمُنظَرِينَ ٨٠(Katonda) naagamba nti: mazima ggwe oli mu balindiriziddwa إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡوَقۡتِ ٱلۡمَعۡلُومِ ٨١Okutuuka ku lunaku olw'ekiseera ekimanyiddwa قَالَ فَبِعِزَّتِكَ لَأُغۡوِيَنَّهُمۡ أَجۡمَعِينَ ٨٢(Ibliis) naagamba nti: ndayira ekitiibwa kyo njakubabuliza ddala bonna إِلَّا عِبَادَكَ مِنۡهُمُ ٱلۡمُخۡلَصِينَ ٨٣Okugyako abaddu bo abalondobemu mu bo قَالَ فَٱلۡحَقُّ وَٱلۡحَقَّ أَقُولُ ٨٤(Katonda) naagamba nti: ago nno g'emazima, era nga bulijjo njogera mazima لَأَمۡلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنكَ وَمِمَّن تَبِعَكَ مِنۡهُمۡ أَجۡمَعِينَ ٨٥Ddala ngenda kujjuza omuliro Jahannama (nga nguteekamu) ggwe n'abo bonna abakugondera mu bo قُلۡ مَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍ وَمَآ أَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُتَكَلِّفِينَ ٨٦Gamba (ggwe Muhammad nti ekyokubatuusaako obubaka) sikibasabirako mpeera, era nga bwe ssiri mu beetumiikiriza إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٌ لِّلۡعَٰلَمِينَ ٨٧(Kur’ani) yyo teri okugyako okuba nti kya kubuulirira eri ebitonde وَلَتَعۡلَمُنَّ نَبَأَهُۥ بَعۡدَ حِينِۭ ٨٨Era ekigambo kyayo mujja kukimanyira ddala oluvanyuma lw'ekiseera kitono